1Since many have undertaken to compile an ordered account of what has been accomplished among us.OLCBAbantu bangi bagezezzaako okuwandiika ebyafaayo ebyatuukirizibwa mu ffe,
2Just as eyewitnesses from the beginning and servants of the word handed these accounts to us,OLCBng’abo abaasooka edda bwe baabitubuulira, nga be baali abajulirwa era abaweereza b’Ekigambo okuviira ddala ku lubereberye.
3I too, having traced everything accurately from the start, decided to write it in order for you, most excellent Theophilus,OLCBBwe ntyo bwe mmaze okukakasiza ddala buli kintu n’obwegendereza okuva ku by’olubereberye okutuukira ddala ku byasembayo, ne ndaba nga kirungi okukuwandiikira ggwe Teefiro ow’ekitiibwa ennyo, ndyoke mbikuwandiikire nga bwe byaliraanagana.
4so that you may know the certainty of the things you have been taught.OLCBOlyoke omanye amazima g’ebyo bye wayigirizibwa.
5In the days of Herod, king of Judea, a priest named Zechariah was in Abijah's priestly division. His wife Elizabeth descended from Aaron.OLCBAwo mu biro Kabaka Kerode we yafugira Obuyudaaya, waaliwo kabona erinnya lye Zaakaliya, nga wa mu kitongole kya Abiya, nga mukyala we naye yali wa mu kika kya Alooni, erinnya lye Erisabesi.
6They were both righteous before our Father, walking blamelessly in all his commandments and ordinances.OLCBAbantu abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, era nga batambulira mu mateeka ga Katonda gonna, ne mu biragiro bya Mukama, nga tebaliiko kya kunenyezebwa.
7But they had no child, because Elizabeth was barren, and both were very old.OLCBBombi baali bakaddiye nnyo, era tebaalina mwana, kubanga Erisabesi yali mugumba.
8Now while he was serving as priest before our Father when his division was on duty,OLCBAwo lwali lumu, Zaakaliya bwe yali ng’ali ku mulimu gwe ogw’obwakabona mu maaso ga Katonda, kubanga kye kyali ekiseera eky’oluwalo lwe,
9by priestly custom, lot chose him to enter his sanctuary and burn incense.OLCBn’alondebwa okwoteza obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ng’emirimu gy’obwakabona bwe gyabanga.
10And the whole crowd of the people were praying outside at the hour of incense.OLCBMu ssaawa eyo ey’okwoteza obubaane ekibiina kyonna eky’abantu baali bakuŋŋaanidde mu luggya lwa Yeekaalu.
11Then an angel of our Father appeared to him, standing at the right of the altar of incense.OLCBAwo malayika wa Mukama n’alabikira Zaakaliya, n’ayimirira ku luuyi olwa ddyo olw’ekyoto okwoterezebwa obubaane!
12Zechariah was shaken when he saw him, and fear came over him.OLCBZaakaliya n’atya nnyo bwe yalaba malayika, entiisa n’emukwata.
13The angel said to him, "Don't be afraid, Zechariah—your prayer has been heard. Your wife Elizabeth will bear you a son; name him John.OLCBNaye malayika n’amugamba nti, “Totya Zaakaliya! Kubanga okusaba kwo kuwuliddwa, era mukazi wo Erisabesi ajja kukuzaalira omwana wabulenzi. Olimutuuma erinnya Yokaana.
14You will have joy and gladness; many will rejoice at his birth.OLCBMwembi mulisanyuka nnyo ne mujaguza. Era bangi abalibasanyukirako olw’okuzaalibwa kwe.
15He will be great before our Father, must never drink wine or other alcoholic drinks, and he will be filled with the Holy Spirit even from his mother's womb.OLCBKubanga aliba mukulu mu maaso ga Katonda. Talinywa mwenge wadde ekitamiiza kyonna. Era alijjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ng’akyali mu lubuto lwa nnyina.
16And he will turn many of the children of Israel back to their Father.OLCBEra alireetera abaana ba Isirayiri bangi okudda eri Mukama Katonda waabwe.
17He will go before our Father in Elijah's spirit and power, turning fathers' hearts to their children, and the disobedient to the wisdom of the righteous, to prepare a people ready for our Father."OLCBAliweerereza mu mwoyo ne mu maanyi aga nnabbi Eriya, n’akyusa emitima gy’aba kitaabwe okudda eri abaana baabwe, n’okukyusa emitima gy’abajeemu okudda eri amagezi g’abatuukirivu alyoke ateeketeeke abantu okulindirira Mukama.”
18Zechariah said to the angel, "How will I know this? I'm old, and my wife is well along in years."OLCBZaakaliya n’agamba malayika nti, “Ekyo nnaakimanya ntya? Kubanga nze ndi mukadde, ne mukazi wange naye akaddiya nnyo.”
19The angel answered him, "I am Gabriel, who stands in our Father's presence, sent to speak to you and bring you this good news.OLCBMalayika n’amugamba nti, “Nze Gabulyeri ayimirira mu maaso ga Katonda, era y’antumye okwogera naawe n’okukuleetera amawulire gano.
20And now you will be silent, unable to speak, until the day these things happen, because you did not believe my words, which will come true in their time."OLCBNaye olw’okuba nga tokkirizza bigambo byange, ojja kuziba omumwa, era togenda kuddamu kwogera okutuusa ng’ebintu ebyo bimaze okubaawo. Kubanga ebigambo byange byonna birimala kutuukirira mu kiseera kyabyo.”
21Meanwhile the people waited for Zechariah, wondering why he stayed so long in the sanctuary.OLCBAbantu abaali balindirira ebweru wa Yeekaalu okulaba Zaakaliya ne beewuunya nnyo ekyamulwisaayo ennyo bw’atyo.
22When he came out, he could not speak to them, and they knew he had seen a vision in the sanctuary. He kept motioning to them and stayed mute.OLCBOluvannyuma ennyo bwe yavaayo, yali tasobola kwogera nabo, ne bategeera nga mu Yeekaalu afuniddeyo okwolesebwa. N’asigala ng’azibye omumwa naye ng’abategeeza mu bubonero.
23And when his days of service were ended, he went home.OLCBN’abeera mu Yeekaalu okutuusa ennaku ze ez’oluwalo lwe zaggwaako n’alyoka addayo eka.
24After these days his wife Elizabeth became pregnant, and for five months she kept herself hidden, saying,OLCBEnnaku ezo bwe zaayitawo, mukazi we Erisabesi n’aba olubuto, ne yeekwekera ebbanga lya myezi etaano.
25"This is what our Father did for me, in the days he looked on me, to remove my disgrace among people."OLCBN’agamba nti, “Mukama nga wa kisa kingi, kubanga anziggyeeko ensonyi olw’obutaba na mwana.”
26In month six our Father sent the angel Gabriel to a Galilee town called Nazareth,OLCBAwo mu mwezi ogw’omukaaga, Katonda n’atuma malayika Gabulyeri mu kibuga Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya
27to a virgin engaged to a man named Joseph, of the house of David; the virgin's name was Mary.OLCBeri omuwala erinnya lye Maliyamu, nga tamanyi musajja, eyali ayogerezebwa omusajja erinnya lye Yusufu, ow’omu lulyo lwa Dawudi.
28And he came to her and said, "Greetings, favored one! Our Father is with you."OLCBAwo Gabulyeri n’alabikira Maliyamu n’amulamusa nti, “Mirembe! Ggwe aweereddwa omukisa! Mukama ali naawe!”
29But she was greatly troubled by his words, and wondered what kind of greeting this might be.OLCBMaliyamu n’atya, n’abulwa n’ekyokwogera, ng’okulamusa okwo kumutabudde, nga n’amakulu gaakwo tagategeera.
30The angel said to her, "Don't be afraid, Mary, for you have found favor with our Father.OLCBAwo malayika n’amugamba nti, “Totya, Maliyamu, kubanga olabye ekisa mu maaso ga Katonda.
31You will conceive in your womb and bear a son, and you will call his name Jesus.OLCBKubanga, laba, olibeera olubuto, olizaala omwana wabulenzi era olimutuuma erinnya, Yesu.
32He will be great and called Son of the Most High, and our Father will give him the throne of his father David,OLCBAgenda kuba mukulu, wa kitiibwa, era aliyitibwa Omwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo, era Mukama Katonda alimuwa entebe ey’obwakabaka eya jjajjaawe Dawudi.
33and he will reign over Jacob's house forever; his kingdom will never end."OLCBAlifuga ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era n’obwakabaka bwe tebulikoma.”
34And Mary said to the angel, "How will this be, since I am a virgin?"OLCBAwo Maliyamu n’abuuza malayika nti, “Ekyo kiriba kitya? Kubanga simanyi musajja.”
35The angel answered her, "The Holy Spirit will come over you, and the Most High's power will shadow you; so the holy child born will be called the Son of our Father.OLCBMalayika n’amuddamu nti, “Mwoyo Mutukuvu alikukkako, n’amaanyi g’Oyo Ali Waggulu Ennyo galikubuutikira, n’omwana alizaalibwa aliba mutukuvu, Omwana wa Katonda.
36Look, your relative Elizabeth has also conceived a son in her old age—this is the sixth month for her called barren.OLCBLaba, muganda wo Erisabesi eyayitibwanga omugumba, kati ali lubuto lwa myezi mukaaga mu bukadde bwe.
37For nothing will be impossible with our Father."OLCBKubanga buli kigambo kiyinzika eri Katonda.”
38Mary said, "I am the servant of our Father; let it happen to me as you said." Then the angel left her.OLCBMaliyamu n’addamu nti, “Nze ndi muweereza wa Mukama, kibe ku nze nga bw’ogambye.” Malayika n’ava w’ali, n’agenda.
39In those days Mary got up and hurried to the hill country, to a town in Judah,OLCBAwo mu biro ebyo, Maliyamu n’ayanguwa okugenda mu nsi ya Buyudaaya ey’ensozi, mu kibuga kyayo.
40and she entered the house of Zechariah and greeted Elizabeth.OLCBN’ayingira mu nnyumba ya Zaakaliya n’alamusa Erisabesi.
41When Elizabeth heard Mary's greeting, her baby leaped in her womb, and she was filled with the Holy Spirit.OLCBNaye Maliyamu bwe yalamusa Erisabesi, omwana eyali mu lubuto lwa Erisabesi n’abuukabuuka era n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu.
42She cried out with a loud voice, "Blessed are you among women, blessed is the fruit of your womb!OLCBErisabesi n’alyoka ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Oweereddwa omukisa, ggwe mu bakazi, era n’omwana ali mu lubuto lwo aweereddwa omukisa.
43And why is this granted to me, that the mother of my Lord should come to me?OLCBNga nfunye ekitiibwa kinene ggwe nnyina wa Mukama wange okujja okunkyalira!
44For the moment I heard your greeting, the baby in my womb leaped for joy.OLCBKubanga bw’oyingidde n’onnamusa, omwana ali mu lubuto lwange oluwulidde ku ddoboozi lyo ne yeekyusakyusa olw’essanyu!
45Blessed is she who believed that there would be a fulfillment of what our Father spoke to her."OLCBOweereddwa omukisa bw’okkirizza nti ebintu ebyo Mukama bya kwogeddeko birituukirizibwa.”
46And Mary said, "My soul magnifies our Father,OLCBMaliyamu n’agamba nti,
47and my spirit rejoices in our Father, my Savior,OLCB“Emmeeme yange etendereza Mukama. N’omwoyo gwange gusanyukidde Katonda omulokozi wange,
48for he has looked on the humble estate of his servant. For from now on all generations will call me blessed;OLCBKubanga alabye obuwombeefu bw’omuweereza we. Kubanga laba, okuva kaakano, ab’emirembe gyonna banaampitanga eyaweebwa omukisa.
49for the Mighty One has done great things for me, and holy is his name.OLCBKubanga Owaamaanyi ankoledde ebikulu; N’erinnya lye ttukuvu.
50And his mercy is for those who fear him from generation to generation.OLCBN’okusaasira kwe kwa mirembe na mirembe eri abo abamutya.
51He has shown strength with his arm; he has scattered the proud in the thoughts of their hearts;OLCBAkoze eby’amaanyi n’omukono gwe. Asaasaanyizza ab’emitima egy’amalala.
52he has brought down the mighty from their thrones and lifted up the humble;OLCBAwanudde abafuzi ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka n’agulumiza abawombeefu.
53he has filled the hungry with good things, and the rich he has sent away empty.OLCBAbali mu kwetaaga abakkusizza ebirungi. Naye abagagga n’abagoba nga tabawaddeeyo kantu.
54He has helped his servant Israel, in remembrance of his mercy,OLCBAdduukiridde omuweereza we Isirayiri, n’ajjukira okusaasira,
55just as he spoke to our fathers, to Abraham and to his offspring forever."OLCBnga bwe yayogera ne bajjajjaffe, eri Ibulayimu n’ezzadde lye emirembe gyonna.”
56And Mary remained with her about three months and then returned to her home.OLCBMaliyamu n’amala ewa Erisabesi muganda we, ng’emyezi esatu, n’alyoka addayo ewuwe.
57Now the time came for Elizabeth to give birth, and she bore a son.OLCBAwo ekiseera kya Erisabesi eky’okuzaala ne kituuka, n’azaala omwana wabulenzi.
58Her neighbors and relatives heard our Father had shown her great mercy, and rejoiced with her.OLCBBaliraanwa ba Erisabesi n’ab’ekika kye ne bawulira nga Mukama bw’amulaze ekisa, ne basanyukira wamu naye.
59On the eighth day they came to circumcise the child, and were going to call him Zechariah after his father,OLCBAwo omwana bwe yaweza ennaku omunaana, ne bajja okumukomola, bonna nga balowooza nti ajja kutuumibwa erinnya lya kitaawe Zaakaliya.
60but his mother answered, "No; he will be called John."OLCBNaye Erisabesi n’abagamba nti, “Nedda, ajja kutuumibwa Yokaana.”
61And they said to her, "None of your relatives is called by this name."OLCBNe bamuwakanya nga bagamba nti, “Mu kika kyo kyonna tetuwulirangayo yatuumibwa linnya eryo.”
62And they made signs to his father, asking what Zechariah wanted the child to be called.OLCBNe babuuza kitaawe w’omwana erinnya ly’ayagala atuumibwe.
63He asked for a tablet and wrote, "His name is John." And everyone was amazed.OLCBN’abasaba eky’okuwandiikako, n’awandiikako nti, “Erinnya lye ye Yokaana!” Bonna ne beewuunya nnyo!
64And immediately his mouth was opened and his tongue loosed, and he spoke, blessing our Father.OLCBAmangwago akamwa ka Zaakaliya ne kagguka, n’olulimi lwe ne lusumulukuka, n’atandika okwogera n’okutendereza Katonda.
65Fear fell on all their neighbors, and all these things were talked about throughout Judea's hill country.OLCBAbantu bonna ab’omu kitundu ekyo ne batya nnyo, era ebigambo ebyo ne bibuna mu nsi yonna ey’e Buyudaaya ey’ensozi.
66And all who heard kept these things in their hearts, saying, "What then will this child become?" For our Father's hand was with him.OLCBBuli eyawulira ebigambo ebyo n’abirowoozaako nnyo mu mutima gwe, ne yeebuuza nti, “Naye omwana ono bw’alikula aliba atya?” Kubanga awatali kubuusabuusa, omukono gwa Mukama gwali wamu naye.
67And his father Zechariah was filled with the Holy Spirit and prophesied, saying,OLCBAwo Zaakaliya kitaawe, n’ajjula Mwoyo Mutukuvu n’awa obunnabbi nti,
68"Blessed be our Father of Israel, for he has visited and redeemed his people,OLCB“Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isirayiri, kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde.
69and has raised up a mighty Savior for us in the house of his servant David,OLCBYatuyimusiriza obuyinza obw’obulokozi, mu nnyumba y’omuddu we Dawudi.
70as he spoke through the mouth of his holy prophets long ago,OLCBNga bwe yasuubiriza mu bigambo bya bannabbi be abatukuvu ab’edda ennyo,
71that we should be saved from our enemies and from the hand of all who hate us;OLCBOkulokolebwa mu balabe baffe, n’okuva mu mukono gw’abo bonna abatukyawa,
72to show the mercy promised to our fathers and to remember his holy covenant,OLCBokulaga bajjajjaffe ekisa, n’ajjukira n’endagaano ye entukuvu,
73the oath that he swore to our father Abraham, to grant us,OLCBekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,
74that we, being delivered from the hand of our enemies, might serve him without fear,OLCBokukituukiriza, n’okulokolebwa okuva mu mukono gw’abalabe baffe awatali kutya, tulyoke tuweereze mu maaso ge,
75in holiness and righteousness before him all our days.OLCBmu butukuvu ne mu butuukirivu ennaku zonna ez’obulamu bwaffe.
76And you, child, will be called the prophet of the Most High; for you will go before the Lord to prepare his ways,OLCB“Naawe, mwana wange, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Ali Waggulu Ennyo; kubanga gw’olikulembera Mukama okumuteekerateekera amakubo ge.
77to give his people the knowledge of salvation through the forgiveness of their sins,OLCBOkumanyisa abantu be obulokozi, obw’okusonyiyibwa ebibi byabwe.
78because of the tender mercy of our Father, by which the sunrise from on high will visit us,OLCBByonna birituukirira olw’ekisa kya Katonda waffe ekingi. Emmambya esala eritukyalira okuva mu ggulu,
79to give light to those who sit in darkness and in the shadow of death, to guide our feet into the way of peace."OLCBokwakira abo abatudde mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa, okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe.”
80The child grew, became strong in spirit, and lived in the wilderness until the day he appeared publicly to Israel.OLCBOmwana n’akula n’ayongerwako amaanyi mu mwoyo, n’abeera mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isirayiri.