Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Mark 15 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 At dawn the chief priests, elders, scribes, and the whole council consulted together, bound Jesus, led him away, and handed him over to Pilate. Amangwago mu makya olukiiko lwa bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka lwe Lukiiko Olukulu lwonna, ne bakuŋŋaana ne basiba Yesu, ne bamuweereza ewa Piraato.
2 Pilate asked him, "Are you the King of the Jews?" "You say so," Jesus replied. Piraato n’abuuza Yesu nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Oyogedde.”
3 The chief priests kept accusing him of many things. Awo bakabona abakulu ne bamulumiriza ebintu bingi.
4 So Pilate questioned him again: "Have you no answer? See how many charges they bring against you." Naye Piraato n’addamu n’amubuuza nti, “Lwaki toliiko ky’oddamu? Laba bakulumiriza ebintu bingi.”
5 But Jesus said nothing more, and Pilate was amazed. Naye Yesu n’asirika busirisi, era Piraato n’amwewuunya nnyo.
6 Now at the festival, Pilate used to release one prisoner for them—whoever they asked for. Ku buli mbaga, Piraato yabateeranga omusibe omu gwe baabanga bamusabye.
7 A man called Barabbas was in prison with the rebels who had committed murder during the uprising. Omu ku basibe mu kiseera ekyo yali ayitibwa Balaba, eyali asibiddwa ne bajeemu banne olw’okutta abantu nga bakola obwegugungo.
8 The crowd came up and began asking Pilate to do for them what he always did. Awo Piraato n’agenda eri ekibiina n’ababuuza nga bwe yateranga okukola.
9 "Do you want me to release for you the King of the Jews?" Pilate answered, N’ababuuza nti, “Mwandyagadde mbasumululire kabaka w’Abayudaaya?”
10 for he knew it was out of envy that the chief priests had handed him over. Kubanga yamanya nga bakabona abakulu bamuwaddeyo lwa buggya.
11 But the chief priests stirred up the crowd to have him release Barabbas for them instead. Naye bakabona abakulu ne bafukuutirira ekibiina babateere Balaba sso ssi Yesu.
12 "So what do you want me to do with the one you call King of the Jews?" Pilate asked them again. Naye Piraato n’addamu n’ababuuza nti, “Omuntu ono gwe muyita kabaka w’Abayudaaya mwandyagadde mmukole ntya?”
13 Crucify him!" they shouted back. Ne bawowoggana nti, “Mukomerere!”
14 "Why? What evil has he done?" Pilate asked. But they shouted all the louder, "Crucify him!" Piraato n’ababuuza nti, “Lwaki? Azziza musango ki?” Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Mukomerere.”
15 To satisfy the crowd, Pilate released Barabbas to them. He had Jesus flogged, and handed him over to be crucified. Awo Piraato okusanyusa ekibiina, n’abasumululira Balaba. N’awaayo Yesu akomererwe ng’amaze okumukuba.
16 Soldiers led him away into the palace (the governor's headquarters) and called together the whole company of soldiers. Awo Abaserikale ne batwala Yesu mu luggya lw’olubiri, oluyitibwa Pulayitoliyo, ne bayita bannaabwe bonna abakuuma olubiri, ne bakuŋŋaana.
17 They dressed him in purple, twisted together a crown of thorns, and set it on him. Ne bamwambaza ekyambalo ekya ffulungu, ne bakola engule mu maggwa ne bagissa ku mutwe gwe.
18 And they began to salute him: "Hail, King of the Jews!" Ne balyoka bamulamusa nga bwe bagamba nti, “Mirembe! Kabaka w’Abayudaaya!”
19 They kept beating his head with a staff, spat on him, and knelt in mock homage to him. Ne bamukuba omuggo ku mutwe, ne bamuwandulira amalusu, ne bamufukaamirira nga bwe bamuvuunamira.
20 After mocking him, they stripped off the purple and put his own clothes on him, then led him out to crucify him. Bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu ekyambalo ekya ffulungu ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala okumukomerera.
21 They forced a passerby coming from the countryside—Simon of Cyrene, father of Alexander and Rufus—to carry his cross. Bwe baali bagenda ne basanga omusajja erinnya lye Simooni ow’e Kuleene, kitaawe wa Alegezanda ne Luufo eyali ava mu kyalo, ne bamuwaliriza yeetikke omusaalaba gwa Yesu.
22 They brought Jesus to the place called Golgotha (which means Place of a Skull). Awo ne batwala Yesu ne bamutuusa mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu gaakyo nti Ekifo ky’Ekiwanga.
23 They offered him wine mixed with myrrh, but he did not take it. Ne baddira wayini atabuddwamu envumbo ne bamuwa anyweko, naye n’amugaana.
24 They crucified him. They divided his clothes among them, casting lots for what each would get. Awo ne bamukomerera ku musaalaba. Ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.
25 It was nine in the morning when they crucified him. Baamukomerera ku ssaawa ssatu ez’enkya.
26 The written notice of the charge against him read: THE KING OF THE JEWS. Ne batimba ekipande waggulu w’omutwe gwa Yesu, okwawandiikibwa nti, “Kabaka w’Abayudaaya.”
27 They crucified two rebels with him, one on his right and one on his left. Waaliwo abanyazi babiri abaakomererwa awamu naye, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, n’omulala ku kkono.
28 Not in this edition Bwe kityo Ekyawandiikibwa ne kituukirira ekigamba nti, “Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka.”
29 Those passing by insulted him, shaking their heads, saying, "Ha! You who tear down the temple and build it in three days, Awo abaali bayitawo, ne bakoteka ku mitwe gyabwe nga bamuduulira, nga bwe bagamba nti, “Mumulaba! Wagamba okumenya Yeekaalu n’okugizimbira ennaku ssatu,
30 save yourself and come down from the cross!" weerokole, okke wansi okuva ku musaalaba.”
31 Likewise the chief priests and scribes mocked him among themselves: "He saved others; himself he can't save. Bakabona abakulu n’abawandiisi nabo baali bayimiridde awo nga baduulira Yesu, nga bagamba nti, “Yalokola balala, naye ye tasobola kwerokola!
32 Let the Christ, King of Israel, come down from the cross now, so we can see and believe." Those crucified with him also insulted him. Ggwe! Kristo, Kabaka wa Isirayiri! Kale kka ove ku musaalaba naffe tunaakukkiriza!” N’abanyazi ababiri abaakomererwa naye, nabo ne bamuvuma.
33 At noon, darkness came over the whole land until three in the afternoon. Okuva ku ssaawa mukaaga ez’omu ttuntu okutuukira ddala ku ssaawa mwenda ez’olweggulo, ekizikiza ne kikwata ensi yonna.
34 At three in the afternoon Jesus cried out loudly, "Eloi, Eloi, lema sabachthani?" meaning, "My God, my God, why have you forsaken me?" Awo Yesu n’akoowoola n’eddoboozi eddene nti, “Eroi, Eroi, lama, sabakusaani?” Amakulu nti, “Katonda wange, Katonda wange, Lwaki onjabulidde?”
35 When some of those standing nearby heard this, they said, "Listen, he's calling Elijah." Abamu ku bantu abaali bayimiridde awo bwe baamuwulira ne bagamba nti, “Ayita Eriya.”
36 One ran, filled a sponge with sour wine, put it on a reed, and gave him a drink. "Let him be," he said, "let's see if Elijah comes to take him down." Awo ne wabaawo eyadduka n’addira ekyangwe n’akijjuza wayini omukaatuufu, n’akisonseka ku luti, n’akiwanika eri Yesu anyweko, nga bw’agamba nti, “Mumuleke, ka tulabe obanga Eriya anajja n’amuwannulayo!”
37 With a loud cry, Jesus breathed his last. Awo Yesu n’akoowoola n’eddoboozi ddene, n’awaayo obulamu bwe.
38 And the curtain of the temple was torn in two from top to bottom. Eggigi ery’omu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri okuviira ddala waggulu okutuuka wansi.
39 The centurion facing Jesus saw how he breathed his last and said, "Truly this man was the Son of God." Omuserikale Omuruumi eyakuliranga ekibinja ky’abaserikale ekikumi eyali ayimiridde okwolekera omusaalaba gwa Yesu, bwe yalaba enfa gye yafaamu, n’agamba nti, “Ddala ddala, omusajja ono abadde Mwana wa Katonda!”
40 Women were also watching from a distance, including Mary Magdalene, Mary the mother of James the younger and Joses, and Salome. Waaliwo abakazi abaali bayimiridde awo nga beesuddeko akabanga nga balengera, okwali Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo omuto ne Yose.
41 These women had followed him in Galilee and served him; many others who came up with him to Jerusalem were also there. Abo baayitanga naye mu Ggaliraaya era nga bamuweereza, n’abalala bangi abajja naye e Yerusaalemi.
42 Evening had come, and since it was Preparation Day—the day before the Sabbath. Awo bwe bwawungeera, kubanga lunaku lwa kuteekateeka, olunaku olukulembera Ssabbiiti,
43 Joseph of Arimathea, a prominent council member who himself was waiting for the kingdom of our Father, dared to go to Pilate and ask for Jesus' body. Yusufu ow’e Alimasaya, nga mukungu mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, naye eyali alindirira obwakabaka bwa Katonda, n’aba muvumu n’agenda eri Piraato okusabayo omulambo gwa Yesu.
44 Pilate was surprised he was already dead; summoning the centurion, he asked if Jesus had been dead long. Piraato ne yeewuunya nnyo okuba nti Yesu yafudde dda. N’atumya omuserikale Omuruumi eyali akulembera banne ekikumi, n’amubuuza obanga Yesu yafudde dda.
45 When he learned from the centurion that it was so, he granted the body to Joseph. Bwe yakikakasa okuva eri omuserikale, Piraato n’awa Yusufu omulambo.
46 Joseph bought linen, took the body down, wrapped it in the cloth, and laid it in a tomb cut from rock. Then he rolled a stone against the tomb's entrance. Awo Yusufu n’agula olugoye olwa linena, n’amuggya ku musaalaba, n’amuzinga mu lugoye olwa linena, n’amuteeka mu ntaana eyali etemeddwa mu lwazi, n’ayiringisa ejjinja n’aggalawo omulyango gw’entaana.
47 Mary Magdalene and Mary the mother of Joses saw where he was laid. Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu nnyina Yose baaliwo era baalaba Yesu we yateekebwa.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]