Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 10 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After this, the Lord appointed seventy-two more, sending them ahead of him two by two, into every town and place he himself intended to go. Awo oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’alonda abayigirizwa abalala nsanvu mu babiri, n’abatuma babiri babiri bamukulembere bagende mu buli kibuga ekinene, na buli kifo mwe yali anaatera okutuuka.
2 He told them, "The harvest is plentiful, but workers are few. So ask the Father of the harvest to send out workers into his harvest. N’abagamba nti, “Eby’okukungula bingi, naye abakozi abakungula batono. Noolwekyo musabe nannyini nnimiro, aweereze abakozi mu nnimiro ye.
3 Go! Look, I am sending you out like lambs among wolves. Kale, mugende. Kyokka mbatuma ng’abaana b’endiga mu misege.
4 Carry no purse, no bag, no sandals, and greet no one on the road. Temugenda na nsimbi era temutwala nsawo ya kusabiriza wadde omugogo gw’engatto, ate temubaako gwe mulamusa mu kkubo.
5 Whatever house you enter, first say, 'Peace to this house.' “Buli nnyumba gye muyingirangamu musookanga kugamba nti, ‘Emirembe gibeere mu nnyumba eno.’
6 If a person of peace is there, your peace will rest on them; if not, it will return to you. Ennyumba eyo bw’eneebangamu omuntu ow’emirembe, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku ye, bwe kitaabenga bwe kityo, emirembe gyammwe ginaabaddiranga.
7 Stay in that house, eating and drinking what's offered, for the worker deserves his wage. Don't move from house to house. Mu nnyumba omwo, mwe musookedde, munaalyanga era ne munywa nabo, kubanga omukozi asaanira empeera ye. Temuvanga mu nnyumba emu ne mudda mu ndala.
8 Whenever you enter a town and they welcome you, eat what is set before you. “Buli kibuga kye mutuukangamu ne babaaniriza, mulyenga ebyo bye babawadde okulya.
9 Heal the sick there and tell them, 'The kingdom of our Father has come near to you.' Muwonyenga abalwadde abalimu, era mugambenga abantu abo nti, ‘Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde.’
10 But when you enter a town that doesn't welcome you, go out into its streets and say, Naye bwe muyingiranga mu kibuga kyonna ne batabaaniriza, mulaganga mu nguudo zaakyo ne mugamba nti,
11 'Even your town's dust stuck to our feet, we wipe off against you. Yet know this: the kingdom of our Father has come near.' ‘N’enfuufu ekwatidde ku bigere byaffe tugibakunkumulira. Naye mumanye kino nti obwakabaka bwa Katonda busembedde.’
12 I tell you, it will be more bearable on that day for Sodom than for that town. Mbategeeza nti ku lunaku luli, Sodomu kigenda kugumiikirizika okusinga ekibuga ekyo.
13 "Woe to you, Chorazin! Woe to you, Bethsaida! Had the miracles done among you happened in Tyre and Sidon, they would have repented long ago, sitting in sackcloth and ashes. “Zikusanze, ggwe Kolaziini! Naawe zikusanze, Besusayida! Kubanga ebyamagero ekyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo ne mu Sidoni, abantu baamu bandibadde beenenya dda, nga bambadde n’ebibukutu nga batudde mu vvu okulaga nti beenenyezza.
14 But it will be more bearable for Tyre and Sidon at the judgment than for you. Naye Ttuulo ne Sidoni birisaasirwa okusinga mmwe ku lunaku olw’okusalirako omusango.
15 And you, Capernaum, will you be lifted to heaven? You'll be brought down to the grave. Ate ggwe Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka mu ggulu? Nedda, ogenda kuserengesebwa wansi emagombe.
16 Whoever listens to you listens to me; whoever rejects you rejects me; whoever rejects me rejects the one who sent me." “Buli abawuliriza mmwe aba awulirizza Nze, na buli abanyooma aba anyoomye Nze, n’oyo anyooma Nze aba anyoomye eyantuma.”
17 The seventy-two returned with joy and said, "Lord, even the demons submit to us in your name." Awo abayigirizwa ensavu mu ababiri bwe baakomawo, nga basanyuka ne bategeeza Yesu nti, “Mukama waffe, ne baddayimooni baatugondera mu linnya lyo.”
18 He said to them, "I saw Satan fall like lightning from heaven. Yesu n’abagamba nti, “Nalaba Setaani ng’agwa okuva mu ggulu ng’okumyansa kw’eraddu!
19 Look, I have given you authority to trample on snakes and scorpions, and over all the enemy's power—nothing will harm you. Laba mbawadde obuyinza okulinnya ku misota ne ku njaba ez’obusagwa n’okuwangula amaanyi gonna ag’omulabe. Era tewali kigenda kubakola kabi.
20 But don't rejoice that the spirits submit to you—rejoice that your names are written in heaven." Naye temusanyuka nnyo kubanga baddayimooni babagondera, wabula mujaguze nti amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.”
21 At that moment Jesus rejoiced in the Holy Spirit and said, "Father, Sovereign of heaven and earth, I praise you—you hid these things from the wise and clever, and revealed them to little children. Yes, Father, for this pleased you." Mu kiseera ekyo Yesu n’ajjula essanyu ku bwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Nkutendereza Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, kubanga wakweka ebintu bino abagezi n’abayivu, naye n’obibikkulira abaana abato. Weewaawo Kitange, bw’otyo bwe wasiima.
22 "All has been given to me by my Father. No one knows who the Son is but the Father, or who the Father is but the Son—and whoever the Son chooses to reveal him to." “Kitange yankwasa ebintu byonna. Tewali amanyi Mwana wabula Kitange, era tewali amanyi Kitange wabula Omwana awamu n’abo Omwana b’asiima okubamubikkulira.”
23 Then turning to the disciples, he said privately, "Blessed are the eyes that see what you see! Awo n’akyukira abayigirizwa be n’abagamba mu kyama nti, “Mulina omukisa mmwe okulaba bino bye mulaba.
24 For I tell you, many prophets and kings wanted to see what you see and never saw it, to hear what you hear and never heard it." Kubanga mbagamba nti, bannabbi bangi ne bakabaka bangi abaayagala okulaba bye mulaba n’okuwulira bye muwulira naye tekyasoboka.”
25 A lawyer stood and tested him: "Teacher, what must I do to inherit eternal life?" Kale laba omunnyonnyozi w’amateeka n’asituka, ng’ayagala okugezesa Yesu, n’amubuuza nti, “Omuyigiriza, nsaana nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?”
26 He said to him, "What is written in the Law? How do you read it?" Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa kitya mu mateeka? Gagamba gatya?”
27 He answered, "Love your Father with all your heart, with all your soul, with all your strength, with all your mind, and your neighbor as yourself." Omunnyonnyozi w’amateeka n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, n’amaanyi go gonna, n’amagezi go gonna.’ Era ‘yagalanga muliraanwa wo nga naawe bwe weeyagala.’ ”
28 He said to him, "You have answered correctly. Do this and you will live." Yesu n’amugamba nti, “Ozzeemu bulungi. Kale kolanga bw’otyo oliba mulamu.”
29 But wanting to justify himself, he asked Jesus, "And who is my neighbor?" Naye omunnyonnyozi w’amateeka okwagala okulaga nga bw’ali omutuufu n’agamba Yesu nti, “Muliraanwa wange ye ani?”
30 Jesus said, "A man went down from Jerusalem to Jericho and fell among robbers, who stripped and beat him, then left him half dead. Yesu n’amuddamu nti, “Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ng’aserengeta e Yeriko, n’agwa mu banyazi, ne bamukwata ne bamwambulamu engoye ze ne bazimutwalako, ne bamukuba nnyo, ne bamuleka awo ku kkubo ng’abulako katono okufa.
31 Now, by chance a priest was going down that road; seeing him, he passed by on the other side. Awo kabona eyali tategedde n’ajjira mu kkubo eryo, naye bwe yatuuka ku musajja ng’agudde awo ku kkubo n’amwebalama bwebalami n’amuyitako.
32 So too a Levite came to the place, saw him, and passed by on the other side. Omuleevi naye yamutuukako n’amulaba, n’adda ku ludda olulala olw’oluguudo, n’amuyitako buyisi
33 But a Samaritan traveling that road found him, and seeing him, was moved with compassion. Naye Omusamaliya bwe yali ng’ali ku lugendo lwe mu kkubo eryo, n’atuuka omusajja we yali; bwe yamulaba n’amukwatirwa ekisa,
34 He went to him, bandaged his wounds, poured on oil and wine, put him on his own animal, took him to an inn, and cared for him. n’ajja w’ali, n’amunyiga ebiwundu ng’ayiwako amafuta, ne wayini ebiwundu n’abisibako ebiwero. Awo n’ateeka omusajja ku nsolo ye n’amutwala mu nnyumba esulwamu abatambuze, n’amujjanjaba.
35 The next day he took out two silver coins, gave them to the innkeeper, and said, 'Take care of him. Whatever more you spend, I will repay when I return.' Enkeera Omusamaliya n’addira ddinaali bbiri n’aziwa nannyini nnyumba. N’amugamba nti, ‘Nkusaba omujjanjabe, era ensimbi ezizo zonna z’olikozesa nga zino ze nkulekedde ziweddewo, ndizikuddizaawo nga nkomyewo.’ ”
36 Which of these three do you think became a neighbor to the man who fell among the robbers?" “Kale olowooza, ku bantu abo abasatu aluwa eyali muliraanwa w’omusajja oli eyagwa mu banyazi?”
37 He said, "The one who showed him mercy." Jesus said to him, "Go and do likewise." Omunnyonnyozi w’amateeka n’addamu nti, “Oyo eyamukolera ebyekisa.” Yesu n’amugamba nti, “Naawe genda okole bw’otyo.”
38 As they traveled, Jesus entered a village. A woman named Martha welcomed him into her home. Awo Yesu n’abayigirizwa be nga bali ku lugendo lwabwe, ne batuuka mu kabuga akamu, omukazi erinnya lye Maliza n’asembeza Yesu mu maka ge.
39 She had a sister called Mary, who sat at the Lord's feet and listened to his teaching. Yalina muganda we erinnya lye Maliyamu. N’atuula awo wansi ku bigere bya Yesu, ng’awuliriza ebigambo Yesu bye yali ayogera.
40 But Martha was distracted by all the serving. She came to him and said, "Lord, don't you care that my sister left me to serve alone? Tell her to help me." Naye Maliza yali yeetawula mu mirimu ng’ategekera abagenyi, n’ajja awali Yesu n’amugamba nti, “Mukama wange, tofaayo ng’olaba muganda wange andekedde emirimu nzekka?”
41 But the Lord answered her, "Martha, Martha, you are anxious and troubled about many things, Naye Mukama waffe n’amuddamu nti, “Maliza, Maliza, ebintu ebikutawaanya bingi,
42 but one thing is needed. Mary has chosen the good share; it won't be taken from her." naye waliwo ekintu kimu kyokka ekyetaagibwa, Maliyamu alonze omugabo omulungi ogutagenda kumuggyibwako.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]