1Now the Feast of Bread Without Yeast, called Passover, was approaching.OLCBEmbaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa eyitibwa Okuyitako yali esembedde.
2The chief priests and the scribes were looking for a way to kill him, because they feared the people.OLCBBakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka baali bakola kaweefube okusala amagezi okutta Yesu, naye nga batya abantu okusasamala.
3Then Satan entered into Judas, the one called Iscariot, who was one of the twelve.OLCBAwo Setaani n’ayingira mu Yuda Isukalyoti eyali omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri,
4He went and conferred with the chief priests and temple officers how he might betray him to them.OLCBn’agenda eri bakabona abakulu n’abakuumi ba Yeekaalu abakulu, n’ateesa nabo nga bw’anaamuwaayo gye bali.
5They were glad and agreed to give him money.OLCBNe basanyuka nnyo, era ne bakkiriza okumusasula.
6He agreed and began looking for an opportunity to betray him to them away from the crowd.OLCBYuda n’akkiriza okuwaayo Yesu, n’anoonya akakisa konna mw’anaamuweerayo gye bali nga tewali kibiina.
7Then the day of Unleavened Bread arrived, when the Passover lamb had to be sacrificed.OLCBAwo olunaku olw’Emigaati Egitazimbulukuswa, okuttirwa omwana gw’endiga ogw’embaga y’Okuyitako, ne lutuuka.
8Jesus sent Peter and John, saying, "Go prepare the Passover for us to eat."OLCBYesu n’atuma Peetero ne Yokaana n’abagamba nti, “Mugende mututegekere ekyekiro kyaffe eky’okuyitako, tujje tukirye.”
9They said to him, "Where do you want us to prepare it?"OLCBNe bamubuuza nti, “Oyagala tukitegekere wa?”
10He said, "Once you enter the city, a man carrying a jar of water will meet you. Follow him into the house he enters,OLCBYesu n’abaddamu nti, “Munaaba mwakayingira mu kibuga, mujja kulaba omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi ng’atambula. Mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw’anaayingira,
11"and tell the owner of the house, 'The Teacher says to you: Where is the guest room where I may eat the Passover with my disciples?'OLCBmugambe nnyinimu nti, ‘Omuyigiriza atutumye gy’oli ng’agamba nti: Ekisenge ky’abagenyi kiruwa mwe nnaaliira Okuyitako n’abayigirizwa bange?’
12And he will show you a large upper room, furnished; prepare it there."OLCBAjja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu nga kitegekeddwa bulungi. Omwo mwe muba mutegekera.”
13They went and found it just as he had told them, and they prepared the Passover.OLCBNe balaga mu kibuga, ne basanga buli kimu nga Yesu bwe yabagamba. Ne bateekateeka Okuyitako.
14When the hour came, he reclined at table, and the apostles with him.OLCBAwo ekiseera ky’okulya bwe kyatuuka, Yesu n’atuula n’abayigirizwa be okulya.
15He told them, "I have deeply longed to eat this Passover with you before I suffer.OLCBYesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Ebbanga eryo lyonna mbadde ndowooza nnyo ku Kyekiro kino eky’Okuyitako, nga njagala nkirye nammwe nga sinnaba kubonyaabonyezebwa.
16For I tell you, I won't eat it until it's fulfilled in the kingdom of our Father."OLCBKubanga mbagamba nti sigenda kuddayo kulya nammwe Okuyitako okutuusa lwe kulituukirizibwa mu bwakabaka bwa Katonda.”
17Taking a cup and giving thanks, he said, "Take this and divide it among yourselves.OLCBAwo Yesu n’addira ekikompe ky’envinnyo, bwe yamala okwebaza Katonda, n’agamba nti, “Mukwate, munyweko mwenna.
18For I tell you, from now on I will not drink the vine's fruit until our Father's kingdom comes."OLCBKubanga mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa ng’obwakabaka bwa Katonda buzze.”
19He took bread, gave thanks, broke it, and gave it to them, saying, "This is my body, given for you. Do this in memory of me."OLCBAte n’atoola omugaati, bwe yamala okwebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’abagabira ng’agamba nti, “Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe muti nga munzijukira.”
20He did the same with the cup after supper: "This cup is the new covenant in my blood, poured out for you.OLCBBwe baamala okulya ekyekiro, n’addira nate ekikompe era mu ngeri y’emu n’akibakwasa ng’agamba nti, “Ekikompe kino ke kabonero ak’endagaano ya Katonda empya ekakasibwa mu musaayi gwange oguyiyibwa ku lwammwe.
21But look—the hand of the one who betrays me is with me on the table.OLCBNaye muwulire kino. Omuntu agenda okundyamu olukwe atudde wano nange ku mmere.
22The Son of Man goes as determined, but woe to that man through whom he is handed over!"OLCBKigwanira Omwana w’Omuntu, okufa nga Katonda bwe yateekateeka. Naye zimusanze omuntu oyo amulyamu olukwe.”
23They began asking each other which of them would do this.OLCBAwo abayigirizwa ne batandika okwebuuzaganya bokka na bokka nti ani ku bo ayinza okukola ekintu ng’ekyo!
24A dispute also arose among them about which of them was the greatest.OLCBEra ne batandika okuwakana bokka ne bokka, ani asinga ekitiibwa mu bo?
25He said to them, "Kings of nations dominate them, and rulers over them are called benefactors.OLCBNaye Yesu n’abagamba nti, “Bakabaka b’abamawanga bafuga abantu baabwe, n’ab’obuyinza ne babazunza mu kino na kiri, naye abafugibwa tebalina kya kukola wabula okubayita abayambi baabwe.
26Not so with you: let the greatest among you become like the youngest, the leader like the one serving.OLCBNaye mu mmwe tekisaanira kuba bwe kityo. Oyo asinga ekitiibwa mu mmwe asaana yeeyisenga ng’asembayo, n’omukulembeze mu mmwe asaana abeere ng’omuweereza wammwe.
27Who is greater—the guest at the table or the one serving? The guest, isn't it? Yet I am among you as one who serves.OLCBMu nsi muno omukungu y’atula ku mmeeza abaddu be ne bamuweereza. Naye wano mu ffe nze muweereza wammwe.
28"You are those who have stayed with me in my trials,OLCBNaye mmwe mubadde wamu nange mu biseera bino eby’okugezesebwa kwange,
29and I confer on you a kingdom, just as my Father conferred one on me,OLCBera kubanga Kitange ampadde obwakabaka, noolwekyo mbaatulira kati nti mbawadde ekifo
30so you'll eat and drink at my table in my kingdom, and sit on thrones judging the twelve tribes of Israel."OLCBokutuula n’okulya era n’okunywera ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange obwo, era mulituula ku ntebe ne mulamula ebika bya Isirayiri ekkumi n’ebibiri.
31"Simon, Simon, listen—Satan has demanded to sift all of you like wheat,OLCB“Simooni, Simooni, Setaani asabye okukuwewa ng’eŋŋaano,
32but I prayed for you, that your faith not fail. Once you have turned back, strengthen your brothers."OLCBnaye ggwe nkusabidde okukkiriza kwo kuleme kukuggwaamu. Era bw’olimala okwenenya, yamba mu kuzimba n’okunyweza okukkiriza kwa baganda bo.”
33Peter said, "Lord, I'm ready to go with you to prison and death."OLCBAwo Peetero n’addamu nti, “Mukama wange, neeteeseteese okusibirwa awamu naawe mu kkomera, era n’okufiira awamu naawe.”
34Jesus said, "I tell you, Peter: the rooster won't crow today before you deny three times that you know me."OLCBYesu n’amuddamu nti, “Peetero, nkutegeeza nti leero ononneegaana emirundi esatu enkoko nga tennakookolima.”
35He asked, "When I sent you without money bag, knapsack, or sandals, did you lack anything?" "Nothing," they said.OLCBAwo Yesu n’ababuuza nti, “Bwe nabatuma okubuulira Enjiri, ne mutatwala nsimbi wadde ensawo, oba omugogo omulala ogw’engatto, mwalina okwetaaga ekintu kyonna?” Ne baddamu nti, “Nedda.”
36He said to them, "But now, let the one with a money bag take it, and a knapsack too. Let the one without a sword sell his cloak and buy one.OLCBYesu n’abagamba nti, “Naye kaakano alina ensawo eterekebwamu ensimbi agitwale, n’ensawo ng’ey’omusabiriza bwe mutyo. Atalina kitala, atunde ku ngoye ze akyegulire!
37For I tell you this Scripture must be fulfilled in me: 'He was counted among sinners.' For what is written about me is coming true."OLCBKubanga mbagamba nti kyetaagisa okutuukirizibwa mu nze ekyawandiikibwa nti, ‘Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka,’ ebinkwatako biteekwa okutuukirira.”
38They said, "Lord, look, here are two swords." He said to them, "It is enough."OLCBAbayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, wano tulinawo ebitala bibiri!” N’abaddamu nti, “Bimala!”
39And he went out, as usual, to the Mount of Olives, and the disciples followed him.OLCBAwo Yesu n’afuluma mu kibuga awamu n’abayigirizwa be n’akwata ekkubo erigenda ku lusozi olwa Zeyituuni nga bwe yali empisa ye.
40When he reached the place, he told them, "Pray you don't give in to temptation."OLCBBwe yatuuka eyo n’agamba abayigirizwa be nti, “Musabe Katonda, muleme kuwangulwa kukemebwa.”
41And he withdrew from them about a stone's throw, and knelt down and prayed,OLCBYe n’abavaako akabanga ng’awakasukwa ejjinja, n’afukamira n’asaba nti,
42saying, "Father, if you are willing, take this cup from me. Yet not my will, but yours, be done."OLCB“Kitange, obanga kwe kusiima kwo ekikompe kino kinzigyeko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula ky’oyagala kye kiba kikolebwa.”
43And an angel from heaven appeared to him, strengthening him.OLCBAwo malayika eyava mu ggulu n’ajja n’amugumya.
44In agony he prayed more intensely; his sweat became like great drops of blood falling down to the ground.OLCBYali mu kunyolwa kunene nnyo okw’omwoyo, ne yeeyongera okusaba ennyo n’atuuyana n’entuuyo ezamuvaamu ne ziba ng’amatondo g’omusaayi, era ne gatonnya wansi.
45When he rose from prayer, he came to the disciples and found them asleep from grief,OLCBBwe yayimuka ng’amaze okusaba n’addayo eri abayigirizwa be, naye n’abasanga nga beebase, olw’ennaku eyali ebakutte.
46he said to them, "Why are you sleeping? Get up and pray, so you don't yield to temptation."OLCBN’abagamba nti, “Lwaki mwebase? Muzuukuke, musabe, muleme kuwangulwa kukemebwa.”
47While he was still speaking, a crowd came, led by the one called Judas, one of the twelve. He came up to Jesus to kiss him,OLCBAwo Yesu bwe yali ng’akyayogera, ekibiina ky’abantu ne batuuka nga Yuda, omu ku bayigirizwa be ekkumi n’ababiri, y’abakulembedde. Yuda n’ajja butereevu awali Yesu, n’amunywegera.
48but Jesus said to him, "Judas, would you betray the Son of Man with a kiss?"OLCBNaye Yesu n’amugamba nti, “Yuda, Omwana w’Omuntu omulyamu olukwe ng’omugwa mu kifuba?”
49Seeing what was about to happen, those with him said, "Lord, should we strike with the sword?"OLCBAbayigirizwa abalala bwe baalaba ekyali kigenda okubaawo ne babuuza Yesu nti, “Mukama waffe, tubateme n’ebitala byaffe?”
50And one of them struck the servant of the high priest and cut off his right ear.OLCBEra omu ku bo n’atemako n’ekitala okutu kw’omuweereza wa Kabona Asinga Obukulu.
51But Jesus answered, "No more of this!" And he touched the ear and healed him.OLCBNaye Yesu n’abagamba nti, “Temwongera kubalwanyisa.” N’akwata ku kutu kw’omusajja, n’amuwonya!
52Then Jesus said to the chief priests, temple officers, and elders who had come out against him, "Have you come out with swords and clubs, as against a robber?OLCBYesu kwe kukyukira bakabona abakulu, n’abakulu b’abakuumi ba Yeekaalu, n’abakulembeze b’Abayudaaya abaali bakulembedde ekibiina ky’abantu, n’abagamba nti, “Ndi munyazi, n’okujja ne mujja gye ndi nga mwambalidde ebitala n’emiggo?
53Every day I was with you in the temple, and you didn't lay hands on me. But this is your hour, and the authority of darkness."OLCBLwaki temwankwatira mu Yeekaalu? Nabeeranga omwo buli lunaku. Naye nammwe eno ye ssaawa yammwe, n’ekizikiza we kiragira obuyinza bwakyo.”
54Seizing him, they led him and brought him into the high priest's house; Peter followed at a distance.OLCBAwo ne bakwata Yesu ne bamutwala mu nnyumba ya Kabona Asinga Obukulu. Peetero n’agoberera nga yeesuddeko akabanga.
55They lit a fire in the middle of the courtyard and sat together; Peter sat among them.OLCBBwe baamala okukuma omuliro wakati mu luggya ne batuula okwota; Peetero naye n’atuula wakati mu bo, n’ayota omuliro.
56But a servant girl, seeing him sitting facing the light, stared at him and said, "This one too was with him."OLCBOmuwala omuweereza n’amulengera ng’omuliro gumumulisizza, n’amutunuulira enkaliriza, okutuusa lwe yagamba nti, “Omusajja ono yali ne Yesu!”
57But he denied it, saying, "Woman, I do not know him."OLCBPeetero ne yeegaana nti, “Omukazi, oyo gw’oyogerako nze simumanyi.”
58Shortly after, another saw him and said, "You too are one of them." But Peter said, "Man, I'm not."OLCBBwe waayitawo akabanga omuntu omulala n’alaba Peetero n’amugamba nti, “Naawe oli omu ku bo.” Peetero ne yeegaana nti, “Nedda, ssebo, si bwe kiri.”
59About an hour later, another insisted, "This man was certainly with him, for he's a Galilean too."OLCBBwe waali wayiseewo ng’essaawa nnamba, omuntu omu n’ayogera ng’akakasa nti, “Ddala n’ono yali wamu ne Yesu kubanga naye Mugaliraaya.”
60But Peter said, "Man, I don't know what you're saying." Immediately, while he was still speaking, the rooster crowed.OLCBPeetero n’addamu nti, “Omusajja, by’oyogerako sibimanyi!” Peetero bwe yali akyayogera enkoko n’ekookolima.
61The Lord turned and looked at Peter. Peter remembered what the Lord had told him: "Before the rooster crows today, you will deny me three times."OLCBMu kaseera ako Mukama waffe n’akyuka n’atunuulira Peetero. Peetero n’ajjukira Yesu kye yagamba nti, “Enkoko eneeba tennakookolima ononneegaana emirundi esatu.”
62And he went out and wept bitterly.OLCBAwo Peetero n’afuluma okuva mu luggya n’akaaba nnyo amaziga!
63Now the men who were holding Jesus mocked him as they beat him.OLCBAwo abasajja abaali bakuuma Yesu ne batandika okumuduulira n’okumukuba.
64They blindfolded him and kept asking, "Prophesy! Who is it that struck you?"OLCBNe bamusiba ekitambaala ku maaso ne bamukuba ebikonde, oluvannyuma ne bamubuuza nti, “Nnabbi! yogera ani akukubye?”
65And they said many other things against him, insulting him.OLCBNe bamuvuma n’ebigambo ebirala bingi.
66At daybreak, the people's council of elders convened—chief priests and scribes—and led him away to their council, saying,OLCBEnkeera mu makya Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, nga lulimu bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka, n’abakulembeze b’Abayudaaya, ne lutuula. Yesu n’aleetebwa mu maaso g’Olukiiko olwo.
67"If you are the Christ, tell us." He said to them, "If I tell you, you will not believe,OLCBNe bamubuuza nti, “Obanga ggwe Kristo, tubuulire.” Yesu n’abaddamu nti, “Bwe nnaababuulira temujja kunzikiriza,
68"and if I ask you, you will not answer.OLCBne bwe nnaababuuza ebibuuzo temujja kunnyanukula.
69"But from now on the Son of Man will sit at the right hand of the power of our Father."OLCBNaye ekiseera kituuse, Nze, Omwana w’Omuntu, okutuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna.”
70They all said, "So you are the Son of God?" He said to them, "You say that I am."OLCBBonna ne baleekaana nti, “Kwe kugamba nti ggwe Mwana wa Katonda?” Yesu n’abaddamu nti, “Nga bwe mugambye bwe ntyo bwe ndi.”
71They said, "What more testimony do we need? For we heard it ourselves from his mouth."OLCBNe bagamba nti, “Ate twetaagira ki obujulizi obulala? Kubanga ffe ffennyini twewuliridde ng’ebigambo bino biva mu kamwa ke.”