Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Mark 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 They came to the other side of the sea, to the region of the Gerasenes. Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka emitala w’ennyanja mu nsi y’Abageresene.
2 As Jesus left the boat, a man with an unclean spirit met him at once, from the tombs. Yesu bwe yali yaakava mu lyato omuntu eyaliko omwoyo omubi n’ajja gy’ali ng’ava mu malaalo.
3 He lived among the tombs, and no one could bind him anymore, not even with a chain. Omuntu ono yasulanga mu malaalo era yali alaluse nnyo nga tewakyali na muntu asobola kumusiba.
4 For he'd often been bound with shackles and chains, but tore the chains apart and shattered the shackles—no one had strength to subdue him. Emirundi mingi baagezangako okumussa ku mpingu n’okusiba amagulu ge n’enjegere naye byonna ng’abikutulakutula. Ne wataba na muntu w’amaanyi ayinza kumusiba kumunyweza.
5 Night and day, among the tombs and on the mountains, he cried out constantly, cutting himself with stones. Naye bulijjo yatambulanga emisana n’ekiro mu malaalo ne mu nsozi. Yawowoggananga nga bw’akaaba era nga bwe yeesalaasala n’amayinja.
6 And when he saw Jesus from a distance, he ran and fell down before him. Awo bwe yalengera Yesu ng’akyali walako ku nnyanja n’adduka n’agenda eryato we lyagoba, n’asinza Yesu.
7 Shouting loudly, he said, "What do you want with me, Jesus, Son of the Most High God? I beg you by God, don't torment me!" N’aleekaana nnyo nti, “Onjagaza ki, ggwe Yesu, Omwana wa Katonda, Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayirira, olw’ekisa kya Katonda, tombonyaabonya.”
8 For Jesus had been saying to him, "Come out of the man, you unclean spirit!" Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi okuva ku musajja.
9 Jesus asked, "What is your name?" "Legion," he said, "we are many." Awo Yesu n’amubuuza nti, “Erinnya lyo ggw’ani?” N’addamu nti, “Erinnya lyange nze Ligyoni, kubanga tuli bangi.”
10 He kept begging him not to send them out of the region. N’amwegayirira nnyo aleme okumugoba mu kitundu ekyo.
11 Now a great herd of pigs was feeding there on the hillside. Awo waaliwo eggana ly’embizzi nnyingi nnyo ku lusozi nga zirya.
12 And they begged him, "Send us to the pigs; let us enter them." Omwoyo omubi ne gwegayirira Yesu nti, “Tusindike mu mbizzi ziri.”
13 He gave permission. The unclean spirits came out and entered the pigs; the herd—about 2,000—rushed down the cliff into the sea and drowned in the sea. Yesu n’abakkiriza, ne bava ku musajja ne bayingira mu ggana ly’embizzi. Awo eggana ly’embizzi lyonna ne liserengetera ku kagulungujjo ne lyeyiwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo.
14 The herders fled and told it in town and country; people came to see what happened. Awo abaali bazirunda ne badduka mangu ne bagenda bategeeze ab’omu kibuga ne mu byalo ebiriraanyeewo. Abantu bangi ne bajja okulaba ebibaddewo.
15 They came to Jesus and saw the man who had been possessed by the demons, the one who'd had the legion, sitting there, dressed and thinking clearly—and they were afraid. Ekibiina ky’abantu ne kikuŋŋaana awali Yesu, naye bwe baalaba omusajja eyaliko ligyoni ng’ayambadde bulungi era ng’ategeera bulungi, ne batya nnyo.
16 Eyewitnesses told them what had happened to the demon-possessed man, and about the pigs. Abo abaaliwo ne babategeeza ebyatuuka ku musajja eyaliko ddayimooni n’ebyatuuka ku mbizzi.
17 And they began to beg Jesus to leave their region. Awo abantu ne batandika okwegayirira Yesu abaviire!
18 As he was getting into the boat, the once-possessed man begged to be with him. Yesu bwe yali ng’alinnya mu lyato, omusajja eyali abaddeko baddayimooni n’amwegayirira bagende bonna.
19 But Jesus refused, telling him instead, "Go home to your own people and tell them how much our Father has done for you, and how he has had mercy on you." Yesu n’atakkiriza, n’amugamba nti, “Ddayo ewammwe mu bantu bo obabuulire ebintu byonna Mukama by’akukoledde era nga bw’akusaasidde.”
20 He went and began proclaiming in the Decapolis all Jesus had done for him, and everyone was amazed. Awo omusajja oyo n’agenda ng’atambula mu Dekapoli (ebibuga eby’omu kitundu ekyo) ng’abuulira abantu Katonda bye yali amukoledde byonna. Bonna abaabiwulira ne bawuniikirira nnyo.
21 When Jesus crossed again by boat to the other side, a large crowd gathered around him by the sea. Awo Yesu n’awunguka mu lyato nate n’atuuka emitala w’ennyanja. Abantu bangi ne bakuŋŋaanira w’ali ku lubalama lw’ennyanja.
22 One of the synagogue leaders, named Jairus, came, saw Jesus, and fell at his feet, Omukulu w’ekkuŋŋaaniro erinnya lye Yayiro n’ajja n’agwa w’ali,
23 and begged him urgently, "My little daughter is dying. Come, lay your hands on her, so she may be healed and live." n’amwegayirira nnyo ng’agamba nti, “Muwala wange abulako katono okufa. Nkwegayiridde jjangu omukwateko omuwonye.”
24 So Jesus went with him. And a great crowd followed him and pressed around him. Awo Yesu n’agenda naye n’ekibiina ky’abantu kinene ne kimugoberera nga bagenda bamunyigiriza.
25 And there was a woman with a discharge of blood that had gone on for twelve years. Mu kibiina omwo mwalimu omukazi eyali amaze emyaka kkumi n’ebiri nga mulwadde ekikulukuto ky’omusaayi.
26 She had suffered much under many doctors, spent all she owned, gained nothing, and only grew worse. Yali yeewuubye mu basawo bangi abaamujanjabanga okumala emyaka egyo gyonna; ne byonna bye yalina nga bimuweddeko, obulwadde ne butawona wabula okweyongera obweyongezi.
27 Hearing about Jesus, she came up behind him in the crowd and touched his cloak. Yali awulidde ebikwata ku Yesu. Bw’atyo n’ajja nga yeenyigiriza mu kibiina ky’abantu n’atuuka emabega wa Yesu, n’akoma ku kyambalo kye.
28 For she kept saying, "If I just touch his garments, I will be made well." Kubanga yagamba mu mutima gwe nti, “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nzija kuwona.”
29 Her flow of blood dried up instantly, and she felt in her body that she was healed of her suffering. Awo olwakikomako, amangwago ekikulukuto ky’omusaayi ne kikalira n’ategeerera ddala ng’awonye.
30 At once Jesus, aware that power had left him, turned around in the crowd and asked, "Who touched my clothes?" Amangwago Yesu n’awulira ng’amaanyi agamuvuddemu, n’akyukira ekibiina ky’abantu n’abuuza nti, “Ani akutte ku kyambalo kyange?”
31 His disciples said to him, "You see the crowd crushing you, yet you ask, 'Who touched me?'" Naye abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Ku bantu abangi bati abakunyigiriza oyinza otya okubuuza nti, ‘Ani ankutteko?’ ”
32 And he looked around to see who had done it. Naye Yesu ne yeetoolooza amaaso ge mu bonna alabe oyo amukutteko.
33 But the woman, afraid and trembling, knowing what had happened to her, came, fell before him, and told him the whole truth. Awo omukazi bwe yategeera ekituuseewo n’ajja eri Yesu ng’atidde nnyo era ng’akankana, n’agwa awo mu maaso ga Yesu n’amutegeeza amazima gonna.
34 He told her, "Daughter, your faith made you well. Go in peace, healed of your suffering." Yesu n’agamba omukazi nti, “Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza, genda mirembe obulwadde bwo buwonedde ddala.”
35 While he was still speaking, people came from the synagogue leader's house, saying, "Your daughter has died. Why bother the Teacher any longer?" Naye yali akyayogera n’omukazi ababaka ne batuuka nga bava mu maka g’omukulu w’ekuŋŋaaniro, ne babikira Yayiro nti, “Omuwala afudde, noolwekyo tekikyetaagisa kuteganya Muyigiriza.”
36 But Jesus overheard what they said and told the synagogue leader, "Don't fear, only believe." Yesu n’awulira ebigambo ebyayogerwa wabula n’agamba omukulu w’ekkuŋŋaaniro nti, “Totya, ggwe kkiriza bukkiriza.”
37 And he allowed no one to follow him except Peter, James, and John the brother of James. Awo Yesu n’aziyiza ekibiina kyonna okugenda naye, okuggyako Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda wa Yakobo.
38 They came to the synagogue leader's house and Jesus saw chaos—people weeping, wailing loudly. Bwe baatuuka mu nju y’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’alaba okwaziirana ng’abantu bakaaba nga bakuba ebiwoobe.
39 Entering, he said to them, "Why this commotion and crying? The child isn't dead, just asleep." Bwe yayingira mu nju n’agamba abantu nti, “Mwaziiranira ki n’okukuba ebiwoobe? Omwana tafudde naye yeebase bwebasi!”
40 They laughed at him. But he sent them all out, took the child's father and mother and his companions, and entered where the child was. Awo abantu bonna ne bamusekerera nnyo. Naye n’abagamba bonna bafulume mu nju. N’atwala abazadde b’omwana n’abayigirizwa be abasatu n’ayingira nabo mu kisenge omwana mwe yali.
41 He took her hand and said to her, "Talitha koum," which means, "Little girl, I say to you, get up!" Yesu n’akwata omwana ku mukono n’amugamba nti, “Talisa kumi!” amakulu nti, “Omuwala golokoka!”
42 At once the girl got up and walked—for she was twelve—and they were instantly overwhelmed with great amazement. Amangwago omuwala eyali aweza emyaka kkumi n’ebiri, n’ayimirira n’atambulatambula. Abaaliwo ne bawuniikirira nnyo.
43 He strictly ordered them to tell no one of this, and said to give her something to eat. Naye Yesu n’abakuutira nnyo baleme okubuulirako omuntu yenna. Awo n’abalagira bawe omwana ekyokulya.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]