Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 11 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 He was praying in a place; when he finished, one of his disciples said, "Lord, teach us to pray, as John also taught his disciples." Awo olwatuuka Yesu ng’ali mu kifo ekimu ng’asaba, bwe yamaliriza, omu ku bayigirizwa be n’amugamba nti, “Mukama waffe, naawe tuyigirize okusaba nga Yokaana bwe yayigiriza abayigirizwa be.”
2 He said to them, "When you pray, say: Father, may your name be honored as holy. Your kingdom come. N’abagamba nti, “Bwe mubanga musaba mugambanga nti, “ ‘Kitaffe, Erinnya lyo litukuzibwe, obwakabaka bwo bujje.
3 Give us each day our daily bread. Otuwenga buli lunaku emmere yaffe ey’olunaku.
4 And forgive us our sins, for we ourselves also forgive everyone who is indebted to us. And do not lead us into temptation." Era otusonyiwe ebyonoono byaffe, nga naffe bwe tusonyiwa abatukolako ebisobyo. So totutwala mu kukemebwa.’ ”
5 He said to them, "Which of you has a friend and will go to him at midnight and say to him, 'Friend, lend me three loaves,' Ate n’abagamba nti, “Singa omu ku mmwe alina mukwano gwe, n’ajja gy’ali ekiro mu ttumbi n’amugamba nti, ‘Mukwano gwange, nkusaba ompoleyo emigaati esatu,
6 "because a friend of mine arrived from a journey, and I have nothing to serve him,' kubanga nfunye omugenyi, mukwano gwange avudde lugendo, naye sirina kyakulya kya kumuwa.’ ”
7 "and he answers from inside, 'Don't trouble me; the door's already shut, and my children are in bed with me. I can't get up and give you anything'? “Oli ali munda mu nju bw’ayanukula nti, ‘Tonteganya. Twasibyewo dda, ffenna n’abaana bange twebisse. Noolwekyo siyinza kugolokoka kaakano ne mbaako kye nkuwa.’
8 "I tell you: even though the sleeping friend won't get up and give him anything just because they are friends, the asking friend's shameless persistence will still get the sleeper up to give him whatever he needs." Naye mbategeeza nti, Newaakubadde nga tagolokoka n’amuyamba nga mukwano gwe, naye, singa akonkona n’amwetayirira, alwaddaaki agolokoka n’amuwa by’amusabye.
9 "I tell you: ask and it'll be given to you; seek and you'll find; knock and it'll be opened to you. “Bwe ntyo mbagamba nti, musabe munaaweebwa, munoonye mulizuula, mukonkone era munaggulirwawo.
10 "Everyone who asks receives; the one who seeks finds; to the one who knocks it will be opened. Kubanga buli asaba, aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, era n’oyo akonkona aggulirwawo.
11 "What father among you, if his son asks for a fish, will give him a snake instead; “Ani ku mmwe kitaawe w’omwana, omwana we ng’amusabye ekyennyanja, mu kifo ky’ekyennyanja n’amuwa omusota?
12 "or if he asks for an egg, will give him a scorpion? Oba ng’amusabye eggi n’amuwa enjaba?
13 "If you, though evil, know how to give your children good gifts, how much more will the Father from heaven give the Holy Spirit to those who ask him!" Kale obanga mmwe ababi muwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa Mwoyo Mutukuvu abo abamusaba?”
14 He was driving out a demon that was mute. When it left, the mute man spoke, and the crowds were amazed. Lwali lumu Yesu n’agoba dayimooni ku musajja eyali tayogera. Dayimooni bwe yamuvaako, omusajja oyo n’ayogera, ekibiina ky’abantu ne beewuunya.
15 But some of them said, "By Beelzebul, the ruler of the demons, he casts out demons," Naye abantu abamu ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni, kubanga amaanyi g’akozesa agaggya wa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni!”
16 while others, testing him, kept seeking from him a sign from heaven. Abalala ne bamusaba akabonero akava mu ggulu nga bamugezesa.
17 But knowing their thoughts, he said to them, "Every kingdom divided against itself is ruined, and a house divided against a house falls. Naye Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, kwe kubagamba nti, “Obwakabaka bwe bulwanagana bwokka, buba bwolekedde kuzikirira, amaka bwe gayawukanamu gokka ne gokka gasasika.
18 "If Satan too is divided against himself, how will his kingdom stand? For you say I drive out demons by Beelzebul. Noolwekyo, singa Setaani yeerwanyisa yekka obwakabaka bwe buyinza butya okuyimirirawo? Kubanga mugamba nti ngoba baddayimooni ku lwa Beeruzebuli.
19 "If I drive out demons by Beelzebul, by whom do your sons drive them out? So they will judge you. Era obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli kale abaana bammwe bo babagoba ku bw’ani? Be bagenda okubasalira omusango.
20 "But if I expel demons by the finger of our Father, the kingdom of our Father has come upon you. Naye obanga ngoba baddayimooni mu buyinza bwa Katonda, ekyo kikakasa nti obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli.
21 "When a strong man, fully armed, guards his own palace, his possessions are safe. “Kubanga omuntu ow’amaanyi bw’akuuma amaka ge, nga yenna yeesibye ebyokulwanyisa eby’amaanyi, tewaba ayinza kumutwalako bintu bye.
22 "But when someone stronger attacks and overcomes him, the attacker takes away the armor the strong man trusted in and divides up his plunder. Naye omuntu omulala amusinza amaanyi bw’amulumba amuggyako ebyokulwanyisa bye, bye yali yeesiga, n’atwala ebintu bye byonna, n’abigabira abalala.
23 "Whoever is not with me is against me, and whoever does not gather with me scatters. “Oyo atali ku ludda lwange, mulabe wange, n’oyo atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.
24 "When an unclean spirit leaves a person, it goes through dry regions seeking rest. Finding none, it says, 'I'll return to the house I left. “Omwoyo ogutali mulongoofu bwe guva mu muntu guyita mu malungu nga gunoonya aw’okuwummulira. Bwe gubulwa, gugamba nti, ‘Nzija kuddayo mu nnyumba mwe nava.’
25 And when it comes, it finds the house swept and put in order. Bwe guddayo gusanga ennyumba ng’eyereddwa era nga ntegeke.
26 "Then it goes and brings seven other spirits more evil than itself; they enter and live there, and that person's final state is worse than the first." Kyeguva gugenda ne gufunayo emyoyo emirala musanvu egigusingako obwonoonefu, ne giyingirira omuntu oyo. Kale embeera y’omuntu oyo ey’oluvannyuma n’ebeera mbi nnyo okusinga eyasooka.”
27 As he said this, a woman in the crowd called out, "Blessed is the womb that carried you, and the breasts that nursed you!" Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera ebigambo ebyo, omukazi eyali mu kibiina n’ayogerera waggulu nti, “Lulina omukisa olubuto olwakuzaala, n’amabeere kwe wayonka!”
28 But he said, "Blessed rather are those who hear the word of our Father and keep it!" Naye Yesu n’addamu nti, “Weewaawo, naye balina omukisa abo bonna abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera.”
29 As crowds gathered, he began to say, "This generation is an evil generation. It seeks a sign, but no sign will be given to it except the sign of Jonah. Awo abantu bwe beeyongera okukuŋŋaana abangi, Yesu n’abayigiriza ng’agamba nti, “Omulembe guno mulembe mubi. Gunoonya akabonero, naye tegujja kukaweebwa okuggyako akabonero aka Yona.
30 For as Jonah became a sign to the people of Nineveh, so the Son of Man will be to this generation. Kubanga Yona nga bwe yali akabonero eri abantu b’e Nineeve, n’Omwana w’Omuntu, bw’ajja okuba eri ab’omulembe guno.
31 The queen of the South will rise at the judgment with this generation's people and condemn them—she came from earth's ends to hear Solomon's wisdom, and look, something greater than Solomon is here. Era ku lunaku olw’okusalirako omusango, kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo alisaliza abantu ab’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y’ensi okujja okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, naye oyo asinga Sulemaani ali wano.
32 "Ninevites will rise at the judgment with this generation and condemn it, for they repented when Jonah preached, and someone greater than Jonah is here. Abantu b’e Nineeve baliyimirira ne basaliza abantu b’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga beenenya bwe baawulira okubuulira kwa Yona Naye laba asinga Yona ali wano.”
33 "No one lights a lamp and puts it in a cellar or under a basket, but on a stand, so those entering see the light. “Omuntu takoleeza ttaala n’agikweka, oba n’agivuunikako ekibbo! Naye agiwanika ku kikondo ky’ettaala n’emulisiza bonna abayingira basobole okulaba.
34 Your eye is your body's lamp: when it's clear, your whole body is full of light; when bad, your body is full of darkness. Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo. Eriiso bwe liba eddamu, n’omubiri gwo gwonna guba gujjudde omusana. Naye eriiso bwe liba eddwadde, omubiri gwo gujjula ekizikiza.
35 "Therefore be careful that the light in you is not darkness. Noolwekyo weekuume ekizikiza kireme kugoba musana oguli mu ggwe.
36 "So if your whole body is full of light, with no dark part, it will be completely bright—like a lamp shining its beam on you." Singa omubiri gwo gwonna gujjula omusana, ne gutabaamu kizikiza n’akatono gujja kwakaayakana nga gwe bamulisizzaamu ettaala.”
37 As he spoke, a Pharisee invited him to eat with him; he went in and reclined at the table. Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera, Omufalisaayo n’amuyita okulya emmere mu maka ge, bw’atyo n’agenda n’ayingira n’atuula okulya.
38 The Pharisee was astonished to see that he did not first wash before the meal. Naye Omufalisaayo eyamuyita bwe yalaba nga Yesu atandise okulya nga tasoose kunaaba mu ngalo, ne yeewuunya.
39 And the Lord said to him, "Now you Pharisees clean the cup and dish on the outside, but inside you're full of greed and evil. Awo Mukama waffe n’amugamba nti, “Mmwe Abafalisaayo, munaaza kungulu ku kikopo ne ku ssowaani, naye nga munda wammwe mujjudde omululu n’ebitali bya butuukirivu.
40 You fools! Did not the one who made the outside make the inside also? Basirusiru mmwe eyakola ebweru si ye yakola ne munda?
41 "But give to the poor the things that are within, and everything will be clean for you. Naye singa munaddira ebiri munda ne mubiwaayo ng’ekiweebwayo, olwo buli kintu kinaaba kirongoofu eri Katonda.
42 "But woe to you Pharisees! You bring the tenth of mint, rue, and every herb, yet neglect justice and love of our Father. These you should have done, without neglecting the others. “Zibasanze mmwe Abafalisaayo! Kubanga muwaayo ekimu eky’ekkumi ku buli kyonna kye mufuna, ne ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, naye ne mutassaayo mwoyo ku bwenkanya n’okwagala Katonda. Kirungi okukola ebyo byonna, naye era n’ebirala temusaanye kubiragajjalira.
43 "Woe to you Pharisees! For you love the front seat in synagogues and greetings in marketplaces. “Zibasanze mmwe Abafalisaayo! Kubanga mwagala nnyo okutuula ku ntebe ez’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro, era n’okulamusibwa mu butale ng’abantu babawa ekitiibwa.
44 "Woe to you! For you are like unmarked graves, and people walk over them without knowing it." “Zibasanze! Kubanga muli ng’amalaalo, agatalabika abantu kwe batambulira ng’ekiri munda tebakimanyi.”
45 One of the lawyers answered him, "Teacher, in saying these things you insult us also." Omu ku bannyonnyozi b’amateeka n’amwanukula nti, “Omuyigiriza bw’oyogera bw’otyo naffe oba ng’atuvumiddemu.”
46 And he said, "How terrible for you experts in the law too! You load people with crushing burdens, yet won't touch those burdens with one finger. Yesu n’amuddamu nti, “Nammwe zibasanze abannyonnyozi b’amateeka! Kubanga mutikka abantu emigugu emizito egy’amateeka g’eddiini, so nga mmwe temusobola na kukwata na lugalo lwammwe ku migugu egyo.
47 "Woe to you! You build the prophets' tombs, but it was your fathers who killed them. “Zibasanze! Kubanga muzimbira bannabbi ebijjukizo, so nga bajjajjammwe be baabatta.
48 "So you are witnesses and approve your fathers' deeds, for they killed them and you build their tombs.' Noolwekyo mulaga nga bwe muwagira ebikolwa bya bajjajjammwe eby’obutemu. Bo batta ate mmwe ne muzimba ebijjukizo.
49 "So the wisdom of our Father also said, 'I will send them prophets and apostles; some of them they will kill and persecute.' Noolwekyo Katonda mu magezi ge, kyeyava agamba nti, ‘Ndibaweereza bannabbi n’abatume, abamu balibatta n’abalala balibayigganya.’
50 "so the blood of all the prophets shed since the foundation of the world may be charged against this generation, Era ab’omulembe guno kyemuliva muvunaanibwa olw’omusaayi gwa bannabbi bonna okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi,
51 "from Abel's blood to Zechariah's blood, who died between the altar and the sanctuary. Yes, I tell you, it will be charged to this generation. okuva ku musaayi gwa Aberi okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati w’ekyoto ky’ebiweebwayo ne yeekaalu. Mmwe ab’omulembe guno mbategeeza nti mugenda kuvunaanibwa olw’ebyo byonna.
52 "Woe to you lawyers! For you took away the key of knowledge—you didn't enter, and you blocked those entering." “Zibasanze, mmwe abannyonnyozi b’amateeka! Kubanga mwafuna ekisumuluzo eky’amagezi naye mmwe bennyini ne mutayingira, ate ne muziyiza n’abalala okuyingira.”
53 When he left there, the scribes and Pharisees began hounding him fiercely, pressing him to speak on many things, Yesu bwe yava mu nnyumba eyo, Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne batandika okumuteganya n’okumukambuwalira ennyo n’okumubuuza ebibuuzo bingi awatali kusalako,
54 lying in wait for him, to catch him in something he might say. nga bamutega bamukwase mu bigambo kwe banaasinziira okumukwata.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]