Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After he had finished saying all this to the people, he entered Capernaum. Awo Yesu bwe yamala okutegeeza abantu ebigambo ebyo byonna n’ayingira mu Kaperunawumu.
2 A centurion's servant who was dear to him was sick and at the point of death. Mu kiseera ekyo, omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, yalina omuddu we gwe yali ayagala ennyo, yali mulwadde nnyo ng’ali kumpi n’okufa.
3 Hearing about Jesus, the centurion sent Jewish elders, asking him to come and heal his servant. Omukulu w’ekitongole oyo bwe yawulira ebifa ku Yesu, n’atuma abamu ku bakulembeze b’Abayudaaya eri Yesu bamusabe ajje awonye omuddu we.
4 Reaching Jesus, they pleaded urgently: he deserves to have you do this for him, Bwe baatuuka eri Yesu ne bamwegayirira nnyo nga bagamba nti, “Omusajja ono asaanira okuyambibwa nga bw’akusabye,
5 for he loves our nation, and he is the one who built us our synagogue. kubanga ayagala nnyo eggwanga lyaffe, era ye yatuzimbira ne kkuŋŋaaniro lyaffe!”
6 Jesus went with them. He was nearly at the house when the centurion sent friends to say, "Lord, don't trouble yourself—I'm not worthy for you to enter under my roof. Bw’atyo Yesu n’agenda nabo. Naye Yesu bwe yali akyali mu kkubo nga tannatuuka ku nnyumba, omukulu w’ekitongole n’atuma mikwano gye eri Yesu ng’agamba nti, “Mukama wange, teweeteganya bw’otyo, kubanga nze sisaanira kukusembeza mu nju yange.
7 So I did not presume to come to you. But say the word, and let my servant be healed. Era kyenavudde nnema okujja gy’oli nze nzennyini. Naye yogera bwogezi ekigambo, omuweereza wange anaawona!
8 For I too am a man under authority, with soldiers under me. I tell one, 'Go,' and he goes; another, 'Come,' and he comes; my servant, 'Do this,' and he does it." Kubanga nange nnina abakulu abantwala, ate waliwo n’abali wansi wange be nninako obuyinza. Bwe ŋŋamba ono nti, ‘Genda,’ agenda, n’omulala nti, ‘Jjangu,’ ajja; n’omuddu wange nti, ‘Kola kino,’ akikola.”
9 Hearing this, Jesus was amazed at the centurion, turned to the crowd following him, and said, "I tell you, I have not found such faith even in Israel." Yesu bwe yawulira ebigambo ebyo n’amwewuunya nnyo, n’akyukira ekibiina ky’abantu abaali bamugoberera n’agamba nti, “Mbagamba nti sirabanga kukkiriza kunene nga kuno, wadde mu Isirayiri.”
10 And when those who had been sent returned to the house, they found the servant well. Awo omukulu w’ekitongole be yatuma eri Yesu bwe baddayo mu nnyumba ye, baasanga omuddu awonye.
11 Soon after, he went to a town called Nain, with his disciples and a big crowd. Awo ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda n’abayigirizwa be n’ekibiina kinene ne kimugoberera mu kibuga ekiyitibwa Nayini.
12 As he neared the town gate, a dead man was being carried out—an only son to his mother, a widow—and a large crowd from the town was with her. Bwe yali asemberera omulyango gw’ekibuga, laba, abantu ne bafuluma mu kibuga nga beettisse omulambo gw’omuvubuka eyali mutabani w’omukazi nnamwandu, ate nga ye mwana we yekka. Ekibiina ky’abantu abaali bava mu kibuga baali bangi nnyo.
13 When the Lord saw her, he felt compassion for her and said, "Don't cry." Awo Mukama waffe bwe yalaba nnamwandu n’amusaasira, n’amugamba nti, “Tokaaba.”
14 He stepped up and touched the bier; the carriers stopped, and he said, "Young man, I tell you, get up." N’asemberera essanduuko, abaali bagisitudde ne bayimirira, Yesu n’ayogera nti, “Omuvubuka, nkulagira nti ggolokoka!”
15 And the dead man sat up and began to speak, and Jesus gave him to his mother. Eyali afudde n’atuula era n’atandika okwogera. Yesu n’amuddiza nnyina.
16 Fear gripped them all; they praised our Father: "A great prophet has risen among us!" "Our Father has visited his people!" Buli omu n’ajjula entiisa, ne batendereza Katonda nga bagamba nti, “Nnabbi ow’amaanyi atulabikidde, era Katonda akyalidde abantu be.”
17 And this report about him spread through the whole of Judea and all the surrounding country. Ebigambo ebyo ne bibuna Buyudaaya yonna n’okwetooloola emiriraano gyayo.
18 John's disciples told him all these things. Then John called two of his disciples, Awo abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza ne bategeeza Yokaana ebintu ebyo byonna. Yokaana n’ayita abayigirizwa be babiri,
19 sent them to the Lord: "Are you the one who is to come, or should we look for another?" n’abatuma eri Mukama waffe okumubuuza nti, “Ggwe wuuyo gwe tusuubira okujja, oba tulindirireyo omulala?”
20 When the men reached him, they said, "John the Baptist sent us to you, asking, 'Are you the one who is to come, or should we expect someone else?'" Abayigirizwa ba Yokaana bwe baatuuka eri Yesu, ne bamutegeeza nti, “Yokaana Omubatiza atutumye okukubuuza nti, Ggwe wuuyo ajja oba tulindirirayo omulala?”
21 In that hour he healed many of diseases, plagues, and evil spirits, and gave sight to many blind. Mu kiseera ekyo Yesu n’awonya endwadde nnyingi eza buli ngeri: n’abalema, n’abaaliko emyoyo emibi, n’azibula n’abazibe b’amaaso.
22 He answered them, "Go tell John what you've seen and heard: the blind see, the lame walk, lepers become clean, the deaf hear, the dead rise, and the poor hear good news. Abaatumibwa n’abaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumutegeeze byonna bye muwulidde ne bye mulabye. Abazibe b’amaaso bazibulwa amaaso ne balaba, n’abalema batambula, n’abagenge balongoosebwa, n’abaggavu b’amatu gagguka ne bawulira, n’abafu bazuukizibwa, era n’abaavu babuulirwa Enjiri.
23 And blessed is the one who is not offended by me." Era alina omukisa oyo atanneesittalako.”
24 When John's messengers left, Jesus spoke to the crowds about John: "What did you go into the wilderness to see? A reed swaying in the wind? Awo ababaka ba Yokaana bwe baagenda, Yesu n’abuulira ekibiina ebikwata ku Yokaana. N’ababuuza nti, “Bwe mwagenda mu ddungu, mwagenderera kulaba ki? Olumuli olunyeenyezebwa n’empewo?
25 What then did you go out to see? A man dressed in soft clothes? Look—those dressed in splendor, living in luxury, are in kings' palaces. Naye mwagenderera kulaba ki? Omusajja ayambadde engoye ezinekaaneka? Laba abambadde engoye ezinekaaneka, nga babeera mu bulamu bwa kikungu era babeera mu mbiri.
26 But what did you go out to see—a prophet? Yes, I tell you: more than a prophet. Naye mwagenderera kulaba ki? Nnabbi? Weewaawo ka mbabuulire, oyo asinga ne nnabbi.
27 This is the one Scripture speaks of: 'Look, I'm sending my messenger ahead of you to prepare your way before you.' Y’oyo ebyawandiikibwa gwe byogerako nti, “ ‘Laba, ntuma omubaka wange okukukulembera, y’alikuteekerateekera ekkubo lyo mu maaso go.’ ”
28 I tell you: no one born of women is greater than John—yet the least in our Father's kingdom is greater than he." “Mbagamba nti, mu bantu bonna abaali bazaaliddwa abakazi, tewali mukulu wa kitiibwa kukira Yokaana, naye ate oyo asembayo mu bwakabaka bwa Katonda asinga Yokaana ekitiibwa.”
29 (When all the people, including the tax collectors, heard this, they declared our Father just, having been baptized with John's baptism, Abantu bonna, awamu n’abasolooza b’omusolo, bwe baawulira ebigambo bya Yesu ebyo, ne batendereza Katonda, kubanga baali babatiziddwa mu kubatizibwa kwa Yokaana.
30 but the Pharisees and lawyers rejected our Father's purpose for themselves, not baptized by him.). Naye Abafalisaayo n’abayigiriza b’amateeka ne bagaana ebyo Katonda bye yabategekera, kubanga tebaabatizibwa Yokaana.
31 "To what then should I compare the people of this generation, and what are they like? Awo Yesu n’abuuza nti, “Abantu ab’omulembe guno mbageraageranye na ki? Bafaanana batya?
32 They are like children sitting in the marketplace, calling to each other: 'We played the flute for you, and you didn't dance; we sang a dirge, and you didn't weep.' Bafaanana ng’abaana abato abazannya emizannyo gyabwe mu katale, nga bagambagana nti, “ ‘Bwe twabafuuyira omulere, temwazina, Bwe twayimba oluyimba olw’okukungubaga, temwakungubaga.’
33 For John the Baptist came eating no bread, drinking no wine, and you say, 'He has a demon.' Kubanga Yokaana Omubatiza bwe yajja teyalyanga mmere wadde okunywa omwenge, ne mugamba nti, ‘Aliko dayimooni!’
34 The Son of Man came eating and drinking, and you say, 'See, a glutton and a drunkard, a friend of tax collectors and sinners!' Omwana w’Omuntu azze ng’alya emmere era ng’anywa ne mugamba nti, ‘Laba wa mululu era mutamiivu, mukwano gw’abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi!’
35 Yet wisdom is justified by all her children." Naye amagezi geeragira mu butuukirivu olw’abaana baago bonna.”
36 A Pharisee invited him to eat with him; he went into the Pharisee's house and reclined at the table. Awo omu ku Bafalisaayo n’ayita Yesu ku kijjulo, Yesu n’ayingira mu nnyumba, n’atuula ku mmeeza.
37 A woman in the city, a sinner, learned he was reclining at table in the Pharisee's house and brought an alabaster bottle of perfume. Awo omukazi ow’omu kibuga ekyo nga mwonoonyi, eyali ategedde nga Yesu ali mu nju eyo ey’Omufalisaayo, n’aleeta eccupa y’amafuta ag’akaloosa.
38 Standing behind him at his feet, weeping, she began wetting his feet with her tears, wiped them with her hair, kissed his feet, and anointed them with the perfume. N’ayimirira awali Yesu, n’akaaba, amaziga ne gatonnya ku bigere bya Yesu ne bitoba. Omukazi n’abisiimuuza enviiri ze, era n’abinywegera; n’abifukako amafuta ag’akaloosa.
39 Seeing this, the Pharisee who'd invited him thought, "If he were a prophet, he'd know who's touching him and what kind of woman she is—a sinner." Naye Omufalisaayo eyayita Yesu, ebyo bwe yabiraba, n’agamba munda ye nti, “Singa omuntu ono abadde nnabbi, yanditegedde omukazi amukwatako kyali era nga bw’ali omwonoonyi!”
40 Jesus replied to him, "Simon, I have something to say to you." He said, "Say it, Teacher." Awo Yesu n’amugamba nti, “Simooni, nnina kye njagala okukubuulira.” Simooni n’addamu nti, “Omuyigiriza, mbuulira.”
41 "A certain moneylender had two debtors. One owed 500 denarii, and the other fifty. “Waaliwo abantu babiri, omuwozi w’ensimbi be yali abanja. Omu yali amubanja ddinaali ebikumi bitaano, n’omulala ddinaali amakumi ataano.
42 Since neither could pay, he canceled both debts. So which of them will love him more?" Naye ku bombi nga tekuliiko asobola kusasula bbanja lye. Eyali ababanja kwe kubasonyiwa. Kale, ku bombi aluwa alisinga okumwagala?”
43 Simon answered, "I suppose the one he forgave the larger debt." Jesus said, "You judged rightly." Simooni n’addamu nti, “Ndowooza oyo gwe yasonyiwa ebbanja erisingako obunene.” Yesu n’amugamba nti, “Olamudde bulungi.”
44 Turning to the woman, he told Simon, "Do you see this woman? I entered your house—you gave no water for my feet, but she wet my feet with her tears and wiped them with her hair. N’alyoka akyukira omukazi n’agamba Simooni nti, “Omukazi ono omulaba? Bwe nayingidde mu nnyumba yo, tewampadde mazzi ga kunaaba ku bigere byange. Naye abinaazizza n’amaziga ge n’abisiimuula n’enviiri ze.
45 You gave me no kiss, but she, from when I came in, hasn't stopped kissing my feet. Tewannyanirizza na kunnywegera, naye anywegedde ebigere byange emirundi mingi okuva lwe nayingidde.
46 You did not anoint my head with oil, but she has anointed my feet with perfume. Tewansiize mafuta ku mutwe gwange, naye ye asiize ebigere byange amafuta ag’akaloosa.
47 So I tell you, her many sins are forgiven, because she loved much. But whoever is forgiven little loves little." Noolwekyo nkutegeeza nti omukazi ono asonyiyiddwa ebibi bye ebingi kubanga okwagala kwe kungi, naye oyo asonyiyibwa ebitono n’okwagala kwe kuba kutono.”
48 And he said to her, "Your sins are forgiven." Awo Yesu n’agamba omukazi nti, “Osonyiyiddwa ebibi byo.”
49 Then his fellow guests began asking each other, "Who is this, who even forgives sins?" Abo abaali ne Yesu ku mmeza ne beebuuzaganya nti, “Ono ye ani asonyiwa n’ebibi?”
50 And he said to the woman, "Your faith has saved you; go in peace." Yesu n’agamba omukazi nti, “Okukkiriza kwo kukulokodde, genda mirembe.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]