Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 20 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 One of those days, as Jesus taught the people in the temple and preached good news, the chief priests and scribes came up with the elders, Awo Yesu bwe yali ng’ayigiriza era ng’abuulira Enjiri mu luggya lwa Yeekaalu, bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka n’abakulembeze b’Abayudaaya ne bajja gy’ali.
2 and asked him, "Tell us by what authority you do these things, or who gave you this authority." Ne bamubuuza nti, “Tubuulire, buyinza ki obukukozesa bino? Era ani eyakuwa obuyinza obwo?”
3 He answered them, "I also will ask you a question. Tell me: Yesu n’addamu nti, “Nange ka mbabuuze ekibuuzo kino.
4 Was the baptism of John from heaven, or from man?" Okubatiza kwa Yokaana kwava eri Katonda nandiki kwava mu bantu?”
5 They discussed among themselves: "If we say, 'From heaven,' he'll say, 'Why didn't you believe him?' Ne basooka okwogeraganyaamu bokka ne bokka nga bagamba nti, “Bwe tunaagamba nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale, lwaki temwamukkiriza?’
6 But if we say 'From man,' all the people will stone us, for they're convinced John was a prophet." Naye ate bwe tunaddamu nti, ‘Kwava mu bantu,’ abantu bonna bajja kutukuba amayinja, kubanga bamatizibwa nti Yokaana yali nnabbi.”
7 So they answered that they did not know where it came from. Kyebaava baddamu nti, “Tetumanyi gye kwava.”
8 And Jesus said to them, "Neither will I tell you by what authority I do these things." Yesu n’abagamba nti, “Nange sijja kubabuulira gye nzigya obuyinza obunkozesa bino.”
9 He began telling the people this parable: A man planted a vineyard, leased it to tenants, then went abroad for a long time. Awo Yesu n’akyukira abantu n’abagerera olugero luno nti, “Waaliwo omusajja eyalina ennimiro ey’emizabbibu, n’agipangisa abalimi, n’agenda olugendo, n’amalayo ebbanga ddene.
10 "At harvest he sent a servant to the tenant farmers for his share of the vineyard's fruit, but they beat him and sent him away empty-handed. Awo ekiseera eky’amakungula bwe kyatuuka, n’atuma omu ku baddu be eri abalimi bamuwe ku bibala eby’emizabbibu gye. Naye abalimi abapangisa ne bamukuba ne bamugoba n’addayo ngalo nsa eri mukama we.
11 He sent another servant; they beat him too, humiliated him, and sent him away empty-handed. N’abatumira omuddu we omulala, n’oyo ne bamukuba ne bamuswaza nnyo, n’addayo ngalo nsa.
12 And he sent yet a third, but they wounded this one too and threw him out. N’abatumira omuddu owookusatu, naye ne bamukuba ne bamussaako n’ebiwundu ne bamugoba mu nnimiro.
13 The vineyard owner said, 'What should I do? I will send my beloved son; perhaps they will respect him.' “Nannyini nnimiro ne yeebuuza nti, ‘Nkole ntya? Ka mbatumire omwana wange gwe njagala ennyo, oboolyawo banaamussaamu ekitiibwa.’
14 But seeing him, the tenants reasoned among themselves: 'This is the heir. Let's kill him, so the inheritance becomes ours.' “Omwana oyo bwe baamulengera ne bateesa nti, ‘Ono y’agenda okusikira ennimiro eno nga kitaawe afudde. Ka tumutte, ebyobusika tubyesigalize.’
15 They threw him out of the vineyard and killed him. What then will the vineyard owner do to them? Ne bamuggya mu nnimiro nga bamukulula ne bamutta. “Mulowooza nannyini nnimiro abalimi abo alibakola atya?
16 "He will come, destroy those tenants, and give the vineyard to others." Hearing this, they said, "Impossible!" Agenda kujja abazikirize bonna, n’ennimiro agiwe abalala.” Awo bwe baabiwulira ebyo ne bagamba nti, “Ekintu ng’ekyo kireme kubaawo!”
17 He looked straight at them and asked, "Then what is this that's written: 'The stone the builders rejected became the cornerstone'? Yesu n’abatunuulira n’abagamba nti, “Kale ekyawandiikibwa kino kitegeeza ki? Ekigamba nti, “ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’
18 Everyone who falls on that stone will be broken to pieces, and when it falls on anyone, it will crush him." Omuntu yenna agwa ku jjinja eryo alibetentebwa, na buli gwe lirigwako lirimubetenta.”
19 The scribes and chief priests wanted to arrest him then and there, knowing he'd told this parable against them—but they feared the people. Awo abannyonnyozi b’amateeka ne bakabona abakulu bwe baawulira ebigambo ebyo, ne baagala bamukwatirewo mangwago, kubanga baamanya ng’olugero lwali lukwata ku bo. Naye ne batya abantu.
20 Watching closely, they sent spies pretending to be honest, to catch him in his words, so as to hand him over to the governor's rule and authority. Ne balinda okutuusa lwe banaafuna akaagaanya babeeko kye bakola. Ne batuma abakessi eri Yesu nga beefudde ng’abantu abalungi abaagala okumanya. Baasuubira nti mu ebyo by’anaddamu, nga bamubuuzizza ebibuuzo ebirimu emitego, munaabaamu kwe banaasinziira okumukwata ne bamuwaayo ewa gavana.
21 They asked him, "Teacher, we know you speak and teach rightly, favor no one, but truly teach God's way. Abakessi ne babuuza Yesu nti, “Omuyigiriza, tumanyi nga By’oyogera n’ebyo by’oyigiriza bya mazima, era nga tofaayo ku bigambo eby’abantu obuntu wabula oyigiriza ebyo Katonda by’ayagala.
22 Is it lawful for us to pay taxes to Caesar, or not?" Kyetuva tukubuuza nti kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?”
23 But he saw through their cunning and said, Yesu n’ategeera mangu obukuusa bwabwe, n’abagamba nti,
24 "Show me a coin worth a day's wages. Whose image and inscription is on it?" They said, "Caesar's." “Mundage ensimbi eya ffeeza. Ekifaananyi kino ekiriko ky’ani? N’erinnya lino ly’ani?” Ne baddamu nti, “Bya Kayisaali.”
25 He said to them, "Then give Caesar what's Caesar's, and our Father what's our Father's." N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.”
26 They could not trap him in his words before the people, and amazed at his answer, they fell silent. Ne balemwa okumukwasa mu ebyo bye yaddamu ng’abantu bonna bali awo. Bye yaddamu ne bibeewuunyisa nnyo, ne basirika busirisi.
27 Some Sadducees, who deny there is a resurrection, came and asked him, Awo abamu ku Basaddukaayo abatakkiririza mu kuzuukira, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti,
28 "Teacher, Moses wrote for us: if a man dies leaving a wife but no children, his brother must marry the widow and raise offspring for him. “Omuyigiriza, amateeka ga Musa gagamba nti ssinga omusajja omufumbo afa nga tazadde baana, muganda we awasenga nnamwandu alyoke afunire muganda we omufu ezzadde.
29 Now there were seven brothers. The first took a wife and died childless. Waaliwo abooluganda musanvu, asinga obukulu n’awasa, kyokka n’afa nga talese mwana.
30 And the second, Adda ku mufu n’awasa nnamwandu; kyokka naye n’afa nga tazadde mwana.
31 and the third took her, and likewise all seven left no children and died. Okutuusa abooluganda bonna lwe baafa ne baggwaawo nga buli omu awasizza ku nnamwandu oyo, kyokka nga tewali alese mwana.
32 Finally the woman also died. Oluvannyuma n’omukazi naye n’afa.
33 At the resurrection, then, whose wife will she be? For all seven had married her." Kale mu kuzuukira omukazi oyo aliba muka ani? Kubanga abooluganda bonna omusanvu yabafumbirwako!”
34 And Jesus said to them, "The people of this age marry and are given in marriage, Yesu n’addamu nti, “Obufumbo buli kuno ku nsi, abantu kwe bawasiza era ne bafumbirwa.
35 "But those considered worthy to reach that age and the resurrection from the dead neither marry nor are given in marriage. Naye abo abasaanyizibwa okuzuukira mu bafu bwe batuuka mu ggulu tebawasa wadde okufumbirwa,
36 For they can no longer die, because they are like angels and children of our Father, children of the resurrection. era tebaddayo kufa nate, kubanga baba nga bamalayika. Era baba baana ba Katonda kubanga baba bazuukizibbwa mu bulamu obuggya,
37 But even Moses showed the dead are raised, at the bush passage, calling our Father the God of Abraham and of Isaac and of Jacob. Naye nti abafu bazuukizibwa, ne Musa yannyonnyola bye yalaba ku kisaka, bwe yayita Mukama Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo.
38 He isn't God of the dead but of the living, for all are alive to him." Kino kitegeeza nti ssi Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu, kubanga bonna balamu gy’ali.”
39 Then some of the scribes answered, "Teacher, you have spoken well." Abamu ku bannyonnyozi b’amateeka ne bagamba nti, “Omuyigiriza, ozzeemu bulungi!”
40 For they no longer dared to ask him anything. Ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo birala.
41 But he said to them, "How can they say that the Christ is the son of David? Awo Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki Kristo ayitibwa Omwana wa Dawudi?
42 For David himself says in the Psalms, 'Our Father said to my Lord, "Sit at my right hand, Songa Dawudi amwogerako mu Zabbuli nti, “ ‘Katonda yagamba Mukama wange nti, Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo
43 until I make your enemies a footstool for your feet."' okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.’
44 David then calls him Lord—how is he his son?" Noolwekyo obanga Dawudi amuyita Mukama we, kale ayinza atya okuba omwana we?”
45 While all the people were listening, he said to his disciples, Awo abantu bonna nga bawulira, Yesu n’akyukira abayigirizwa be n’abagamba nti,
46 "Watch out for the scribes, who want to walk in long robes, and love greetings in the marketplaces, the best seats in synagogues, and places of honor at feasts, “Mwekuume abannyonnyozi b’amateeka. Baagala nnyo okutambula nga bambadde amaganduula agagenda gakweya, n’abantu okugenda nga babalamusa mu butale, era baagala nnyo okutuula mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro ne ku mbaga!
47 who devour widows' houses and pray long prayers for show. They will receive greater condemnation." Balimbalimba nga basaba essaala empanvu, ng’eno bwe basala enkwe okunyaga ebintu bya bannamwandu. Noolwekyo bagenda kufuna ekibonerezo ekisingira ddala obunene.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]