Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 1 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 In the beginning was the Word, and the Word was with our Father, and the Word was God. Kigambo yaliwo ng’ensi tennatondebwa. Kigambo yali ne Katonda, era Kigambo yali Katonda.
2 He was in the beginning with our Father. Oyo, okuva ku lubereberye yaliwo ne Katonda.
3 All things were made through him, and without him not one thing was made that was made. Ebintu byonna byatondebwa ku lulwe, era tewaliiwo kintu na kimu ekyatondebwa nga taliiwo.
4 In him was life, and the life was the light of all people. Mu ye mwe mwali obulamu; era obulamu buno ne buba ekitangaala eri abantu.
5 The light shines in the darkness, and the darkness has not overcome it. Omusana ne gwaka mu kizikiza, naye ekizikiza tekyaguyinza.
6 There came a man sent from our Father, whose name was John. Ne walabika omuntu ng’ayitibwa Yokaana, Katonda gwe yatuma,
7 He came as a witness, to bear witness about the light, so that all might believe through John's witness. eyajja okutegeeza abantu ebifa ku musana, bonna bakkirize nga bayita mu ye.
8 He was not the light, but came to bear witness about the light. Yokaana si ye yali Omusana, wabula ye yatumibwa ategeeze eby’Omusana.
9 The true light, which gives light to everyone, was coming into the world. Kristo ye yali Omusana, omusana ogw’amazima, ogujja mu nsi, okwakira buli muntu.
10 He was in the world. The world came into being through him, yet did not know him. Kyokka newaakubadde Kigambo oyo ye yatonda ensi, bwe yajja mu nsi, ensi teyamutegeera.
11 He came to his own, and his own people did not receive him. Yajja eri abantu be, naye abantu be ne batamusembeza.
12 But to all who received him, believing in his name, he gave the right to become children of our Father, Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye.
13 children born not of blood nor of the will of flesh nor of the will of man, but of our Father. Abataazaalibwa musaayi, oba okwagala kw’omubiri, wadde okwagala kw’omuntu, naye abaazaalibwa okwagala kwa Katonda.
14 The Word became flesh and lived among us. We saw his glory, the glory of the one and only Son from the Father, full of grace and truth. Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng’eky’oyo omu yekka eyava eri kitaffe ng’ajjudde ekisa n’amazima.
15 John testified about him, crying out, "This is the one I meant: he who comes after me outranks me, since he existed before me." Yokaana Omubatiza yamwogerako, ng’alangirira nti, “Ono ye oyo gwe nayogerako nti, ‘Waliwo ajja emabega wange, eyansoka okubaawo, kubanga yaliwo nga sinnabaawo.’ ”
16 For from his fullness we have all received, grace upon grace. Ku kujjula kwe ffenna kwe twagabana ekisa ekisukiridde ekisa.
17 For the law was given through Moses; grace and truth came through Jesus Christ. Amateeka gaatuweebwa nga gayita mu Musa, naye Yesu Kristo ye yaaleeta ekisa n’amazima.
18 No one has ever seen our Father; the one and only God, close beside the Father, has made him known. Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, okuggyako Omwana we omu yekka, abeera mu kifuba kya kitaffe, oyo ye yatutegeeza byonna ebimufaako.
19 This is John's testimony, when the Jews sent priests and Levites from Jerusalem to ask him, "Who are you?" Bino bye bigambo Yokaana Omubatiza bye yategeeza abakulembeze b’Abayudaaya bwe baamutumira bakabona n’Abaleevi okuva mu Yerusaalemi ne bamubuuza nti, “Ggwe ani?”
20 He confessed, and did not deny, but confessed, "I am not the Christ." Teyagaana kubaddamu, wabula yayatulira ddala nti, “Si nze Kristo.”
21 So they asked him, "What then? Are you Elijah?" "I am not," he said. "Are you the Prophet?" "No," he answered. Ne bamubuuza nti, “Kale ggwe ani? Ggwe Eriya?” Yokaana Omubatiza n’addamu nti, “Nedda, si nze ye.” Ne bongera okumubuuza nti, “Ggwe Nnabbi ayogerwako?” N’addamu nti, “Nedda.”
22 So they asked, "Who are you? We need to give an answer to those who sent us. What do you say about yourself?" Awo ne bamugamba nti, “Abatutumye tunaabagamba nti, Ggwe ani? Weeyita otya?”
23 He said, "I'm the voice of one crying out in the wilderness, 'Make straight the way of the Lord,' as the prophet Isaiah said." N’abaddamu nti, “Nze ndi ddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’asinziira mu ddungu nti, ‘Mutereeze ekkubo lya Mukama mweteekereteekere okujja kwe, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.’ ”
24 Now they had been sent from the Pharisees. Abaatumibwa baava eri Abafalisaayo.
25 They asked him, "Why baptize, then, if you're not the Christ, nor Elijah, nor the Prophet?" Awo ne babuuza Yokaana nti, “Kale lwaki obatiza, obanga si ggwe Kristo oba Eriya oba nnabbi oli?”
26 John answered them, "I baptize with water, but among you stands one you do not know, Yokaana n’addamu nti, “Nze mbatiza na mazzi, naye waliwo ayimiridde wakati mu mmwe gwe mutamanyi,
27 even he who comes after me, whose sandal strap I am not worthy to untie." anvaako emabega, nze sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.”
28 These things took place in Bethany across the Jordan, where John was baptizing. Ebyo byali Besaniya, emitala w’omugga Yoludaani, Yokaana Omubatiza gye yabatirizanga.
29 The next day, seeing Jesus coming toward him, he said, "Look! The Lamb of our Father—Jesus—who takes away the sin of the world! Ku lunaku olwaddirira, Yokaana Omubatiza n’alaba Yesu ng’ajja, n’agamba nti, “Mulabe Omwana gw’Endiga owa Katonda aggyawo ebibi by’ensi.
30 This is the one I meant: 'After me comes a man who ranks before me, because he was before me.' Ye wuuyo gwe nayogerako, bwe nagamba nti, ‘Waliwo omuntu anvaako emabega ye ansinga obuyinza, kubanga ye yaliwo nga nze sinnabaawo.’
31 I didn't know him, but I came baptizing with water so he would be revealed to Israel." Nange nnali simumanyi, wabula nze najja okubatiza n’amazzi, ndyoke mulage eri abantu ba Isirayiri.”
32 John testified: "I saw the Holy Spirit descend from heaven like a dove and remain on him. Awo Yokaana Omubatiza n’abategeeza nga bwe yalaba Mwoyo Mutukuvu ng’akka okuva mu ggulu ng’ali ng’ejjiba n’abeera ku Yesu,
33 I didn't know him, but the one who sent me to baptize with water told me, 'The one you see the Holy Spirit come down and stay on—he is the one who baptizes with the Holy Spirit.' n’abagamba nti, “Nze saamutegeera, kyokka Katonda bwe yantuma okubatiza yaŋŋamba nti, ‘Bw’olabanga Mwoyo Mutukuvu ng’akka n’abeera ku muntu, nga oyo, ye Kristo abatiza ne Mwoyo Mutukuvu.’
34 And I have seen and have borne witness that this is the Son of our Father." Ekyo nkirabye era nkiweerako obujulirwa nti Ye Mwana wa Katonda.”
35 The next day John was standing again with two of his disciples, Awo ku lunaku olwaddirira nate Yokaana bwe yali ayimiridde n’abayigirizwa be babiri,
36 and looking at Jesus as he walked by, he said, "Look! The Lamb of our Father!" Yesu n’ayitawo ng’atambula. Yokaana n’amutunuulira enkaliriza n’agamba nti, “Mulabe Omwana gw’Endiga wa Katonda.”
37 The two disciples heard him say this, and they followed Jesus. Awo abayigirizwa abo ababiri bwe baawulira ekyo ne bagoberera Yesu.
38 Jesus turned, saw them following, and asked, "What do you seek?" They said, "Rabbi" (meaning Teacher), "where do you stay?" Yesu bwe yakyuka n’abalaba nga bamugoberera n’ababuuza nti, “Mwagala ki?” Ne bamuddamu nti, “Labbi” (ekitegeeza nti: “Omuyigiriza”), “obeera wa?”
39 He told them, "Come and you will see." So they went and saw where he was staying, and remained with him that day—about four in the afternoon. N’abaddamu nti, “Mujje mulabeyo.” Awo ne bagenda naye gye yali abeera, olunaku olwo ne baluzibiza eyo nga bali naye, obudde bwali ng’essaawa kkumi ez’olweggulo okutuusa akawungeezi.
40 One of the two who heard John speak and followed Jesus was Andrew, Simon Peter's brother. Omu ku abo ababiri abaawulira Yokaana ng’ayogera ne bagoberera Yesu, yali Andereya, muganda wa Simooni Peetero.
41 He first found his own brother Simon and told him, "We've found the Messiah" (meaning Christ). Awo Andereya n’agenda anoonya muganda we Simooni n’amugamba nti, “Tulabye Masiya” (amakulu nti Kristo).
42 He brought him to Jesus. Jesus looked at him and said, "You are Simon the son of John. You will be called Cephas" (meaning Peter). Andereya n’atwala Simooni eri Yesu. Yesu bwe yeetegereza Simooni, n’amugamba nti, “Ggwe Simooni omwana wa Yokaana, kale onooyitibwanga Keefa,” amakulu nti Peetero.
43 The next day, Jesus decided to leave for Galilee. He found Philip and said, "Follow me." Ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda e Ggaliraaya, bwe yasanga Firipo n’amugamba nti, “Ngoberera.”
44 Now Philip was from Bethsaida, the city of Andrew and Peter. Firipo yali wa mu kibuga Besusayida ewaabwe wa Andereya ne Peetero.
45 Philip found Nathanael and told him, "We've found the one Moses wrote of in the Law and the prophets—Jesus, son of Joseph, from Nazareth." Firipo bwe yalaba Nassanayiri, n’amugamba nti, “Tulabye Yesu mutabani wa Yusufu ow’e Nazaaleesi, Musa ne bannabbi gwe baawandiikako.”
46 Nathanael said, "Can anything good come from Nazareth?" Philip said, "Come and see." Nassanayiri n’amuddamu nti, “Mu Nazaaleesi musobola okuvaamu ekintu ekirungi?” Firipo kwe kumuddamu nti, “Jjangu weerabireko.”
47 Jesus saw Nathanael approaching and said of him, "Look—a true Israelite, with no deceit in him!" Nassanayiri bwe yali asemberera Yesu, Yesu n’agamba nti, “Laba, Omuyisirayiri wawu ataliimu bukuusa.”
48 Nathanael asked him, "How do you know me?" Jesus answered, "Before Philip called you, while you were under the fig tree, I saw you." Nassanayiri kwe kumuddamu nti, “Ontegedde otya?” Yesu n’amugamba nti, “Firipo bw’abadde tannakutuukako, nkulabye ng’oli wansi w’omutiini.”
49 Nathanael answered him, "Rabbi, you are the Son of our Father! You are the King of Israel!" Nassanayiri n’amuddamu nti, “Labbi, oli Mwana wa Katonda, gwe Kabaka wa Isirayiri!”
50 Jesus answered him, "You believe because I told you I saw you under the fig tree? You'll see greater things than these." Awo Yesu n’amugamba nti, “Okkiriza kubanga nkugambye nti nkulabye ng’oli wansi w’omutiini? Oliraba n’ebisinga awo obukulu.
51 He told him, "Truly, truly, I say to you, you will see heaven opened, and our Father's angels ascending and descending on the Son of Man." Ddala ddala nkugamba nti oliraba eggulu nga libikkuse ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w’Omuntu.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]