Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

Luke 24 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 On the first day of the week, at dawn, they came to the tomb, carrying the spices they had prepared. Awo ku lunaku Lwassande, lwe lusooka mu wiiki, mu makya ennyo, abakazi ne baddira ebyakaloosa n’amafuta, bye baali bategese, ne bagenda ku ntaana.
2 They found the stone rolled away from the tomb, Ne basanga ejjinja eryali liggadde omulyango oguyingira mu ntaana, nga liyiringisibbwa okudda wabbali.
3 but when they went in they did not find the body of the Lord Jesus. Bwe batyo ne bayingira mu ntaana, naye omulambo gwa Mukama waffe Yesu tebaagusangamu.
4 While they were perplexed about this, suddenly two men stood beside them in dazzling clothes. Ne bayimirira awo nga babuliddwa eky’okukola. Amangwago, abasajja babiri ne balabika mu maaso gaabwe nga bambadde engoye ezimasamasa ng’okumyansa kw’eraddu.
5 Frightened, they bowed their faces to the ground. The men asked, "Why seek the living among the dead? Abakazi ne batya nnyo, ne bakutama ne batunula wansi, abasajja ne babagamba nti, “Lwaki omuntu omulamu mumunoonyeza mu ntaana?
6 He's not here—he's risen. Remember what he told you while still in Galilee, Taliiwo wano, azuukidde! Mujjukire bye yabagamba nga muli e Ggaliraaya nti,
7 that the Son of Man must be handed over to sinful men, be crucified, and rise on the third day." ‘Omwana w’Omuntu, ateekwa okuweebwayo mu mikono gy’abantu ababi, bamukomerere ku musaalaba, naye nga ku lunaku olwokusatu alizuukira.’ ”
8 And they remembered his words, Ne bajjukira ebigambo bye ebyo.
9 returning from the tomb, they told all this to the eleven and all the rest. Awo ne bayanguwa mangu ne bagenda, ne bategeeza abayigirizwa ekkumi n’omu n’abalala bonna, ebintu ebyo byonna. Bano be bakazi abaalaga ku ntaana, era ne bategeeza abayigirizwa ebintu ebyo:
10 Mary Magdalene, Joanna, Mary the mother of James, and the other women with them told these things to the apostles. Maliyamu Magudaleene, ne Jowaana, ne Maliyamu nnyina Yakobo, n’abalala. Ne bategeeza abatume ebintu ebyo.
11 But these words seemed like nonsense to them, and they did not believe them. Naye bye baababuulira nga biwulikika ng’ebitaliimu makulu, era tebaabikkiriza.
12 Peter got up and ran to the tomb; bending down, he saw only the linen cloths, then went home amazed at what had happened. Kyokka Peetero n’adduka n’alaga ku ntaana, n’akutama n’alingiza n’alaba ng’engoye za linena Yesu mwe yali azingiddwa ziri wabbali zokka nga njereere, n’addayo eka nga yeewuunya.
13 That same day two of them traveled to a village called Emmaus, about seven miles from Jerusalem, Ku lunaku olwo lwennyini abasajja babiri, abamu ku abo abaagobereranga Yesu, baali batambula nga bagenda mu kabuga akayitibwa Emawu, akaali kilomita nga kkumi na bbiri okuva e Yerusaalemi.
14 and they were talking with each other about all these things that had happened. Baali bagenda boogera ku kufa kwa Yesu.
15 While they were talking and discussing together, Jesus himself drew near and went with them. Amangwago Yesu yennyini n’abeegattako n’atambula nabo.
16 But their eyes were kept from recognizing him. Kyokka tebaamutegeera, kubanga ekyo Katonda yali akibakisizza.
17 He asked them, "What are you discussing with each other as you walk?" They stopped, looking sad. Yesu n’abagamba nti, “Biki bye munyumyako nga bwe mutambula mu kkubo?” Ne bayimirira ng’amaaso gaabwe gajjudde ennaku.
18 One of them, Cleopas, replied, "Are you the only visitor to Jerusalem who does not know what has happened there these days?" Omu ku bo, erinnya lye Kulyoppa n’amuddamu nti, “Oli mugenyi mu Yerusaalemi atamanyi bya kitalo ebyaliwo mu wiiki eyise?”
19 He asked, "What things?" They said, "About Jesus of Nazareth—a prophet powerful in deed and word before our Father and all the people, Yesu n’ababuuza nti, “Biki ebyo?” Ne baddamu nti, “Ebyagwa ku Yesu Omunnazaaleesi eyali omusajja Nnabbi ow’amaanyi mu bye yakolanga ne bye yayogeranga eyakola ebyamagero ebyewuunyisa, era yali Muyigiriza wa kitalo, mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu bonna.
20 and how our chief priests and rulers handed him over to a death sentence, and crucified him. Naye bakabona abakulu n’abakulembeze baffe baamukwata ne bamuwaayo n’asalirwa omusango ogw’okufa, ne bamukomerera ku musaalaba.
21 We'd hoped he was the one to redeem Israel. Yet on top of all this, it's the third day since these things happened. Twali tusuubira nti, Ye Kristo anaalokola Isirayiri.
22 Some women of ours also amazed us—early at the tomb, Ebyo nga bikyali awo, nga wayiseewo ennaku ssatu bukyanga bino bibaawo abamu ku bakazi b’ewaffe baatwewuunyisizza. Olwa leero baakedde ku ntaana,
23 and not finding his body, they came back saying they'd even seen a vision of angels, who said he was alive. naye omulambo gwe tebaagusanzeemu. Bwe baakomyewo baatugambye nti bayolesebbwa ba bamalayika abaabagambye nti mulamu!
24 Some of our companions went to the tomb and found it just as the women said, but they did not see him." Abamu ku bannaffe abasajja nabo ne bagendayo mangu, nabo ne basanga ng’omulambo gwa Yesu teguliimu mu ntaana, ng’abakazi bwe baagambye.”
25 He said to them, "How foolish you are, and slow to believe all the prophets said! Yesu n’abagamba nti, “Nga muli bantu basirusiru! Mmwe ab’emitima eminafu egirwawo okukkiriza bannabbi bye baategeeza!
26 Was it not necessary that the Christ should suffer these things and enter into his glory?" Tekyagwanira Kristo okubonaabona mu bintu byonna n’oluvannyuma alyoke ayingire mu kitiibwa kye?”
27 And beginning with Moses and all the Prophets, he explained to them from all the Scriptures everything about himself. N’atandikira ku Musa n’ayitaayita mu bannabbi bonna ng’agenda abannyonnyola Ebyawandiikibwa bye bimwogerako.
28 And they approached the village they were heading to, and he pretended to go farther. Bwe baasemberera akabuga we baali bagenda, Yesu n’aba nga eyeeyongerayo,
29 But they insisted, "Stay with us—evening is near, the day nearly done." So he went in to stay with them. naye ne bamuwaliriza asule ewaabwe kubanga n’obudde bwali buwungedde. N’akkiriza, asigale.
30 As he reclined with them, he took the bread, blessed it, broke it, and gave it to them. Awo bwe yali ng’alya nabo n’addira omugaati, ne yeebaza n’agumenyamu, n’abawa.
31 And their eyes were opened, and they recognized him. And he vanished from their sight. Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera! Ate n’ababulako mu kaseera ako!
32 They said to each other, "Weren't our hearts burning within us as he spoke to us on the road, as he opened the Scriptures to us?" Ne batandika okwewuunaganya nga bagamba nti, “Emitima gyaffe tegyabuguumiridde bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo ng’atunnyonnyola Ebyawandiikibwa?”
33 That same hour they got up, returned to Jerusalem, and found the eleven and those with them gathered together, Awo ne basituka mangu ne baddayo mu Yerusaalemi, ne basanga abayigirizwa ekkumi n’omu ne bannaabwe abalala nga bakuŋŋaanye,
34 saying, "The Lord has risen indeed, and has appeared to Simon!" nga bagamba nti, “Ddala Mukama waffe azuukidde! Alabikidde Peetero!”
35 And they told what happened on the road, and how he was recognized in the breaking of the bread. Ne bannyonnyola, nga Yesu bwe yabalabikira nga bali mu kkubo batambula, era nga bwe yategeerekeka gye bali ng’amaze okumenya omugaati.
36 As they spoke these things, Jesus himself stood among them and said to them, "Peace to you!" Awo bwe baali bakyayogera ebyo Yesu n’ayimirira mu makkati gaabwe n’abalamusa nti, “Emirembe gibeere nammwe!”
37 But they were startled and frightened and thought they saw a spirit. Naye bonna ne bakankana nga batidde nnyo, nga balowooza nti balaba muzimu!
38 And he said to them, "Why are you troubled, and why do doubts arise in your hearts? Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki mutidde bwe mutyo? Lwaki mubuusabuusa mu mitima gyammwe?
39 Look at my hands and my feet—it's really me. Touch me and see: a spirit has no flesh and bones, as you see I have." Mulaba ebibatu byange. Mutunule ne ku bigere byange! Kaakano mutegeere nga ye Nze kennyini. Munkwateko mukakasize ddala nti ssiri muzimu, kubanga omuzimu tegubeera na mubiri na magumba nga Nze bye nnina.”
40 And when he had said this, he showed them his hands and his feet. Bwe yali ng’ayogera n’abalaga ebibatu bye n’ebigere bye.
41 And while they still disbelieved for joy and were marveling, he said to them, "Do you have anything here to eat?" Naye nga bakyabuusabuusa kyokka nga balina essanyu era nga basamaaliridde n’alyoka ababuuza nti, “Mulinawo wano ekyokulya?”
42 They gave him a piece of broiled fish, Ne bamuwa ekitundu ky’ekyennyanja ekyokye,
43 and he took it and ate before them. n’akitoola n’akiriira mu maaso gaabwe nga bamutunuulira!
44 He said to them, "This is what I told you while still with you: everything written about me in the Law of Moses, the Prophets, and the Psalms had to be fulfilled." N’abagamba nti, “Nabategeeza nga nkyali nammwe nti ebintu byonna ebyampandiikibwako mu mateeka ga Musa, ne mu bya bannabbi, ne mu Zabbuli, byali biteekwa okutuukirira.”
45 Then he opened their minds to understand the Scriptures, N’alyoka asumulula emitima gyabwe, ne bategeera ebyawandiikibwa.
46 and told them, "This is written: the Christ must suffer and rise from the dead on the third day, N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa dda nnyo nti Kristo kimugwanira okubonaabona, n’okufa era ku lunaku olwokusatu azuukire mu bafu.
47 and that repentance for the forgiveness of sins should be proclaimed in his name to all nations, beginning from Jerusalem. Era mu linnya lye Enjiri ey’okwenenya n’okusonyiyibwa ebibi eribuulirwa amawanga gonna okutandikira mu Yerusaalemi.
48 You are witnesses of these things. Muli bajulirwa b’ebyo,
49 I am sending the promise of my Father on you. Stay in the city until you are dressed with power from on high." Laba mbaweereza ekisuubizo kya Kitange. Mubeere mu kibuga okutuusa lwe mulyambazibwa amaanyi agava mu ggulu.”
50 And he led them out as far as Bethany, and lifting up his hands he blessed them. Awo Yesu n’abakulembera ne balaga e Besaniya. N’ayimusa emikono gye waggulu, n’abawa omukisa.
51 While he blessed them, he parted from them and was carried up into heaven. Bwe yali ng’akyabawa omukisa, n’abavaako, n’asitulibwa, n’atwalibwa mu ggulu.
52 And they worshiped him and returned to Jerusalem with great joy, Ne bamusinza, ne baddayo mu Yerusaalemi nga bajjudde essanyu lingi.
53 and were continually in the temple blessing our Father. Ne babeeranga mu Yeekaalu bulijjo nga batendereza Katonda.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]