Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 15 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Now the tax collectors and sinners were all drawing near to hear him. Awo abasolooza b’omusolo n’abakozi b’ebibi ne bakuŋŋaanira eri Yesu okumuwuliriza.
2 And the Pharisees and the scribes grumbled, saying, "This man welcomes sinners and eats with them." Naye Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beemulugunya nga bagamba nti Yesu akolagana n’abantu abalina ebibi, n’okulya n’alya nabo.
3 So he told them this parable: Yesu n’alyoka abagerera olugero luno ng’agamba nti,
4 "What man among you, owning one hundred sheep, if he loses one of them, won't leave the ninety-nine out in the open and go after the lost one till he finds it? “Singa omu ku mmwe abadde alina endiga kikumi, naye emu n’emubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku ttale n’agenda anoonya eri ebuze okutuusa Lw’agiraba?
5 And when he has found it, he lays it on his shoulders, rejoicing." Bw’agiraba, agisitula ku bibegabega bye n’agitwala eka ng’ajaguza.
6 When he gets home, he calls his friends and neighbors together and tells them, "Celebrate with me—I've found my lost sheep." Bw’atuuka eka ayita mikwano gye ne baliraanwa be bajje ng’agamba nti, ‘Munsanyukireko kubanga endiga yange eyabadde ebuze, erabise.’
7 "I tell you, likewise, heaven holds more joy over one sinner who repents than over ninety-nine righteous people who don't need to repent." Mu ngeri y’emu, mbagamba nti mu ggulu eribaayo essanyu lingi nnyo olw’omwonoonyi omu eyeenenyezza okusinga ekyenda mu omwenda abatuukirivu abateetaaga kwenenya.”
8 "Or what woman with ten silver coins, each a day's wage, who loses one, doesn't light a lamp, sweep the house, and search carefully until she finds it?" “Oba mukazi ki alina ennoso ze kkumi, emu n’emubulako, atakoleeza ttaala n’anoonya mu buli kasonda konna ak’ennyumba, n’ayera n’ebuziizi yenna okutuusa lw’agiraba?
9 When she finds it, she calls together her friends and neighbors: "Rejoice with me, for I found the coin I had lost." Bw’agiraba, ayita mikwano gye ne baliraanwa be n’abagamba nti, ‘Munsanyukireko, ennoso yange eyabadde ebuze ngirabye.’
10 "So, I tell you, there is joy before the angels of our Father over one sinner who repents." Mbategeeza nti mu ngeri y’emu omukozi w’ebibi omu bwe yeenenya, bamalayika ba Katonda bajjula essanyu.”
11 And he said, "There was a man who had two sons." Awo Yesu n’abagamba nti, “Waaliwo omusajja eyalina batabani be babiri.
12 "The younger son told his father, 'Father, give me my share of the estate.' So he divided his property between them. Omuto n’agamba kitaawe nti, ‘Kitange, nkusaba ompe omugabo gwange ku bintu byo ogunsaanidde.’ Kitaawe n’abagabanyiza ebintu byabwe.
13 Soon after, the younger son gathered all he owned, left for a distant country, and there burned through his wealth living recklessly. “Waayitawo ennaku ntono, omwana omuto n’asibako ebintu bye byonna ne yeetambulira, n’agenda mu nsi ey’ewala. Bwe yatuuka eyo n’asaasaanya ebintu bye ne yeemalira mu binyumu.
14 After he spent everything, a severe famine hit that country, and he began to go without. Mu kiseera ekyo we yamalirawo ebintu bye byonna, n’enjala nnyingi we yagwira mu nsi omwo mwe yali, n’asiibanga era n’asulanga enjala.
15 So he went and took work with a citizen of that country, who sent him to his fields to feed pigs. N’agenda abeere ew’omwami omu ow’omu nsi omwo n’amusaba amuwe omulimu, n’amusindika gye yalundiranga embizzi azirabirirenga.
16 And he longed to fill his stomach with the pods the pigs ate, but no one gave him any." Omulenzi ne yeegombanga okulyanga ebikuta by’embizzi, naye ne watabaawo amuwa kantu konna.
17 Coming to his senses, he said, "How many of my father's hired hands have bread to spare, while I'm here starving?" “Naye bwe yeddamu n’agamba nti, ‘Eka ewaffe, abasajja abapakasi aba kitange bafuna emmere nnyingi ne balya ne balemwa, naye nze ndi wano nfiira wano enjala!
18 "'I will get up and go to my father, and say to him, "Father, I have sinned against heaven and before you."' Nnaagenda eri kitange, mugambe nti, Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go,
19 'I'm no longer worthy to be called your son; make me like one of your hired workers.'" era sikyasaanira na kuyitibwa mwana wo. Nfunira omulimu mbeere ng’abapakasi bo.’
20 "He got up and went to his father. While he was still far off, his father saw him, and his heart broke with compassion—he ran, threw his arms around him, and kissed him." Bw’atyo n’asitula n’addayo ewa kitaawe. “Naye bwe yali ng’akyaliko wala n’awaka, kitaawe n’amulengera ng’ajja, n’amusaasira nnyo. Kitaawe ng’ajjudde amaziga n’amusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amunywegera.
21 And the son said, "Father, I've sinned against heaven and before you. I am no longer worthy to be called your son." Omwana n’agamba kitaawe nti, ‘Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo.’
22 But the father told his servants, "Quickly bring the best robe and dress him, put a ring on his hand and sandals on his feet." “Naye kitaawe n’alagira abaddu be nti, ‘Mwanguwe mangu! Muleete ekkanzu esinga obulungi mugimwambaze. Mumunaanike empeta ku ngalo ye, mumwambaze n’engatto!
23 "'And bring the fattened calf and kill it, and let us eat and celebrate.' Era mugende mutte ennyana eya ssava. Tufumbe embaga nnene tujaguze.
24 'For this son of mine was dead and is alive again; he was lost and is found.' And they started celebrating." Kubanga mutabani wange ono yali afudde kaakano mulamu, yali azaaye laba wuuno azaawuse.’ Embaga n’etandika.
25 "His older son was in the field; nearing the house on his return, he heard music and dancing. “Mu kiseera ekyo omwana omukulu yali ali mu nnimiro. Awo bwe yali akomawo eka ng’asemberedde ennyumba, n’awulira ennyimba ez’amazina.
26 And he called one of the servants and asked what was going on. N’ayita omu ku baweereza n’amubuuza bwe bibadde.
27 He said to him, 'Your brother has come, and your father has killed the fattened calf, because he received him back safe and sound.' Omuweereza n’amutegeeza nti, ‘Muganda wo akomyewo, era kitammwe amuttidde ennyana eya ssava olwokubanga muganda wo akomyewo nga mulamu bulungi.’
28 But he was angry and refused to enter. His father came out and pleaded with him, “Muganda we omukulu n’anyiiga, n’okuyingira n’atayingira mu nnyumba. Naye kitaawe n’ajja n’amwegayirira ayingire,
29 but he answered his father, 'Look, I've served you all these years, never disobeying a command—yet you never gave me even a young goat to celebrate with my friends.' naye omwana n’amuddamu nti, ‘Emyaka gino gyonna nkukoledde, era tewali mulundi na gumu Lwe wali ondagidde ne nkujeemera. Naye tompangayo wadde akabuzi akato neesanyuseeko ne mikwano gyange.
30 'But when this son of yours came, who devoured your wealth with prostitutes, you killed the fattened calf for him!'" Naye kale mutabani wo olukomyewo ng’ebintu byo bye wamuwa amaze okubimalira mu bamalaaya, n’omuttira ennyana ensava.’
31 He said to him, "Son, you're always with me, and everything I have is yours." “Kitaawe n’amuddamu nti, ‘Laba mwana wange, tuli ffenna bulijjo, era byonna bye nnina bibyo.
32 "'It was fitting to rejoice and celebrate: this brother of yours was dead and is alive, was lost and is found.'" Kaakano kituufu okusanyuka n’okujaguza. Kubanga muganda wo, yali afudde, kaakano mulamu! Yali azaaye, wuuno azaawuse!’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]