Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Mark 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Jesus again taught by the sea. So large a crowd gathered around him that he got into a boat on the water and sat, while the whole crowd was on land by the sea. Ate era n’atandika okuyigiriza ku lubalama lw’ennyanja. Ekibiina ky’abantu kinene nnyo ne bakuŋŋaana okumwetooloola. Kyeyava alinnya mu lyato n’ayigiriza ng’atudde omwo.
2 He taught them many things in parables, and in his teaching he said to them: Yabayigirizanga ebintu bingi mu ngero. N’abayigiriza ng’agamba nti,
3 "Listen! A sower went out to sow. “Muwulirize. Waaliwo omulimi eyafuluma okusiga ensigo.
4 And as he sowed, some seed fell along the path, and the birds came and devoured it. Bwe yali ng’azimansa ng’asiga mu nnimiro, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo ennyonyi ne zijja ne zizirya.
5 Other seed fell on rocky ground, lacking much soil, and sprang up at once since the soil had no depth. N’endala ne zigwa ku ttaka ery’ekyaziyazi awatali ttaka lingi, ezo ne zimera mangu kubanga tezaali mu ttaka gwanvu.
6 When the sun rose, the plants were scorched, and since they had no root, they withered. Awo omusana bwe gwayaka ne zikalirawo, kubanga emirandira gyali kungulu.
7 Other seed fell among thorns, and the thorns grew up and choked it, yielding no grain. Endala ne zigwa mu maggwa. Awo ensigo ne zikula kyokka amaggwa ne gazitta ne zitabala bibala.
8 Other seed fell into good soil, producing grain that sprouted, grew, and yielded thirty, sixty, one hundred times what was sown." Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ezo ne zibala ebibala, ezimu emirundi amakumi asatu, endala emirundi nkaaga, n’endala kikumi.”
9 And he said, "Whoever has ears to hear, let him hear." N’abagamba nti, “Oyo alina amatu agawulira awulire.”
10 When he was alone, those around him, together with the Twelve, asked him about the parables. Awo bwe yasigala yekka, abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’abantu abalala, ne bamubuuza amakulu g’engero ezo ze yabagerera.
11 He said to them, "To you is given the secret of the kingdom of our Father, but to those outside, everything comes in parables, Yesu n’abagamba nti, “Mmwe muweereddwa omukisa okumanya ekyama ekifa ku bwakabaka bwa Katonda ekyakisibwa abantu abalala abali ebweru waabwo.”
12 so that 'they may look but not perceive, and hear but not understand, and not turn and be forgiven.'" “Balaba bulabi naye nga tebeetegereza, era n’okuwulira bawulira naye tebategeera, si kulwa nga bakyuka ne basonyiyibwa.”
13 He said to them, "You don't understand this parable? Then how will you understand all the parables? “Kale obanga temutegedde makulu ga lugero luno olwangu bwe luti mulitegeera mutya endala ze ŋŋenda okweyambisa nga njigiriza?
14 The sower sows the word. Omusizi asiga ekigambo y’asiga.
15 These are the ones on the path where the word is sown: once they hear, Satan comes immediately and takes away the word sown in them. Ate ensigo ezaagwa ku mabbali g’ekkubo, be bawulira ekigambo, amangwago Setaani n’ajja n’akibatwalako.
16 These are the ones sown on rocky ground, who hear the word and immediately receive it with joy. Ate ensigo ezaagwa ku byaziyazi, gy’emitima gy’abantu abawulira ekigambo amangwago ne bakyaniriza n’essanyu.
17 But they have no root in themselves, lasting only briefly; when trouble or persecution comes because of the word, they fall away at once. Naye tebalina mirandira, babeera bulungi okusooka, naye olutuukibwako ebizibu oba okuyigganyizibwa olw’ekigambo amangwago babivaako.
18 And others are the ones sown among thorns. These are those who hear the word, Ate endala ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo,
19 but worries of this age, the deceit of wealth, and desires for other things enter and choke the word, and it produces no fruit. naye okweraliikirira n’okusikirizibwa eby’obugagga n’okwegomba ebintu ebirala, bizikiriza ekigambo ne kitabala bibala.
20 And these are the ones sown on good soil: they hear the word, accept it, and produce fruit—thirty, sixty, one hundred times over." Ettaka eddungi gy’emitima gy’abantu abawulira ekigambo ne bakkiririza ddala era ne bavaamu ebibala, emirundi amakumi asatu, abalala emirundi nkaaga, n’abalala kikumi.”
21 He told them, "Does anyone bring in a lamp to put it under a basket or bed—not on a stand? Awo Yesu n’ababuuza nti, “Waliwo omuntu akoleeza ettaala n’agivuunikako ekibbo oba n’agiteeka wansi w’ekitanda? Naye omuntu bw’akoleeza ettaala tagiteeka ku kikondo waggulu?
22 Nothing is hidden except to be revealed; nothing is secret except to surface. Kubanga buli kintu kyonna ekikolebwa mu kyama kaakano, ekiseera kirituuka ne kiragibwa mu lwatu.
23 If anyone has ears to hear, let him hear." Alina amatu agawulira awulire.
24 He told them, "Watch what you hear. The measure you use will be measured to you—and more added. Naye mwegendereze ebyo bye mbayigiriza.
25 For whoever has will be given more; whoever doesn't, even what he has will be taken from him." Alina aliweebwa na buli atalina aliggyibwako n’ebyo by’alina.”
26 He said, "This is what the kingdom of our Father is like: a man scatters seed on the ground. Awo Yesu n’abagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa n’omusizi asiga ensigo mu ttaka.
27 Night and day, asleep or awake, the seed sprouts and grows, though he doesn't know how. Ekiro yeebaka, n’emisana ne yeekolera by’ayagala, mu kiseera ekyo kyonna ensigo ziba zimera, naye ate nga takimanyi.
28 The soil yields grain on its own—first blade, then head, then full kernel in the head. Ku bwalyo ettaka lireeta ekibala. Ensigo zisooka kusindika bulimi bwazo okuva mu ttaka, amatabi ne gajjako ebirimba by’eŋŋaano.
29 But when the grain ripens, he immediately sends the sickle, since harvest has come." Eŋŋaano bw’eyengera omusizi ayanguwa mangu n’akwata akayuuyo, kubanga amakungula gatuuse.”
30 He said, "What can we compare the kingdom of our Father to, or what parable can we use for it? Awo Yesu n’ayongera n’abagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda tunaabugeraageranya na ki? Oba tukozese lugero ki okubunnyonnyola?
31 It's like a mustard seed, the smallest of all seeds when sown on the ground. Bufaananyizibwa n’akasigo aka kaladaali! Kubanga newaakubadde katono nnyo okusinga ensigo zonna ez’oku nsi,
32 Yet once sown, it grows up and becomes the largest of all garden plants, producing branches so big that birds of the air can nest in its shade." naye kavaamu omuti omunene nga gulina amatabi amanene, ennyonyi ez’omu bbanga mwe ziyinza okuzimba ebisu byazo.”
33 With many such parables he spoke the word to them, as they were able to hear. Yesu n’abuulira abantu ekigambo kya Katonda ng’akozesa engero nnyingi ezifaanana ng’ezo, nga bwe baasobolanga okuwulira.
34 He spoke to them only in parables, but privately explained everything to his own disciples. Yesu bwe yabanga ayigiriza ebibiina yakozesanga engero, naye bwe yaddanga ebbali n’abayigirizwa be n’abannyonnyola amakulu agali mu ngero ezo.
35 That day, when evening came, he said to them, "Let us cross over to the other side." Ku lunaku olwo obudde nga buwungedde Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Tuwunguke tulage emitala.”
36 They left the crowd and took him along, just as he was, in the boat, other boats accompanying him. N’aleka awo ekibiina, abayigirizwa be ne balinnya mu lyato Yesu mwe yali ne bagenda naye. Abantu abamu ne babagobera mu maato agaabwe.
37 A fierce windstorm came up. Waves broke over the boat, so that it was already being swamped. Amangwago omuyaga mungi nnyo ne gukunta n’amayengo amagulumivu ne geeyiwa mu lyato ne libulako katono okujjula amazzi.
38 But Jesus was asleep in the stern on the cushion. They woke him and said, "Teacher, don't you care that we're dying?" Yesu yali agalamidde emabega mu lyato nga yeezizise omutto yeebase. Awo abayigirizwa be ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Omuyigiriza, ggwe tofaayo nga ffenna tugenda okusaanawo?”
39 He got up, rebuked the wind, and told the sea, "Peace! Be still!" The wind stopped, and it grew totally calm. N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’agamba ennyanja nti, “Tteeka, sirika.” Omuyaga ne gusirika n’ennyanja n’eteekera ddala.
40 He said to them, "Why are you so afraid? Do you still have no faith?" N’ababuuza nti, “Lwaki mutidde? Temunnaba kubeera na kukkiriza?”
41 They were terrified and asked one another, "Who then is this, that even the wind and the sea obey him?" Ne batya nnyo, ne beebuuza nti, “Ono ye ani, embuyaga n’ennyanja gwe bigondera?”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]