Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 On a Sabbath, Jesus walked through grainfields; his disciples picked heads of grain, rubbed them in their hands, and ate. Awo ku lunaku lumu olwa Ssabbiiti, Yesu n’abayigirizwa be bwe baali bayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke, abayigirizwa be ne banoga ku birimba by’emmere ey’empeke ne babikunya mu ngalo zaabwe, ne balya.
2 Some of the Pharisees said, "Why are you doing what is not lawful on the Sabbath?" Naye Abafalisaayo abamu ne bagamba nti, “Lwaki mukola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti?”
3 Jesus answered them, "Haven't you read what David did when he and those with him were hungry, Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola, enjala bwe yamuluma n’abo be yali nabo?
4 how he entered our Father's house, took the bread of the Presence, ate it, gave some to his companions, though it's not lawful for any but the priests to eat it?" Yayingira mu nnyumba ya Katonda, n’addira emigaati egy’okulaga, n’atoola n’alyako, n’awaako ne be yali nabo ne balya so ng’ekyo kyali tekikkirizibwa muntu yenna okuggyako bakabona.”
5 Then he said to them, "The Son of Man is Lord of the Sabbath." N’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu, ye Mukama wa Ssabbiiti.”
6 On another Sabbath he entered the synagogue and taught; a man was there with a withered right hand. Ku lunaku lwa Ssabbiiti olulala Yesu yali ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro nga mulimu n’omusajja eyalina omukono ogukaze.
7 The scribes and Pharisees watched him closely to see if he would heal on the Sabbath, so they could find a charge against him. Abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bamusimbako amaaso okulaba obanga anaawonya ku Ssabbiiti, babeeko n’ekintu kye baneekwasa bamuvunaane omusango.
8 But knowing their thoughts, he told the man with the withered hand, "Get up and stand here." So he got up and stood there. Naye Yesu n’ategeera ebirowoozo byabwe. N’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Situka oyimirire wakati wano.” N’asituka n’ayimirira.
9 Then Jesus said to them, "I ask you: is it lawful on the Sabbath to do good or do harm, to save a life or destroy it?" Yesu n’alyoka agamba Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, “Muleke mbabuuze; Kirungi okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Kirungi okuwonya obulamu oba okubuzikiriza?”
10 Looking around at them all, he told the man, "Stretch out your hand." He did, and his hand was restored. N’abeetoolooza amaaso kinnoomu, n’alyoka agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” Omusajja n’agolola omukono gwe ne guwona.
11 But filled with rage, they discussed with each other what to do to Jesus. Naye ne bajjula obusungu, ne boogera bokka ne bokka kye banaakola Yesu.
12 In those days Jesus went out to the mountain to pray, spending the whole night in prayer to our Father. Awo olwatuuka mu nnaku ezo, Yesu n’alinnya waggulu ku lusozi okusaba, n’asaba ekiro kyonna eri Katonda.
13 At daybreak he called his disciples and chose twelve of them, naming them apostles: Obudde bwe bwakya, n’ayita abayigirizwa be n’abalondako kkumi n’ababiri, n’abafuula abatume. Amannya gaabwe ge gano:
14 Simon, whom he named Peter, and his brother Andrew; James and John; Philip and Bartholomew; Simooni, gwe yatuuma Peetero, ne Andereya, muganda wa Simooni, ne Yakobo, ne Yokaana, ne Firipo, ne Battolomaayo,
15 Matthew and Thomas; James son of Alphaeus, and Simon who was called the Zealot; ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni, ow’omu kibiina ky’obufuzi eky’Abazerote,
16 Judas son of James, and Judas Iscariot, who became a traitor. ne Yuda, omwana wa Yakobo, ne Yuda Isukalyoti, oluvannyuma eyamulyamu olukwe.
17 He came down with them and stood on a level place, with a large crowd of his disciples and a large multitude of people from all Judea, Jerusalem, and the coast of Tyre and Sidon. Awo Yesu bwe yava ku lusozi awamu nabo, n’ayimirira wansi w’olusozi mu lusenyi awatereevu, ekibiina kinene eky’abayigirizwa be, n’ekibiina kinene eky’abantu abaava mu Buyudaaya yonna ne Yerusaalemi n’ebitundu eby’oku lubalama lw’ennyanja olwa Ttuulo ne Sidoni,
18 They came to hear him and be healed of their diseases; those troubled by unclean spirits were also cured. ne bajja okumuwuliriza n’okuwonyezebwa endwadde zaabwe. Abo abaali batawaanyizibwa emyoyo emibi ne bawonyezebwa;
19 The whole crowd tried to touch him, since power went out from him, healing everyone. era abantu bonna ne bafuba okumukwatako, kubanga amaanyi agawonya gaamuvangamu nga gawonya buli muntu.
20 Looking up at his disciples, he said: "Blessed are you who are poor, for yours is the kingdom of our Father. Awo Yesu n’atunuulira abayigirizwa be enkaliriza n’agamba nti, “Mulina omukisa abaavu, kubanga obwakabaka bwa Katonda bwammwe.
21 "Blessed are you who hunger now, for you will be satisfied. Blessed are you who weep now, for you will laugh. Mulina omukisa abalumwa enjala kaakano, kubanga mulikkusibwa. Mulina omukisa abakaaba kaakano, kubanga muliseka.
22 Blessed are you when people hate you, and when they exclude you and revile you and reject your name as evil, because of the Son of Man. Mulina omukisa bwe babakyawa, ne babeewala, ne babavuma, ne basiiga erinnya lyammwe enziro, olw’Omwana w’Omuntu.”
23 Rejoice in that day and leap for joy, for your reward is great in heaven; for that is how the persecutors' ancestors treated the prophets. “Musanyukanga ku lunaku olwo ne mujaguza, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu, kubanga ebintu ebyo bajjajjammwe baabikola bannabbi abaabasooka.
24 But woe to you who are rich, for you have already received your comfort. “Naye zibasanze mmwe abagagga, kubanga mufunye essanyu lyammwe erijjuvu.
25 Woe to you who are full now, for you will be hungry. Woe to you who laugh now, for you will mourn and weep. Zibasanze mmwe abalya ne mukkuta kaakano, kubanga mulirumwa enjala. Zibasanze mmwe abaseka kaakano, kubanga mulikungubaga, ne mukaaba.
26 Woe to you when everyone speaks well of you, for that is how the flatterers' ancestors treated the false prophets. Zibasanze mmwe abantu bonna bwe babawaana, kubanga bwe batyo bajjajjammwe bwe baayisa bannabbi aboobulimba.”
27 But I tell you who listen: love your enemies, do good to those who hate you, “Naye mmwe abampuliriza mbagamba nti: Mwagalenga abalabe bammwe, n’ababakyawa mubayisenga bulungi.
28 bless those who curse you, pray for those who mistreat you. Ababakolimira mubasabirenga omukisa; ababayisa obubi mubasabirenga.
29 Whoever strikes you on one cheek, offer the other too; whoever takes your coat, do not hold back your shirt. Omuntu bw’akukubanga oluyi ku luba olumu, omukyusizanga n’akukuba ne ku lwokubiri! Omuntu bw’akunyagangako ekkooti yo, n’essaati yo ogimulekeranga.
30 Give to everyone who asks you, and don't demand back what is taken from you. Omuntu yenna akusabanga omuwanga; era n’oyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga kubikuddizza.
31 Do to others as you would have them do to you. Kye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga bwe mutyo.”
32 Loving those who love you—what credit is that? Even sinners love those who love them. “Bwe munaayagalanga abo ababaagala bokka, munaagasibwa ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bwe beeyisa bwe batyo.
33 If you do good to those doing you good, what credit is that to you? Even sinners do the same. Bwe munaayisanga obulungi abo bokka ababayisa obulungi, munaagasibwa ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bwe bakola bwe batyo.
34 And if you lend expecting repayment, what credit is that? Even sinners lend to sinners to get back the same amount. Bwe munaawolanga abo bokka be musuubira okubasasula mmwe, munaagasibwangamu ki? Kubanga n’abakozi b’ebibi bawola bakozi ba bibi bannaabwe, basobole okusasulwa omuwendo gwe gumu.
35 But love your enemies, do good, and lend expecting nothing back; your reward will be great, and you will be children of the Most High, for he is kind to the ungrateful and evil. Naye mmwe mwagalenga abalabe bammwe! Mubayisenga bulungi! Muwolenga nga temusuubira kusasulwa magoba. Bw’etyo empeera yammwe eriba nnene era muliba baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo. Kubanga wa kisa eri abatasiima n’abakozi b’ebibi.
36 Be merciful, just as your Father is merciful. Mubeerenga ba kisa nga Kitammwe bw’ali ow’ekisa.”
37 Do not judge, and you will not be judged. Do not condemn, and you will not be condemned. Forgive, and you will be forgiven. “Temusalanga musango, nammwe muleme okusalirwa omusango. Temusingisanga musango, nammwe muleme okusingibwa. Musonyiwenga era nammwe mulisonyiyibwa.
38 Give, and it will be given to you: a good measure—pressed down, shaken, overflowing—will be poured into your lap. For the measure you use will be measured back to you." Mugabenga nammwe muliweebwa. Ekigera ekirungi ekikattiddwa, ekisuukundiddwa, eky’omuyiika kiribakwasibwa. Kubanga ekigera kye mugereramu nammwe mwe muligererwa.”
39 He also gave them a parable: "Can a blind person guide a blind person? Won't both fall into a pit? Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Ddala ddala omuzibe w’amaaso ayinza okukulembera muzibe munne? Bombi tebajja kugwa mu kinnya?
40 No student surpasses their teacher; whoever is fully trained becomes like their teacher. Omuyizi tasaana kusinga amuyigiriza, kyokka bw’aba ng’atendekeddwa bulungi, buli muntu aliba ng’omusomesa we.”
41 Why do you see the speck in your brother's eye, yet miss the beam in your own eye? “Lwaki otunuulira akasasiro akali ku liiso lya muganda wo, naye n’otolaba kisiki kiri ku liiso lyo?
42 How can you tell your brother, 'Brother, let me remove the speck from your eye,' when you don't see the beam in your own eye? Hypocrite! First remove the beam from your own eye—then you'll see clearly to remove the speck from your brother's eye. Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Muganda wange, leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ naye nga ekisiki ekiri ku liryo tokiraba? Munnanfuusi ggwe! Sooka oggyeko ekisiki ku liiso lyo, olyoke olabe bulungi olwo oggyeko akasasiro akali ku liiso lya muganda wo.”
43 For no good tree bears bad fruit, nor again does a bad tree bear good fruit. “Omuti omulungi tegubala bibala bibi, so n’omuti omubi tegubala bibala birungi.
44 Each tree is known by its own fruit; figs aren't gathered from thornbushes, nor grapes picked from a bramble. Buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Abantu tebanoga ttiini ku busaana so tebanoga mizabbibu ku mweramannyo.
45 A good person produces good from the heart's good store; an evil person produces evil from the evil store; for the mouth speaks from the heart's overflow. Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu mutima gwe omulungi, n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu mutima gwe omubi. Kubanga akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima.”
46 Why do you call me 'Lord, Lord,' and not do what I say? “Lwaki mumpita nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe,’ so nga bye mbagamba si bye mukola?
47 Everyone coming to me, hearing my words, and doing them—I'll show you what he's like: Buli ajja gye ndi n’awulira ebigambo byange, n’abikola, ka mbalage bw’afaanana.
48 He's like a man building a house, who dug deep and laid its foundation on rock. When the flood came, the river crashed into that house but couldn't shake it—it was built well. Afaanana ng’omuntu eyazimba ennyumba, eyasima omusingi wansi ennyo n’atuuka ku lwazi. Amataba bwe gajja, ne gajjuza omugga tegaasobola kunyeenya nnyumba eyo kubanga yazimbibwa bulungi.
49 But whoever hears my words and doesn't act on them is like a man who built a house on the ground, without a foundation. The flood crashed against it, and it collapsed at once—that house's ruin was great." Naye omuntu awuliriza ebigambo byange n’atabikola, afaanana n’omusajja eyazimba ennyumba ku ttaka nga tasimye musingi. Omugga bwe gwajjula, ne gwanjaala, ne gukuba ennyumba n’egwa, era n’okugwa kw’ennyumba eyo kwali kunene nnyo.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]