Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 14 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 One Sabbath, when he went to eat in the house of one of the leaders of the Pharisees, they were watching him closely. Awo olwatuuka ku lunaku lwa Ssabbiiti, Yesu bwe yali ng’agenze okulya mu nnyumba ey’omu ku bakulembeze b’Abafalisaayo, abantu bonna abaaliwo ne bamwekaliriza amaaso.
2 And there in front of him was a man whose body was swollen with fluid. Waaliwo omusajja omulwadde w’entumbi ng’atudde okwolekera Yesu we yali.
3 Jesus said to the experts in the law and the Pharisees, "Is it lawful to heal on the Sabbath, or not?" Awo Yesu n’abuuza Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, “Kikkirizibwa okuwonya ku lunaku lwa Ssabbiiti, oba nedda?”
4 But they stayed silent. So he took hold of the man, healed him, and sent him on his way. Yesu yalaba tebazzeemu, kwe kukwata omusajja omulwadde ku mukono, n’amuwonya, n’amugamba yeetambulire.
5 Then he said to them, "If one of you has a son or an ox that falls into a well on the Sabbath day, will you not immediately pull him out?" N’alyoka abakyukira n’ababuuza nti, “Ani ku mmwe singa omwana we agwa mu kinnya oba ente ye n’egwa mu kinnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, atamuggyayo oba atagiggyaayo mangwago?”
6 And they had no answer to give to this. Era ne batamuddamu.
7 When he noticed how the guests chose the places of honor, he told them a parable: Awo Yesu bwe yalaba abagenyi abaayitibwa n’abagerera olugero ng’agamba nti,
8 "When someone invites you to a wedding feast, do not take the place of honor, because a more distinguished guest than you may have been invited. “Bwe bakuyitanga ku mbaga ey’obugole, teweetuuzanga mu kifo ekisinga okuba eky’ekitiibwa kubanga singa ejjayo omugenyi akusinga ekitiibwa,
9 Then the one who invited you both will come and say to you, 'Give this person your place,' and in disgrace you will have to take the lowest place. eyakuyise ku mbaga ajja kumuleeta awo w’otudde akugambe nti, ‘Viira ono atuule awo w’otudde.’ Noolyoka ositukawo ng’oswadde ogende onoonye ekifo ekirala emabega.
10 But when you are invited, go and take the lowest place, so that when your host comes he will say to you, 'Friend, move up higher.' Then you will be honored in front of all who are at the table with you. Naye bwe bakuyitanga, otuulanga mu kifo eky’emabega, kale nno eyakuyise bw’ajja alyoke akugambe nti, ‘Mukwano gwange, jjangu nkutwale mu kifo eky’omu maaso.’ Noolyoka osituka nga ne bagenyi banno bakuwa ekitiibwa.
11 For all who exalt themselves will be humbled, and those who humble themselves will be exalted." Kubanga buli muntu eyeegulumiza alitoowazibwa; n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
12 Then he said to the man who had invited him, "When you give a lunch or a dinner, do not invite your friends or your brothers or your relatives or your rich neighbors. If you do, they may invite you back, and you would be repaid. Awo Yesu n’akyukira eyamuyita n’amugamba nti, “Bw’otegekanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, wadde baganda bo, wadde ab’olulyo lwo, wadde baliraanwa bo abagagga; kubanga bw’okola otyo nabo bayinza okukuyita olulala ne baba ng’abakusasula.
13 But when you give a banquet, invite the poor, the crippled, the lame, the blind, Naye bw’ofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, n’abagongobavu, n’abalema ne bamuzibe.
14 and you will be blessed. Since they have no way to repay you, you will be repaid at the resurrection of the righteous." Oliweebwa omukisa kubanga bo tebalina kya kukusasula. Olisasulibwa mu kuzuukira kw’Abatuukirivu.”
15 When one of those at the table with him heard this, he said to him, "Blessed is the one who will eat at the feast in the kingdom of our Father!" Omu ku bagenyi abaali batudde ku mmeeza bwe yawulira ebigambo ebyo n’agamba Yesu nti, “Alina omukisa oyo alirya embaga mu bwakabaka bwa Katonda.”
16 Jesus replied, "A certain man was giving a great banquet, and he invited many guests. Yesu n’amuddamu nti, “Waaliwo omusajja eyateekateeka okufumba embaga ennene, n’ayita abantu bangi.
17 "When the time came for the banquet, he sent his servant to tell those who had been invited, 'Come, for everything is now ready.' Bwe yamala okutegeka, n’atuma omuddu we agende ategeeze abaayitibwa nti, ‘Mujje byonna biwedde okutegeka.’
18 But one after another they all began to make excuses. The first said to him, 'I have bought a field, and I must go and see it. Please excuse me.' “Naye bonna ne batandika okwewolereza; eyasooka n’agamba nti, ‘Nnaakagula ennimiro noolwekyo njagala kugenda kugirambula. Nkusaba onsonyiwe, nneme kujja.’
19 Another said, 'I have bought five pairs of oxen, and I am on my way to try them out. Please excuse me.' “Omulala n’agamba nti, ‘Nnakagula emigogo gy’ente ezirima etaano njagala kuzigezaamu. Nkusaba onsonyiwe nneme kujja.’
20 And another said, 'I have just married a wife, and so I cannot come.'" “Omulala n’agamba nti, ‘Nnawasizza omukazi noolwekyo sisobola kujja.’
21 So the servant came back and reported this to his master. Then the master of the house became angry and said to his servant, 'Go out quickly into the streets and alleys of the town, and bring in the poor, the crippled, the blind, and the lame.' “Omuddu n’akomawo n’ategeeza mukama we ng’abagenyi be yayita bwe bagambye. Mukama we n’anyiiga, n’amulagira agende mangu mu nguudo ez’omu kibuga ne mu bikubo, ayite abaavu n’abagongobavu, n’abalema, ne bamuzibe.
22 "'Master,' the servant said, 'what you ordered has been done, and still there is room.' “Omuddu n’agamba mukama we nti, ‘Bonna mbayise nga bw’ondagidde, naye era mu kisenge ky’embaga mukyalimu ebifo.’
23 Then the master told the servant, 'Go out to the roads and country lanes and compel them to come in, so that my house will be full. “N’agamba omuddu we nti, ‘Genda mu nguudo ez’omu byalo ne mu bukubo obutono okubirize b’onoosangayo bajje, ennyumba yange ejjule.
24 For I tell you, not one of those who were invited will taste my banquet.'" Era mbategeeza nti tewali n’omu ku abo be nayita alirya ku mbaga yange.’ ”
25 Large crowds were traveling with him, and turning to them he said, Awo ebibiina by’abantu bangi nnyo bwe baali bagoberera Yesu, n’akyuka n’abagamba nti,
26 "If anyone comes to me and does not hate his own father and mother and wife and children and brothers and sisters—yes, even his own life—he cannot be my disciple. “Omuntu bw’anajjanga gye ndi, n’atakyawa kitaawe, oba nnyina, oba mukyala we n’abaana be, oba baganda be oba bannyina, newaakubadde obulamu bwe ye yennyini, tayinzenga kuba muyigirizwa wange.
27 Whoever does not carry his own cross and follow me cannot be my disciple. Era oyo ateetikka musaalaba gwe n’angoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange.
28 Suppose one of you wants to build a tower. Will he not first sit down and count the cost, to see whether he has enough to finish it? “Singa omu ku mmwe ayagala okuzimba omulungooti, tamala kutuula n’abalirira omuwendo omulimu ogwo gwe gunaatwala, n’alaba obanga ensimbi ezeetaagibwa azirina okugumaliriza?
29 Otherwise, if he lays the foundation and is not able to finish, everyone who sees it will begin to ridicule him, Kubanga singa tagumaliriza n’akoma ku musingi gwokka, buli agulaba atandika okumusekerera,
30 saying, 'This person began to build and was not able to finish.' nga bw’agamba nti, ‘Omuntu ono yatandika okuzimba naye n’alemwa okumaliriza!’
31 Or suppose a king is about to go to war against another king. Will he not first sit down and consider whether he is able with 10,000 men to face the one coming against him with 20,000? “Oba kabaka ki agenda okulwana ne kabaka omulala amulumba, tamala kutuula n’abalirira obanga n’abaserikale omutwalo ogumu b’alina, asobola okulwanyisa kabaka omulala ajja okumulumba n’abaserikale emitwalo ebiri?
32 And if he cannot, he will send a delegation while the other is still far off and ask for terms of peace. Bw’afumiitiriza n’alaba nga tajja kusobola, atumira kabaka oli omubaka, ng’akyaliko wala, okuteesa emirembe.
33 In the same way, any one of you who does not give up everything he has cannot be my disciple. Kale, buli muntu ku mmwe ateefiiriza byonna by’alina, tayinza kuba muyigirizwa wange.
34 "Salt is good, but if it loses its saltiness, how can it be made salty again? “Omunnyo mulungi, naye singa guggwaamu ensa, guzibwamu gutya obuka bwagwo?
35 Fit for neither soil nor manure pile, it's thrown out. Whoever has ears to hear, let them hear." Guba tegukyalina mugaso n’akamu mu ttaka wadde ne mu bigimusa, noolwekyo gusuulibwa bweru. Alina amatu agawulira awulire.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]