Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 17 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 He told his disciples, "Offenses are sure to come, but woe to the one they come through! Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebikemo ebireetera abantu okwonoona tebiyinza butajja, naye zimusanze omuntu oyo abireeta.
2 Better for him to have a millstone hung around his neck and be thrown into the sea than to cause one of these little ones to stumble. Ekyandisinze kwe kusiba olubengo mu bulago bwe n’asuulibwa mu nnyanja okusinga okwesittaza omu ku baana bano abato.
3 "Watch yourselves. If your brother sins, rebuke him, and if he repents, forgive him. Mwekuume. “Muganda wo bw’ayonoonanga, omunenyanga; era singa yeenenya omusonyiwanga.
4 If he sins against you seven times a day, and seven times returns saying, 'I repent,' forgive him." Ne bw’akusobyanga emirundi omusanvu mu lunaku olumu, naye buli mulundi n’ajja gy’oli n’akwenenyeza, musonyiwenga.”
5 The apostles said to the Lord, "Increase our faith!" Awo abatume ne bagamba Mukama waffe nti, “Twongereko okukkiriza.”
6 The Lord said, "If you had faith like a mustard seed, you could tell this mulberry tree, 'Be uprooted and planted in the sea,' and it would obey you. Mukama waffe n’abagamba nti, “Singa okukkiriza kwammwe kuba ng’akaweke ka kaladaali, mwandigambye omukenene guno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ era ne gubagondera.
7 Which of you with a servant plowing or tending sheep tells him, coming in from the field, 'Come at once, recline at the table'? “Naye ani ku mmwe, ng’omuddu we yaakakomawo okuva okulima oba okulunda endiga, amugamba nti, ‘Jjangu mangu otuule ku mmere?’
8 Won't he instead say, 'Get my supper ready, dress to serve me while I eat and drink, then you may eat and drink'? Tamugamba nti, ‘Teekateeka emmere yange, weerongoose olabike bulungi, olyoke ompeereze nga ndya era nga nnywa, bwe nnaamala naawe n’onywa era n’olya emmere yo?’
9 "Does he thank the servant because he did what he was commanded? Mulowooza nti Mukama w’omuweereza oyo amwebaza olw’okugondera bye yalagirwa okukola?
10 So you too, having done all you were commanded, say: 'We are unworthy servants; we've only done our duty.'" Nammwe bwe mutyo bwe mumalanga okutuukiriza ebyo ebyabagambibwa okukola, mugambenga nti, ‘Ffe abaddu bo abatasaanira tukoze omulimu gwaffe ogutugwanidde.’ ”
11 On the way to Jerusalem he was passing along between Samaria and Galilee. Awo Yesu bwe yali yeeyongerayo mu lugendo lwe ng’agenda e Yerusaalemi, n’akwata ekkubo eriyita wakati wa Ggaliraaya ne Samaliya.
12 As he entered a village, ten men who had leprosy met him. They stood at a distance, Awo bwe yayingira mu kabuga akamu, abasajja kkumi nga bonna bagenge ne bajja okumusisinkana. Ne bayimirira walako
13 and called out loudly, "Jesus, Master, have mercy on us!" ne bakoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa!”
14 Seeing them, he said, "Go, show yourselves to the priests." As they went, they were made clean. Yesu bwe yabalaba n’abagamba nti, “Mugende mweyanjule eri bakabona.” Bwe baali nga bagenda ne bawona ne baba balongoofu.
15 One of them, seeing he was healed, turned back, praising our Father loudly, Omu ku bo bwe yalaba ng’awonye n’akomawo eri Yesu nga bw’aleekaanira waggulu ng’atendereza Katonda.
16 and he fell on his face at Jesus' feet, giving him thanks. Now he was a Samaritan. N’agwa wansi ku bigere bya Yesu ng’amwebaza. Omusajja oyo yali Musamaliya.
17 Jesus said, "Weren't ten made clean? Where are the nine? Yesu n’agamba nti, “Ekkumi bonna tebaawonyezebbwa? Omwenda bo baluwa?
18 Was no one found to return and give glory to our Father except this foreigner?" Tebayinzizza kudda kutendereza Katonda wabula munnaggwanga ono yekka y’akomyewo?”
19 And he said to him, "Rise and go; your faith has made you well." Awo Yesu n’amugamba nti, “Situka weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza.”
20 Asked by the Pharisees when the kingdom of our Father would come, he answered them, "The kingdom of our Father does not come with observation, Awo Abafalisaayo ne babuuza Yesu nti, “Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?” Yesu n’abaddamu nti, “Obwakabaka bwa Katonda tebulabika nga bujja,
21 nor will they say, 'Look, here!' or 'There!' For the kingdom of our Father is among you." era abantu tebagenda kugamba nti, ‘Laba buubuno wano,’ oba nti, ‘Buubuli wali,’ kubanga obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe.”
22 He told the disciples, "Days are coming when you will long to see one of the days of the Son of Man, and you won't see it. Oluvannyuma n’agamba abayigirizwa be nti, “Ekiseera kijja lwe mulyegomba okulaba olumu, ku nnaku z’Omwana w’Omuntu, naye temulirulaba.
23 They will say to you, 'Look, there!' or 'Look, here!' Don't go, don't chase after them. Balibagamba nti lwe luno era nti lwe luli temugendanga era temubagobereranga.
24 For as lightning flashes and lights the sky from one edge to the other, so the Son of Man will be in his day. Kubanga ng’eggulu bwe limyansiza ku ludda olumu olw’eggulu ate ne limyansiza ku ludda olulala olw’eggulu, bw’atyo bw’aliba Omwana w’Omuntu ku lunaku lwe,
25 But first he must suffer many things and be rejected by this generation. Naye okusooka kimugwanira okubonaabona mu bintu bingi, n’okugaanibwa, abantu ab’omulembe guno.
26 As Noah's days were, so will the Son of Man's days be. “Nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, era bwe kityo bwe kiriba ne mu biseera by’Omwana w’Omuntu.
27 They ate, drank, married, and were given in marriage, until the day Noah entered the ark, and the flood came and destroyed them all. Abantu baali balya nga banywa nga bawasa era nga bafumbirwa okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato. Olwo amataba ne gajja ne gasaanyaawo buli kintu.
28 It was the same in Lot's days: eating, drinking, buying, selling, planting, building, “Era kiriba nga bwe kyali mu nnaku za Lutti. Abantu baali balya nga banywa, nga bagula era nga batunda, nga balima era nga bazimba amayumba,
29 but the day Lot left Sodom, fire and sulfur rained from heaven and destroyed them all, okutuusa ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu. Olwo omuliro n’olunyata ne biyiika okuva mu ggulu ne bizikiriza buli kimu.
30 so will it be on the day when the Son of Man is revealed. “Bwe bityo bwe biriba ku lunaku, Omwana w’Omuntu lw’alirabikirako.
31 On that day, whoever is on the roof with goods inside must not go down for them; likewise, whoever is in the field must not turn back. Ku lunaku olwo omuntu yenna aliba waggulu ku nju, takkanga mu nju munda kuggyamu bintu bye. N’abo abaliba mu nnimiro tebaddangayo eka okubaako ne bye banonayo.
32 Remember Lot's wife. Mujjukire mukazi wa Lutti!
33 Whoever seeks to preserve his life will lose it, but whoever loses his life will keep it. Buli anoonya okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, naye buli eyeefiiriza obulamu bwe alibuwonya.
34 I tell you, that night two will be in one bed: one will be taken, and the other left. Mbagamba nti ku lunaku olwo abantu babiri baliba ku kitanda kimu, Omu alitwalibwa naye munne n’alekebwa.
35 There will be two women grinding together; one will be taken and the other left." Abantu babiri baliba basa ku lubengo, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa.
36 Not in this edition Abasajja babiri baliba mu nnimiro, omu alitwalibwa naye munne alirekebwa.”
37 They asked, "Where, Lord?" He said, "Wherever a corpse lies, the vultures will gather there." Awo abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Mukama waffe, nga batwalibwa wa?” Yesu n’abaddamu nti, “Awaba ekifudde awo ensega we zirikuŋŋaanira!”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]