Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Mark 10 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 He left there for the region of Judea and beyond the Jordan; crowds gathered to him again, and as usual he taught them once more. Awo n’agolokoka n’ava eyo n’alaga mu kitundu kya Buyudaaya okusukka emitala wa Yoludaani. Ebibiina ne bimuguberera era naye n’abayigiriza nga bwe yakolanga bulijjo.
2 Some Pharisees came to test him, asking, "Is it lawful for a man to divorce his wife?" Abamu ku Bafalisaayo ne bajja ne bamubuuza balyoke bamukwase, nga babuuza nti, “Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we?”
3 He answered them, "What did Moses command you?" Yesu n’addamu nti, “Musa yagamba atya ku nsonga eyo?”
4 They said, "Moses permitted a man to write a certificate of divorce and send her away." Ne bamuddamu nti, “Musa yawa omusajja olukusa okuwandiikira mukyala we ebbaluwa emugoba.”
5 Jesus told them, "He wrote you this command because your hearts were hard. Yesu n’abagamba nti, “Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, kyeyava abawandiikira etteeka lino.
6 But from the beginning of creation, our Father made them male and female. Naye okuva ku lubereberye yabatonda omusajja n’omukazi.
7 'For this reason a man will leave his father and mother and be joined to his wife, Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, n’agenda n’agattibwa ne mukazi we.
8 and the two will become one flesh.' So they are no longer two, but one flesh. Olwo nga tebakyali babiri, wabula nga bafuuse omubiri gumu.
9 Therefore what our Father has joined together, let no one separate." Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga.”
10 Back in the house, the disciples asked him about this again. Bwe baali mu nnyumba, abayigirizwa be, ne bongera okumubuuza ku nsonga eyo.
11 He said to them, "Whoever divorces his wife and marries another commits adultery against her, Yesu n’abagamba nti, “Omusajja bw’agobanga mukazi we n’awasa omukazi omulala, aba ayenze.
12 and if she divorces her husband and marries another, she commits adultery." N’omukazi bw’ayawukananga ne bba n’afumbirwa omusajja omulala naye aba ayenze.”
13 People were bringing children to him so that he might touch them, but the disciples rebuked them. Awo Yesu ne bamuleetera abaana abato abakwateko, naye abayigirizwa be ne bajunga abaabaleeta.
14 When Jesus saw this, he grew angry and said, "Let the children come to me; don't stop them, for the kingdom of our Father belongs to such as these. Kyokka Yesu bwe yabiraba n’anyiigira nnyo abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Abaana mubaleke bajje gye ndi, temubagaana kubanga abali nga bano, be bannannyini bwakabaka bwa Katonda.
15 Truly I tell you, whoever doesn't receive our Father's kingdom like a child will never enter it." Ddala ddala mbagamba nti omuntu yenna atakkiriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, tagenda kubuyingira n’akatono.”
16 And he took them in his arms and blessed them, laying his hands on them. Awo n’asitula abaana n’abassaako emikono gye, n’abawa omukisa.
17 As he started down the road, a man ran up, knelt before him, and asked, "Good Teacher, what must I do to inherit eternal life?" Awo Yesu bwe yali ng’atambula, omusajja n’ajja gy’ali ng’adduka, n’amufukaamirira n’amubuuza nti, “Omuyigiriza omulungi, nsaanidde kukola ki okufuna obulamu obutaggwaawo?”
18 Jesus asked, "Why call me good? No one is good except our Father alone. Yesu n’amuddamu nti, “Ompitira ki omulungi? Tewali mulungi n’omu wabula Katonda yekka.
19 You know the commandments: 'don't murder, commit adultery, steal, or give false testimony; don't defraud; honor your father and mother.'" Amateeka gano ogamanyi. ‘Tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ”
20 He said to him, "Teacher, all these I have kept since my youth." N’amuddamu nti, “Omuyigiriza, ebyo byonna simenyangako na kimu okuva mu buvubuka bwange.”
21 Jesus looked at him and loved him. "One thing you lack: go, sell everything you own, give to the poor—you'll have treasure in heaven—then come follow me." Yesu n’amutunuulira enkaliriza, n’amwagala. N’amugamba nti, “Waliwo ekintu kimu kyokka ekikubulako, era kye kino: genda otunde ebintu byonna by’olina, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”
22 At this word his face fell, and he went away grieving, for he had many possessions. Bwe yawulira ebigambo ebyo n’anyiikaala, n’agenda ng’anakuwadde, kubanga yali mugagga nnyo.
23 Jesus looked around and told his disciples, "How hard it will be for the wealthy to enter the kingdom of our Father!" Yesu n’amutunuulira ng’agenda, n’alyoka akyukira abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Nga kizibu nnyo abagagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!”
24 The disciples were amazed at his words. Jesus said to them again, "Children, how hard it is to enter the kingdom of our Father! Kino ne kibeewuunyisa nnyo. Yesu n’ayongera n’abagamba nti, “Abaana abaagalwa, nga kizibu abo abeesiga obugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!
25 A camel goes through a needle's eye easier than a rich person enters our Father's kingdom." Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”
26 They were even more astonished and said to one another, "Then who can be saved?" Ne beewuunya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Olwo kale ani ayinza okulokolebwa!”
27 Jesus looked at them and said, "With man, impossible; but not with our Father, for all things are possible with our Father." Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abaddamu nti, “Eri abantu tekiyinzika. Naye eri Katonda, buli kintu kyonna kisoboka.”
28 Peter began to say to him, "Look, we have left everything and followed you." Awo Peetero n’agamba Yesu nti, “Tweresa byonna ne tukugoberera.”
29 Jesus said, "Truly I tell you, no one has left house or brothers or sisters or mother or father or children or fields for my sake and for the gospel, Yesu n’amuddamu nti, “Njagala okubakakasiza ddala nti, Tewali muntu n’omu eyali yeeresezza ekintu kyonna, ng’amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana be, oba ettaka n’amayumba olw’okunjagala n’okubuulira Enjiri,
30 "who won't receive a hundredfold now, in this time—houses, brothers, sisters, mothers, children, fields, with persecutions—and in the age to come, eternal life. ataliddizibwawo emirundi kikumi mu mulembe guno amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, abaana, ettaka awamu n’okuyigganyizibwa! Ebyo byonna biriba bibye ku nsi kuno, ate ne mu nsi egenda okujja afunemu obulamu obutaliggwaawo.
31 But many who are first will be last, and the last first." Naye bangi aboolubereberye baliba abooluvannyuma, n’ab’oluvannyuma baliba aboolubereberye.”
32 On the road up to Jerusalem, Jesus walked ahead of them. They were amazed, and those following were afraid. Taking the twelve aside again, he began telling them what was about to happen to him: Awo bwe baali nga bali mu kkubo, nga bagenda e Yerusaalemi, Yesu ng’akulembeddemu, abayigirizwa be ne bamuvaako emabega nga bamugoberera naye nga bajjudde okutya n’okweraliikirira. Yesu n’abazza wa bbali, n’abannyonnyola byonna ebyali bijja okumutuukako nga batuuse mu Yerusaalemi.
33 "Look, we're going up to Jerusalem. The Son of Man will be handed over to the chief priests and scribes, who will condemn him to death and hand him over to the Gentiles. N’ababuulira nti, “Bwe tunaatuuka eyo, Omwana w’Omuntu aliweebwayo, atwalibwe mu maaso ga bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka. Bajja kumusalira omusango ogw’okufa era balimuwaayo eri Abamawanga bamusalire ekibonerezo eky’okufa.
34 They will mock him, spit on him, flog him, and kill him; after three days he will rise." Bajja kumuduulira bamuwandire n’amalusu bamukube embooko era bamutte, naye nga wayiseewo ennaku ssatu alizuukira.”
35 James and John, Zebedee's sons, came to him and said, "Teacher, we want you to do for us whatever we ask." Awo Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo ne bajja eri Yesu ne boogera naye mpola mu kyama nti. “Omuyigiriza, waliwo ekintu kye tukusaba otukolere.”
36 He said to them, "What do you want me to do for you?" N’ababuuza nti, “Kiki ekyo?”
37 They said to him, "Let us sit in your glory, one at your right, one at your left." Ne bamuddamu nti, “Tusaba mu bwakabaka bwo tutuule ku ntebe eziriraanye eyiyo, omu atuule ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku gwa kkono?”
38 Jesus said to them, "You don't know what you're asking. Can you drink the cup I drink, or be baptized with the baptism I'm baptized with?" Naye Yesu n’abaddamu nti, “Kye musaba temukitegeera! Musobola okunywa ku kikompe eky’okubonaabona kye ŋŋenda okunywako? Oba okubatizibwa mu kubonaabona nga bwe ŋŋenda okubatizibwa?”
39 "We can," they said. Jesus said to them, "The cup I drink, you will drink; the baptism I'm baptized with, you will be baptized with, Ne bamuddamu nti, “Tusobola.” Yesu n’abagamba nti, “Okunywa ku kikompe kyange mugenda kukinywako era mulibatizibwa ne mu kubatizibwa kwange.
40 but sitting at my right or left isn't mine to give - that's for those it's prepared for." Naye sirina buyinza kubatuuza ku ntebe eziriraanye eyange. Enteekateeka eyo yamala dda okukolebwa.”
41 Hearing this, the ten grew indignant at James and John. Abayigirizwa bali ekkumi bwe baategeera Yakobo ne Yokaana kye baasaba, ne babanyiigira nnyo.
42 Jesus called them together and said, "You know that those regarded as rulers of the Gentiles dominate them, and their great ones wield power over them. Yesu n’abayita n’abagamba nti, “Mumanyi ng’abakulembeze b’abamawanga, n’abakulu baabwe bakuluusanya abantu,
43 But it isn't so among you. Instead, whoever wants to be great among you must be your servant, naye mu mmwe si bwe kiri bwe kityo. Yenna ayagala okuba omukulembeze mu mmwe, asaanira abeerenga muweereza wa banne.
44 and whoever wants to be first among you must be slave of all. Ne buli ayagala okuba omwami mu mmwe, asaana abeere muddu wa banne bonna.
45 For even the Son of Man came not to be served, but to serve, and to give his life as a ransom for many." N’Omwana w’Omuntu, teyajja ku nsi kuweerezebwa, wabula okuweereza abalala, era n’okuwaayo obulamu bwe ng’omutango okununula abangi.”
46 They came to Jericho. As Jesus and his disciples were leaving with a large crowd, blind Bartimaeus son of Timaeus sat begging by the road. Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka mu Yeriko. Oluvannyuma bwe baali bava mu kibuga ekibiina kinene ne kibagoberera. Waaliwo omusajja omuzibe w’amaaso, erinnya lye Battimaayo (mutabani wa Timaayo) eyasabirizanga, eyali atudde ku mabbali g’oluguudo.
47 Hearing it was Jesus of Nazareth, he began to cry out, "Jesus, Son of David, have mercy on me!" Awo Battimaayo bwe yategeera nga Yesu Omunnazaaleesi ajja okuyita we yali, n’atandika okuleekaana nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!”
48 Many scolded him to be silent, but he shouted even louder, "Son of David, have mercy on me!" Abamu ku bantu abaali mu kibiina ne bamuboggolera nti, “Sirika! Totuleekaanira!” Naye ye ne yeeyongera bweyongezi okukoowoola ng’addiŋŋana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, onsaasire!”
49 Jesus stopped and said, "Call him." So they called the blind man: "Courage! Get up—he's calling you." Yesu n’ayimirira n’ayogera nti, “Mumuyite.” Ne bayita omuzibe w’amaaso nti, “Guma omwoyo, situka akuyita!”
50 Throwing off his cloak, he jumped up and came to Jesus. Battimaayo n’asuula eri ekikooti kye, n’asituka mangu n’ajja eri Yesu.
51 Jesus told him, "What do you want me to do for you?" The blind man told him, "Rabboni, let me see again." Yesu n’amubuuza nti, “Oyagala nkukolere ki?” Omuzibe w’amaaso n’addamu nti, “Ayi Omuyigiriza, njagala nsobole okulaba!”
52 Jesus told him, "Go; your faith has healed you." At once he regained his sight and followed Jesus on the road. Awo Yesu n’amugamba nti, “Ggenda, okukkiriza kwo kukuwonyezza.” Amangwago omusajja n’azibuka amaaso, n’agoberera Yesu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]