Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Soon after, he traveled through towns and villages, preaching and announcing the good news of our Father's kingdom. The twelve were with him, Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’agenda ng’akyalira ebibuga ebinene n’ebitono ng’abuulira Enjiri y’obwakabaka bwa Katonda, n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri nga bali naye.
2 and some women healed of evil spirits and illnesses: Mary, called Magdalene, from whom seven demons had left, Waaliwo n’abakazi Yesu be yali agobyeko emyoyo emibi ne be yali awonyezza endwadde. Mu bo mwe mwali ne Maliyamu eyayitibwanga Magudaleene gwe yagobako baddayimooni omusanvu,
3 and Joanna, wife of Chuza, manager for Herod, and Susanna, and many others, who supported them from their own resources. ne Jowaana muka Kuza eyali omukulu w’olubiri lwa Kerode; ne Susaana, n’abalala bangi, abaatoolanga ku byabwe ne balabirira Yesu n’abayigirizwa be.
4 As a large crowd gathered, with people from every town coming to him, he spoke in a parable: Awo ekibiina kinene bwe kyali kikuŋŋaana, nga n’abantu abava mu buli kibuga bajja eri Yesu, Yesu n’abagerera olugero luno nti,
5 "A sower went out to sow. As he sowed, some seed fell on the path, got trampled, and birds of the sky ate it. “Omulimi yagenda mu nnimiro ye okusiga ensigo. Bwe yatandika okusiga ensigo, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo ne bazirinnyirira, n’ebinyonyi eby’omu bbanga ne bizirya.
6 Other seed fell on rock; sprouting, it withered from lack of moisture. Ensigo endala zaagwa ku lwazi, bwe zaamera ne zikala kubanga tezaalina mazzi.
7 Some fell among the thorns, and the thorns grew up with it and choked it. Ensigo endala zaagwa mu maggwa, bwe zaamera n’amaggwa nago ne gakula ne gazizisa.
8 Other seed fell on good soil, grew, and yielded a hundredfold." Saying this, he called out, "Whoever has ears to hear, let him hear." Naye ensigo endala n’azisiga mu ttaka eddungi, ne zikula ne zibala ebibala emirundi kikumi.” N’amaliriza ng’agamba nti, “Alina amatu okuwulira awulire.”
9 His disciples asked him what this parable meant. Abayigirizwa be ne bamubuuza amakulu g’olugero olwo.
10 He said, "You've been given to know the secrets of our Father's kingdom; the rest get parables, so that 'seeing they may not see, and hearing they may not understand.'" N’abaddamu nti, “Mmwe muweereddwa omukisa okumanya ebyama by’obwakabaka bwa Katonda, naye abalala, njogera gye bali mu ngero, “ ‘bwe batunula baleme kulaba, bwe bawulira baleme kutegeera.’
11 "Now the parable is this: The seed is the word of our Father. “Kale, amakulu g’olugero olwo ge gano: Ensigo ky’ekigambo kya Katonda.
12 Those along the path are the ones who hear; then the devil comes and takes the word from their hearts, so they won't believe and be saved. Ensigo ezaagwa ku mabbali g’ekkubo, be bawulira ekigambo, naye Setaani n’ajja n’akibaggyako mu mutima gwabwe, si kulwa nga bakkiriza ne balokolebwa.
13 Those on the rock hear the word and receive it with joy, but have no root; they believe for a while, then fall away in time of testing. Ezaagwa ku lwazi be bawulira ne basanyukira ekigambo, kyokka ne kitaba na mmizi. Be bakkiriza, naye okugezesebwa bwe kujja ne bagwa.
14 What fell among thorns: these are those who hear, but as they go, life's worries, wealth, and pleasures choke them, and their fruit never matures. Ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo, naye okweraliikirira n’obugagga n’amasanyu g’omu bulamu ne bibazisa, ne bataleeta bibala bikuze bulungi.
15 But the one in good soil: these hear the word with an honest, good heart, hold it firmly, and bear fruit through perseverance." Naye ezaagwa ku ttaka eddungi be bantu abalungi era abeesigwa, era bakuuma ekigambo ku mitima ne babala ebibala n’obugumiikiriza.
16 "No one lights a lamp, covers it with a jar, or puts it under a bed; instead, he sets it on a stand, so those entering can see the light. “Tewali muntu akoleeza ttaala ate nagisaanikirako akalobo oba n’agissa wansi w’ekitanda. Agiwanika waggulu ku kikondo, olwo lw’esobola okumulisiza abantu abayingira.
17 For nothing is hidden that won't be revealed, nothing secret that won't be known and brought to light. Kubanga tewali kintu na kimu ekyakwekebwa ekitalikwekulwa, era tewali na kimu ekitalimanyibwa mu lwatu.
18 So watch how you listen, for whoever has, more will be given to him; whoever has not, even what he thinks he has will be taken away." Noolwekyo mwegendereze nga muwuliriza, kubanga oyo alina alyongerwako; naye oyo atalina, n’ekyo ky’alowooza nti alina kigenda kumuggyibwako.”
19 His mother and brothers came to him but couldn't reach him because of the crowd. Awo nnyina ne baganda ba Yesu ne bajja okumulaba, naye ne batasobola kumutuukako olw’ekibiina ky’abantu ekinene.
20 And he was told, "Your mother and your brothers are standing outside, wanting to see you." Ne wabaawo amubuulira nti, “Nnyoko ne baganda bo obwedda bayimiridde wabweru, baagala kukulabako.”
21 But he answered them, "My mother and my brothers are those who hear the word of our Father and do it." Yesu n’addamu nti, “Mmange ne baganda bange be bano abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera.”
22 One day he and his disciples got into a boat. He said to them, "Let us cross over to the other side of the lake." So they set out. Lwali lumu Yesu n’alinnya mu lyato n’abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Tuwunguke tulage emitala w’ennyanja.” Ne basimbula okugenda.
23 As they sailed, he fell asleep. A windstorm swept down on the lake; the boat filled with water, and they were endangered. Bwe baali baseeyeeya Yesu ne yeebaka. Awo omuyaga ogw’amaanyi ne gukunta ku nnyanja, n’eryato ne liyuuga nnyo, ne baba mu kabi kanene.
24 They woke him, saying, "Master, Master, we're dying!" He got up, rebuked the wind and the raging water; they stopped, and it grew calm. Abayigirizwa ne bamuzuukusa, ne bagamba nti, “Mukama waffe, Mukama waffe, tusaanawo!” N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’amazzi agaali geefuukudde. Ne bikkakkana, ennyanja n’etteeka!
25 He asked them, "Where is your faith?" Afraid and amazed, they said to each other, "Who then is this? He commands even the winds and water, and they obey him." N’alyoka abagamba nti, “Okukkiriza kwammwe kuluwa?” Ne batya, ne beewuunya nnyo, ne bagambagana nti, “Omuntu ono ye ani? Alagira omuyaga n’amazzi ne bimugondera!”
26 Then they sailed to the region of the Gerasenes, which is opposite Galilee. Awo ne bagoba emitala w’eri mu nsi y’Abageresene eyolekedde Ggaliraaya.
27 As Jesus stepped onto land, a demon-possessed man from the city met him. For a long time he'd worn no clothes and stayed not in a house but among the tombs. Awo Yesu bwe yava mu lyato omusajja eyaliko baddayimooni n’ajja okumusisinkana ng’ava mu kibuga. Omusajja oyo yali amaze ebbanga ddene nga tayambala ngoye, nga tasula na mu nju, wabula ng’asula mu ntaana.
28 Seeing Jesus, he cried out, fell before him, and said loudly, "What do you want with me, Jesus, Son of the Most High God? I beg you, don't torment me!" Awo bwe yalaba Yesu n’awowoggana n’agwa wansi mu maaso ga Yesu, n’aleekaana nti, “Onjagaza ki, Yesu, Omwana wa Katonda Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayiridde tombonyaabonya!”
29 Jesus had ordered the unclean spirit out of the man, for it had often seized him; though guarded and bound with chains and shackles, he would break them and be driven by the demon into the wilderness. Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi guve ku musajja oyo. Emirundi mingi yalumbibwanga n’amaanyi mangi, ne bwe baamusibanga n’enjegere, n’akuumibwa mu masamba, yabikutulanga, ddayimooni n’amulaza mu ddungu.
30 Jesus asked him, "What is your name?" He said, "Legion," for many demons had entered him. Awo Yesu n’abuuza omusajja nti, “Erinnya lyo ggwe ani?” Omusajja n’addamu nti, “Nze Ligyoni,” kubanga omusajja yaliko baddayimooni bangi.
31 And they begged him not to command them to depart into the abyss. Baddayimooni ne beegayirira Yesu aleme okubagobera mu bunnya obutakoma.
32 A large herd of pigs was feeding on the hillside there. The demons begged him to let them enter the pigs, and he allowed it. Waaliwo eggana ly’embizzi, awo ku lusozi, nga lirya, baddayimooni ne beegayirira Yesu abasindike mu mbizzi ezo. Yesu n’abakkiriza.
33 So the demons left the man and entered the pigs; the herd rushed down the cliff into the lake and drowned. Baddayimooni ne bava ku musajja ne bayingira mu mbizzi, amangwago eggana lyonna ne lifubutuka nga liserengeta olusozi, ne lyewanula ku bbangabanga, ne ligwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo.
34 Herdsmen saw it, fled, and reported it in the city and in the countryside. Abalunzi b’embizzi ezo bwe baakiraba, ne badduka embiro ne bagenda, ne bategeeza ab’omu malundiro ne mu kibuga, ebintu byonna ebibaddewo.
35 The crowd came out to see what had happened. Reaching Jesus, they found the man freed of demons sitting at Jesus' feet, dressed and clear-minded—and fear seized them. Ekibiina ky’abantu ne bagenda okulaba ebibaddewo ne bajja eri Yesu, ne balaba omusajja eyagobwako baddayimooni ng’atudde awo awali ebigere bya Yesu ng’ayambadde engoye era nga mulamu ddala! Ne batya nnyo.
36 And those who had seen it told them how the demon-possessed man had been healed. Abo abaaliwo okusookera ddala ne bategeeza abalala ng’omusajja eyaliko ddayimooni bwe yawonyezebwa.
37 All the people of the Gerasene region asked him to leave them, because great fear gripped them. So he boarded the boat and went back. Awo abantu bonna ab’ensi eyo ey’Abagerasene ne basaba Yesu abaviire, kubanga baali batidde nnyo. N’asaabala mu lyato n’avaayo.
38 The man the demons had left begged to go with him, but Jesus sent him away, saying, Omusajja, eyagobwako baddayimooni n’amusaba agende naye, naye Yesu n’agaana.
39 "Return home; tell how much our Father has done for you." He went, proclaiming throughout the whole city how much Jesus had done for him. N’agamba omusajja nti, “Ddayo ewammwe obategeeze Katonda by’akukoledde.” Omusajja n’agenda ng’ategeeza buli gwe yasanganga mu kibuga, Yesu bye yali amukoledde.
40 Now when Jesus returned, the crowd welcomed him, for they were all waiting for him. Yesu bwe yakomawo ekibiina ky’abantu ne bamwaniriza n’essanyu kubanga bonna baali bamulindirira.
41 A man named Jairus, a synagogue leader, came and fell at Jesus' feet, begging him to come to his house, Mu kiseera ekyo ne wajjawo omusajja erinnya lye Yayiro, eyali omukulembeze w’ekkuŋŋaaniro, n’agwa ku bigere bya Yesu n’amwegayirira ajje mu maka ge,
42 for he had an only daughter, about twelve years old, dying. As Jesus went, crowds pressed around him. kubanga muwala we omu yekka gwe yalina, eyali aweza emyaka nga kkumi n’ebiri yali afa. Yesu n’agenda naye, naye ng’ekibiina kimunyigiriza.
43 A woman had bled for twelve years; she had spent her whole livelihood on doctors, but none could heal her. Mu kibiina ky’abantu ekyo mwalimu omukazi eyali amaze emyaka kkumi n’ebiri ng’alwadde ekikulukuto ky’omusaayi. Yali atambudde nnyo mu basawo era nga bamumazeeko ebintu bye byonna ng’abasasula, naye ne watabaawo asobola kumuwonya.
44 Coming up behind him, she touched the tassel of his cloak, and her bleeding stopped instantly. Omukazi ono n’asemberera Yesu ng’amuvaako emabega, n’akoma ku lukugiro lw’ekyambalo kya Yesu, ekikulukuto ky’omusaayi ne kiwona mu kaseera ako kennyini!
45 Jesus said, "Who touched me?" When all denied it, Peter said, "Master, the crowds crowd and press against you." Yesu n’abuuza nti, “Ani ankutteko?” Bonna ne beegaana, naye Peetero n’agamba nti, “Mukama waffe, ekibiina ky’abantu kinene abakwetoolodde era abantu bangi bakunyigiriza.”
46 But Jesus said, "Someone touched me, for I felt that power had gone out from me." Naye Yesu n’addamu nti, “Waliwo ankutteko kubanga mpulidde ng’amaanyi ganvaamu.”
47 Seeing she couldn't stay hidden, the woman came trembling, fell before him, and declared in front of everyone why she'd touched him and how she was instantly healed. Awo omukazi bwe yategeera ng’avumbuddwa, n’ajja ng’akankana n’agwa awo mu maaso ga Yesu, n’annyonnyola mu maaso g’abantu bonna ensonga kyeyavudde amukwatako, era nti n’obulwadde bwe bwawoneddewo!
48 And he said to her, "Daughter, your faith has healed you; go in peace." Yesu n’agamba omukazi nti, “Muwala wange, okukkiriza kwo kukuwonyezza. Genda mirembe.”
49 While he was still speaking, someone from the synagogue leader's house said, "Your daughter has died; don't bother the Teacher anymore." Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera omuntu n’atuuka ng’ava mu maka g’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’agamba Yayiro nti, “Muwala wo afudde! Omuyigiriza toyongera kumuteganya.”
50 But Jesus heard and answered him, "Don't be afraid; just believe, and she'll be saved." Naye Yesu bwe yakiwulira n’amugamba nti, “Totya! Kkiriza bukkiriza, ajja kuba mulamu.”
51 Arriving at the house, he let no one enter with him except Peter, John, James, and the child's father and mother. Awo Yesu bwe yatuuka ku nnyumba ya Yayiro, n’atakkiriza bantu balala kuyingira naye mu nju wabula Peetero, ne Yokaana, ne Yakobo, ne kitaawe w’omwana, ne nnyina.
52 All were weeping and mourning her, but he said, "Don't weep, for she's not dead, only asleep." Mu kiseera ekyo abantu bonna baali bakaaba nga bakungubagira omwana oyo. Yesu n’abagamba nti, “Mulekeraawo okukaaba! Omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi!”
53 And they laughed at him, knowing that she was dead. Ne bamusekerera nnyo, kubanga bonna baali bamanyi ng’omuwala afudde.
54 But he took her by the hand and called out, "Child, get up." Naye Yesu n’akwata omuwala eyali afudde ku mukono, n’akoowoola ng’agamba nti, “Mwana wange, golokoka!”
55 Her spirit returned, and she got up instantly. He told them to give her something to eat. Amangwago n’aba mulamu, n’asituka n’ayimirira. Yesu n’abalagira bamuwe ekyokulya.
56 Her parents were amazed, but he ordered them to tell no one what had happened. Bazadde b’omuwala ne beewuunya, naye Yesu n’abakuutira obutabuulirako muntu yenna ebibaddewo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]