Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 18 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then Jesus told them a parable about the need to always pray and never lose heart. Awo Yesu n’agerera abayigirizwa be olugero ng’agamba nga bwe bagwanidde obutakoowanga kusaba n’obutaggwaamu mwoyo, ng’agamba nti,
2 "In a certain town there was a judge who neither feared God nor respected people. “Waaliwo omulamuzi mu kibuga ekimu, nga tatya Katonda era nga tafa ku muntu yenna.
3 A widow in that town kept coming to him, saying, 'Grant me justice against my opponent.' Mu kibuga ekyo mwalimu nnamwandu eyajjanga ew’omulamuzi oyo buli lunaku ng’amwegayirira nti, ‘Nnamula n’omulabe wange.’
4 For a while he refused, but then said to himself, 'Though I don't fear God nor respect people, “Omulamuzi n’amala ebbanga ng’akyagaanyi. Naye oluvannyuma n’agamba mu mutima gwe nti, ‘Newaakubadde nga sitya Katonda era nga sirina muntu gwe nzisaamu kitiibwa,
5 since this widow keeps troubling me, I'll grant her justice, so she doesn't wear me out with her endless visits.'" naye olwokubanga nnamwandu ono aneetayiridde nnyo, nzijja kumumalira ensonga ze, kubanga ajja kunkooya olw’okuneetayirira ng’ajja gye ndi buli lunaku!’ ”
6 And the Lord said, "Listen to what the unjust judge says. Awo Mukama waffe n’agamba nti, “Muwulire omulamuzi atali wa mazima bw’agamba.
7 Won't our Father bring justice for his chosen ones who cry to him day and night? Will he keep delaying? Kale Katonda talisingawo nnyo kulamula abantu be, be yeerondera, abamukaabirira emisana n’ekiro ate ng’abagumiikiriza?
8 I tell you, he will grant them justice quickly. But when the Son of Man comes, will he find faith on earth?" Mbagamba nti agenda kubalamula mangu. Naye Omwana w’Omuntu, bw’alijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”
9 He also told this parable to some who trusted in themselves as righteous and despised everyone else: Awo Yesu n’agerera olugero luno abo abeerowooza nga batuukirivu nga banyoomoola n’abantu abalala, n’agamba nti,
10 "Two men went up to the temple to pray, one a Pharisee and the other a tax collector. “Abantu babiri baayambuka mu Yeekaalu okusaba, omu yali Mufalisaayo n’omulala nga muwooza.
11 The Pharisee stood and prayed about himself: 'God, I thank you I'm not like other people—robbers, wrongdoers, adulterers—or even like this tax collector.' Omufalisaayo n’ayimirira n’atandika okusaba nga yeeyogerako nti, ‘Nkwebaza, Katonda, kubanga sifaanana ng’abantu abalala: ab’omululu, abalyazaamaanyi, abenzi, oba omuwooza ono.
12 'I fast twice a week; I give a tenth of all I get.' Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki, era mpaayo eri Katonda, ekimu eky’ekkumi ku bintu byonna bye nfuna.’
13 But the tax collector, standing far off, would not even raise his eyes to heaven, but beat his chest, saying, 'our Father, have mercy on me, a sinner.' “Naye omuwooza n’ayimirira wala n’atasobola na kuyimusa maaso ge kutunula eri eggulu ng’asaba, wabula ne yeekuba mu kifuba ng’asaba nti, ‘Katonda, onsaasire, nze omwonoonyi.’
14 I tell you, this man went to his home justified, not the other. Everyone who lifts himself up will be humbled; the one who humbles himself will be lifted up." “Mbagamba nti omusajja ono, omuwooza ye yaddayo eka ng’asonyiyiddwa ebibi bye. Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
15 People were even bringing their infants to him to touch them, but the disciples saw this and warned them off. Lumu ne wabaawo abaaleetera Yesu abaana baabwe abato abakwateko abawe omukisa. Naye abayigirizwa bwe baakiraba ne bajunga abaabaleeta.
16 But Jesus called the children to him and said, "Let the children come to me; don't stop them—the kingdom of our Father belongs to ones like these. Naye Yesu abaana n’abayita, n’agamba nti, “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana, kubanga abali nga bano be b’obwakabaka bwa Katonda.
17 Truly I tell you: whoever doesn't accept the kingdom of our Father like a little child will never enter it." Ddala ddala mbagamba nti atayaniriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, talibuyingiramu n’akatono.”
18 A certain ruler asked him, "Good Teacher, what must I do to inherit eternal life?" Awo omu ku bakulembeze b’Abayudaaya n’abuuza Yesu nti, “Omuyigiriza omulungi, nkole ki okufuna obulamu obutaggwaawo?”
19 Jesus said to him, "Why call me good? No one is good except our Father alone. Yesu n’amuddamu nti, “Lwaki ompita omulungi? Tewali mulungi n’omu wabula Katonda yekka.
20 You know the commandments: 'Do not commit adultery, Do not murder, Do not steal, Do not testify falsely, Honor your father and mother.'" Amateeka ogamanyi nti, ‘Toyendanga, tottanga, tobbanga, tolimbanga, kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.’ ”
21 "All these I have kept since my youth," he said. N’amuddamu nti, “Amateeka ago gonna ngagondedde ebbanga lyonna okuva mu buto bwange.”
22 Hearing this, Jesus said, "One thing you still lack: sell all you own, give to the poor, and you'll have treasure in heaven; then come, follow me." Yesu bwe yawulira ebyo, n’amugamba nti, “Okyabulako ekintu kimu. Genda otunde ebibyo byonna, ensimbi z’onoggyamu ozigabire abaavu, olibeera n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere.”
23 But when he heard this, he became very sad, for he was extremely rich. Naye bwe yawulira ebigambo ebyo n’agenda ng’anakuwadde nnyo, kubanga yali mugagga nnyo.
24 Jesus looked at him and said, "How hard it is for the wealthy to enter our Father's kingdom! Yesu bwe yamulaba ng’anakuwadde nnyo, n’ayogera nti, “Nga kizibu omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda!
25 For it's easier for a camel to pass through a needle's eye than for a rich person to enter our Father's kingdom." Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”
26 Those who heard it asked, "Then who can be saved?" Abo abaawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?”
27 But he said, "What is impossible for people is possible for our Father." Yesu n’addamu nti, “Ebitayinzika eri abantu, biyinzika eri Katonda.”
28 Then Peter said, "Look, we have left our own homes and followed you." Peetero n’amugamba nti, “Ffe twalekawo ebyaffe byonna ne tukugoberera!”
29 He said to them, "Truly I tell you: no one has left house, wife, brothers, parents, or children for the sake of our Father's kingdom, Yesu n’addamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti teri muntu n’omu eyalekawo amaka ge, oba omukazi we, oba baganda be, oba abazadde be, oba abaana be, olw’obwakabaka bwa Katonda,
30 who will not receive many times more now, and eternal life in the age to come." atalifuna mirundi mingi n’okusingawo mu mulembe guno, ate ne mu mulembe ogugenda okujja aweebwe obulamu obutaggwaawo.”
31 He took the Twelve aside and said, "Look, we're going up to Jerusalem, and all the prophets wrote about the Son of Man will be fulfilled. Awo Yesu n’azza ku bbali ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, era bwe tunaatuuka eyo, byonna bannabbi bye bawandiika ku Mwana w’Omuntu, bijja kutuukirizibwa.
32 For he will be handed over to the Gentiles, mocked, insulted, and spit on. Ajja kuweebwayo eri Abamawanga okukudaalirwa n’okuvumibwa. Balimuduulira, ne bamubonyaabonya, ne bamuwandira amalusu,
33 They will flog him and kill him, and on the third day he will rise." balimukuba era ne bamutta. Ne ku lunaku olwokusatu alizuukira.”
34 But they understood none of this; this saying was hidden from them, and they did not grasp what was said. Naye abayigirizwa be tebaategeera ky’agamba, amakulu gaakyo gaali gabakwekeddwa, ne batategeera bye yayogera.
35 As Jesus drew near to Jericho, a blind man was sitting by the roadside begging. Awo Yesu bwe yali ng’asemberera Yeriko, ne wabaawo omusajja omuzibe w’amaaso eyali atudde ku kkubo ng’asabiriza.
36 Hearing a crowd going by, he asked what was happening. Awo omusajja oyo bwe yawulira ng’ekibiina ky’abantu bayitawo, n’abuuza nti, “Kiki ekyo?”
37 They told him, "Jesus of Nazareth is passing by." Ne bamuddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi ye ayitawo.”
38 So he called out, "Jesus, Son of David, have mercy on me!" Omuzibe w’amaaso n’akoowoola nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!”
39 Those who were in front rebuked him and told him to be quiet, but he cried out all the more, "Son of David, have mercy on me!" Abo abaali bakulembeddemu ne bamuboggolera asirike, kyokka ye ne yeeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Omwana wa Dawudi, onsaasire!”
40 Jesus stopped and ordered him brought to him. When he came near, Jesus asked, Awo Yesu n’ayimirira, n’alagira, omusajja bamumuleetere. Bwe yasembera, Yesu n’amubuuza nti,
41 "What do you want me to do for you?" He said, "Lord, let me see again." “Kiki ky’oyagala nkukolere?” Omusajja n’addamu nti, “Mukama wange, njagala nziremu okulaba!”
42 And Jesus said to him, "Receive your sight; your faith has saved you." Yesu n’amugamba nti, “Ddamu okulaba. Okukkirizakwo kukuwonyezza.”
43 At once he could see and followed Jesus, glorifying our Father. All the people who saw it praised our Father too. Amangwago n’addamu okulaba, n’agoberera Yesu ng’atendereza Katonda. Bonna abaakiraba ne batendereza Katonda.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]