Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Mark 11 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Nearing Jerusalem, at Bethphage and Bethany by the Mount of Olives, Jesus sent two of his disciples ahead, Awo Yesu n’abayigirizwa be, bwe baali basemberedde Besufaage ne Besaniya ebiriraanye Yerusaalemi, nga batuuse ku lusozi olwa Zeyituuni, Yesu n’atuma abayigirizwa be babiri babasooke mu maaso.
2 telling them, "Go into the village ahead of you, and as soon as you enter it, you'll find a tied colt no one has ever ridden. Untie it and bring it here." N’abalagira nti, “Mugende mu kyalo ekituli mu maaso, bwe munaaba mwakakituukamu mujja kulaba omwana gw’endogoyi oguteebagalwangako nga gusibiddwa awo. Mugusumulule mugundeetere wano.
3 If anyone asks you, 'Why are you doing this?' say, 'The Lord needs it and will send it back here at once.' Era omuntu yenna bw’ababuuza gye mugutwala, mumuddamu nti, ‘Mukama waffe y’agwetaaga, era tujja kugukomyawo mangu.’ ”
4 They went and found a colt tied at a doorway outside in the street, and untied it. Abaatumibwa ne bagenda, ne balaba omwana gw’endogoyi nga guyimiridde ku luguudo, naye nga gusibiddwa ku muguwa wabweru w’ennyumba. Bwe baali bagusumulula,
5 Some of those standing there asked them, "What are you doing, untying that colt?" abamu ku bantu abaali bayimiridde awo ne bababuuza nti, “Abange, omwana gw’endogoyi, musumulula gwa ki?”
6 They answered as Jesus had told them, and the people let them go. Abayigirizwa ne baddamu nga Yesu bwe yabagamba, ne balyoka babakkiriza okugutwala.
7 They brought the colt to Jesus and threw their cloaks over it, and he sat on it. Omwana gw’endogoyi ne baguleetera Yesu. Abayigirizwa be ne baddira ebyambalo byabwe ne babyaliira ku mugongo gwayo, Yesu n’agwebagala.
8 Many spread their cloaks on the road; others spread leafy branches cut from the fields. Awo abantu bangi abaali mu kibiina ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo mwe yali agenda okuyita, abalala ne bamenya amatabi g’emiti mu nnimiro ezaali okumpi, nago ne bagaalira mu luguudo.
9 Those who went ahead and those who followed were shouting, "Hosanna! Blessed is he who comes in the name of our Father! Abaali mu maaso ge n’abaali emabega we, bonna ne baleekaanira waggulu nti: “Ozaana!” “Atenderezebwe oyo ajja mu linnya lya Mukama!”
10 Blessed is the coming kingdom of our father David! Hosanna in the highest!" “Atenderezebwe olw’okukomyawo obwakabaka bwa jjajjaffe Dawudi n’okubuwa omukisa!” “Ozaana! Ayi ali waggulu ennyo!”
11 Jesus entered Jerusalem and the temple, looked around at everything, and—since it was already late—went out to Bethany with the Twelve. Awo Yesu n’atuuka mu Yerusaalemi, n’ayingira mu Yeekaalu. N’atunula, ne yeetoolooza amaaso wonna, naye obudde bwali buyise, n’afuluma n’agenda e Besaniya n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri.
12 The next day, as they were leaving Bethany, Jesus was hungry. Enkeera bwe baali bava e Besaniya, Yesu n’alumwa enjala.
13 Seeing a leafy fig tree in the distance, he went to see if it had anything on it. Reaching it, he found nothing but leaves, since it wasn't fig season. N’alengera omutiini, nga guddugazza bulungi amalagala, n’agendayo alabe obanga anaasangako ebibala. Yagenda okugutuukako nga kuliko makoola meereere, kubanga si kye kyali ekiseera kyagwo okubaako ebibala.
14 Then he told it, "May no one ever eat fruit from you again." His disciples heard him say it. Awo Yesu n’agamba omuti nti, “Omuntu yenna alemenga okuddayo okulya ekibala kyo!” Abayigirizwa be ne bamuwulira ng’akyogera.
15 They arrived in Jerusalem, and Jesus entered the temple and began driving out the sellers and buyers there. He overturned the money-changers' tables and the seats of those selling doves, Bwe baatuuka mu Yerusaalemi n’ayingira mu Yeekaalu, n’atandika okugobamu abaali batundiramu n’abaali baguliramu, n’avuunika emmeeza z’abaali bawaanyisa ensimbi, n’avuunika n’entebe z’abatunzi b’amayiba.
16 and he would not allow anyone to carry merchandise through the temple courts. Era n’ataganya muntu kuyisa kintu kyonna.
17 And he taught them, saying, "Isn't it written: 'My house will be called a house of prayer for all the nations'? But you've made it a den of robbers." N’abayigiriza ng’agamba nti, “Tekyawandiikabwa nti, ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kusabiramu amawanga?’ Naye mmwe mugifudde mpuku y’abanyazi.”
18 The chief priests and scribes heard this and sought a way to destroy him, for they feared him, since the whole crowd was amazed at his teaching. Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka bwe baakiwulira, ne batandika okusala amagezi balabe bwe bayinza okumuzikiriza. Baali bamutya engeri ekibiina kyonna bwe kyali kyewuunya okuyigiriza kwe.
19 And when evening came, they went out of the city. Obudde bwe bwawungeera Yesu n’abayigirizwa be ne bafuluma mu kibuga.
20 In the morning, as they passed by, they saw the fig tree withered from its roots. Awo enkeera mu makya abayigirizwa be ne balaba omuti omutiini Yesu gwe yakolimira nga gukaze okuviira ddala ku kikolo!
21 Peter remembered and said to him, "Rabbi, look! The fig tree you cursed has withered." Peetero n’ajjukira n’agamba Yesu nti, “Omuyigiriza, laba omutiini gwe wakolimira gukaze!”
22 Jesus answered them, "Have faith in our Father. Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mukkiririze mu Katonda.
23 Truly I tell you, whoever tells this mountain, 'Be lifted up and thrown into the sea,' without doubting in his heart but believing what he says will happen—it will be done for him. Ddala ddala mbagamba nti buli aligamba olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ n’atabuusabuusa mu mutima gwe, naye n’aba n’okukkiriza, ky’ayogedde kirituukirira.
24 So I tell you: whatever you pray and ask for, believe you've received it - it will be yours. Noolwekyo mbagamba nti buli kye munaasabanga, mukkirize nti mukiweereddwa, era kinaabanga bwe kityo gye muli.
25 When you stand praying, forgive whatever you hold against anyone, so your Father in heaven may also forgive you your sins." Bwe mubanga mugenda okusaba musonyiwenga omuntu yenna gwe mulinako ensonga, ne Kitammwe ali mu ggulu alyoke abasonyiwe ebyonoono byammwe.
26 Not in this edition Naye bwe mutaasonyiwenga, ne Kitammwe ali mu ggulu talibasonyiwa byonoono byammwe.”
27 They returned to Jerusalem. While Jesus walked in the temple, the chief priests, scribes, and elders came to him, Yesu n’abayigirizwa be bwe baakomawo mu Yerusaalemi yali atambulatambula mu Yeekaalu, bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali
28 and asked, "By what authority are you doing this? Or who gave you this authority to do it?" ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza bino? Era ani yakuwa obuyinza okukola bino?”
29 Jesus said to them, "I'll ask you one question. Answer me, and I'll tell you by what authority I do these things. Naye Yesu n’abaddamu nti, “Bwe munaamala okunziramu ekibuuzo kyange kimu, nange n’ababuulira eyampa obuyinza obwo!
30 John's baptism—was it from heaven, or of human origin? Answer me." Okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu oba kwava eri bantu? Munziremu!”
31 They discussed it among themselves: "If we say, 'From heaven,' he'll ask, 'Then why didn't you believe him?' Ne bakubaganya ebirowoozo bokka na bokka nti, “Bwe tuddamu nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale, lwaki temwamukkiriza?’
32 But if we say, 'From humans'"—they feared the crowd, since all considered John a true prophet. Naye, ate bwe tuddamu nti, ‘Kwava eri bantu.’ ” Baali batya ekibiina ky’abantu. Kubanga buli muntu yalowooza Yokaana okuba nnabbi.
33 They answered Jesus, "We don't know." Jesus said, "Neither will I tell you by what authority I do these things." Ne baddamu Yesu nti, “Tetumanyi.” Awo Yesu n’abaddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza obunkoza ebintu ebyo gye mbuggya.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]