Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 23 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Then the whole assembly rose and brought him before Pilate. Awo Olukiiko lwonna ne lusituka, ne batwala Yesu ewa Piraato.
2 They began accusing him: "We found this man misleading our nation, forbidding taxes to Caesar, and claiming to be Christ, a king." Ne batandika okumuwawaabira nti, “Omuntu ono ajagalaza eggwanga lyaffe, ng’atuziyiza okuwa Kayisaali omusolo, nga yeeyita Kristo, kabaka.”
3 Pilate asked him, "Are you the King of the Jews?" He answered, "You say so." Piraato kwe kubuuza Yesu nti, “Ggwe kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Ggwe okyogedde.”
4 Then Pilate said to the chief priests and the crowds, "I find no guilt in this man." Awo Piraato n’akyukira bakabona abakulu n’ekibiina ky’abantu n’abagamba nti, “Siraba musango muntu ono gw’azizza.”
5 But they pressed on: "He stirs up the people, teaching all through Judea, from Galilee to here." Naye ne beeyongera okulumiriza nga bagamba nti, “Asasamazza abantu n’okuyigiriza kwe mu Buyudaaya mwonna. Yatandikira Ggaliraaya okutuukira ddala ne wano!”
6 When Pilate heard this, he asked whether the man was a Galilean. Piraato bwe yawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Omuntu ono Mugaliraaya?”
7 Learning he was under Herod's authority, he sent him to Herod, who himself was also in Jerusalem in those days. Bwe yategeera nga Yesu Mugaliraaya, n’amuweereza eri Kerode, kubanga Ggaliraaya kyali kifugibwa Kerode, ate nga Kerode mu kiseera ekyo yali ali mu Yerusaalemi.
8 Seeing Jesus, Herod was delighted—he'd long wanted to see him, having heard about him, and hoped to see him perform a sign. Awo Kerode bwe yalaba Yesu, n’asanyuka nnyo, kubanga yali atutte ekiseera kiwanvu ng’ayagala okulaba Yesu. Era okuva ku ebyo bye yali amuwuliddeko yasuubira ng’ajja kumulaba ng’akolayo ekyamagero.
9 He questioned him at great length, but Jesus gave him no answer. N’amubuuza ebibuuzo bingi, naye Yesu n’atamuddamu.
10 The chief priests and the scribes stood by, vehemently accusing him. Mu kiseera ekyo, bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka baali awo mu busungu obungi ne baleekaanira waggulu nga bamulumiriza.
11 Herod and his soldiers scorned and mocked him, dressed him in bright clothing, and sent him back to Pilate. Kerode n’abaserikale be ne batandika okuduulira Yesu, n’okumuvuma. Ne bamwambaza ekyambalo ekinekaaneka, ne bamuzzaayo ewa Piraato.
12 That day Herod and Pilate became friends—they had been enemies before. Ku lunaku olwo lwennyini, Kerode ne Piraato, abaali bakyawaganye, ne bafuuka ba mukwano.
13 Pilate then called together the chief priests, the rulers, and the people, Awo Piraato n’akuŋŋaanya bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abantu,
14 and said to them, "You brought me this man as one turning the people away. I examined him before you and found no guilt in this man on your charges. n’abagamba nti, “Mwandeetedde omuntu ono nga mumuwawaabira nti asasamaza abantu bajeeme. Mubuuzizza nnyo era ne neetegereza bulungi ensonga eyo nga nammwe we muli, naye ne nsanga nga talina musango ku ebyo bye mumuwawaabidde.
15 Neither did Herod, for he sent him back to us. Look, he has done nothing deserving death. Ne Kerode naye tamulabyeko musango era kyavudde amukomyawo gye tuli. Omuntu ono talina ky’akoze kimusaanyiza kibonerezo kya kufa.
16 I will therefore discipline him and release him." Noolwekyo ŋŋenda mukangavvulamu, ndyoke mmusumulule.”
17 Not in this edition Ku buli mbaga ya Kuyitako, Piraato ng’ateekwa okubateera omusibe omu.
18 But they all cried out together, "Away with this man! Release Barabbas to us!" Ekibiina kyonna ne kireekaana nnyo nti, “Oyo mutte! Otuteere Balaba.”
19 a man imprisoned for a rebellion that happened in the city, and for murder. Balaba ono yali asibiddwa lwa kukulembera kasasamalo mu kibuga, era n’olw’obutemu.
20 Pilate addressed them once more, wanting to release Jesus, Piraato olw’okwagala okusumulula Yesu, n’ayongera okwogera nabo.
21 but they kept shouting, "Crucify, crucify him!" Naye ne beeyongera okuleekaana nti, “Mukomerere ku musaalaba! Mukomerere ku musaalaba!”
22 A third time he said to them, "Why? What wrong has this man done? I find no ground for death in him. So I will punish and release him." Piraato n’ayogera nabo omulundi ogwokusatu nti, “Lwaki? Azzizza musango ki? Sirabye nsonga yonna emusaanyiza kibonerezo kya kufa. Noolwekyo ka mmukangavvule, ndyoke mmusumulule.”
23 But they kept shouting loudly, demanding he be crucified, and their voices prevailed. Naye ne beeyongera nnyo okuleekaana, n’okuwowoggana nga baagala Yesu akomererwe ku musaalaba. Era okuleekaana kwabwe ne kuwangula.
24 So Pilate decided that their demand should be granted. Awo Piraato n’akola nga bwe baayagala.
25 He released the man they asked for, jailed for rebellion and murder, but handed Jesus over to their will. N’asumulula Balaba, gwe baasaba eyali asibiddwa olw’okusasamaza abantu n’olw’obutemu. Naye n’abakwasa Yesu bagende bamukole nga bwe baagala.
26 Leading him away, they seized a man named Simon of Cyrene, coming in from the countryside, and put the cross on him to carry behind Jesus. Awo ne bafulumya Yesu okumutwala okumukomerera. Bwe baali bamutwala ne basanga omusajja Omukuleene erinnya lye Simooni, yali ava mu kyalo nga yaakayingira mu kibuga, ne bamuwaliriza okusitula omusaalaba gwa Yesu ku kibegabega kye; n’agusitula n’agutwala ng’atambulira emabega wa Yesu.
27 A great crowd of the people followed him, including women who were weeping and wailing for him. Ekibiina kinene ne bagoberera Yesu nga mwe muli n’abakazi abaali bamukaabira nga bwe bakuba ebiwoobe.
28 But Jesus turned to them and said, "Daughters of Jerusalem, don't cry for me; cry for yourselves and your children. Naye Yesu n’abakyukira n’abagamba nti, “Abawala ba Yerusaalemi, temukaabira Nze, wabula mwekaabire era mukaabire n’abaana bammwe.
29 For the days are coming when they will say, 'Blessed are the barren, the wombs that never bore, the breasts that never nursed.' Kubanga ekiseera kijja abakazi abatalina baana lwe baliyitibwa ab’omukisa ddala.
30 Then they'll begin saying to the mountains, "Fall on us," and to the hills, "Cover us." “ ‘Baligamba ensozi nti, “Mutugweko,” n’obusozi nti, “Mutuziike.” ’
31 For if they do this when the wood is green, what will happen when it's dry?" Kale, obanga bino babikola ku muti omubisi, naye ku mukalu kiriba kitya?”
32 Two others, who were criminals, were also led away to be put to death with him. Waaliwo n’abasajja abalala babiri, bombi nga bamenyi ba mateeka, abaatwalibwa ne Yesu okuttibwa.
33 When they reached the place called The Skull, they crucified him there with the criminals, one on his right, one on his left. Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Ekiwanga, ne bamukomerera awo ku musaalaba, awamu n’abamenyi b’amateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo n’omulala ku ludda olwa kkono.
34 Jesus said, "Father, forgive them, for they do not know what they are doing." Then they divided his garments, casting lots. Yesu n’agamba nti, “Kitange, basonyiwe, kubanga kye bakola tebakimanyi.” Awo abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.
35 The people stood watching; the rulers sneered, "He saved others—let him save himself, if he's God's Christ, the Chosen One." Ekibiina ne kimutunuulira. Abakulembeze b’Abayudaaya ne bamusekerera nga bagamba nti, “Yalokolanga balala, ka tulabe naye bwe yeerokola, obanga ye Kristo wa Katonda Omulonde we.”
36 The soldiers also mocked him, coming up to offer him sour wine, N’abaserikale nabo ne bamuduulira ne bamuwa wayini omukaatuufu,
37 and saying, "If you are the King of the Jews, save yourself!" nga bagamba nti, “Obanga ggwe Kabaka w’Abayudaaya, weerokole!”
38 There was also an inscription over him: "This is the King of the Jews." Waggulu w’omutwe gwa Yesu ku musaalaba kwateekebwako ekiwandiiko mu bigambo bino nti, Ono ye Kabaka w’Abayudaaya.
39 One of the hanged criminals insulted him: "Aren't you the Christ? Save yourself and us!" Omu ku bamenyi b’amateeka abaakomererwa naye n’avuma Yesu ng’agamba nti, “Si ggwe Masiya? Kale weerokole era naffe otulokole.”
40 But the other rebuked him: "Don't you even fear God, since you're under the same sentence? Naye munne bwe baakomererwa n’amunenya, n’amugamba nti, “N’okutya totya Katonda, nga naawe oli ku kibonerezo kye kimu kya kufa?
41 Rightly so—we're paying for what we did; but this man has done nothing wrong." Ffe tuvunaaniddwa bya nsonga, kubanga ebikolwa byaffe bitusaanyiza kino. Naye ono talina kisobyo kyonna ky’akoze.”
42 Then he said, "Jesus, remember me when you come into your kingdom." N’alyoka agamba nti, “Yesu, onzijukiranga bw’olijja mu bwakabaka bwo.”
43 And Jesus said to him, "Truly I tell you, today you will be with me in Paradise." Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda.”
44 It was already about noon, and darkness covered the whole land until three in the afternoon, Awo obudde bwe bwatuuka essaawa omukaaga ez’omu ttuntu, enzikiza n’ekwata ku nsi yonna, okutuusa ku ssaawa ey’omwenda,
45 for the sun's light failed; and the curtain of the temple was torn in two. kubanga enjuba yalekeraawo okwaka. Amangwago eggigi ly’omu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri.
46 Jesus called out loudly, "Father, into your hands I commit my spirit!" Then he breathed his last. Awo Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’afa.
47 Seeing what happened, the centurion praised our Father: "This man really was righteous." Omuserikale Omuruumi omukulu w’ekitongole eyakulembera abaserikale abaakomerera Yesu, bwe yalaba ebibaddewo, n’atendereza Katonda ng’agamba nti, “Mazima omuntu ono abadde mutuukirivu.”
48 All the crowds gathered for this sight, seeing what happened, went home beating their chests. Abantu bonna abaali bazze okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu kifuba nga bajjudde ennaku nnyingi.
49 All his acquaintances, and the women who followed him from Galilee, stood far off watching these things. Mikwano gya Yesu, awamu n’abakazi abajja naye nga bamugoberera okuviira ddala e Ggaliraaya, baali bayimiridde nga beesuddeko akabanga, nga batunuulira byonna ebibaddewo.
50 Now there was a man named Joseph, a member of the council, a good and righteous man, Laba waaliwo omusajja erinnya lye Yusufu, ng’atuula mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, yali musajja mulungi era nga mutuukirivu,
51 who had not agreed to their plan and action. He was from Arimathea, a Jewish town, and was waiting for the kingdom of our Father. teyakkirizaganya na banne mu ebyo bye baasalawo ku Yesu ne bye baakola. Yali wa mu kibuga Alimasaya eky’omu Buyudaaya. Yali ng’alindirira n’essuubi ddene okulaba obwakabaka bwa Katonda.
52 This man went to Pilate and asked for the body of Jesus. Omusajja ono n’agenda eri Piraato n’asabayo omulambo gwa Yesu.
53 He took it down, wrapped it in a linen cloth, and laid him in a rock-cut tomb where no one had yet been laid. Bwe yaguggya ku musaalaba, n’aguzinga mu lugoye lwa linena olweru ennyo, n’agugalamiza mu ntaana ey’empuku eyali etemeddwa mu lwazi, era nga teziikibwangamu muntu.
54 It was the day of Preparation, and the Sabbath was about to begin. Bino byonna byaliwo ku Lwakutaano, olunaku olw’okweteekerateekerako ng’enkeera ye Ssabbiiti.
55 Women who came with him from Galilee followed, saw the tomb, and how his body was placed. Omulambo gwa Yesu bwe gwali gutwalibwa mu ntaana, abakazi abaava e Ggaliraaya ne bagoberera nga bavaako emabega, ne balaba entaana n’omulambo gwe nga bwe gwagalamizibwamu.
56 They went back and prepared spices and ointments, then rested on the Sabbath as commanded. Ne balyoka baddayo eka ne bategeka ebyakaloosa n’amafuta ag’okusiiga omulambo gwa Yesu. Naye ne bawummula ku Ssabbiiti ng’etteeka bwe liragira.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]