Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 19 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Jesus entered Jericho and was passing through. Awo Yesu n’atuuka mu kibuga Yeriko, n’ayitamu.
2 And there was a man named Zacchaeus; he was a chief tax collector, and he was rich. Mu kibuga omwo mwalimu omusajja erinnya lye Zaakayo; yali mukulu wa bawooza, era yali mugagga nnyo.
3 He wanted to see who Jesus was, but couldn't for the crowd—he was short. N’afuba okulaba Yesu, naye n’atasobola ng’ali mu kibiina ky’abantu kubanga yali mumpi.
4 He ran ahead and climbed a sycamore tree to see him, since Jesus was about to pass that way. Kyeyava adduka ne yeesooka ekibiina mu maaso, n’alinnya omuti omusukamooli asobole okulaba Yesu ng’ayitawo.
5 When Jesus reached the spot, looked up, and said to him, "Zacchaeus, hurry down, for I must stay at your house today." Yesu bwe yatuuka awo n’atunula waggulu, n’amuyita nti, “Zaakayo! Yanguwa okke wansi! Kubanga olwa leero ŋŋenda kuba mugenyi wo mu maka go.”
6 So he hurried down and welcomed him joyfully. Awo Zaakayo n’akka mangu okuva ku muti n’atwala Yesu mu nnyumba ye ng’ajjudde essanyu.
7 Seeing this, everyone grumbled, "He's gone to stay with a sinful man." Abantu bonna abaakiraba ne batandika okwemulugunya nga bagamba nti, “Agenze okukyalira omuntu alina ebibi.”
8 Zacchaeus stood and said to the Lord, "Look, Lord, I give half my possessions to the poor, and if I've cheated anyone, I'll repay four times as much." Awo Zaakayo n’ayimirira n’agamba Mukama waffe nti, “Mukama wange! Mpuliriza! Ebintu byange nnaabigabanyaamu wakati, ekitundu ne nkiwa abaavu; era obanga waliwo omuntu gwe nnali ndyazaamaanyizza, nnaamuliyira emirundi ena.”
9 Jesus told him, "Today salvation has come to this house, since he too is a son of Abraham. Yesu n’amugamba nti, “Olwa leero obulokozi buzze mu nnyumba muno, kubanga omusajja ono naye muzzukulu wa Ibulayimu.
10 For the Son of Man came to seek and to save the lost." Kubanga Omwana w’Omuntu, yajjirira kunoonya n’okulokola abaabula.”
11 While they listened, he added a parable, since he was near Jerusalem and they thought our Father's kingdom would appear immediately. Awo nga bakyawuliriza ebyo, Yesu n’abagerera olugero olulala. Mu kiseera ebyo yali asemberedde nnyo Yerusaalemi, era abantu ne balowooza nti obwakabaka bwa Katonda bugenda kutandika mu kiseera ekyo.
12 So he said, "A nobleman went to a distant land to receive a kingdom for himself and return. N’abagamba nti, “Waaliwo omukungu omu eyalaga mu nsi ey’ewala alye obwakabaka alyoke akomewo.
13 Calling ten of his servants, he gave each about three months' wages, saying, "Trade with this until I return." Bwe yali asitula n’ayita abaddu be kkumi n’abalekera mina kkumi n’abagamba nti, ‘Muzisuubuzise okutuusa lwe ndidda.’
14 His citizens hated him and sent envoys after him, saying, "We don't want this man ruling over us." “Naye abantu be baali tebamwagala ne batuma ababaka baabwe mu nsi gye yalaga, nga bagamba nti, ‘Ffe tetwagala musajja ono kubeera kabaka waffe.’
15 "Returning after receiving the kingdom, he called the servants he had given money to, to learn what they had earned. “Naye n’afuulibwa kabaka, n’addayo mu kitundu ky’ewaabwe. Bwe yatuuka n’ayita abaddu be, be yali alekedde ensimbi, bamutegeeze amagoba ge baggyamu.
16 The first came, saying, 'Lord, your money has earned ten times as much.'" “Eyasooka n’ajja n’agamba nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina kkumi.’
17 "He replied, 'Well done, good servant! Since you were faithful in a small matter, take charge of ten cities.'" “Mukama we n’amwebaza, n’amugamba nti, ‘Oli muddu mulungi nnyo. Kubanga obadde mwesigwa mu kintu ekitono ennyo, nkuwadde okufuga ebibuga kkumi.’
18 "And the second came, saying, 'Lord, the money you gave me has earned five times as much.'" “Omuddu owookubiri n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina ttaano.’
19 "And he said to him, 'And you will be in charge of five cities.'" “Oyo naye n’amugamba nti, ‘Onoofuga ebibuga bitaano.’
20 "Then another came, saying, 'Lord, here is your money back, which I kept wrapped in a cloth;' “Awo omuddu omulala n’ajja, n’agamba mukama we nti, ‘Mina gye wandekera yiino, nagitereka bulungi.
21 for I was afraid of you, because you're a harsh man: you take what you didn't deposit and reap what you didn't sow." Nakutya, kuba, nga bw’oli omuntu omukakanyavu, otwala ebitali bibyo, n’okungula n’ebibala by’otaasiga.’
22 He answered, "By your own mouth I judge you, wicked servant! You knew I'm a harsh man, taking what I didn't deposit and reaping what I didn't sow? “Mukama we n’amuddamu nti, ‘Oli musajja mubi nnyo! Nzija kukusalira omusango ng’ebigambo byo by’oyogedde bwe biri. Wamanya nga ndi muntu mukalubo, nga ntwala ebitali byange, era nga nkungula bye saasiga,
23 Why then didn't you put my money in the bank? I'd have collected it with interest when I returned. kale, lwaki ensimbi zange tewazissa mu banka, bwe nandikomyewo nandizisanzeeyo nga zizadde n’amagoba?’
24 He said to those standing by, 'Take the money from him and give it to the one with ten times as much.'" “N’alyoka agamba abaali bayimiridde awo nti, ‘Mumuggyeeko mina eyo mugiwe oli alina ekkumi.’
25 "And they said to him, 'Lord, he has ten times as much! “Ne bamugamba nti, ‘Naye ssebo, oli alina mina kkumi!’
26 I tell you: everyone who has will be given more; but from the one who has none, even what he has will be taken. “N’abaddamu nti, ‘Mbagamba nti oyo yenna alina, alyongerwako; ate oyo atalina, n’akatono k’alina kalimuggibwako.
27 But bring here these enemies of mine who refused my rule, and slaughter them before me.'" Kaakano njagala abo bonna abalabe bange, abaajeema nga tebaagala mbeere kabaka waabwe, mubandeetere wano, mubattire mu maaso gange.’ ”
28 And when he had said these things, he went on ahead, going up to Jerusalem. Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’atambula ng’akulembedde abayigirizwa be okwolekera Yerusaalemi.
29 Nearing Bethphage and Bethany, at the Mount of Olives, he sent two of the disciples, Bwe yali asemberera ebibuga Besufaage ne Besaniya ng’ali ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, n’atuma abayigirizwa be babiri n’abagamba nti,
30 saying, "Go into the village ahead. As you enter, you will find a colt tied there, never sat on. Untie it and bring it here. “Mugende mu kabuga akatuli mu maaso bwe munaaba mwakakayingira, munaalaba omwana gw’endogoyi, oguteebagalwangako, nga gusibiddwa awo. Mugusumulule, muguleete wano.
31 If anyone asks you, 'Why are you untying it?' say, 'The Lord needs it.'" Singa wabaawo ababuuza nti, ‘Lwaki mugusumulula?’ Mumuddamu nti, ‘Mukama waffe agwetaaga.’ ”
32 So those who were sent went away and found it just as he had told them. Awo abaatumibwa ne bagenda ne basanga omwana gw’endogoyi nga Yesu bwe yabagamba.
33 As they were untying the colt, its owners said to them, "Why are you untying the colt?" Era bwe baali nga bagusumulula bannannyini gwo ne bababuuza nti, “Lwaki musumulula omwana gw’endogoyi ogwo?”
34 And they said, "The Lord needs it." Ne baddamu nti, “Mukama waffe agwetaaga.”
35 They brought it to Jesus, threw their cloaks on the colt, and set Jesus on it. Omwana gw’endogoyi ne baguleeta eri Yesu, ne bagwaliirako eminagiro gyabwe, Yesu n’agwebagala.
36 And as he rode along, they spread their cloaks on the road. Bwe yali ng’agenda, abantu ne baaliira ebyambalo byabwe mu luguudo.
37 As he neared the descent of the Mount of Olives, the whole crowd of disciples began rejoicing, praising our Father loudly for all the mighty works they had seen, Awo bwe yatuuka oluguudo we luserengetera olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna eky’abayigirizwa, ne batandika okutendereza Katonda, mu ddoboozi ery’omwanguka olw’ebyamagero bye yali akoze nga boogera nti,
38 saying, "Blessed is the King who comes in the name of our Father! Peace in heaven and glory in the highest!" “Aweereddwa omukisa Kabaka ajja mu linnya lya Mukama!” “Emirembe gibe mu ggulu, n’ekitiibwa kibeere waggulu ennyo!”
39 And some of the Pharisees in the crowd said to him, "Teacher, rebuke your disciples." Naye abamu ku Bafalisaayo abaali mu kibiina ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, lagira abayigirizwa bo basirike!”
40 He answered, "I tell you, if these were silent, the very stones would cry out." Yesu n’abaddamu nti, “Mbategeeza nti ssinga bo basirika, amayinja gano ganaaleekaana!”
41 And when he drew near and saw the city, he wept over it, Awo Yesu bwe yali ng’asemberera ekibuga Yerusaalemi, bwe yakirengera, n’akikaabira.
42 saying, "If only you had known today what brings you peace! But now it is hidden from your eyes. N’agamba nti, “Singa otegedde leero ebireeta emirembe ebyakulagirwa! Naye kaakano bikukwekeddwa, amaaso go tegayinza kubiraba.
43 Days are coming when your enemies will build a barricade around you, surround you, and hem you in on every side, Ekiseera kigenda kutuuka abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo okukwetooloola ne bakuzinda,
44 and they will level you and your children within your walls, leaving no stone on another, because you did not recognize the time of your visitation." ne bakumerengulira ku ttaka munda mu bisenge byo ggwe n’abaana bo. Abalabe bo tebalirekawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, kubanga omukisa Katonda gwe yakuwa ogw’okulokolebwa wagaana okugukozesa.”
45 And he entered the temple and began to drive out those who were selling, Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abaali batundiramu.
46 he told them, "Scripture says, 'My house will be a house of prayer,' but you've made it a den of robbers." N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneebanga ya kusinzizangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’ ”
47 He taught daily in the temple, while the chief priests, scribes, and leaders of the people looked for a way to kill him, Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’ayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka, n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bagezaako okufuna akaagaanya we banaamuttira.
48 but they found nothing they could do, since all the people hung on his words. Naye ne balemwa kubanga abantu bonna baamussaako nnyo omwoyo nga bamuwuliriza.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]