Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Mark 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Once again Jesus entered the synagogue, and a man with a withered hand was there. Awo Yesu n’ayingira nate mu kkuŋŋaaniro, nga mulimu omusajja eyalina omukono ogukaze.
2 They watched closely to see if he'd heal the man on the Sabbath, to accuse Jesus. Baali balindirira okulaba obanga anaamuwonya ku Ssabbiiti balyoke bamuwawaabire.
3 Jesus said to the man with the withered hand, "Stand up and come forward." Yesu n’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Yimirira wakati.”
4 Then he asked them, "Is it lawful on the Sabbath to do good or to do harm, to save life or to kill?" But they stayed silent. N’abagamba nti, “Kikkirizibwa okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Okuwonya bulamu oba okubuzikiriza?” Naye ne batamuddamu.
5 He looked around at them in anger, grieved by their hardness of heart, and told the man, "Stretch out your hand." He stretched it out, and his hand was restored. Yesu n’abatunuulira ng’akambuwadde era nga munakuwavu nnyo olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe, n’agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” N’agolola omukono gwe, ne guwona.
6 Then the Pharisees went out and immediately began plotting with the Herodians how they might destroy him. Amangwago Abafalisaayo ne bafuluma ne bateesa n’Abakerodiyaani nga bwe banaamuzikiriza.
7 Jesus withdrew with his disciples to the sea; a large crowd from Galilee followed, and from Judea, Awo Yesu n’abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja. Ekibiina kinene ekyava mu Ggaliraaya ne mu Buyudaaya ne kimugoberera.
8 from Jerusalem, Idumea, beyond the Jordan, and the region around Tyre and Sidon—hearing all he was doing, a great crowd came to him. N’abalala ne bava mu kibuga Yerusaalemi, n’abalala mu Idumaya, n’abalala ne bava emitala w’omugga Yoludaani n’okwetooloola Ttuulo ne Sidoni ne bamugoberera. Ekibiina ky’abantu bwe baawulira bye yali akola ne bajja gy’ali.
9 He told his disciples to keep a small boat ready, because of the crowd, so they wouldn't crush him. Yesu n’agamba abayigirizwa be eryato limubeere kumpi olw’ekibiina ekinene, ekibiina kireme kumunyigiriza.
10 For he had healed so many that all who had diseases were pressing forward to touch him. Kubanga yawonya bangi, bangi ne baagala okumugwira bamukwateko olw’endwadde zaabwe.
11 Whenever the unclean spirits saw him, they fell before him, shouting, "You are the Son of God!" Awo emyoyo emibi bwe gyamulaba ne gigwa mu maaso ge nga gireekaana nga gigamba nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.”
12 But he firmly warned them not to reveal him. Naye n’agikomako gireme okumwatuukiriza.
13 Jesus went up the mountain and called those he wanted; they came to him. Awo Yesu n’alinnya ku lusozi, n’ayita abo be yayagala, ne bajja gy’ali.
14 He appointed twelve, named apostles, so they could be with him and he could send them out to preach, N’alonda kkumi na babiri mu abo, be yafuula abatume babeerenga naye, era abatumenga okubuulira.
15 and to have authority to drive out demons. N’abawa n’obuyinza okugobanga baddayimooni. Ekkumi n’ababiri be yalonda be bano:
16 These are the twelve he appointed: Simon, to whom he gave the name Peter; Awo n’alonda ekkumi na babiri era be bano: Simooni, gwe yatuuma “Peetero” ne
17 James son of Zebedee, and John his brother, whom he named Boanerges, meaning Sons of Thunder; Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo, Yesu be yatuuma “Bowanerege” amakulu nti, “Abaana b’Okubwatuka.”
18 Andrew, Philip, Bartholomew, Matthew, Thomas, James son of Alphaeus, Thaddaeus, Simon the Zealot, Andereya, ne Firipo, ne Battolomaayo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo, omwana wa Alufaayo ne Saddayo, ne Simooni, Omukananaayo,
19 and Judas Iscariot, who betrayed him. ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe.
20 He went home; the crowd gathered again, so he and his disciples couldn't even eat. Awo Yesu n’ayingira mu nnyumba ekibiina kinene ne bakuŋŋaanira nate w’ali, ye ne be yali nabo ne batasobola kulya.
21 When his family heard, they went out to restrain him, for they said, "He's out of his mind." Awo baganda be bwe baakiwulira ne bagenda bamuggyeyo, kubanga baalowooza nti alaluse.
22 The scribes who came down from Jerusalem said, "He has Beelzebul," and, "By the prince of demons he drives out demons." Naye abannyonnyozi b’amateeka abaava e Yerusaalemi ne bagamba nti, “Aliko Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, era obuyinza bwe bw’akozesa okugoba baddayimooni.”
23 So Jesus called them to him and spoke in parables: "How can Satan drive out Satan? Awo Yesu n’abayita n’ayogera nabo mu ngero ng’agamba nti, “Setaani ayinza atya okugoba Setaani?
24 If a kingdom is divided against itself, that kingdom cannot stand. Obwakabaka bwe bwawukana tebuyinza kubaawo.
25 And if a house is divided against itself, that house will not be able to stand. N’ennyumba eyawukanye, teyinza kubeerawo.
26 And if Satan opposes himself and is divided, he cannot stand; his end has come. Ne Setaani bw’atyo bw’alwanagana yekka na yekka tayinza kubaawo. Wabula yeezikiriza yekka.
27 No one can enter a strong man's house and take his goods without first tying up the strong man—then he can plunder the house. Naye tewali ayinza kuyingira mu nnyumba ya muntu w’amaanyi, okunyaga ebintu bye nga tasoose kumusiba n’alyoka anyaga ebintu bye.
28 Truly I tell you, all sins and insults against God will be forgiven children of mankind, whatever they say, Ddala ddala mbagamba nti buli kintu kyonna omuntu ky’akola kirisonyiyibwa abaana b’abantu, ebibi n’okuvvoola kwonna kwe bavvoola.
29 but whoever blasphemes against the Holy Spirit never has forgiveness; they are guilty of an eternal sin," Naye buli alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa, emirembe n’emirembe naye alisingibwa omusango olw’ekibi eky’emirembe n’emirembe.”
30 for they were saying, "He has an unclean spirit." Yayogera atyo gye bali kubanga baagamba nti, “Aliko omwoyo omubi.”
31 His mother and brothers arrived and, standing outside, sent to him, calling him. Awo baganda ba Yesu ne nnyina ne bajja gy’ali ebweru nga baagala okumulaba. Awo ne bamutumira bamuyite ajje ayogere nabo.
32 A crowd sat around him and said to him, "Look, your mother and your brothers are outside, asking for you." Ekibiina ky’abantu kyali kimwetoolodde, ne bamugamba nti, “Nnyoko ne baganda bo ne bannyoko bali wabweru bakunoonya.”
33 He answered them, "Who are my mother and my brothers?" Naye n’abaddamu nti, “Mmange ye ani, ne baganda bange be baani?”
34 Looking around at those sitting in a circle around him, he said, "Here are my mother and my brothers! Awo bwe yeetoolooza amaaso abo abaali batudde nga bamwebunguludde, n’abagamba nti, “Bano be mulaba be bammange era be baganda bange!
35 Whoever does the will of our Father is my brother and sister and mother." Kubanga buli muntu akola Katonda by’asiima ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]