Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 3 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Now there was a man of the Pharisees named Nicodemus, a ruler of the Jews. Awo waaliwo omukulembeze w’Abayudaaya erinnya lye Nikodemo, Omufalisaayo,
2 This man came to Jesus at night and said, "Rabbi, we know you are a teacher who has come from our Father, for no one can do these signs you do unless our Father is with him." n’ajja eri Yesu ekiro okwogera naye. N’amugamba nti, “Labbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyava eri Katonda kubanga eby’amagero by’okola tewali ayinza kubikola okuggyako nga Katonda ali wamu naye.”
3 Jesus answered, "Truly, truly, I tell you: unless someone is born from above, he can't see the kingdom of our Father." Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bw’atazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.”
4 Nicodemus asked, "How can a man be born when he's old? Can he enter his mother's womb again and be born?" Nikodemo n’amuddamu nti, “Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw’aba nga muntu mukulu? Ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogwokubiri, n’azaalibwa?”
5 Jesus answered, "Truly, truly, I tell you, unless one is born of water and the Holy Spirit, he can't enter our Father's kingdom. Yesu kwe kumuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa amazzi n’Omwoyo tasobola kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
6 Born of the flesh is flesh, and born of the Holy Spirit is spirit. Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri, n’ekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo.
7 Don't be amazed that I said to you, 'You must be born from above.' Noolwekyo teweewuunya kubanga nkugambye nti kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogwokubiri.
8 Wind blows where it wants; you hear its sound but don't know where it comes from or where it goes. So it is with everyone born of the Spirit." Empewo ekuntira gy’eyagala, n’owulira okuwuuma kwayo, naye tomanya gy’eva newaakubadde gyegenda; bw’atyo bw’abeera omuntu yenna azaalibwa Omwoyo.”
9 Nicodemus said to him, "How can these things be?" Nikodemo n’amubuuza nti, “Ebyo biyinza bitya okubaawo?”
10 Jesus answered him, "Are you the teacher of Israel and yet you do not understand these things? Yesu n’amuddamu nti, “Ggwe omuyigiriza wa Isirayiri, n’otomanya bintu bino?
11 Truly, truly, I tell you: we speak what we know, we testify to what we've seen, yet you don't accept our testimony. Ddala ddala nkugamba nti twogera kye tumanyi, ne tutegeeza kye twalaba, so temukkiriza bujulirwa bwaffe.
12 If I told you earthly things and you don't believe, how will you believe if I tell you heavenly things? Naye obanga temukkiriza bwe mbabuulira eby’ensi, kale munaasobola mutya okukkiriza bwe nnaababuulira eby’omu ggulu?
13 No one has ascended into heaven except the one who descended from heaven, the Son of Man. Kubanga tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, okuggyako eyava mu ggulu, ye Mwana w’Omuntu.
14 As Moses lifted up the serpent in the wilderness, so the Son of Man must be lifted up, Era nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n’Omwana w’Omuntu kimugwanira okuwanikibwa,
15 that whoever believes in him may have eternal life. buli amukkiriza alyoke afune obulamu obutaggwaawo.
16 For our Father so loved the world that he gave his one and only Son, that whoever believes in him will not perish but have eternal life. “Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.
17 For our Father did not send his Son into the world to condemn the world, but so the world could be saved through him. Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye.
18 Whoever believes in him isn't condemned; whoever doesn't believe is condemned already, for not believing in the name of the one and only Son of our Father. Amukkiriza tasalibwa musango, naye atakkiriza gumaze okumusinga kubanga takkiririza mu linnya ly’Omwana oyo omu yekka owa Katonda.
19 This is the judgment: light has entered the world, and people loved darkness more than light because their deeds were evil. Era guno gwe musango nti: Omusana guzze mu nsi, kyokka abantu ne baagala ekizikiza okusinga omusana, kubanga ebikolwa byabwe bibi.
20 Everyone who does evil hates the light and won't come to the light, so that his deeds aren't exposed. Buli akola ebibi akyawa Omusana era tajja eri musana, ebikolwa bye bireme okumanyibwa.
21 But whoever does the truth comes to the light, so it may be revealed that his works have been done in our Father." Naye buli ajja eri omusana akola eby’amazima, ebikolwa bye bimanyibwe nga byakolerwa mu Katonda.”
22 After this, Jesus and his disciples went into the Judean countryside, where he stayed with them, baptizing. Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’abayigirizwa be ne bajja mu nsi y’e Buyudaaya, n’abeera eyo nabo, era n’abatiza.
23 John also baptized at Aenon near Salim, since water was plentiful there, and people came and were baptized, Mu kiseera ekyo ne Yokaana yali abatiriza mu Enoni okumpi ne Salimu, kubanga awo waaliwo amazzi mangi, era ng’abantu bangi bajja okubatizibwa,
24 for John had not yet been put in prison. olwo nga tannateekebwa mu kkomera.
25 Now a discussion arose between some of John's disciples and a Jew over purification. Ne wabaawo empaka wakati w’abayigirizwa ba Yokaana n’Omuyudaaya ku nsonga ey’okutukuzibwa.
26 They came to John and said, "Rabbi, the man with you beyond the Jordan, the one you testified about—he's baptizing, and everyone goes to him." Ne bajja eri Yokaana ne bamugamba nti, “Labbi, omuntu oli gwe wali naye emitala w’omugga Yoludaani, gwe wayogerako, laba abatiza era abantu bonna bagenda gy’ali.”
27 John replied, "A person cannot receive even one thing unless it is given him from heaven. Yokaana n’abaddamu nti, “Omuntu tayinza kuba na kintu okuggyako nga kimuweereddwa okuva mu ggulu.
28 You yourselves can testify: I said 'I'm not the Christ, but sent ahead of him.' Mmwe mwennyini mukimanyi bulungi nga bwe nabagamba nti, ‘Si nze Kristo.’ Nze natumibwa okumukulembera.
29 The one with the bride is the bridegroom—Jesus. The bridegroom's friend, who stands and hears him, rejoices greatly at the bridegroom's voice. So my joy is now complete. Nannyini mugole ye awasizza, naye mukwano nnannyini mugole ayimirira ng’amuwulidde, era asanyukira nnyo eddoboozi ly’oyo awasizza. Noolwekyo essanyu lyange lituukiridde.
30 He must increase, but I must decrease." Kimugwanira ye okugulumizibwa naye nze okutoowazibwa.
31 The one who comes from above is above all. The one from earth belongs to earth and speaks in an earthly way. The one who comes from heaven is above all. “Oyo ava mu ggulu, yafuga byonna. Ow’omu nsi, aba wa mu nsi, era ayogera bya mu nsi.
32 He bears witness to what he has seen and heard, yet no one receives his testimony. Ye ategeeza ebyo bye yalaba ne bye yawulira, so tewali akkiriza by’ategeeza.
33 Whoever receives his testimony confirms that our Father is true. Naye oyo akkiriza by’ategeeza akakasa nti Katonda wa mazima.
34 The one our Father sent speaks our Father's words, for he gives the Holy Spirit without measure. Kubanga oyo eyatumwa Katonda ategeeza ebigambo bya Katonda, n’Omwoyo gw’agaba tagerebwa.
35 Our Father loves the Son and has given all things into his hand. Kitaffe ayagala Omwana we era yamukwasa byonna mu mukono gwe.
36 Whoever believes in the Son has eternal life; whoever disobeys the Son won't see life—our Father's wrath remains on him. Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]