Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 16 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 He also told his disciples, "A rich man had a manager who was accused of squandering his possessions. Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Waaliwo omusajja omugagga ng’alina omuwanika we amulabiririra ebintu bye. Ne wabaawo abaamuloopera nti omuwanika oyo yali asaasaanya ebintu bye, ng’abidiibuuda.
2 He called him and said, 'What is this I hear about you? Give an account of your management, for you can no longer manage.' Mukama we n’amuyita n’amubuuza nti, ‘Biki ebyo bye nkuwulirako? Kale genda otegeke lipoota y’ebintu byange nga bwe biri ogindeetere. Omulimu gukufudde.’
3 "The manager said to himself, 'What should I do? My master is taking my position from me. I'm not strong enough to dig, and I'm ashamed to beg.' “Omuwanika n’alowooza mu mutima gwe, nga yeebuuza nti, ‘Kale kaakano nkole ntya? Mukama wange wuuno angoba ku mulimu. Sirina maanyi galima, n’okusabiriza kunkwasa ensonyi.
4 I know what to do, so that when I lose this job, people will welcome me into their homes.' Ekinaasobozesa abantu okunsembeza mu maka gaabwe, nga bwe ngobeddwa ku mulimu, nkifunye.’
5 He called in his master's debtors, one after another, and asked the first, 'How much do you owe my master?' “N’agenda ng’ayita buli eyalina ebbanja ku mukama we. Gwe yasookerako n’amubuuza nti, ‘Ebbanja mukama wange ly’akubanja lyenkana wa obunene?’ ”
6 He said, 'one hundred measures of olive oil.' He told him, 'Take your bill, sit quickly, and write fifty.' “Omusajja n’addamu nti, ‘Ammanja endebe z’omuzigo kikumi mu ataano.’ Omuwanika n’amugamba nti, ‘Kwako empapula zo kw’obanjirwa ogende owandiike endebe amakumi ataano.’
7 Then he asked another, 'And you, how much do you owe?' 'one hundred measures of wheat,' he said. 'Take your bill,' he told him, 'and write eighty.' “Omuwanika n’adda ku wookubiri n’amubuuza nti, ‘Ggwe obanjibwa ki?’ “N’addamu nti, ‘Ebigera by’obuwunga bw’eŋŋaano kikumi.’ ” “Omuwanika n’amugamba nti, ‘Kwako empapula zo kw’obanjirwa, owandiike endala osseeko ebigera kinaana.’
8 "The master praised the dishonest manager for acting shrewdly, for this age's children are shrewder with their own generation than the children of light. “Mukama we n’atenda nnyo omuwanika we atali mwesigwa olw’obukalabakalaba bwe. Kubanga abaana b’omulembe guno bagezigezi okusinga abaana b’omusana ab’omu mulembe gwabwe.”
9 I tell you, make friends for yourselves with worldly wealth, so that when it fails, they welcome you into eternal dwellings. “Era mbategeeza nti mwefunire emikwano mu bugagga obutali butuukirivu, bwe buliggwaawo balyoke babasembeze mu weema ezitaggwaawo.
10 Whoever is faithful in the least is also faithful in much; whoever is dishonest in the least is also dishonest in much. Omuntu omwesigwa mu kintu ekitono, abeera mwesigwa ne mu kinene; n’oyo ataba mwesigwa mu kitono era ne mu kinene taba mwesigwa.
11 If then you weren't faithful with worldly wealth, who will trust you with the true riches? Kale obanga temwesigibwa mu bugagga obutali butuukirivu, ani agenda okubeesiga mu bugagga obw’amazima?
12 And if you haven't been faithful with another's things, who will give you what's your own? Obanga toli mwesigwa ku by’omulala, kale ani alikwesiga n’akukwasa ebibyo?
13 No household servant can serve two masters. He will hate one and love the other, or hold to one and despise the other. You cannot serve both our Father and wealth." “Tewali muddu ayinza kuweereza bakulu babiri. Kubanga alikyawako omu n’ayagala omulala, oba aliwulirako omu n’anyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.”
14 The Pharisees, who loved money, heard all this and were ridiculing him. Awo Abafalisaayo, abaali abaluvu b’ensimbi, bwe baawulira ebigambo ebyo ne banyooma Yesu.
15 He told them, "You justify yourselves before others, but our Father knows your hearts. What is prized among people is detestable to our Father." N’abagamba nti, “Mmwe mweraga mu bantu, naye Katonda amanyi emitima gyammwe. Okwerimbalimba kwammwe kubaweesa ekitiibwa mu maaso g’abantu, naye nga kya muzizo eri Katonda.
16 "The Law and Prophets lasted until John; since then, the good news of the kingdom of our Father is proclaimed, and everyone forces their way into it. “Yokaana Omubatiza bwe yali nga tannabuulira, amateeka n’obubaka bwa bannabbi byabuulirwa. Naye okuva olwo obwakabaka bwa Katonda bubuulirwa, ne buli muntu ayitibwa abuyingiremu mu bwangu ddala.
17 But it's easier for heaven and earth to pass away than for one stroke of the Law to fail." Naye kyangu eggulu n’ensi okuggwaawo okusinga n’akatundu k’ennukuta emu ey’amateeka okuggwaawo.
18 "Whoever divorces his wife and marries another commits adultery; marrying a woman divorced from her husband is adultery too." “Omusajja yenna agoba mukazi we n’awasa omulala aba ayenze; n’oyo awasa omukazi agobeddwa, naye aba ayenze.”
19 "There was a rich man dressed in purple and fine linen, feasting lavishly every day. Awo Yesu n’abagamba nti, “Waaliwo omusajja omugagga ennyo, eyayambalanga engoye ez’effulungu ne linena era bulijjo ng’abeera mu masanyu era ng’alya ebyassava.
20 And a poor man named Lazarus was laid at his gate, covered with sores, Waaliwo n’omusajja omwavu erinnya lye nga ye Laazaalo nga mulwadde ng’ajjudde amabwa ku mubiri gwe, eyateekebwanga ku mulyango gw’omusajja omugagga.
21 wanting to eat the crumbs falling from the rich man's table; even dogs came and licked his sores. Laazaalo ne yeegombanga okulya obukunkumuka obwagwanga wansi nga buva ku mmeeza ya nnaggagga. N’embwa zajjanga ne zikomberera amabwa ga Laazaalo.
22 The poor man died; angels carried him to Abraham's side. The rich man also died and was buried, “Ekiseera kyatuuka omusajja omwavu n’afa, bamalayika ne bamutwala mu kifuba kya Ibulayimu. Oluvannyuma n’omugagga naye n’afa, n’aziikibwa.
23 and in the grave, in torment, he looked up and saw Abraham far off and Lazarus at his side. Naye ng’ali eyo mu magombe mu kubonaabona, n’atunula waggulu n’alaba Laazaalo ng’ali mu kifuba kya Ibulayimu.
24 He cried out, 'Father Abraham, have mercy on me. Send Lazarus to dip his fingertip in water and cool my tongue, for I'm in agony in this flame.' N’akoowoola nti, ‘Kitange Ibulayimu, nsaasira, ontumire Laazaalo oyo annyike olugalo Lwe mu mazzi, nkombeko, naye olulimi lumbabuukirira nnyo mu muliro guno ogumbonyaabonya!’
25 "But Abraham said, 'Child, remember: you received good things in your life, and Lazarus likewise bad things. Now he is comforted here, and you are in anguish. “Naye Ibulayimu n’amuddamu nti, ‘Mwana wange, jjukira nga mu biseera byo ng’okyali mulamu wafuna ebirungi bye weetaaganga, naye nga Laazaalo ye afuna bibi. Kaakano Laazaalo asanyusibwa naye gwe oli mu kubonaabona.
26 Besides all this, a great chasm separates us from you, so those who want to cross from here to you can't, nor can anyone cross from there to us.' Ate n’ekirala, wakati waffe nammwe waliwo olukonko luwanvu nnyo olutwawula, omuntu ali eno bw’ayagala okujja eyo akoma awo ku mugo gwalwo, n’oyo ali eyo ayagala okujja eno tasobola.’
27 "And he said, 'Then I beg you, father, to send him to my father's house, “Awo nnaggagga n’ayaziirana nti, ‘Ayi kitange Ibulayimu, nkwegayiridde ntumira Laazaalo oyo mu maka ga kitange,
28 for I have five brothers—let him warn them, so they won't also come to this place of torment.' kubanga nninayo abooluganda bataano, abandabulire, bwe balifa baleme kujja mu kifo kino ekirimu okubonaabona okwenkanidde wano.’
29 "But Abraham said, 'They have Moses and the Prophets; let them hear them.' Naye Ibulayimu n’amugamba nti, ‘Balina Musa ne bannabbi, kale bawulire abo.’
30 He said, 'No, father Abraham, but if someone from the dead goes to them, they'll repent.' “Omugagga n’addamu nti, ‘Nedda, kitange Ibulayimu, singa batumirwa omuntu ng’ava mu bafu, bajja kwenenya.’
31 He told him, 'If they won't listen to Moses and the Prophets, they won't be convinced even if someone rises from the dead.'" “Awo Ibulayimu n’amugamba nti, ‘Obanga tebagondera Musa ne bannabbi, newaakubadde alizuukira okuva mu bafu talibakkirizisa.’ ”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]