Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 2 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 On the third day, a wedding took place in Cana of Galilee; Jesus's mother was there. Awo bwe waayitawo ennaku bbiri ne wabaawo embaga ey’obugole mu Kaana eky’e Ggaliraaya ne nnyina Yesu yaliyo.
2 Jesus and his disciples were also invited to the wedding. Yesu awamu n’abayigirizwa be nabo baayitibwa.
3 When the wine ran out, the mother of Jesus said to him, "They have no wine." Wayini bwe yaggwaawo, nnyina Yesu n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Tebakyalina wayini.”
4 "Woman, why are you bringing me into this?" Jesus replied. "My hour has not yet come." Yesu n’amuddamu nti, “Maama ndeka, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”
5 His mother said to the servants, "Do whatever he tells you." Nnyina Yesu n’agamba abaweereza nti, “Kyonna ky’abagamba kye muba mukola.”
6 Six stone water jars stood there, used for Jewish purification, each holding twenty to thirty gallons. Waaliwo amasuwa amanene mukaaga agaategekebwa olw’omukolo gw’Abayudaaya ogw’okwetukuza, buli limu nga lirimu lita kikumi oba kikumi mu ataano.
7 Jesus said to them, "Fill the jars with water," so they filled them to the brim. Yesu n’agamba abaweereza nti, “Amasuwa mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuza okutuuka ku migo.
8 He told them, "Draw some out now, and take it to the head steward." So they did. Awo n’abagamba nti, “Kale musene mutwalire omukulu w’abagabuzi.” Ne basena ne bamutwalira.
9 The master of the banquet tasted the water now wine, not knowing its source—though the servants who drew it knew. So he called the bridegroom aside, Omukulu w’abagabuzi bwe yalega ku mazzi agafuuse wayini, nga tamanyi gy’avudde, so nga bo abaweereza baali bamanyi, n’ayita omugole omusajja
10 and said, "Everyone serves the good wine first, then the lesser once guests are drunk. But you've kept the good wine till now." n’amugamba nti, “Bulijjo omuntu asooka kugabula wayini omuka, n’oluvannyuma ng’abagenyi be banywedde nnyo, tebakyafaayo olwo n’alyoka agabula ogutali muka nnyo. Naye ggwe wayini omuka gw’osembezzaayo!”
11 Jesus performed this first sign at Cana in Galilee. He revealed his glory, and his disciples believed in him. Ekyamagero kino, Yesu kye yasookerako okukola mu lwatu mu Kaana eky’e Ggaliraaya, ng’alaga ekitiibwa kye. Abayigirizwa be bwe baakiraba ne bamukkiriza.
12 After this he went down to Capernaum with his mother, brothers, and disciples, and stayed there a few days. Embaga bwe yaggwa Yesu n’adda e Kaperunawumu n’abayigirizwa be n’amalayo ennaku ntono ng’ali eyo ne nnyina ne baganda be.
13 When the Jewish Passover was near, Jesus went up to Jerusalem. Embaga y’Abayudaaya ey’Okuyitako bwe yali eneetera okutuuka Yesu n’ayambuka e Yerusaalemi.
14 In the temple courts he found sellers of cattle, sheep, and doves, and others sitting at tables exchanging money. N’asanga mu Yeekaalu abaali batunda ente n’endiga n’amayiba era n’abali bawaanyisa ensimbi.
15 He made a whip of cords and drove them all out of the temple courts, sheep and cattle alike, poured out the money-changers' coins, and overturned their tables. Awo Yesu n’addira emiguwa n’agifunyaafunya ne giba ng’embooko n’agobawo endiga n’ente, n’asaasaanya n’ensimbi ez’abaali bawaanyisa, n’avuunika n’emmeeza zaabwe.
16 To the dove sellers he said, "Take these out of here! Don't make my Father's house a marketplace." N’akyukira abaali batunda amayiba n’abagamba nti, “Bino mubiggye wo. Temufuula Nnyumba ya Kitange katale.”
17 His disciples remembered that it is written: "Zeal for your house will consume me." Awo abayigirizwa ne bajjukira Ekyawandiikibwa ekigamba nti, “Obuggya bw’Ennyumba yo, Ayi Mukama, bulindya.”
18 So the Jews asked, "What sign will you show us for doing these things?" Awo Abayudaaya ne bamubuuza nti, “Kabonero ki k’otulaga nti olina obuyinza okukola bino?”
19 Jesus answered them, "Destroy this temple, and in three days I will raise it up." Yesu kwe kuddamu nti, “Mumenyeewo Yeekaalu eno ngizzeewo mu nnaku ssatu.”
20 They replied, "This temple took forty-six years to build, and will you raise it in three days?" Ne bamuddamu nti, “Kiki ky’otegeeza? Yeekaalu eno yatwalira ddala emyaka amakumi ana mu mukaaga okuzimba oyinza otya okugizimbira ennaku essatu?”
21 But the temple he had spoken of was his body. Kyokka Yeekaalu gye yali ayogerako gwe mubiri gwe.
22 After he rose from the dead, his disciples remembered he had said this, and believed the Scripture and the word Jesus had spoken. Yesu bwe yamala okuzuukira abayigirizwa ne bajjukira nti kino kye yali ayogerako. Ne bakkiriza ebyawandiikibwa n’ebigambo Yesu bye yayogerako.
23 While he was in Jerusalem at the Passover, many saw the signs he did and trusted in his name. Awo Yesu bwe yali mu Yerusaalemi mu kiseera eky’Embaga ey’Okuyitako, bangi baalaba obubonero bwe yali akola ne bakkiriza erinnya lye.
24 But Jesus would not entrust himself to them, for he knew all people. Kyokka Yesu teyabeesiga, kubanga amanyi abantu bonna,
25 He didn't need anyone's testimony about people—he knew what was in each one. kubanga yamanya bw’afaanana, nga teyeetaaga kubuulirwa muntu kyali.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]