Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Mark 9 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 He said to them, "Truly I tell you: some standing here will not taste death before they see the kingdom of our Father come with power." Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Abamu ku bantu abali wano tebalifa okuggyako nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda nga bujja n’amaanyi.”
2 Six days later Jesus took Peter, James, and John, and led them up a high mountain alone, and he was transfigured before them. Bwe waayitawo ennaku mukaaga Yesu n’atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana n’abakulembera ne bagenda ku ntikko y’olusozi oluwanvu ne babeera eyo bokka. Amangwago n’afuusibwa nga balaba,
3 His clothes became radiant, dazzling white—whiter than anyone on earth could bleach them. ebyambalo bye ne byeruka nnyo, nga tewali muntu ku nsi asobola kubyoza kubituusa awo!
4 And Elijah appeared to them along with Moses, and they were talking with Jesus. Awo Eriya ne Musa ne babalabikira ne batandika okwogera ne Yesu!
5 Peter said to Jesus, "Rabbi, it's good that we're here. Let's make three shelters—one for you, one for Moses, and one for Elijah." Peetero n’agamba Yesu nti, “Labbi, kirungi tubeere wano, tubazimbire ensiisira ssatu, emu nga yiyo, n’endala nga ya Musa, n’endala nga ya Eriya.”
6 He did not know what to say, for they were terrified. Yayogera atyo olw’okutya okungi okwabajjira.
7 A cloud appeared and overshadowed them, and a voice came from the cloud: "This is my beloved Son. Listen to him!" Awo ne walabika ekire, ne kibasaanikira ne muvaamu eddoboozi ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa. Mumuwulirirenga.”
8 Suddenly, when they looked around, they no longer saw anyone with them except Jesus. Amangwago okugenda okukyusa amaaso gaabwe nga tewali muntu mulala okuggyako Yesu eyaliwo yekka nabo.
9 Coming down the mountain, he ordered them to tell no one what they'd seen until the Son of Man rose from the dead. Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu n’abakuutira ekyo kye balabye obutakyogerangako okutuusa ng’Omwana w’Omuntu amaze okuzuukira mu bafu.
10 So they kept the matter to themselves, questioning what rising from the dead could mean. Bwe batyo nabo ne bakikuuma nga kya kyama, naye ne beebuuzaganya ku by’okufa n’okuzuukira kwe.
11 And they asked him, "Why do the scribes say that Elijah must come first?" Awo ne bamubuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti Eriya asaanira asooke okujja.”
12 He said, "Elijah does come first and restores everything. Then why is it written the Son of Man must suffer much and be treated with contempt? Yesu n’abagamba nti, “Weewaawo Eriya y’ateekwa okusooka okujja alongoose ebintu byonna. Lwaki kyawandiikibwa ku Mwana w’Omuntu nti ateekwa okubonaabona ennyo n’okunyoomebwa?
13 But I tell you, Elijah has come, and they did to him whatever they pleased, as it is written about him." Naye mbagamba nti, Ddala ddala Eriya yajja! Naye yayisibwa bubi nnyo, nga bwe baayagala, nga bwe kyawandiikibwa ku ye.”
14 Coming to the other disciples, they saw a large crowd around the disciples, and scribes arguing with them. Yesu n’abayigirizwa bali abasatu bwe bakka eri bannaabwe okuva ku lusozi, ne basanga ekibiina kinene nga kyetoolodde bannaabwe, abannyonnyozi b’amateeka nga bawakana nabo.
15 As soon as the whole crowd saw Jesus, they were astonished and ran to greet him. Amangwago ekibiina kyonna bwe kyamulaba, ne badduka ne bagenda gy’ali ne bamwaniriza.
16 He asked them, "What are you arguing about with the scribes?" Yesu n’ababuuza nti, “Kiki kye muwakana nabo?”
17 Someone in the crowd answered him, "Teacher, I brought my son to you; he has a spirit that won't let him speak. Omu ku basajja abaali mu kibiina ne yeesowolayo n’agamba nti, “Omuyigiriza, naleese wano omwana wange omuwonye. Tayinza kwogera aliko omwoyo omubi.
18 Whenever it seizes him, it throws him down. He foams at the mouth, grinds his teeth, and stiffens. I asked your disciples to drive it out, but they couldn't." Era buli lwe gumulumba gumusuula wansi, n’abimba ejjovu ku mimwa n’aluma amannyo, olwo yenna n’akakanyala. Nsabye abayigirizwa bo bagumugobeko, naye ne balemwa.”
19 He replied, "You unbelieving generation, how long must I stay with you? How long must I endure you? Bring him to me." Yesu n’agamba nti, “Mmwe, omulembe ogutakkiriza ndituusa ddi okubeera nammwe? Mbagumiikirize kutuusa ddi? Mumundeetere wano.”
20 They brought the boy to him. Seeing Jesus, the spirit instantly convulsed him; he fell to the ground, thrashing and foaming at the mouth. Ne bamumuleetera. Omwoyo bwe gwamulaba ne gusikambula omulenzi, ne gumusuula wansi, nga bwe yeevulungula nga bw’abimba n’ejjovu ku mimwa.
21 Jesus asked the boy's father, "How long has this been happening to him?" "From childhood," he said. Yesu n’abuuza kitaawe w’omwana nti, “Kino kimaze bbanga ki?” Kitaawe n’addamu nti, “Okuviira ddala mu buto.
22 "It has often thrown him into fire and water to destroy him. But if you can do anything, pity us and help us." Oluusi gumusuula mu muliro oluusi mu mazzi nga gwagala okumutta. Obanga olina ky’osobola okutukolera, tusaasire.”
23 Jesus said to him, "'If you can'? Everything is possible for the one who believes." Yesu n’amuddamu nti, “Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza.”
24 Immediately the boy's father cried, "I believe; help my unbelief!" Amangwago Kitaawe w’omwana n’ayogerera waggulu nti, “Nzikiriza, naye nnyamba okukkiriza kwange kweyogereko!”
25 Seeing a crowd running together, Jesus rebuked the unclean spirit: "Mute and deaf spirit, I command you—come out of him and never enter him again!" Yesu bwe yalaba ng’ekibiina kyeyongera obunene, n’aboggolera dayimooni nti, “Ggwe omwoyo omubi ogutayogera era omuggavu gw’amatu nkulagira muveeko, era tomuddiranga.”
26 Crying out and convulsing him hard, it came out. He looked like a corpse, so many said, "He's dead." Awo omwoyo ne guwowoggana nnyo, ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako n’aba ng’afudde, bangi ne balowooza nti afudde.
27 But Jesus took him by the hand and raised him up, and he stood. Naye Yesu n’amukwata ku mukono n’amuyimiriza.
28 When Jesus had gone indoors, his disciples asked him privately, "Why couldn't we drive it out?" Awo Yesu bwe yayingira mu nnyumba abayigirizwa be, ne bamubuuza mu kyama nti, “Lwaki ffe tetwasobodde kumugoba?”
29 He told them, "This kind can come out only by prayer." N’addamu nti, “Ogw’engeri eno teguyinza kugenda awatali kusaba.”
30 They left there and passed through Galilee. Jesus did not want anyone to know where they were, Bwe baava mu bitundu ebyo ne bayita mu Ggaliraaya. Yesu yali tayagala muntu yenna kumanya.
31 because he was teaching his disciples, telling them, "The Son of Man is being handed into human hands. They will kill him, and three days later he will rise." Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa ng’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu, ajja kuliibwamu olukwe era ajja kuweebwayo mu mikono gy’abantu abalimutta era nga wayise ennaku ssatu alizuukira.”
32 But they did not understand what he meant, and they were afraid to ask him. Wabula tebaategeera bye yayogera ate ne batya okumubuuza.
33 They came to Capernaum. In the house he asked them, "What were you arguing about on the way?" Awo ne batuuka e Kaperunawumu. Bwe baali mu nnyumba, n’ababuuza nti, “Mubadde muwakana ku ki mu kkubo?”
34 But they were silent, since they had argued along the way about who was greatest. Naye ne basirika kubanga mu kkubo baawakanira asinga ekitiibwa mu bo!
35 He sat down, called the Twelve, and told them, "Anyone who wants to be first must be last of all and servant of all." Awo bwe yatuula n’ayita ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Omuntu yenna bw’ayagala okuba oweekitiibwa okusinga banne, asaana yeetoowaze era abe omuweereza w’abalala.”
36 He took a little child, stood him among them, took the child in his arms, and said to them: N’addira omwana omuto n’amussa wakati waabwe, n’amusitula mu mikono gye n’abagamba nti,
37 "Whoever accepts one of these little children in my name accepts me; whoever accepts me accepts not me but the one who sent me." “Buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange, aba asembezezza nze. N’oyo asembeza nze aba tasembezezza nze nzekka, wabula aba asembezezza n’oyo eyantuma.”
38 John said to him, "Teacher, we saw someone driving out demons in your name and tried to stop him, since he doesn't follow us." Yokaana n’amugamba nti, “Omuyigiriza, twalaba omuntu ng’agoba baddayimooni mu linnya lyo, ne tumuziyiza kubanga tayita naffe.”
39 But Jesus said, "Don't stop him—no one who does a miracle in my name can soon speak evil of me. Naye Yesu n’amuddamu nti, “Temumuziyizanga, kubanga tewali muntu n’omu akola ebikolwa eby’amaanyi mu linnya lyange ate amangwago n’anjogerako bibi.
40 For whoever is not against us is for us. Kubanga buli atatuvuganya aba akolera wamu naffe.
41 Truly I tell you, whoever gives you a cup of water to drink because you belong to Christ will never lose his reward. Buli abawa eggiraasi y’amazzi okunywako mu linnya lyange kubanga muli bantu ba Kristo, ddala ddala mbagamba nti talirema kuweebwa mpeera.”
42 Whoever trips up one of these little ones who believe in me—better for him to have a large millstone hung around his neck and be thrown into the sea. “Na buli alyesittaza omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandisinze, kwe kumusiba ejjinja ery’olubengo olunene, n’asuulibwa mu nnyanja.
43 If your hand trips you up, cut it off. Better to enter life maimed than with two hands to go into hell, into the unquenchable fire. Obanga omukono gwo gukwesittaza, gutemeko! Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde okusinga okuba n’emikono ebiri n’olaga mu ggeyeena,
44 Not in this edition mu muliro ogutazikira.
45 If your foot trips you up, cut it off. Better to enter life lame than be thrown into hell with two feet. Era obanga ekigere kyo kikwesittaza, kitemeko; okuba omulema n’oyingira mu bulamu kisinga okuba n’ebigere ebibiri n’osuulibwa mu ggeyeena
46 Not in this edition envunyu gye zitafa mu muliro ogutazikira.
47 If your eye trips you up, throw it out. Better to enter the kingdom of our Father with one eye than be thrown into hell with two, Era obanga eriiso lyo likwesittaza, liggyeemu! Kisinga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng’oli wa liiso limu okusinga okubeera n’amaaso go gombi,
48 where 'their worm never dies and the fire never goes out.' n’osuulibwa mu ggeyeena, “envunyu gye zitafa n’omuliro gye gutazikira.
49 For everyone will be salted with fire. Buli muntu aliyisibwa mu muliro, ng’emmere bwerungibwamu omunnyo.”
50 Salt is good, but if it loses its saltiness, how can you season it again? Keep salt among yourselves, and be at peace with each other." “Omunnyo mulungi, naye bwe guggwaamu ensa, guzzibwamu gutya obuka bwagwo? Noolwekyo mube n’omunnyo mu mmwe era mubeerenga n’emirembe buli muntu ne munne.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]