Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Mark 13 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Leaving the temple, one of his disciples said to him, "Teacher, look! What huge stones, what magnificent buildings!" Awo Yesu bwe yali ng’ava mu Yeekaalu omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, “Omuyigiriza, laba, amayinja ago, n’ebizimbe ebyo.”
2 Jesus said to him, "Do you see these great buildings? Not one stone will remain here on another; all will be torn down." Yesu n’amuddamu nti, “Ebizembe ebyo eby’ekitalo obiraba? Ne bwe kiriba ki tewaliba jjinja na limu wano eririsigala ku linnaalyo.”
3 As he sat on the Mount of Olives facing the temple, Peter, James, John, and Andrew asked him privately, Awo Yesu bwe yali ng’atudde awo ku lusozi olwa Zeyituuni, okwolekera yeekaalu, Peetero ne Yakobo ne Yokaana ne Andereya ne bamubuuza mu kyama, ne bamubuuza nti,
4 tell us, when will these things happen, and what sign shows all this is about to be fulfilled? “Tutegeeze, ebintu byonna we birituukirira, era n’akabonero akalibaawo ng’ebyo byonna bigenda okutuukirira.”
5 Jesus began to tell them: "Watch out that no one deceives you. Yesu n’abagamba nti, “Mwekuume omuntu yenna tababuzaabuzanga.
6 Many will come in my name, claiming, 'I am he,' and they will deceive many. Bangi abalijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo,’ era balibuzaabuza bangi.
7 When you hear of wars and rumors of wars, don't be troubled—these must happen, but the end isn't yet. Naye bwe muliwulira entalo, n’eŋŋambo ez’entalo, temutyanga. Kyetaaga ebyo byonna okubaawo naye enkomerero eriba tennatuuka.
8 Nation will rise against nation, kingdom against kingdom, earthquakes in various places, famines—these are the beginning of birth pains. Kubanga amawanga galirwanagana, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka, era musisi aliyita mu bifo bingi, n’enjala nnyingi erigwa. Okulumwa ng’okw’okuzaala kuliba kutandika butandisi.”
9 Watch yourselves. They'll hand you to councils and beat you in synagogues. Because of me you'll stand before governors and kings, as a testimony to them. “Mwekuume mmwe. Balibawaayo mu mbuga z’amateeka ne mu makuŋŋaaniro, mulikubibwa, muliyimirira mu maaso ga bakabaka ne bagavana. Muliyimirira ku lwange, okubeera abajulirwa gye bali.
10 And the gospel must first be proclaimed to all nations. Era Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonna.
11 When they arrest and hand you over, don't worry beforehand what to say. Say whatever you're given in that hour—it's not you speaking, but the Holy Spirit. Bwe balibakwata ne babawaayo, temweraliikiriranga kya kuwoza. Kye munaaweebwanga okwogera mu kiseera ekyo kye munaayogeranga kubanga si mmwe muliba mwogera wabula Mwoyo Mutukuvu y’aliba ayogerera mu mmwe.”
12 Brother will betray brother to death, father his child. Children will rise against parents and have them put to death. “Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa, ne kitaawe w’omwana aliwaayo omwana we. Abaana balijeemera bazadde baabwe ne babatta.
13 All will hate you for my name, but whoever endures to the end will be saved. Mulikyayibwa abantu bonna, olw’erinnya lyange, naye oyo aligumiikiriza okutuusa ku nkomerero y’alirokolebwa.”
14 When you see the abomination of desolation standing where it should not be (reader, take note), those in Judea must flee to the mountains. “Bwe mulabanga ekintu eky’omuzizo ekizikiriza, nga kiyimiridde mu kifo we kitasaanira (asoma bino, weetegereze) abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi.
15 Let no one on the housetop go down or enter the house to take anything out. N’oyo alibeera waggulu ku nnyumba takkanga wadde okuyingira okubaako ky’atwala okuva mu nnyumba ye.
16 Let no one in the field go back to get their coat. N’oyo alibeera mu nnimiro, taddanga kutwala bintu bye, wadde okukima yo olugoye lwe.
17 How dreadful it will be in those days for pregnant women and nursing mothers! Naye ziribasanga abaliba embuto n’abaliba bayonsa mu nnaku ezo.
18 Pray that it will not happen in winter, Naye musabe ekiseera ekyo kireme kuba kya butiti.
19 for those days will bring suffering unmatched since our Father created the world until now—and never to be matched again. Kubanga ekiseera ekyo kiriba kya kubonyaabonyezebwa okutabeerangawo kasookedde Katonda atonda eggulu n’ensi, n’okutuusa kaakano n’emirembe egigenda okujja.
20 Had the Sovereign not shortened those days, no one would survive; but the Sovereign shortened them for the elect he chose. “Era singa Mukama teyakendeeza ku nnaku ezo, tewandiwonyeewo muntu yenna, naye olw’abalonde be, ennaku ezo yazikendeezaako.
21 Then if anyone tells you, 'Look, here is the Christ!' or 'Look, there!' don't believe it. Era omuntu yenna singa abagamba nti, ‘Mulabe, Kristo wuuli,’ temumukkirizanga.
22 False christs and false prophets will appear, performing signs and wonders to deceive the elect, if possible. Kubanga bakristo ab’obulimba balijja, ne bannabbi ab’obulimba nabo balijja ne bakola eby’amagero n’ebyewuunyo, nga bagenderera okulimba n’abalonde ba Katonda.
23 So be on your guard; I have told you everything ahead of time. Naye mwekuume! Kubanga mbalabudde ng’ebintu bino byonna tebinnabaawo.
24 But in those days, after that suffering, the sun will darken, and the moon will not give its light; “Ennaku ez’entiisa eyo nga ziweddeko, “ ‘enjuba eriggyako ekizikiza, era n’omwezi teguliyaka,
25 the stars will fall from the sky, and the powers in the heavens will be shaken. era, emmunyeenye zirikunkumuka, n’aboobuyinza ab’omu bbanga balikankana.’ ”
26 Then they will see the Son of Man coming in clouds with great power and glory. “Olwo muliraba Omwana w’Omuntu ng’ajjira ku bire n’amaanyi mangi n’ekitiibwa kinene,
27 He will send his angels and gather his chosen from the four winds, from earth's ends to heaven's ends. Era alituma bamalayika okukuŋŋaanya abalonde be okuva eri empewo ennya, n’okuva ensalo z’ensi gye zikoma okutuuka ensalo z’eggulu gye zikoma.”
28 Learn this from the fig tree: once its branch softens and leaves sprout, you know summer is near. “Muyigire ku lugero lw’omutiini. Amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera, nga mumanya nti ebiseera eby’ebbugumu binaatera okutuuka.
29 So also, when you see these things happening, know it's near, at the door. Noolwekyo nammwe bwe muliraba ebintu ebyo nga bibaawo, nga mumanya nti ekiseera kiri kumpi, era kisemberedde ddala ku luggi.
30 Truly I tell you, this generation will certainly not pass away until all these things have happened. Ddala ddala mbagamba nti omulembe guno tegugenda kuggwaako okutuusa ng’ebintu byonna bimaze okubaawo.
31 Heaven and earth will pass away, but my words will never pass away. Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange biribeerera emirembe n’emirembe.”
32 But no one knows that day or hour—not the angels in heaven, not the Son, only the Father. “Naye eby’olunaku olwo oba essaawa tewali n’omu abimanyi, newaakubadde bamalayika mu ggulu wadde Omwana, okuggyako Kitaffe.
33 Be on guard! Stay alert! For you do not know when that time will come. Mwekuume, mutunule kubanga temumanyi kiseera we kirituukira.
34 Like a man on a journey: he leaves his house, gives his servants authority—each his own task—and orders the doorkeeper to stay alert. Ng’omusajja eyatambula olugendo n’ategekera abaddu be, buli omu n’amuwa obuyinza ng’omulimu gwe bwe guli, n’alagira omuggazi w’oluggi atunule alindirire.”
35 So stay alert, since you don't know when the master of the house comes—evening, midnight, rooster's crow, or dawn. “Noolwekyo mubeere beetegefu kubanga temumanyi ssemaka wakomerawo oba kawungeezi, oba mu ttumbi, oba ng’enkoko zikookolima, oba ng’obudde bukya,
36 Otherwise, if he comes suddenly, he may find you sleeping. si kulwa ng’akomawo nga temumanyiridde, n’abasanga nga mwebase.
37 What I say to you, I say to everyone: Keep watch!" Kye mbagamba mmwe, kye ŋŋamba buli muntu, mwekuume.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]