Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Mark 12 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 He began speaking to them in parables: "A man planted a vineyard, fenced it in, dug a winepress pit, built a watchtower, rented it to farmers, and left. Awo Yesu n’atandika okwogera nabo mu ngero, ng’agamba nti, “Waaliwo omusajja eyalima ennimiro y’emizabbibu, n’ateeka olukomera okugyetooloola, n’ateekamu essogolero, n’azimbamu n’omunaala, n’agifuniramu abalimi abaagipangisa, n’agenda olugendo.
2 At harvest time he sent a servant to the tenants to collect some of the vineyard's fruit. Ekiseera ky’amakungula bwe kyatuuka, n’abatumira omuddu okufuna ebibala okuva mu nnimiro ey’emizabbibu.
3 But they seized him, beat him, and sent him away empty-handed. Naye bwe yatuuka ku nnimiro abalimi ne bamukuba ne bamusindika n’addayo ngalo nsa.
4 Again he sent them another servant; they hit him on the head and dishonored him. Nannyini nnimiro n’atuma omuddu we omulala, oyo ne bamukuba olubale, ne bamuswaza.
5 And he sent another, and they killed him—then many more, beating some and killing others." Omubaka omulala gwe yatuma baamutta bussi, ate abalala be yazzaako okutuma, abamu baabakuba n’abalala ne babatta.
6 He had still one, a beloved son; last he sent him to them, saying, "They will respect my son." “Yali asigazzaawo omu yekka ow’okutuma, ye mutabani we omwagalwa. Bw’atyo n’amutuma gye bali ng’agamba nti, ‘Bajja kussaamu mutabani wange ekitiibwa.’
7 "But the tenants said to each other, 'This is the heir. Come, let's kill him—the inheritance will be ours.' “Naye abalimi abo ne bateesa bokka na bokka nti, Ono ye musika, mujje tumutte ebyobusika tubyesigalize!
8 So they took him and killed him and threw him out of the vineyard. Awo ne bamukwata ne bamutta omulambo gwe ne bagusuula ebweru w’ennimiro y’emizabbibu.
9 So what will the vineyard's owner do? He'll come, destroy the tenants, and give the vineyard to others. “Mulowooza nannyini nnimiro alikola atya? Agenda kujja, abalimi abo bonna abazikirize, ennimiro ye agipangiseemu abalimi abalala.
10 Have you not read this Scripture: 'The stone the builders rejected has become the cornerstone; Temusomangako byawandiikibwa nti, “ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
11 this was our Father's doing, and it is marvelous in our eyes'?" Ekyo Mukama ye yakikola era kitwewuunyisa nnyo okukiraba.’ ”
12 They wanted to arrest him but feared the crowd, knowing he'd told the parable against them. So they left him and went away. Abakulembeze b’Abayudaaya ne bamanya ng’olugero lwali lukwata ku bo, olwo ne banoonya engeri gye bayinza okumukwata, naye ne batya ekibiina. Ne bamuviira ne bagenda.
13 They sent some of the Pharisees and Herodians to trap him in his words. Ne bamuweereza abamu ku Bafalisaayo n’Abakerodiyaani boogere, bagezeeko okumutega mu bigambo.
14 They came and said to him, "Teacher, we know you're true and don't care what anyone thinks, since you don't judge by appearance but truly teach our Father's way. Is it lawful to pay taxes to Caesar, or not? Should we pay, or should we not?" Awo ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oyogera mazima era tolina gw’otya. Toffaayo ku nfaanana y’abantu, wabula amazima ameereere, era oyigiriza ekkubo lya Katonda. Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba tetugumuwa?”
15 But, knowing their hypocrisy, he said to them, "Why are you testing me? Bring me a silver coin to look at." Naye Yesu n’ategeera obunnanfuusi bwabwe n’abagamba nti, “Lwaki munkema. Mundeetere ensimbi ngirabe.”
16 They brought one, and he asked them, "Whose image and inscription is this?" They told him, "Caesar's." Ne bagimuleetera, n’ababuuza nti, “Ekifaananyi kino n’ebiwandiiko ebiri ku nsimbi kuno by’ani?” Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.”
17 Jesus told them, "Give to Caesar what's Caesar's, and to our Father what's our Father's." They were amazed at him. N’abagamba nti, “Kale ebintu bya Kayisaali mubiwenga Kayisaali n’ebya Katonda, mubiwenga Katonda!” Ne bamwewuunya nnyo.
18 And the Sadducees came to him, who say there is no resurrection. And they questioned him, saying, Awo Abasaddukaayo abagamba nti tewali kuzuukira, ne bamubuuza nti,
19 "Teacher, Moses wrote for us that if a man's brother dies leaving a wife but no child, the brother must marry her and raise up offspring for him. “Omuyigiriza, Musa yatuwa etteeka erigamba nti omusajja omufumbo bw’afanga nga tazadde baana, muganda w’omufu awasenga nnamwandu wa muganda we oyo alyoke amuzaalire abaana.
20 There were seven brothers; the first married, and when he died, left no children. Waaliwo abooluganda musanvu, mukulu waabwe n’awasa, Oluvannyuma n’afa nga tazadde baana.
21 And the second married her, and he died leaving no children. And the third likewise. Muto w’omufu kwe kuwasa nnamwandu wa mukulu we, waayitawo akabanga katono naye n’afa, nga naye tazadde mwana. Muganda w’omufu amuddako n’awasa nnamwandu oyo, naye n’atazaala.
22 And none of the seven left any children. Last of all the woman also died. Bonna omusanvu ne bafa ne baggwaawo. Oluvannyuma n’omukazi naye n’afa.
23 At the resurrection, when they rise, whose wife will she be? The seven had her as wife." Kale, mu kuzuukira kw’abafu omukazi oyo aliba muka ani, kubanga bonna yabafumbirwako?”
24 Jesus said to them, "Isn't this why you're wrong—you know neither the Scriptures nor our Father's power? Yesu n’abaddamu nti, “Ekibaleetedde okukyama bwe butamanya byawandiikibwa, n’obutategeera maanyi ga Katonda.
25 For when the dead rise, they neither marry nor are given in marriage, but are like the angels in heaven. Kubanga bwe balizuukira mu bafu tebagenda kufumbiriganwa, kubanga bonna baliba nga bamalayika bwe bali mu ggulu.
26 About the dead being raised, haven't you read in Moses' book, in the passage about the bush, how our Father told him, 'I am the God of Abraham, of Isaac, and of Jacob'? Ate ebifa ku kuzuukira kw’abafu, temusomanga mu kitabo Musa bwe yali ku kisaka Katonda n’amugamba nti, ‘Nze Katonda wa Ibulayimu era Katonda wa Isaaka era Katonda wa Yakobo?’
27 He is not God of the dead, but of the living. You are badly mistaken." Katonda si Katonda w’abafu, wabula ow’abalamu. Mukyamye nnyo.”
28 One scribe approached, heard them debate, saw Jesus answered well, and asked, "Which commandment is most important of all?" Awo omu ku bannyonnyozi b’amateeka eyali ayimiridde awo ng’awuliriza bye baali beebuuza, n’ategeera nga Yesu azzeemu bulungi. Naye n’amubuuzaayo nti, “Mu mateeka gonna, erisingamu obukulu lye liruwa?”
29 Jesus answered, "The most important is this: 'Hear, Israel: our Father is one.' Yesu n’amuddamu nti, “Ery’olubereberye lye lino nti, ‘Wulira, Isirayiri! Mukama Katonda waffe, Mukama ali omu yekka.
30 Love your Father with all your heart, with all your soul, with all your mind, with all your strength." Era yagala Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’omwoyo gwo gwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.’
31 "The second is this: 'Love your neighbor as yourself.' No commandment is greater than these." N’eryokubiri lye lino nti, ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewaliiwo mateeka malala gasinga ago bukulu.”
32 The scribe said to him, "Well said, Teacher. You've said truly that he is one, and there's no other besides him. Omunnyonnyozi w’amateeka n’agamba nti, “Omuyigiriza ekigambo ky’oyogedde kya mazima bw’ogambye nti waliwo Katonda omu yekka era teriiyo mulala.
33 Loving him with all the heart, all the understanding, all the strength, and loving one's neighbor as oneself, matters far more than all whole burnt offerings and sacrifices." Era mmanyi nga kikulu nnyo okumwagala n’omutima gwaffe gwonna, n’okutegeera kwaffe n’amaanyi gaffe, n’okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka, era ng’ekyo kikulu okusinga ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka.”
34 Seeing he answered wisely, Jesus said to him, "You are not far from the kingdom of our Father." After that, no one dared ask him any more questions. Yesu bwe yalaba ng’omusajja azzeemu n’amagezi n’amugamba nti, “Toli wala n’obwakabaka bwa Katonda.” Okuva ku ekyo ne watabaawo muntu n’omu eyayaŋŋanga okwongera okumubuuza ebibuuzo ebirala.
35 Teaching in the temple, Jesus asked, "How can the scribes say the Christ is the son of David? Bwe waayitawo akabanga, Yesu yali ayigiriza mu Yeekaalu, n’ababuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti Kristo Mwana wa Dawudi?
36 David himself said by the Holy Spirit: 'Our Father said to my Lord, "Sit at my right hand until I put your enemies under your feet."' Kubanga Mwoyo Mutukuvu bwe yali ali ku Dawudi, Dawudi yennyini yagamba ku bwa Mwoyo Mutukuvu nti, “ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti, “Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe nditeeka abalabe bo wansi w’ebigere byo.” ’
37 "David himself calls the Christ Lord. How can the Christ be David's son?" The large crowd enjoyed listening to him. Dawudi yennyini amuyita Mukama we, ayinza atya ate okuba Omwana we?” Ekibiina kyalimu abantu bangi, ne bamuwuliriza n’essanyu.
38 And in his teaching he said, "Beware of the scribes, who like walking in long robes and being greeted in the marketplaces, Awo Yesu n’ayigiriza ng’agamba nti, “Mwekuume abannyonnyozi b’amateeka, kubanga baagala nnyo okwambala ne batambulatambula mu butale ng’abantu babalamusa.
39 and to have the best seats in the synagogues and the places of honor at banquets, Baagala nnyo okutuula mu bifo ebisinga obulungi mu makuŋŋaaniro, n’okutuula mu bifo eby’ekitiibwa ku mbaga.
40 who devour widows' houses and make long prayers just for show. These will receive the greater condemnation." Kyokka, banyagako bannamwandu ebintu byabwe, ne beeraga nga basaba esaala empanvu ennyo. Ekibonerezo kyabwe kyekiriva kibeera ekinene ddala.”
41 Sitting across from the treasury, he watched the crowd drop coins in; many rich people dropped in large sums. Awo Yesu bwe yatuula okwolekera eggwanika ly’ensimbi, n’alaba engeri ekibiina ky’abantu gye bateekamu ensimbi mu ggwanika. Abagagga bangi baali bateekamu ensimbi nnyingi.
42 And a poor widow came and put in two small copper coins, worth a penny. Awo nnamwandu eyali omwavu n’ajja n’ateekamu ebitundu bibiri, ye kodulante.
43 Calling his disciples, he said, "Truly, I tell you, this poor widow put in more than all who put into the offering box. Yesu n’ayita abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu awaddeyo nnyo okusinga bonna bali abatadde mu ggwanika.
44 For they all gave from their surplus, but she gave from her poverty—all she had, her whole livelihood." Kubanga bonna bataddemu ku bibafikkiridde, naye ate nnamwandu ono mu kwetaaga kwe ataddemu kyonna ky’abadde nakyo, ekibadde kijja okumuyamba obulamu bwe bwonna.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]