1Two days before Passover and Unleavened Bread, the chief priests and scribes were looking for a way to seize Jesus by trickery and kill him.OLCBEmbaga ey’Okuyitako, kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, yali ebuzaayo ennaku bbiri etuuke. Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka ne basala olukwe engeri gye banaakwata Yesu bamutte.
2For they said, "Not during the feast, or the people might riot."OLCBNe bagamba nti, “Si mu kiseera ky’embaga y’Okuyitako, kubanga abantu bayinza okuleetawo akeegugungo.”
3While he was in Bethany, in Simon the leper's house, reclining at the table, a woman came with an alabaster flask of pure nard perfume, very costly. She broke the flask and poured it on his head.OLCBMu kiseera ekyo Yesu ng’ali Besaniya mu nnyumba y’omusajja eyali amanyiddwa nga Simooni Omugenge, ng’atudde, omukazi n’ayingira ng’alina eccupa, eyalimu amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi. N’ayasa eccupa n’asiiga amafuta ku mutwe gwa Yesu.
4There were some who said to themselves indignantly, "Why was this perfume wasted like that?OLCBAbamu ku abo abaaliwo ne basunguwalira nnyo ekikolwa ekyo, nga beebuuza nti, “Amafuta ago gafudde ki?
5For this perfume could have sold for over 300 denarii and given to the poor." And they scolded her.OLCBWakiri singa gatundiddwa dinaali ezisukka mu bikumi ebisatu, ne ziweebwa abaavu!” Ne bamwemulugunyiza.
6But Jesus said, "Leave her alone. Why trouble her? She has done a beautiful thing for me.OLCBNaye Yesu n’abagamba nti, “Omukazi mumuleke. Lwaki mumuteganya? Ankoledde ekikolwa kirungi.
7For the poor are always with you, and you can do good for them whenever you want; but you won't always have me.OLCBAbaavu muli nabo bulijjo, era muyinza okubakolera obulungi buli we mwagalidde, naye Nze sijja kubeera nammwe bulijjo.
8She has done what she could; she has anointed my body beforehand for burial.OLCBAkoze ky’asobola, omubiri gwange agusiigiddewo amafuta ag’akaloosa nga bukyali, ng’aguteekateeka okuziikibwa.
9Truly, I tell you, wherever the gospel is preached worldwide, what she did will be told in memory of her."OLCBDdala ddala mbagamba nti buli kifo kyonna Enjiri gy’eneebuulirwanga mu nsi yonna, ekikolwa ky’omukazi ono kinajjukirwanga era kinaayongerwangako okumujjukiranga.”
10Then Judas Iscariot, one of the twelve, went to the chief priests to betray Jesus to them.OLCBAwo Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu ekkumi n’ababiri, n’agenda eri bakabona abakulu alabe bw’anaalyamu Yesu olukwe amubawe.
11Hearing this, they were glad and promised him money. So he looked for a chance to betray Jesus.OLCBBakabona abakulu bwe baakiwulira ne basanyuka nnyo, ne bamusuubiza okumuwa ensimbi. Bw’atyo Yuda n’atandika okunoonyereza engeri entuufu w’anaaweerayo Yesu.
12On the first day of Unleavened Bread, when they sacrificed the Passover lamb, his disciples asked him, "Where do you want us to go and prepare for you to eat the Passover?"OLCBAwo ku lunaku olusooka olw’embaga y’Abayudaaya kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, nga bawaayo omwana gw’endiga ogw’Okuyitako nga ssaddaaka, abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Oyagala tukutegekere wa gy’onooliira Embaga ey’Okuyitako.”
13He sent two of his disciples, "Go into the city; a man carrying a jar of water will meet you. Follow him,OLCBN’atuma babiri ku bayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mugende mu kibuga munaasanga omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi, mumugoberere.
14and wherever he enters, tell the house's owner, 'The Teacher says: Where is my guest room, where I may eat the Passover with my disciples?'OLCBMuyingire mu nnyumba mw’anaayingira, mubuuze nnyinimu nti, ‘Ekisenge nze n’abayigirizwa bange mwe tunaalira Embaga ey’Okuyitako kiri ludda wa?’
15And he will show you a large upper room furnished and ready; there prepare for us."OLCBAjja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu, ekiwedde okulongoosa n’okutegeka. Muteekereteekere omwo ekijjulo kyaffe.”
16The disciples left, went to the city, found things as he had told them, and prepared the Passover.OLCBAwo abayigirizwa ababiri ne bagenda mu kibuga, ne basanga byonna nga Yesu bwe yabibagamba, ne bateekateeka Okuyitako.
17And when it was evening, Jesus came with the twelve.OLCBObudde bwe bwawungeera n’atuuka n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri.
18While they reclined and ate, Jesus said, "Truly, I tell you, one of you will betray me, one eating with me."OLCBBwe baali batudde nga balya, Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe.”
19They began to grieve and ask him, one by one, "Is it I?"OLCBEnnaku n’ebakwata nnyo, ne batandika okumubuuza kinnoomu nti, “Ddala ye nze?”
20He said to them, "One of the twelve, dipping bread with me into the dish.OLCBN’abagamba nti, “Omu ku mmwe ekkumi n’ababiri, akoza nange mu kibya.
21The Son of Man goes as the Scriptures said about him, but how terrible for that man who betrays him—better if he had never been born."OLCBOmwana w’Omuntu agenda ng’Ebyawandiikibwa bwe biri. Naye zimusanze alya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalibwa.”
22As they ate, he took bread, blessed it, broke it, gave it to them, and said, "Take; this is my body."OLCBAwo bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati, ne yeebaza, n’agumenyaamenyamu, n’agabira abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mutoole mulye, guno gwe mubiri gwange.”
23He took a cup, gave thanks, gave it to them, and they all drank from it.OLCBAte n’addira ekikompe ne yeebaza n’akibawa; bonna ne banywa.
24He said to them, "This is my blood of the covenant, poured out for many.OLCBN’abagamba nti, “Guno musaayi gwange ogw’endagaano, oguyiika ku lw’abangi.
25Truly I tell you, I will not drink wine again until that day when I drink it new in the kingdom of our Father."OLCBDdala ddala mbagamba nti sigenda kuddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa ku lunaku luli lwe ndikinywa nga kisingawo obulungi mu bwakabaka bwa Katonda.”
26And when they had sung a hymn, they went out to the Mount of Olives.OLCBAwo ne bayimbayo oluyimba, ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.
27Jesus said to them, "You will all stumble, for it's written: 'I will strike the shepherd, and the sheep will be scattered.'OLCBYesu n’abagamba nti, “Buli omu ku mmwe ajja kunjabulira, kubanga kyawandiikibwa nti, “ ‘Ndikuba omusumba, endiga ne zisaasaana.’
28But after I am raised up, I will go ahead of you to Galilee."OLCBNaye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.”
29Peter said to him, "Even though they all fall away, I will not."OLCBPeetero n’amugamba nti, “Abalala bonna ne bwe banaakwabulira, nze siikwabulire!”
30Jesus said to him, "Truly I tell you, today, this night, before the rooster crows twice, you will deny me three times."OLCBYesu n’amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti ekiro kya leero, enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, onooneegaana emirundi esatu.”
31But he insisted, "Even if I must die with you, I will never deny you." They all said the same.OLCBPeetero n’akiggumiza nnyo ng’agamba nti, “Oba kufiira wamu naawe n’afa, naye sijja kukwegaana n’akamu kokka.” N’abalala bonna ne beerayirira bwe batyo.
32They arrived at a place called Gethsemane, and he told his disciples, "Sit here while I pray."OLCBAwo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, n’agamba abayigirizwa be nti, “Mugira mutuula wano, ŋŋende nsabe.”
33He took Peter, James, and John, and began to feel deep distress and anguish.OLCBN’atwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana; n’atandika okweraliikirira n’okuteganyizibwa mu mutima.
34He said to them, "My soul is crushed with grief, to death. Stay here and stay alert."OLCBN’abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi nnyo zaagala na kunzita, kale mubeere wano mukuume.”
35Going a little farther, he fell to the ground and prayed that, if possible, the hour would pass from him.OLCBNe yeeyongerako mu maaso katono, n’agwa wansi n’asaba obanga kisoboka, essaawa eyo, ereme kutuuka.
36He said, "Abba, Father, all things are possible for you. Take this cup from me—but let it be your will, not mine."OLCBN’asaba nti, “Aba, Kitange, ebintu byonna bisoboka gy’oli. Nzigyako ekikompe kino. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”
37He returned, found them asleep, and said to Peter, "Simon, are you asleep? Couldn't you stay awake one hour?OLCBN’akomawo gye bali, n’abasanga nga beebase. N’agamba Peetero nti, “Simooni! Weebase? Tosobodde kutunulako nange wadde essaawa emu?
38Watch and pray, so you don't fall into temptation. The spirit is willing, but the flesh is weak."OLCBMutunule musabe, muleme kukemebwa. Omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.”
39And again he went away and prayed, saying the same words.OLCBAte n’abaleka awo n’addayo, n’asaba ebigambo bye bimu na biri bye yasaba olubereberye.
40Again he found them sleeping, eyes heavy, not knowing how to answer him.OLCBN’akomawo we bali, n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambira. Ne batamanya kya kumuddamu.
41He came a third time and said, "Still sleeping and resting? Enough—the hour has come. Look, the Son of Man is handed over into the hands of sinners.OLCBBwe yadda gye bali omulundi ogwokusatu n’abagamba nti, “Kale mwebakire ddala. Kinaamala, laba ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu aweebweyo mu mikono gy’abalina ebibi.
42Rise, let us be going; see, my betrayer is here."OLCBMusituke! Tugende, laba andyamu olukwe anaatera okutuuka.”
43While he was still speaking, Judas—one of the twelve—arrived, and with him a crowd with swords and clubs from the chief priests, scribes, and elders.OLCBYesu yali akyayogera, amangwago Yuda (omu ku batume be ekkumi n’ababiri) n’ajja ng’ali n’ekibiina kinene, ekyava ewa bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, nga balina ebitala era nga bakutte emiggo.
44His betrayer had given them a signal: "The one I kiss is him—seize him and take him away securely."OLCBYuda yali abagambye nti, “Gwe nnanywegera, ye wuuyo mumukwate, mumutwale nga mumunywezezza.”
45He came up to Jesus at once, said, "Rabbi!" and kissed him.OLCBAwo baali baakatuuka Yuda n’alaga eri Yesu, bwe yamutuukako n’agamba nti, “Omuyigiriza!” N’amugwa mu kifuba.
46And they laid hands on him and seized him.OLCBNe bavumbagira Yesu ne bamukwata, ne bamunyweza.
47One of the bystanders drew his sword, struck the high priest's servant, and cut off his ear.OLCBNaye omu ku baali bayimiridde awo n’asowolayo ekitala n’asalako okutu kw’omuddu wa Kabona Asinga Obukulu.
48Jesus said to them, "Have you come out with swords and clubs to seize me, like a robber?OLCBYesu n’ababuuza nti, “Lwaki munzijjidde ng’omumenyi w’amateeka, n’ebitala n’emiggo okunkwata?
49Every day I was with you in the temple teaching, and you didn't arrest me. But let the Scriptures be fulfilled."OLCBMbadde nammwe ennaku nnyingi mu yeekaalu nga njigiriza, naye temwankwata. Naye kino kikoleddwa ebyawandiikibwa bituukirire.”
50And they all left him and fled.OLCBBonna ne bamwabulira ne badduka.
51And a young man followed him, wearing nothing but a linen cloth. And they seized the young man,OLCBNaye waaliwo omulenzi omuvubuka eyali agoberera ng’avaako ennyuma, nga yeebikkiridde olugoye, lumu lwokka, ne baagezaako okumukwata,
52but he left the linen cloth and ran away naked.OLCBn’abeesumattulako, ne basigaza olugoye n’adduka bwereere.
53They led Jesus to the high priest, and all the chief priests and elders and scribes gathered.OLCBAwo Yesu n’atwalibwa eri Kabona Asinga Obukulu, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya n’abannyonnyozi b’amateeka.
54Peter had followed at a distance, all the way into the high priest's courtyard, and sat with the guards, warming himself by the fire.OLCBPeetero n’agoberera nga yeesuddeko akabanga, n’ayita mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu, n’atuula ku kyoto n’abaweereza we baali bootera omuliro.
55The chief priests and the whole council sought testimony against Jesus to put him to death, but found none.OLCBBakabona abakulu, n’Abasaddukaayo bonna, baali banoonya obujulizi kwe banaasinziira okutta Yesu, naye ne bubabula.
56For many gave false testimony against him, but their testimony did not agree.OLCBBangi baayogera eby’obulimba ku ye, naye obujulizi bwabwe nga bukoonagana bukoonaganyi.
57And some stood up and gave false testimony against him, saying,OLCBAbamu ku bo ne bamuwaayiriza nga bagamba nti,
58"We heard him say, 'I will destroy this temple made by hands, and in three days build another not made by hands.'"OLCB“Twamuwulira ng’ayogera nti, ‘Ndizikiriza Yeekaalu eno eyazimbibwa n’emikono gy’abantu, naye oluvannyuma lw’ennaku ssatu ndizzaawo endala etazimbiddwa na mikono gy’abantu.’ ”
59Yet even about this their testimony did not agree.OLCBNaye era n’olwo ebigambo byabwe tebyatereera bulungi.
60The high priest stood up in the midst and asked Jesus, "You have no answer? What are these men testifying against you?"OLCBAwo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira, n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino bye bakwogerako?”
61He stayed silent, answered nothing. Again the high priest asked him, "Are you the Christ, the Son of the Blessed?"OLCBYesu n’atamuddamu kintu. Ate Kabona Asinga Obukulu n’amubuuza nti, “Ggwe Kristo, Omwana w’oyo atenderezebwa?”
62Jesus said, "I AM, and you will see the Son of Man seated at the right hand of the Mighty One and coming with heaven's clouds."OLCBYesu n’addamu nti, “Ye Nze, era mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna, ng’akomawo mu bire eby’eggulu.”
63And the high priest tore his clothes and said, "What further witnesses do we need?OLCBAwo Kabona Asinga Obukulu n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Ate twetaagira ki abajulizi?
64You have heard his blasphemy. What is your decision?" And they all condemned him as deserving death.OLCBMuwulidde obuvvoozi. Musala mutya omusango guno?” Bonna ne bamusalira gwa kufa.
65Some began spitting on him, covering his face, and punching him, saying to him, "Prophesy!" Then the guards slapped him.OLCBAbamu ne batandika okumuwandulira amalusu, ne bamusiba kantuntunu ku maaso, ne bamukuba empi mu maaso, nga bwe bamuduulira nga bagamba nti, “Lagula.” N’abaserikale nabo ne bamukuba ebikonde nga bamufulumya.
66While Peter was below in the courtyard, one of the high priest's servant girls came,OLCBPeetero yali ali wabweru mu luggya, omu ku bawala abaweereza ba Kabona Asinga Obukulu n’ajja.
67seeing Peter warming himself, she looked at him and said, "You too were with the Nazarene, Jesus."OLCBBwe yalaba Peetero n’amwetegereza ng’ayota omuliro, n’amugamba nti, “Ggwe, wali ne Yesu, Omunnazaaleesi.”
68But he denied it: "I don't know or understand what you mean." Then he went out to the entrance, and a rooster crowed.OLCBPeetero ne yeegaana ng’agamba nti, “Simanyi wadde okutegeera by’oyogerako!” N’afuluma n’alaga ebweru mu kisasi, enkoko n’ekookolima.
69The servant girl saw him and again told the bystanders, "This man is one of them."OLCBOmuwala oli n’alengera Peetero, n’ategeeza banne abaali bayimiridde awo nti, “Ono ali omu ku bo.”
70But he denied it again. A little later the bystanders again told Peter, "You truly are one of them, for you're a Galilean."OLCBPeetero n’ayongera okwegaana. Bwe waayitawo akabanga, abantu abalala abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga oli Mugaliraaya!”
71He began to call down curses on himself and swear, "I don't know this man you're talking about."OLCBPeetero n’atandika, okukolima n’okulayira nga bw’agamba nti, “Omusajja ono gwe mwogerako, simumanyi.”
72At once a rooster crowed a second time. Peter remembered Jesus' words: "Before the rooster crows twice, you will deny me three times." He broke down and wept.OLCBAmangwago enkoko n’ekookolima omulundi ogwokubiri, Peetero n’ajjukira ebigambo Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, onoonneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero n’atulika n’akaaba amaziga.