Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 12 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Meanwhile, as thousands crowded together, trampling each other, Jesus began speaking first to his disciples: "Guard yourselves against the yeast of the Pharisees—that is, hypocrisy. Mu kiseera ekyo ekibiina ky’abantu bangi nnyo, ne bakuŋŋaana n’okulinnyaganako ne balinnyaganako. Awo Yesu n’akyukira abayigirizwa be, n’abalabula ng’agamba nti, “Mwekuume ekizimbulukusa bwe bannanfuusi bw’Abafalisaayo.
2 Nothing is concealed that will not be revealed, and nothing hidden that will not be made known. Tewali ekyakisibwa ekitalimanyibwa, newaakubadde ekyakwekebwa ekitalizuulibwa.
3 So whatever you said in darkness will be heard in the light, and what you whispered in private rooms will be announced from the rooftops. Noolwekyo bye mwogeredde mu kizikiza biriwulirwa mu musana, n’ebyo bye mwogedde mu kaama, nga muli mu kisenge n’enzigi nga nzigale, bigenda kulangirirwa ku busolya bw’ennyumba.
4 "I tell you, my friends: don't fear those who kill the body, then can do nothing more. “Kaakano mikwano gyange, temubatyanga abo abatta omubiri, naye ne batabaako kirala kye bayinza kukola.
5 I'll show you whom to fear: fear the one who, after killing, has authority to throw you into hell. Yes, I tell you, fear him. Naye nzija kubalaga gwe musaanidde okutya. Mutyenga oyo alina obuyinza okutta ate n’okusuula mu ggeyeena. Weewaawo mbagamba nti oyo gwe musaanye okutyanga.
6 Aren't five sparrows sold for two small coins? Yet not one is forgotten before our Father. Enkazaluggya ettaano tezigula sente bbiri zokka? Naye Katonda tazeerabira wadde emu bw’eti.
7 But even the hairs of your head are all counted. Don't be afraid—you're worth more than many sparrows. Era amanyi enviiri eziri ku mutwe gwo nga bwe zenkana obungi. Temutya kubanga mmwe muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.
8 "And I tell you, whoever acknowledges me before others, the Son of Man will also acknowledge before our Father's angels. “Era mbategeeza nti buli anjatula mu maaso g’abantu, n’Omwana w’Omuntu, alimwatula mu maaso ga bamalayika ba Katonda.
9 But whoever denies me before others will be denied before our Father's angels. Naye oyo anneegaanira mu maaso g’abantu, n’Omwana w’Omuntu alimwegaanira mu maaso ga bamalayika ba Katonda.
10 Anyone who speaks a word against the Son of Man will be forgiven, but whoever blasphemes against the Holy Spirit will not be forgiven. Na buli muntu alyogera ekigambo ku Mwana w’Omuntu alisonyiyibwa, naye oyo alivvoola Mwoyo Mutukuvu tagenda kusonyiyibwa.
11 When they bring you before synagogues, rulers, and authorities, don't worry how to defend yourselves or what to say, “Bwe banaabatwalanga mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso g’abafuzi ne mu b’obuyinza temweraliikiriranga kye mulyogera mu kuwoza,
12 for the Holy Spirit will teach you in that very hour what you must say." kubanga Mwoyo Mutukuvu agenda kubawa eky’okwogera mu kiseera ekyo kyennyini.”
13 Someone in the crowd said to him, "Teacher, tell my brother to divide the inheritance with me." Awo omuntu omu mu kibiina n’avaayo n’agamba Yesu nti, “Omuyigiriza, gamba muganda wange angabanyize ku by’obusika bwaffe.”
14 But Jesus said to him, "Man, who appointed me a judge or arbitrator over you?" Naye Yesu n’amuddamu nti, “Owange, ani eyanfuula omulamuzi wammwe oba ow’okubamaliranga empaka zammwe?”
15 He said to them, "Watch out! Guard against every kind of greed, because life isn't made up of possessions, however many." N’abagamba nti, “Mwekuume! Temululunkananga. Kubanga obulamu bw’omuntu tebugererwa ku bugagga bw’abeera nabwo.”
16 And he told them a parable: "The land of a certain rich man produced a good harvest. Awo n’abagerera olugero luno nti, “Waaliwo omusajja omugagga eyalina ennimiro n’abaza ebibala bingi.
17 He thought to himself, 'What should I do? I have no place to store my crops.' N’alowooza munda mu ye ng’agamba nti, ‘Nnaakola ntya? Kubanga sirina we nnaakuŋŋaanyiza bibala byange?’
18 So he said, 'Here's what I'll do: tear down my barns, build bigger ones, and store all my grain and my goods there.' “Kwe kugamba nti, ‘Ntegedde kye nnaakola, nzija kumenyawo amawanika gange gano, nzimbewo agasingako obunene! Omwo mwe nnaakuŋŋaanyiza ebibala byange byonna n’ebintu byange.
19 And I will say to my soul, "Soul, you have plenty stored up for many years—rest, eat, drink, enjoy life." Era nzija kugamba emmeeme yange nti, “Emmeeme, weeterekedde bingi mu mawanika go okukuyisa mu myaka mingi egijja. Wummula, olye, onywe era weesanyuse!” ’
20 But our Father said to him, 'Fool! Tonight your soul is demanded back from you. Then what you've prepared, whose will it be?' “Naye Katonda n’amugamba nti, ‘Musirusiru ggwe! Ekiro kino emmeeme yo eneekuggibwako. Kale ebyo bye weetegekedde binaaba by’ani?’
21 That's what happens to anyone who piles up treasure for himself but isn't rich toward our Father." “Bwe kityo bwe kiriba eri buli muntu eyeeterekera, so nga mwavu eri Katonda.”
22 Then Jesus told his disciples, "So I tell you: don't worry about your life—what you'll eat—or about your body—what you'll wear. Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe oba mmere gye munaalya oba engoye ez’okwambala.
23 For life is more than food, and the body more than clothing. Kubanga omwoyo gusinga wala emmere n’omubiri gusinga ebyambalo.
24 Look at the ravens: they don't sow or reap, have no storeroom or barn, yet our Father feeds them. How much more valuable you are than birds! Mulowooze ku namuŋŋoona, tezisiga so tezikungula, era tezirina na mawanika mwe zitereka mmere yaazo, naye Katonda aziriisa. Naye mmwe muli ba muwendo nnyo okukira ennyonyi ezo!
25 Which of you by worrying can add a single hour to his life? Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerayo obulamu bwe akatundu n’akamu?
26 Since you cannot do such a small thing, why do you worry about the rest? Obanga temusobola kukola kantu katono ng’ako, kale kikugasa ki okweraliikirira ebintu ebirala?
27 Notice how the lilies grow: no toil, no spinning. Yet I tell you, not even Solomon in all his splendor was dressed like one of these. “Mutunuulire amalanga bwe gakula! Tegategana wadde okulanga ewuzi z’engoye, naye mbategeeza nti ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyagenkana mu kwambala.
28 If this is how our Father clothes the grass of the field—here today, thrown into the oven tomorrow—how much more will he clothe you, you of little faith? Kale, obanga Katonda ayambaza bw’atyo omuddo ogw’omu nsiko, ogw’ekiseera obuseera ogubaawo leero ate enkeera ne gwokebwa mu kyoto, naye ate talisingawo nnyo okwambaza mmwe ab’okukkiriza okutono!
29 Do not seek what you will eat or drink, and do not be anxious. Temunoonyanga kye munaalya oba kye munaanywa, era temweraliikiriranga n’akatono.
30 For all the nations of the world seek these things; your Father knows you need them. Kubanga ebintu ebyo byonna amawanga ge biyaayaanira, naye Kitammwe amanyi nga mubyetaaga.
31 Instead, seek our Father's kingdom, and these things will be given to you as well. Naye munoonye obwakabaka bwe, n’ebintu ebyo mulibyongerwako.
32 "Do not be afraid, little flock, for your Father has been pleased to give you the kingdom. “Temutya, mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe asiimye okubawa obwakabaka.
33 Sell your possessions and give to the poor. Make yourselves purses that don't wear out—an unfailing treasure in the heavens, where no thief comes near and no moth destroys. Mutunde ebintu byammwe, ensimbi ze muggyamu muzigabire abo abeetaaga, mwetungire ensawo ezitakaddiwa era mweterekere mu ggulu mu tterekero eritaggwaamu bintu, omubbi gy’atasembera wadde ennyenje gye zitayonoonera.
34 For where your treasure is, there your heart will be also. Kubanga obugagga bwo gye buli, n’omutima gwo gye gunaabeeranga.
35 "Be dressed and ready for service, and keep your lamps burning, “Mube beetegefu olw’obuweereza, era mukuume ettabaaza zammwe nga zaaka.
36 like servants waiting for their master's return from the wedding feast, so when he comes and knocks, they open the door at once. Mube ng’abasajja abalindirira mukama waabwe; bw’akomawo okuva mu mbaga y’obugole, n’akonkona banguwa okumuggulirawo oluggi.
37 Blessed are the servants the master finds alert when he comes. Truly I tell you, he will dress himself for service, have them recline at the table, and come serve them. Balina omukisa abaddu abo, mukama waabwe baalisanga nga batunula. Ddala ddala mbagamba nti, agenda kwambala atuuze abaddu abo ku mmeeza abagabule.
38 Whether he comes at midnight or just before dawn, blessed are those servants if he finds them ready. Balina omukisa abo, bw’alijja mu kisisimuka ekyokusatu, baalisanga nga batunula.
39 Know this: if the homeowner knew what hour the thief was coming, he would not have let his house be broken into. “Naye mutegeere kino: singa ssemaka amanya essaawa omubbi w’anaayingirira okumenya ennyumba ye, teyandiganyizza mubbi kumuyingirira.
40 You too must be ready—the Son of Man comes at an hour you don't expect." Noolwekyo mubeere beetegefu. Kubanga Omwana w’Omuntu, ajjira mu kiseera kye mutamulowoolezaamu.”
41 Peter said, "Lord, are you telling this parable for us, or for everyone?" Awo Peetero n’amubuuza nti, “Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe, oba bonna?”
42 The Lord replied, "Who is the faithful, wise manager the master puts in charge of his household servants, to give them their ration at the right time? Mukama waffe n’addamu nti, “Omuweereza oyo omwesigwa era ow’amagezi ye aluwa mukama we gw’alikwasa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abaweereza be n’okugaba emmere mu kiseera ekituufu?
43 Blessed is that servant whom the master finds doing so when he returns. Alina omukisa mukama we bw’alikomawo gw’alisanga ng’atuukiriza bulungi emirimu gye.
44 Truly I tell you, he will put him in charge of all his possessions. Ddala ddala mbagamba nti mukama we alimukwasa okulabirira ebintu bye byonna.
45 But if that servant tells himself, 'My master delays his coming,' and starts beating the servants, men and women, and eats, drinks, and gets drunk. Naye singa omuddu oyo alowooza mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange ajja kulwawo okudda,’ n’adda ku baweereza banne, n’abakuba, n’ebiseera bye n’abimala mu kulya ne mu kunywa ne mu kutamiira,
46 That servant's master will come on a day he doesn't expect, at an hour he doesn't know, cut him in two, and give him a place among the unfaithful. mukama we agenda kudda mu kiseera ky’atamusuubira, amubonereze, era amusuule eyo abatakkiriza gye bali.
47 The servant who knew his master's will but didn't prepare or act on it will get many blows. “Omuweereza oyo eyamanya mukama we by’ayagala akole, kyokka ye n’atabikola agenda kuweebwa ekibonerezo kinene.
48 But the one who didn't know, yet did what deserved punishment, will get few blows. Everyone given much will be asked for much; the one entrusted with much will be asked for even more. Naye ataamanya n’akola ebisaanidde okumukubya alikubwa kitono. Oyo aweebwa ebingi alisuubirwamu bingi, n’oyo gwe basigira ebingi, alivunaanyizibwa bingi okusingawo.
49 "I came to throw fire on the earth—how I wish it were already lit! “Najja kuleeta muliro ku nsi, era kyandibadde kirungi singa gukoledde!
50 But I have a baptism to undergo, and how distressed I am until it is accomplished! Nninayo okubatizibwa kwe ndibatizibwa, naye nzija kuba mu nnaku nnyingi nga tekunnaba kutuukirizibwa!
51 Do you think I came to bring peace on the earth? No, I tell you, but division. Mulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbategeeza nti sajja kuleeta mirembe wabula okwawukana.
52 From now on there will be five in one household divided—three against two and two against three. Okuva kaakano amaka gajjanga kwawukanamu, ag’abantu abataano, abasatu ku bo nga bawakanya ababiri, n’ababiri nga bawakanya abasatu.
53 They'll split—father against son and son against father, mother against daughter and daughter against mother, mother-in-law against her daughter-in-law and daughter-in-law against mother-in-law." Kitaawe w’omwana alyawukana ne mutabani we, n’omwana n’ayawukana ne kitaawe, ne nnyina w’omwana alyawukana ne muwala we n’omuwala n’ayawukana ne nnyina, ne nnyazaala balyawukana ne muka mwana we ne muka mwana n’ayawukana ne nnyazaala we.”
54 He also told the crowds, "When you see a cloud rising in the west, you immediately say, 'Rain is coming,' and so it does. Awo Yesu n’akyukira ekibiina n’abagamba nti, “Bwe mulaba ebire nga byekuluumulula ebugwanjuba, amangwago mugamba nti, ‘Enkuba egenda kutonnya,’ era n’etonnya.
55 And when the south wind blows, you say, 'It will be hot,' and it is. Ate empewo bw’ekunta ng’eva ku bukiikaddyo, mugamba nti, ‘Leero akasana kajja kwaka nnyo,’ era bwe kiba.
56 Hypocrites! You know how to read the face of earth and sky. Why don't you know how to read this present time? Bannanfuusi mmwe! Musobola bulungi okunnyonnyola obubonero obuli ku nsi ne mu bbanga, muyinza mutya obutamanya obubonero obw’omu kiseera kino?
57 "And why don't you judge for yourselves what is right? “Lwaki temwesalirawo ekyo kye mulaba nga kituufu?
58 While going with your accuser to the magistrate, work to settle with him on the way, or he may drag you to the judge, and the judge hand you to the officer, and the officer throw you in prison. Bw’obanga ogenda n’akuwawaabira mu mbuga z’amateeka, gezaako okumusaba ensonga zammwe muzimalire mu kkubo nga tezinnatuuka wa mulamuzi, talwa kukutwala wa mulamuzi, n’omulamuzi n’akuwaayo eri omuserikale, n’omuserikale n’akusibira mu kkomera.
59 I tell you, you will not get out until you have paid the very last penny." Kubanga nkutegeeza nti togenda kuvaayo okutuusa nga ne sente esembayo omaze okugisasula.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]