Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In those days Caesar Augustus issued a decree to register the whole inhabited world. Awo olwatuuka mu biseera ebyo, Kayisaali Agusito n’ayisa etteeka abantu bonna beewandiisa.
2 This was the first registration, when Quirinius was governor of Syria. Okubala kuno kwe kwasooka okubaawo ku mulembe gwa Kuleniyo nga ye gavana w’Obusuuli.
3 Everyone went to be registered, each to his own town. Bonna ne bagenda okwewandiisa, buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe.
4 Joseph too went up from Galilee, from the town of Nazareth, to Judea, to the city of David called Bethlehem, since he belonged to David's house and family, Awo Yusufu n’ava e Nazaaleesi eky’e Ggaliraaya, n’agenda mu kibuga kya Dawudi ekiyitibwa Besirekemu eky’e Buyudaaya, kubanga yali wa mu kika kya Dawudi,
5 to be registered with Mary, his fiancée, who was expecting a child. yeewandiise ne Maliyamu eyali olubuto, oyo gwe yali ayogereza.
6 While they were there, the time came for her to give birth. Naye bwe baali bali eyo ekiseera kya Maliyamu eky’okuzaala ne kituuka.
7 She gave birth to her firstborn son, wrapped him in cloths, and laid him in a manger, because the inn had no place for them. N’azaala omwana we omubereberye omulenzi, n’amubikka mu bugoye, n’amuzazika mu lutiba ente mwe ziriira, kubanga tebaafuna kifo mu nnyumba y’abagenyi.
8 Shepherds were in that same region, staying out in the fields, keeping watch over their flock by night. Mu kiro ekyo waaliwo abasumba abaali mu kitundu ekyo kye kimu ku ttale nga bakuuma endiga zaabwe.
9 An angel of our Father stood before them; the glory of our Father shone around them, and great fear seized them. Awo malayika wa Mukama n’abalabikira, ne waakaayakana n’ekitiibwa kya Mukama, ne batya nnyo.
10 The angel told them, "Don't be afraid—I bring good news of great joy for everyone: Malayika n’abagumya nti, “Temutya, kubanga mbaleetedde amawulire amalungi ag’essanyu eringi, era nga ga bantu bonna.
11 Today in the city of David, a Savior was born to you—Christ the Lord. Kubanga Omulokozi, ye Kristo Mukama waffe azaaliddwa leero mu kibuga kya Dawudi.
12 This is your sign: you'll find a baby wrapped in cloths, lying in a manger." Ku kino kwe munaamutegeerera: Mujja kulaba omwana omuwere, ng’abikkiddwa mu ngoye, ng’azazikiddwa mu lutiba lw’ente.”
13 Suddenly there was with the angel a multitude of the heavenly host, praising our Father and saying, Amangwago eggye lya bamalayika ab’omu ggulu ne beegatta ne malayika oyo ne batendereza Katonda nga bagamba nti,
14 "Glory to our Father in the highest, and on earth peace among those with whom he is pleased!" “Ekitiibwa kibe eri Katonda Ali Waggulu ennyo. N’emirembe gibe mu nsi eri abantu Katonda b’asiima.”
15 When the angels left them for heaven, the shepherds said to each other, "Let's go straight to Bethlehem and see this thing that has happened, which our Father has made known to us." Awo bamalayika bwe baamala okuddayo mu ggulu, abasumba ne bateesa nti, “Tugende e Besirekemu tulabe kino ekibaddewo, Mukama ky’atutegeezezza.”
16 They hurried off and found Mary and Joseph, and the baby lying in the manger. Ne bayanguwa ne bagenda, ne balaba Maliyamu ne Yusufu, n’omwana omuwere ng’azazikiddwa mu lutiba lw’ente.
17 When they saw him, they made known what had been told them about this child. Awo abasumba ne bategeeza bye baalabye, n’ebya bategeezeddwa ebikwata ku mwana oyo.
18 All who heard were amazed at what the shepherds told them. Bonna abaawulira ebigambo by’abasumba ne beewuunya nnyo.
19 But Mary treasured up all these things, pondering them in her heart. Naye Maliyamu n’akuumanga ebigambo ebyo mu mutima gwe era ng’abirowoozaako nnyo.
20 The shepherds returned, glorifying and praising our Father for all they'd heard and seen, just as they were told. Awo abasumba ne baddayo gye balundira ebisibo byabwe, nga bagulumiza era nga batendereza Katonda, olw’ebyo byonna bye baawulira era ne bye baalaba nga bwe baali bategeezeddwa.
21 When eight days for his circumcision were complete, he was named Jesus, the name the angel gave before he was conceived in the womb. Olunaku olw’omunaana olw’okukomolerwako bwe lwatuuka, n’atuumibwa erinnya Yesu, malayika lye yayogera nga Yesu tannaba kuba mu lubuto lwa nnyina.
22 When their days of purification under the Law of Moses ended, they brought him up to Jerusalem to present him to our Father, Awo ekiseera bwe kyatuuka Maliyamu okugenda mu Yeekaalu atukuzibwe, ng’amateeka ga Musa bwe galagira ne batwala Yesu e Yerusaalemi okumuwaayo eri Mukama.
23 (as it is written in our Father's Law, "Every firstborn male will be called holy to our Father"), Kubanga mu mateeka ago, Katonda yalagira nti, “Omwana omubereberye bw’anaabanga omulenzi, anaaweebwangayo eri Mukama.”
24 and to offer a sacrifice as the Law of our Father says: a pair of turtledoves or two young pigeons. Era mu kiseera kye kimu bakadde ba Yesu ne bawaayo ssaddaaka amateeka nga bwe galagira okuwaayo amayiba abiri oba enjiibwa bbiri.
25 In Jerusalem lived a man named Simeon, righteous and devout, waiting for Israel's comfort, with the Holy Spirit on him. Ku lunaku olwo, waaliwo omusajja erinnya lye Simyoni, eyabeeranga mu Yerusaalemi, nga mutuukirivu, ng’atya Katonda, era ng’ajjudde Mwoyo Mutukuvu, ng’alindirira okusanyusibwa kwa Isirayiri.
26 The Holy Spirit had revealed to him he wouldn't die before seeing our Father's Christ. Kubanga yali abikkuliddwa Mwoyo Mutukuvu nti tagenda kufa nga tannalaba ku Kristo, Omulokozi.
27 Prompted by the Spirit, he entered the temple. As the parents brought in the child Jesus to do for him what the Law required, Mwoyo Mutukuvu n’amuluŋŋamya okujja mu Yeekaalu. Maliyamu ne Yusufu bwe baaleeta Omwana Yesu okumuwaayo eri Mukama ng’amateeka bwe galagira, ne Simyoni naye yaliwo.
28 Simeon took him up in his arms and blessed our Father, saying, Simyoni n’ajja n’asitula Omwana mu mikono gye, n’atendereza Katonda ng’agamba nti,
29 "Sovereign Father, now you are letting your servant depart in peace, according to your word. “Mukama wange, kaakano osiibule omuweereza wo mirembe, ng’ekigambo kyo bwe kigamba.
30 For my eyes have seen your salvation, Kubanga amaaso gange galabye Obulokozi bwo,
31 which you have prepared in the presence of all peoples: bwe wateekateeka mu maaso g’abantu bonna,
32 a light for revelation to the Gentiles, and for glory to your people Israel." okuba Omusana ogw’okwakira amawanga. N’okuleetera abantu bo Abayisirayiri ekitiibwa!”
33 His father and mother were amazed at what was said about him. Kitaawe w’omwana ne nnyina ne beewuunya ebigambo ebyayogerwa ku Yesu.
34 And Simeon blessed them and told Mary, his mother, "This child is appointed for the fall and rising of many in Israel, and to be a sign that is opposed, Awo Simyoni n’abasabira omukisa. N’alyoka n’agamba Maliyamu nti, “Omwana ono bangi mu Isirayiri tebagenda kumukkiriza, era alireetera bangi okugwa n’abalala ne bayimusibwa.
35 and a sword will pierce through your own soul also—so that thoughts from many hearts may be revealed." Era naawe ennaku eri ng’ekitala erikufumita omutima, n’ebirowoozo by’omu mitima gy’abantu birimanyibwa.”
36 Also there was Anna, a woman prophet, daughter of Phanuel of Asher's tribe, very old, having lived with her husband seven years after her virginity, Waaliwo nnabbi omukazi, ayitibwa Ana, muwala wa Fanweri, ow’omu kika kya Aseri, era nga mukadde nnyo, eyafumbirwa nga muwala muto n’amala ne bba emyaka musanvu gyokka, bba n’afa,
37 and a widow until eighty-four, never leaving the temple, worshiping with fasting and prayer night and day. n’asigala nga nnamwandu. Mu kiseera kino yali yaakamala emyaka kinaana mu ena, era teyavanga mu Yeekaalu ng’asiiba n’okwegayiriranga Katonda emisana n’ekiro.
38 Coming up at that same hour, she gave thanks to our Father and spoke of the child to all awaiting Jerusalem's redemption. Awo Ana mu kiseera ekyo yali ayimiridde okumpi ne Maliyamu ne Yusufu, naye n’atandika okutendereza Katonda ng’amwogerako eri abo bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi.
39 When they finished everything required by our Father's Law, they returned to Galilee, to their own town of Nazareth. Awo bakadde ba Yesu bwe baamala okutuukiriza byonna ng’amateeka ga Mukama bwe galagira, ne baddayo e Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya.
40 The child grew, becoming strong, filled with wisdom, and our Father's favor was on him. Omwana n’akula, n’aba w’amaanyi, n’ajjuzibwa amagezi n’ekisa kya Katonda kyali ku ye.
41 Now his parents went to Jerusalem every year at the Feast of Passover. Bakadde ba Yesu buli mwaka bagendanga mu Yerusaalemi ku Mbaga y’Okuyitako.
42 When he was twelve years old, they went up according to the custom of the feast. Awo Yesu bwe yaweza emyaka kkumi n’ebiri egy’obukulu n’ayambuka e Yerusaalemi ne bakadde be ku mbaga, nga empisa yaabwe bwe yali.
43 When the festival ended and they left for home, the boy Jesus stayed behind in Jerusalem, unknown to his parents. Awo embaga ng’ewedde, ne bakyusa okuddayo ewaabwe, naye omulenzi Yesu n’asigala mu Yerusaalemi, naye bazadde be ne batakimanya.
44 Thinking he was in the group, they traveled a day's journey, then searched for him among relatives and acquaintances. Kubanga baalowooza nti ali ne bannaabwe mu kibiina ekirala, ekiro ekyo bwe bataamulaba, ne bamunoonya mu kibiina omwali baganda baabwe ne mikwano gyabwe.
45 When they did not find him, they returned to Jerusalem, searching for him. Bwe bataamulaba kwe kuddayo e Yerusaalemi nga bamunoonya.
46 After three days they found him in the temple, sitting among the teachers, listening to them and asking them questions. Awo nga baakamunoonyeza ennaku ssatu, ne bamusanga ng’atudde mu Yeekaalu n’abannyonnyozi b’amateeka ng’abawuliriza awamu n’okubabuuza ebibuuzo.
47 All who heard him were amazed at his understanding and his answers. Bonna abaali bamuwuliriza ne beewuunya nnyo olw’amagezi ge n’okuddamu kwe.
48 When his parents saw him, they were astonished. His mother said, "Child, why have you done this to us? Look, your father and I have been anguished, searching for you." Awo bazadde be bwe baamulaba ne beewuunya nnyo, nnyina n’amugamba nti, “Mwana waffe otukoze ki kino? Kitaawo nange tweraliikiridde nnyo nga tukunoonya!”
49 He said to them, "Why were you searching for me? Didn't you know I must be in my Father's house?" Yesu n’abaddamu nti, “Mubadde munnoonyeza ki? Temwategedde nga kiŋŋwanidde okukola ebintu bya Kitange?”
50 But they did not understand the saying that he spoke to them. Naye ne batategeera bigambo ebyo bye yabagamba.
51 Then he went down with them and came to Nazareth, remaining obedient to them. His mother kept all these things in her heart. N’asituka n’agenda nabo e Nazaaleesi, n’abagonderanga; kyokka nnyina ebigambo ebyo byonna n’abikuuma mu mutima gwe.
52 Jesus increased in wisdom and stature and in favor with our Father and with people. Awo Yesu n’akula mu mubiri, mu magezi, era n’alaba ekisa mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]