Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 13 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Just then some people told him about Galileans whose blood Pilate mixed with their sacrifices. Mu kiseera ekyo ne wabaawo abategeeza Yesu nga Piraato bwe yatta Abagaliraaya, omusaayi gwabwe n’agutabula mu biweebwayo byabwe.
2 He replied, "Do you think these Galileans were worse sinners than all other Galileans because they suffered these things? Yesu n’abagamba nti, “Mulowooza nti Abagaliraaya abo baali boonoonyi nnyo okusinga Abagaliraaya abalala bonna, balyoke baboneebone batyo?
3 No, I tell you; but unless you repent, you will all perish as well. Nedda! Mbagamba nti bwe muteenenya nammwe mugenda kuzikirira ng’abo bwe baazikirira.
4 Or those eighteen killed when the tower in Siloam fell on them—do you think they were more guilty than everyone else in Jerusalem? Ate bali ekkumi n’omunaana omunaala gwa Sirowamu be gwagwako, ne gubatta, mulowooza be baali basinga obwonoonyi okusinga abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi bonna?
5 No, I tell you; but unless you repent, you will all perish in the same way." Nedda! Mbagamba nti bwe muteenenya nammwe bwe mugenda okuzikirira bwe mutyo.”
6 Then he told this parable: "A man had a fig tree planted in his vineyard. He came looking for fruit on it and found none. Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Waaliwo omusajja eyasimba omutiini mu nnimiro ye. N’agendangayo okugulambula okulaba obanga gubazeeko ebibala, n’asanga nga tegubazeeko kibala na kimu.
7 He told the gardener, 'Look, for three years I've come seeking fruit on this fig tree and found none. Cut it down—why let it drain the ground?' Kyeyava alagira omusajja we amulimira ennimiro eyo nti, ‘Omuti guno gutemewo. Kubanga gino emyaka esatu nga nambula omuti guno, naye tegubalangako kibala na kimu. Gwemalira bwereere ettaka lyaffe.’
8 But he replied, 'Sir, leave it this year too, until I dig around it and add manure. Omulimi we n’addamu nti, ‘Mukama wange, tuguleke tetugutemawo. Ka tuguweeyo omwaka gumu, nzija kugutemeratemera era nguteekeko n’ebigimusa.
9 Then if it bears fruit next year, good; if not, you can cut it down.'" Bwe gulibala ebibala gye bujja, kiriba kirungi! Naye bwe gutalibala, olwo noolyoka ogutemawo.’ ”
10 Now he was teaching in one of the synagogues on the Sabbath. Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti Yesu yali ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro,
11 Just then, a woman weakened by a spirit for eighteen years was bent over, unable to straighten up at all. ne wabaawo omukazi eyaliko omuzimu ogwamulwaza okumala emyaka kkumi na munaana, nga yeewese emirundi ebiri era nga tasobola kwegolola.
12 Seeing her, Jesus called her over and said, "Woman, you are freed from your disability." Yesu n’amulaba, n’amuyita n’amugamba nti, “Mukazi wattu, owonyezeddwa obulwadde bwo.”
13 He laid hands on her, and immediately she straightened up and glorified our Father. N’amukwatako. Amangwago omukazi ne yeegolola n’ayimirira bulungi, n’atendereza Katonda!
14 But the synagogue leader, angry that Jesus had healed on the Sabbath, told the crowd, "There are six days for work. Come be healed on those days, not on the Sabbath." Naye omukulembeze w’ekkuŋŋaaniro eryo n’anyiiga nnyo, kubanga Yesu yawonya ku lunaku lwa Ssabbiiti. N’agamba ekibiina nti, “Mu wiiki mulimu ennaku mukaaga, muyinza okujjanga mu nnaku ezo ne muwonyezebwa, naye so si ku Ssabbiiti!”
15 The Lord answered him, "Hypocrites! Doesn't each of you untie your ox or donkey from its stall on the Sabbath and lead it out to water it? Mukama waffe n’amuddamu nti, “Bannanfuusi mmwe! Buli omu ku mmwe tasumulula nte ye oba ndogoyi ye ku Ssabbiiti n’agitwala okunywa amazzi?
16 Shouldn't this daughter of Abraham, bound by Satan for eighteen years, be freed from that bond on the Sabbath?" Naye si kituufu omukazi ono, muwala wa Ibulayimu, okusumululwa ku Ssabbiiti mu busibe bwa Setaani bw’amazeemu emyaka ekkumi n’omunaana?”
17 As he said these things, all his opponents were humiliated, and all the crowd celebrated all the glorious things he was doing. Bwe yayogera bw’atyo abaali bamuwakanya bonna ne baswala, naye ekibiina ky’abantu bonna ne bajjula essanyu olw’ebintu eby’ekitalo bye yakola.
18 He said therefore, "What is the kingdom of our Father like? What should I compare it to? Awo Yesu kyeyava abayigiriza ng’agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda bufaanana na ki? Mbugeraageranye na ki?
19 It's like a mustard seed a man took and planted in his garden, growing into a tree where the sky's birds nested in its branches." Bufaanana na kaweke ka kaladaali omusajja ke yasiga mu nnimiro ye. Kaamera ne kavaamu omuti, n’ennyonyi ez’omu bbanga ne zituula ku matabi gaagwo.”
20 And again he said, "What should I compare the kingdom of our Father to? Ate era n’agamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda mbugeraageranye na ki?
21 It is like yeast a woman took and hid in three measures of flour until it all yeasted." Buliŋŋanga ekizimbulukusa omukazi kye yatabulira mu bipimo by’obuwunga bisatu okutuusa obuwunga bwonna lwe bwazimbulukuka.”
22 He went on his way through towns and villages, teaching and journeying toward Jerusalem. Awo Yesu n’ayita mu bibuga ne mu bubuga; yagendanga ayigiriza ng’ali ku lugendo lwe ng’agenda e Yerusaalemi.
23 Someone asked him, "Lord, are the saved few?" He said to them, Ne wabaawo eyeewuunya nti, “Mukama waffe, abantu abalirokolebwa nga baliba batono?” Yesu n’addamu nti,
24 "Struggle to enter through the narrow door—many, I tell you, will try to enter and fail. “Mufube okuyingira mu mulyango omufunda kubanga mbagamba nti, bangi balyagala okuyingira naye tebalisobola.
25 Once the homeowner rises and shuts the door, you'll stand outside knocking, saying, 'Lord, open for us.' He'll answer, 'I don't know where you're from.' Nannyinimu bw’alisituka n’aggalawo oluggi, mugenda kubeera bweru nga mukonkona nga bwe mwegayirira nti, ‘Mukama waffe, tuggulirewo.’ Agenda kubaanukula nti, ‘Sibamanyi, ne gye muva simanyiiyo.’
26 Then you'll begin to say, 'We ate and drank before you; you taught in our streets.' Nammwe muliddamu nti, ‘Twalyanga naawe era twanywanga ffenna, era wayigirizanga mu nguudo z’ewaffe.’
27 But he'll say, 'I tell you, I don't know where you're from. Get away from me, all you who do evil!' Naye alibaddamu nti, ‘Sibamanyi, ne gye muva simanyiiyo. Munviire mwenna abakozi b’ebitali bya bituukirivu.’
28 There will be weeping and teeth grinding, when you see Abraham and Isaac and Jacob and all the prophets in the kingdom of our Father, while you yourselves are thrown out. Era waliba okukuba ebiwoobe n’okuluma obujiji bwe muliraba Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo ne bannabbi bonna nga bali mu bwakabaka bwa Katonda, naye nga mmwe musuulibbwa ebweru.
29 People will come from east and west, from north and south, and sit down to eat in our Father's kingdom. Kubanga abantu baliva ebuvanjuba n’ebugwanjuba, ne bava ne mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, ne batuula ku mmeeza mu bwakabaka bwa Katonda.
30 And indeed, some are last who will be first, and some are first who will be last." Era laba, abooluvannyuma baliba aboolubereberye, n’aboolubereberye baliba abooluvannyuma.”
31 At that same hour some Pharisees came, telling him, "Get out, leave here—Herod wants to kill you." Mu kiseera ekyo ne wabaawo abamu ku Bafalisaayo abajja eri Yesu ne bamugamba nti, “Tambula ove wano, kubanga Kerode ayagala kukutta.”
32 And he said to them, "Go tell that fox: Look, I drive out demons and complete healings today and tomorrow, and on the third day I am finished. Yesu n’abaddamu nti, “Mugende mugambe ekibe ekyo nti laba ngoba baddayimooni, n’okuwonya abalwadde, leero, n’enkya, era ku lunaku olwokusatu ndimaliriza.
33 Still, I must travel today, tomorrow, and the next day, since no prophet can die outside Jerusalem. Naye leero, n’enkya, ne luli nsaana mbeere ku lugendo lwange nga ntambula, kubanga tekisoboka nnabbi okufiira ebweru wa Yerusaalemi!
34 Jerusalem, Jerusalem, killing the prophets, stoning those sent to her! How often I longed to gather your children as a hen gathers her brood under her wings—but you refused! “Ggwe Yerusaalemi, ggwe Yerusaalemi, atta bannabbi, n’okuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’oli, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye n’ogaana!
35 Look, your house is left to you. I tell you: you won't see me until you say, 'Blessed is the one who comes in the name of our Father!'" Kale laba ennyumba yammwe erekeddwa awo. Era mbagamba nti temugenda kuddayo kundaba okutuusa ekiseera lwe kirituuka ne mugamba nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]