Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Mark 16 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 When the Sabbath ended, Mary Magdalene, Mary the mother of James, and Salome bought spices to go anoint him. Oluvannyuma lwa Ssabbiiti, Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo, ne bagula ebyakaloosa eby’okusiiga omulambo gwa Yesu.
2 Very early on the first day of the week, just after sunrise, they went to the tomb. Mu makya nnyo ku lunaku olusooka olwa wiiki ng’enjuba yaakavaayo, ne bagenda nabyo ku ntaana.
3 They asked each other, "Who will roll the stone away from the tomb's entrance for us?" Awo ne bagenda nga bwe beebuuzaganya gye banaggya omuntu anaabayiringisiza ejjinja eddene lityo okuliggya ku mulyango gw’entaana.
4 But looking up, they saw the stone—very large—already rolled away. Naye bwe baatuukawo, ne balaba ng’ejjinja lyayiringisiddwa. Ejjinja lyali ddene nnyo.
5 They entered the tomb and saw a young man dressed in a white robe, seated on the right. They were alarmed. Bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omusajja omuvubuka, ng’ayambadde engoye enjeru, ng’atudde ku ludda olwa ddyo! Ne bawuniikirira nnyo!
6 "Don't be alarmed," he said. "You're looking for Jesus the Nazarene, who was crucified. He's risen—he isn't here. Look, the place they laid him. Naye n’abagamba nti, “Temutya. Munoonya Yesu, Omunnazaaleesi eyakomererwa. Wano taliiwo! Azuukidde. Mulabe, omulambo gwe we gwali gugalamiziddwa.
7 But go, tell his disciples and Peter, 'He goes ahead of you to Galilee. You will see him there, as he told you.'" Kale mugende mutegeeze abayigirizwa be, ne Peetero, ebigambo bino nti, ‘Yesu abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.’ ”
8 Trembling and amazed, the women fled the tomb, telling no one—they were afraid. Awo abakazi abo ne badduka emisinde mingi okuva ku ntaana, nga batidde nnyo, nga bwe bakankana, ne batabaako n’omu gwe bategeeza olw’okutya.
9 Rising early the first day of the week, Jesus appeared first to Mary Magdalene, from whom he had driven seven demons. Ku lunaku olusooka olwa wiiki, Yesu kwe yazuukirira, n’asooka okulabikira Maliyamu Magudaleene, omukazi gwe yagobako baddayimooni omusanvu.
10 She went and told those who had been with him, who were mourning and weeping. Maliyamu n’agenda eri abayigirizwa, n’abasanga nga bakaaba era nga bakungubaga.
11 Hearing Jesus was alive and seen by her, they did not believe it. N’ababuulira nti Yesu amulabyeko era mulamu! Naye ne batamukkiriza!
12 Afterward Jesus appeared, in a different form, to two of them walking in the country. Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu ng’ali mu kifaananyi kirala n’alabikira abayigirizwa babiri bwe baali nga batambula mu kkubo nga bagenda mu kyalo.
13 They went back and reported it to the others, but they did not believe them either. Oluvannyuma nabo ne bagenda ne bategeeza abalala, naye nabo tebaakikkiriza.
14 Later Jesus appeared to the eleven as they reclined at a meal and rebuked their lack of faith and hardness of heart, because they hadn't believed those who saw him risen. Oluvannyuma Yesu n’alabikira abayigirizwa ekkumi n’omu bwe baali nga balya. N’abanenya olw’obutakkiriza bwabwe, n’olw’obukakanyavu bw’emitima gyabwe kubanga tebakkiriza abo abaali bamulabyeko ng’amaze okuzuukira.
15 He said to them, "Go into all the world and proclaim the good news to all creation. N’abagamba nti, “Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri eri abantu bonna.
16 Whoever believes and is baptized will be saved, but whoever does not believe will be condemned. Abo bonna abakkiriza ne babatizibwa balirokolebwa, naye abo abatakkiriza balisalirwa omusango ne gubasinga.
17 And these signs will follow those who believe: in my name they'll drive out demons, speak in new tongues. Era abo abakkiriza baligoba baddayimooni ku bantu mu linnya lyange, era balyogera ennimi empya.
18 They will pick up snakes with their hands; if they drink deadly poison, it won't harm them; they will lay hands on the sick, and they will recover." Banaakwatanga ku misota, era bwe banaanywanga ekintu kyonna ekyobutwa tekiibakolengako kabi, era banasanga emikono gyabwe ku balwadde ne babawonya.”
19 After speaking to them, the Lord Jesus was taken up into heaven and sat at the right hand of our Father. Awo Mukama waffe Yesu bwe yamala okwogera nabo, n’atwalibwa mu ggulu n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
20 They went out and preached everywhere, the Lord working with them, confirming his word through accompanying signs. Abayigirizwa ne bagenda buli wantu nga babuulira; era Mukama n’abeeranga nabo, n’anywezanga buli kye baayogeranga mu bubaka bwabwe, ng’abakozesanga eby’amagero.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]