1Jesus called the twelve together, gave them power and authority over all the demons and to heal diseases.OLCBAwo olunaku lwali lumu Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri bonna awamu, n’abawa obuyinza okugoba baddayimooni ku bantu n’okuwonya endwadde.
2And he sent them out to proclaim the kingdom of our Father and to heal the sick.OLCBN’abawa obuyinza n’abatuma bagende bategeeze abantu ebigambo by’obwakabaka bwa Katonda era bawonye n’abalwadde.
3He said to them, "Take nothing for the road: no staff, bag, bread, or money, and don't take two tunics each.OLCBN’abalagira nti, “Temwetwalira kintu kyonna nga mugenda, wadde omuggo, oba ensawo, oba emmere, wadde ffeeza wadde essaati ebbiri.
4Whatever house you enter, stay there, and leave from there.OLCBNa buli nnyumba mwe muyingiranga, mubeerenga omwo, era mwe muba muvanga.
5Wherever they won't welcome you, shake the dust off your feet as you leave that town, as a testimony against them."OLCBBwe muyingiranga mu kibuga, abantu baamu ne batabaaniriza, mubaviirenga, era bwe mubanga mufuluma mu kibuga ekyo mukunkumulanga enfuufu ku bigere byammwe, ebe omujulirwa eri bo.”
6So they set out and went from village to village, proclaiming the good news and healing everywhere.OLCBNe bagenda nga bava mu kibuga ekimu nga badda mu kirala, nga babuulira Enjiri buli wamu era nga bawonya.
7Herod the tetrarch heard all that was happening, and was puzzled, because some said John had been raised from the dead,OLCBAwo Kerode eyali afuga Ggaliraaya bwe yawulira ebintu ebyo byonna, n’asoberwa, kubanga abantu abamu baali bagamba nti, “Yokaana azuukidde mu bafu,”
8others that Elijah had appeared, and still others that one of the prophets of old had risen.OLCBn’abalala nti, “Eriya yali alabise,” n’abalala nti, “Omu ku bannabbi ab’edda azuukidde mu bafu.”
9Herod said, "I beheaded John—so who is this I hear such things about?" He kept seeking to see him.OLCBNaye Kerode ne yeebuuza nti, “Yokaana namutemako omutwe; naye ate kale ono ye ani gwe mpulirako ebigambo bino byonna?” N’ayagala okulaba Yesu.
10When the apostles returned, they told Jesus all they had done. He took them and withdrew privately to a town called Bethsaida.OLCBAwo abatume bwe baakomawo ne bategeeza Yesu bye baakola. Yesu n’abatwala mu kyama ne bagenda bokka mu kibuga ekiyitibwa Besusayida.
11But the crowds found out and followed him. He welcomed them, spoke to them of our Father's kingdom, and healed those who needed it.OLCBNaye ebibiina bwe baakitegeera ne kimugoberera. Yesu n’abaaniriza, n’abayigiriza ebigambo ebikwata ku bwakabaka bwa Katonda, n’abaali abalwadde n’abawonya.
12As the day was ending, the Twelve came and said to him, "Send the crowd away to find lodging and food in the villages and countryside around us—we're in a remote place here."OLCBObudde bwe bwawungeera abayigirizwa ekkumi n’ababiri ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, “Abantu bagambe bagende mu bibuga ebyetoolodde wano ne mu byalo beefunire we banaafuna ku mmere n’okusula, kubanga wano tuli mu ttale jjereere.”
13He said, "You give them something to eat." They said, "We have only five loaves and two fish—unless we go and buy food for this whole crowd."OLCBYesu n’abaddamu nti, “Mmwe mubawe ekyokulya!” Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Wano tulinawo emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri, mpozi nga tugenda tugulire abantu bano bonna emmere.”
14For there were about 5,000 men. He told his disciples, "Seat them in groups of about fifty each."OLCBWaaliwo abasajja ng’enkumi ttaano. Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Mutuuze abantu mu bibiina by’abantu ng’amakumi ataano buli kimu.”
15They did so, and had everyone sit down.OLCBAbayigirizwa ne bakola bwe batyo, bonna ne batuula.
16He took the five loaves and two fish, looked up to heaven, blessed and broke them, then kept giving them to the disciples to serve the crowd.OLCBAwo Yesu n’addira emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’atunula eri eggulu, ne yeebaza, n’amenyaamenya emigaati n’ebyennyanja, n’awa abayigirizwa be bagabule abantu.
17All ate and were satisfied; the leftover pieces filled twelve baskets.OLCBBonna ne balya ne bakkuta, era obutundutundu obwalema bwe bwakuŋŋaanyizibwa ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri.
18Once, while praying alone with his disciples nearby, Jesus asked them, "Who do the crowds say I am?"OLCBLwali lumu Yesu bwe yali ng’asaba yekka kyokka nga n’abayigirizwa be bali awo, n’ababuuza nti, “Ebibiina bimpita ani?”
19They answered, "John the Baptist. Others say Elijah. Still others, that an ancient prophet has risen."OLCBNe baddamu nti, “Abamu bagamba nti Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, ate nga waliwo abagamba nti omu ku bannabbi ab’edda y’azuukidde.”
20"But who do you say that I am?" he asked. Peter answered, "The Christ of our Father."OLCBYesu kwe kubabuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero n’addamu nti, “Ggwe Kristo wa Katonda.”
21Jesus strictly warned them, ordering them to tell no one this,OLCBAwo Yesu n’abakuutira, ng’abalagira obutakitegeezaako muntu yenna,
22saying, "The Son of Man must suffer many things and be rejected by the elders, chief priests, and scribes, and be killed, and on the third day be raised."OLCBn’abategeeza nti, “Kigwanidde, Omwana w’Omuntu, okubonaabona ennyo, n’okugaanibwa abakulembeze b’Abayudaaya, ne bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’okuttibwa, naye ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa!”
23Then he told them all, "Whoever wants to come after me must deny himself and take up his cross daily and follow me.OLCBEra bonna n’abagamba nti, “Omuntu yenna ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka yeetikke omusaalaba gwe buli lunaku, angoberere!
24For whoever intends to save his life will lose it, but whoever loses his life because of me will save it.OLCBKubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe, alibufiirwa. Na buli alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibulokola.
25For what use is it if someone gains the whole world, yet loses or forfeits himself?OLCBKubanga omuntu kirimugasa ki okulya ensi yonna, naye n’afiirwa obulamu bwe?
26Whoever is ashamed of me and my words, the Son of Man will be ashamed of him when he comes in his own glory and the glory of the Father and the holy angels.OLCBBuli alinkwatirwa ensonyi, nze n’ebigambo byange, n’Omwana w’Omuntu, alimukwatirwa ensonyi, bw’alijja mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu.
27But I tell you truly, some standing here will not taste death before they see the kingdom of our Father."OLCB“Naye ddala ddala mbagamba nti abamu ku abo abayimiridde wano waliwo abatalirega ku kufa okutuusa nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda.”
28About eight days after these words, Jesus took Peter, John, and James up a mountain to pray.OLCBAwo nga wayiseewo ng’ennaku munaana, Yesu n’atwala Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne bambuka ku lusozi okusaba.
29As he was praying, the appearance of his face changed, and his clothing became dazzling white.OLCBBwe yali ng’asaba endabika y’amaaso ge n’ekyusibwa, ebyambalo bye ne byeruka ne bitukula nnyo era ne byakaayakana.
30And there were two men talking with him—Moses and Elijah,OLCBAwo abantu babiri ne balabika nga banyumya ne Yesu, omu yali Musa n’omulala Eriya,
31who appeared in glory, speaking of his departure, which he was about to fulfill in Jerusalem.OLCBabaali bamasamasa mu kitiibwa kyabwe nga boogera ku kufa kwa Yesu, kwe yali agenda okutuukiriza mu Yerusaalemi.
32Peter and his companions were weighed down with sleep; fully awake, they saw his glory and the two men standing with him.OLCBPeetero ne banne otulo twali tubakutte era nga beebase, Bwe baazuukuka ne balaba ekitiibwa kya Yesu n’abantu ababiri abaali bayimiridde naye.
33As they were leaving him, Peter said to Jesus, "Master, it's good we're here. Let's make three shelters—one for you, one for Moses, one for Elijah." He didn't know what he was saying.OLCBAwo Musa ne Eriya bwe baali bagenda, Peetero nga tamanyi ne kyayogera, n’agamba nti, “Mukama wange kirungi ffe okubeera wano. Ka tuzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo, endala ya Musa n’endala ya Eriya!”
34As he spoke, a cloud came and covered them in shadow; entering it, they were afraid.OLCBNaye yali akyayogera ebyo ekire ne kibabikka, abayigirizwa ne bajjula okutya nga kibasaanikidde.
35A voice from the cloud said, "This is my Son, my Chosen One—listen to him!"OLCBEddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange, gwe nneeroboza, mumuwulirize!”
36When the voice ended, Jesus was found alone. They stayed silent, telling no one in those days what they had seen.OLCBEddoboozi bwe lyasiriikirira, Yesu n’asigalawo yekka. Abayigirizwa abo bye baalaba ne bye baawulira ne babikuuma mu mitima gyabwe, ne batabibuulirako muntu yenna mu kiseera ekyo.
37The next day, when they came down from the mountain, a large crowd met him.OLCBAwo enkeera bwe baakomawo nga bava ku lusozi, ekibiina ekinene ne kijja okusisinkana Yesu.
38A man from the crowd shouted, "Teacher, please look at my son, because he's my only child.OLCBOmusajja eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu ng’agamba nti, “Omuyigiriza, nkwegayiridde tunula ku mutabani wange ono kubanga yekka gwe nnina.
39A spirit seizes him, and suddenly he cries out; it convulses him until he foams, scarcely leaving him, battering him.OLCBKubanga ddayimooni buli bbanga amukwata n’amuwowogganya, era n’amukankanya n’abimba ejjovu n’amusuula eri era tayagala kumuleka, amumaliramu ddala amaanyi.
40I begged your disciples to drive it out, but they could not."OLCBNeegayiridde abayigirizwa bo bamumugobeko, naye ne batasobola.”
41Jesus answered, "Distrustful, twisted generation, how long must I stay with you and endure you? Bring your son here."OLCBAwo Yesu n’addamu nti, “Mmwe omulembe ogutakkiriza era ogwakyama, ndibeera nammwe kutuusa ddi? Era ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Leeta wano omwana wo.”
42As the boy was coming, the demon threw him down and convulsed him. But Jesus rebuked the unclean spirit, healed the boy, and returned him to his father.OLCBOmulenzi bwe yali ajja eri Yesu dayimooni n’amusuula wansi n’amukankanya nnyo. Yesu n’aboggolera omwoyo omubi n’awonya omwana, n’amuddiza kitaawe.
43All were astonished at our Father's majesty. While everyone was amazed at everything Jesus did, he said to his disciples,OLCBAbantu bonna ne beewuunya obuyinza bwa Katonda. Awo buli muntu bwe yali akyewuunya eby’ekitalo ebyo Yesu bye yali akola, n’agamba abayigirizwa be nti,
44"Store these words in your ears: the Son of Man will soon be delivered into human hands."OLCB“Muwulirize nnyo kye ŋŋenda okubagamba. Omwana w’Omuntu, agenda kuliibwamu olukwe.”
45But they didn't understand this word—hidden from them so they couldn't grasp it—and they were afraid to ask him about it.OLCBNaye abayigirizwa tebaategeera ky’agambye n’amakulu gaakyo. Kubanga kyali kibakwekebbwa, baleme okutegeera ate nga batya okukimubuuza.
46Now an argument arose among them as to which of them was the greatest.OLCBAwo empaka ne zisituka mu bayigirizwa ba Yesu, nga bawakanira aliba omukulu mu bo.
47But Jesus, knowing their hearts' thoughts, took a child and stood him beside himself,OLCBNaye Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe n’addira omwana omuto n’amuyimiriza w’ali.
48and told them, "Whoever receives this child in my name receives me, and whoever receives me receives the one who sent me. For the least among you all—that one is great."OLCBN’abagamba nti, “Buli muntu asembeza omwana ono omuto mu linnya lyange ng’asembezezza Nze, na buli ansembeza aba asembezezza oyo eyantuma. Oyo asembayo okuba owa wansi mu mmwe, ye mukulu okubasinga.”
49John said, "Master, we saw someone driving out demons in your name and tried to stop him, because he doesn't follow with us."OLCBAwo Yokaana n’agamba Yesu nti, “Mukama waffe, twalaba omuntu ng’agoba baddayimooni mu linnya lyo ne tugezaako okumuziyiza kubanga tayita naffe.”
50"Do not stop him," Jesus said to him, "for whoever is not against you is for you."OLCBNaye Yesu n’amuddamu nti, “Temumuziyizanga kubanga oyo atalwana nammwe abeera ku ludda lwammwe.”
51When the days neared for him to be taken up to heaven, Jesus resolutely set his face to go to Jerusalem.OLCBAwo ekiseera eky’okulinnya kwe mu ggulu bwe kyali kisembedde, n’amalirira okugenda e Yerusaalemi.
52He sent messengers ahead of him. They went and entered a Samaritan village to prepare for him,OLCBN’atuma ababaka mu maaso ne balaga mu kibuga ky’Abasamaliya okumutegekera.
53but the people there did not welcome him, because he was heading for Jerusalem.OLCBNaye abantu b’eyo ne batamwaniriza, kubanga yali amaliridde okulaga mu Yerusaalemi.
54Seeing this, the disciples James and John said, "Lord, do you want us to call down fire from heaven to consume them?"OLCBAbayigirizwa Yakobo ne Yokaana bwe baakiraba ne babuuza Yesu nti, “Mukama waffe, tuyite omuliro okuva mu ggulu gubazikirize?”
55But he turned and rebuked them.OLCBNaye Yesu n’akyuka n’abanenya.
56And they went on to another village.OLCBNe bagenda mu kabuga akalala.
57As they walked the road, someone said to him, "I'll follow you wherever you go."OLCBAwo bwe baali bali mu kkubo omu ku bo n’amugamba nti, “Nnaakugobereranga wonna w’onoogendanga.”
58Jesus said, "Foxes have dens, birds of the sky have nests, but the Son of Man has nowhere to lay his head."OLCBYesu n’amugamba nti, “Ebibe birina obunnya bwabyo mwe bisula, n’ennyonyi zirina ebisu, naye Omwana w’Omuntu, talina kifo kya kuwumulizaamu mutwe gwe.”
59To another he said, "Follow me." He replied, "Lord, first let me go bury my father."OLCBN’agamba omusajja omulala nti, “Ngoberera.” Omusajja n’addamu nti, “Mukama wange, nzikiriza mmale okugenda okuziika kitange.”
60But Jesus told him, "Let the dead bury their own dead, but you go proclaim the kingdom of our Father."OLCBYesu n’amugamba nti, “Leka abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda olangirire obwakabaka bwa Katonda.”
61Another also said, "I'll follow you, Lord, but first let me say goodbye to those at my house."OLCBN’omulala n’agamba Yesu nti, “Nnaakugobereranga Mukama wange. Naye sooka ondeke mmale okusiibula ab’omu maka gange.”
62Jesus replied, "No one who puts a hand to the plow and looks back is fit for our Father's kingdom."OLCBNaye Yesu n’amuddamu nti, “Omuntu yenna akwata ekyuma ekirima mu ngalo ze ate n’atunula emabega, tasaanira bwakabaka bwa Katonda.”