Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 21 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Looking up, Jesus saw the rich putting their gifts into the temple treasury. Awo Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba abantu abagagga nga bateeka ebirabo byabwe mu ggwanika mu Yeekaalu.
2 He also saw a poor widow putting in two small copper coins. N’alaba nnamwandu omwavu ng’awaayo busente bubiri.
3 "Truly I tell you," he said, "this poor widow has put in more than all the others. N’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu agabye okusinga bali abagagga bonna.
4 For all these gave gifts from their surplus, but she gave from her poverty all she had to live on." Kubanga bagabye kitono nga bakiggya ku bugagga bwe bafisizzaawo, naye nnamwandu mu bwavu bwe awaddeyo kyonna ky’alina.”
5 As some were speaking of the temple, decorated with fine stones and gifts dedicated to our Father, he said: Ne wabaawo aboogera ku bulungi bw’amayinja agaweebwayo eri Katonda okuzimba Yeekaalu.
6 "As for what you're looking at, days are coming when not one stone will be left on another—every one will be thrown down." Naye Yesu n’agamba nti, “Ekiseera kijja ebirungi bino byonna bye mutunuulira lwe biribetentulwa ne watasigalawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, eritalisuulibwa wansi.”
7 "Teacher," they asked, "when will these things happen, and what sign will show these things are about to happen?" Ne bamubuuza nti, “Omuyigiriza, ebyo biribaawo ddi? Ye walibaawo akabonero akaliraga nti biri kumpi okubaawo?”
8 "Watch out, don't be deceived," he said. "Many will come in my name, saying, 'I am he,' and, 'The time is near.' Don't follow them. Yesu n’addamu nti, “Mwekuume muleme kulimbibwalimbibwa. Kubanga bangi balikozesa erinnya lyange, nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo.’ Naye temubakkirizanga.
9 When you hear of wars and revolts, don't panic. These must come first, but the end won't follow at once." Naye bwe muwuliranga entalo n’obwegugungo, temutyanga. Kubanga entalo ziteekwa okusooka okujja, naye enkomerero terituuka mangwago.”
10 Then he said to them, "Nation will rise against nation, and kingdom against kingdom. N’ayongera n’abagamba nti, “Amawanga galirwanagana, n’obwakabaka ne bulwanagana ne bunaabwo.
11 Great earthquakes will strike, with famines and plagues in various places, and terrors and great signs from heaven. Wagenda kubeerawo musisi ow’amaanyi ennyo, n’enjala ennyingi mu bitundu eby’enjawulo, ne kawumpuli. Walibaawo n’ebyentiisa ate n’obubonero okuva mu ggulu.
12 But before all this, they'll grab you and persecute you, handing you over to synagogues and prisons, hauling you before kings and governors because of my name. “Naye bino byonna nga tebinnabaawo balibayigganya, balibakwata. Balibawaayo mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso ga bakabaka ne bagavana, ku lw’erinnya lyange, ne musibibwa ne mu makomera.
13 This will be your opportunity to bear witness. Kiribaviiramu okufuna omukisa okuba abajulirwa bange.
14 So settle in your hearts not to prepare your defense beforehand, Naye temweraliikiriranga gye muliggya ebigambo eby’okuwoza,
15 for I will give you words and wisdom no opponent can resist or refute. Kubanga ŋŋenda kubawa ebigambo n’amagezi ebiriremesa n’abalabe bammwe okubaako n’eky’okuddamu!
16 You will be betrayed even by parents and brothers and relatives and friends, and they will kill some of you. Muliweebwayo bakadde bammwe, ne baganda bammwe ne mikwano gyammwe, balibawaayo mukwatibwe, era abamu ku mmwe muttibwe.
17 You will be hated by everyone for my name's sake. Abantu bonna balibakyawa nga babalanga erinnya lyange.
18 But not a hair of your head will perish. Naye n’oluviiri olumu bwe luti olw’oku mitwe gyammwe terulizikirira.
19 By your endurance you will gain your lives." Kubanga bwe muligumiikiriza muliwonya obulamu bwammwe.”
20 "When you see Jerusalem surrounded by armies, then know that its desolation has drawn near. “Bwe mulabanga nga Yerusaalemi kyetooloddwa amaggye, nga mutegeera nga Okuzikirizibwa kw’ekibuga ekyo kutuuse.
21 Then let those in Judea flee to the mountains, let those in the city leave, and let those in the countryside not enter it, Abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi, abaliba mu Yerusaalemi bakivangamu ne badduka, n’abo abalibeera mu nnimiro tebakomangawo mu kibuga.
22 for these are days of judgment, when all that is written will be fulfilled. Kubanga ebyo bye biriba ebiseera Katonda mwaliwolera eggwanga, n’ebigambo ebiri mu Byawandiikibwa birituukirizibwa.
23 How terrible it will be for pregnant women and nursing mothers in those days! For great distress will fall on the land, and wrath against this people. Nga ziribasanga abakazi abaliba embuto n’abayonsa! Kubanga eggwanga liribonaabona, n’abantu baalyo balisunguwalirwa.
24 They will fall by the edge of the sword and be led captive into all nations. Jerusalem will be trampled by the nations until the times of the nations are fulfilled." Abamu balittibwa n’ekitala ky’omulabe, abalala balikwatibwa ne bawaŋŋangusibwa mu mawanga gonna amalala ag’oku nsi. Yerusaalemi kiriwangulwa bannaggwanga ne bakirinnyirira okutuusa ekiseera kyabwe eky’obuwanguzi lwe kirikoma mu kiseera Katonda ky’aliba ateesezza.”
25 "There will be signs in sun, moon, and stars, and on earth, nations in distress, confused by the sea's roar and surge. “Walibaawo obubonero ku njuba, ne ku mwezi, ne ku mmunyeenye. Wano ku nsi amawanga galibeera mu kunyolwa, olw’ab’amawanga, ng’abantu basamaaliridde olw’ennyanja eziyira n’amayengo ageesiikuula.
26 People fainting from fear, dreading what's coming on the world, for the powers of the heavens will be shaken. Abantu baliggwaamu amaanyi ne bazirika nga batidde nnyo olw’ebirijja ku nsi; kubanga amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.
27 Then they will see the Son of Man coming in a cloud with power and great glory. Mu kiseera ekyo muliraba Omwana w’Omuntu ng’ajjira mu kire n’obuyinza n’ekitiibwa kingi.
28 When these things start, straighten up and lift your heads, for your redemption is near." Kale ebintu ebyo bwe bitandikanga muyimiriranga butereevu ne muyimusa amaaso gammwe waggulu! Kubanga okulokolebwa kwammwe nga kusembedde.”
29 Then he told them a parable: "Look at the fig tree and all the trees. Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Mutunuulire omuti omutiini n’emiti emirala gyonna.
30 When they sprout leaves, you see for yourselves and know summer is already near. Bwe mulaba nga gitandise okutojjera, mumanya ng’ebiseera eby’ebbugumu bituuse.
31 Likewise, when you see these things happen, know the kingdom of our Father is near. Mu ngeri y’emu bwe muliraba ebintu nga bibaawo, nga mumanya nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi okutuuka.
32 Truly I tell you, this generation will not pass away until all these things have taken place. “Ddala ddala mbagamba nti omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde.
33 Heaven and earth will pass away, but my words will never pass away." Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebigenda kuggwaawo.
34 "Watch yourselves, or your hearts will be weighed down by wild living, drunkenness, and life's worries, and that day will spring on you suddenly, like a trap. “Mwekuume muleme okwemalira mu binyumu n’okutamiira, n’okweraliikirira eby’obulamu, okujja kwange okw’amangu kuleme kubakwasa nga temugenderedde ng’abagudde mu mutego.
35 For it will come upon everyone living on the face of the whole earth. Kubanga olunaku olwo lulituuka ku buli muntu mu nsi yonna.
36 Keep watch at all times, praying for strength to escape everything about to happen, and to stand before the Son of Man." Mutunule nga musaba Katonda buli kiseera, abawe amaanyi okubasobozesa okuwona ebintu ebyo byonna, Omwana w’Omuntu bw’alijja mulyoke musobole okuyimirira mu maaso ge.”
37 By day he taught in the temple; at night he went out and stayed on the Mount of Olives. Buli lunaku Yesu yayigirizanga mu Yeekaalu, bwe bwawungeeranga n’ava mu kibuga n’asula ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni.
38 All the people would come to him at dawn in the temple to hear him. Mu makya abantu bonna ne bajjanga mu Yeekaalu okumuwuliriza.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]