Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 4 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 So when Jesus knew the Pharisees heard he was making and baptizing more disciples than John. Awo Yesu bwe yamanya nti Abafalisaayo bategedde nti abantu bangi bafuuse bayigirizwa be, era ng’abatiza bangi okusinga Yokaana,
2 (though Jesus himself was not baptizing, but his disciples were), newaakubadde nga Yesu yennyini teyabatiza wabula abayigirizwa be, be baabatizanga,
3 he left Judea and went back to Galilee. n’ava e Buyudaaya n’addayo e Ggaliraaya.
4 And he had to pass through Samaria. Kyali kimugwanira okuyita mu Samaliya.
5 So he came to a town of Samaria called Sychar, near the field Jacob gave his son Joseph. Awo n’atuuka mu kibuga ky’e Samaliya ekiyitibwa Sukali, nga kiri kumpi n’ekibanja Yakobo kye yawa mutabani we Yusufu.
6 Jacob's well was there. Jesus, tired from the trip, sat down at the well—about noon. Awo we waali oluzzi lwa Yakobo. Yesu yali akooye olw’olugendo lwe yatambula, n’atuula awo ku luzzi. Obudde bwali ng’essaawa mukaaga ez’omu ttuntu.
7 A woman of Samaria came to draw water. Jesus said to her, "Give me a drink." Awo omukazi Omusamaliya bwe yajja okukima amazzi, Yesu n’amugamba nti, “Mpa ku mazzi nnyweko.”
8 (For his disciples had gone into the town to buy food.). Mu kiseera ekyo abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugulayo ku mmere.
9 The Samaritan woman said, "You're a Jew; why ask me, a Samaritan woman, for a drink?" (Jews don't associate with Samaritans.). Awo omukazi Omusamaliya n’amugamba nti, “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamaliya amazzi okunywa?” Kubanga Abayudaaya nga tebakolagana na Basamaliya.
10 Jesus answered her, "If you knew our Father's gift, and who asks you, 'Give me a drink,' you'd have asked him, and he'd have given you living water." Yesu n’amuddamu nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, n’oyo akugamba nti mpa nnywe ku mazzi bw’ali ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.”
11 The woman said to him, "Sir, you have nothing to draw with, and the well is deep. Where then do you get this living water? Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, tolina kalobo, n’oluzzi luwanvu nnyo.
12 Are you greater than our father Jacob, who gave us the well, drank from it himself, with his sons and livestock?" Ate n’ekirala, ggwe oli mukulu okusinga jjajjaffe Yakobo eyatuwa oluzzi luno ate nga yanywangamu ye n’abaana be n’ensolo ze?”
13 Jesus said to her, "Everyone who drinks of this water will be thirsty again, Yesu n’amuddamu nti, “Buli muntu yenna anywa ku mazzi gano ennyonta eriddamu okumuluma.
14 but whoever drinks the water I give him will never thirst again; that water will become in him a spring of water welling up to eternal life." Naye buli anywa ku mazzi nze ge ndimuwa, talirumwa nnyonta emirembe gyonna era galifuuka mu ye ensulo etekalira, ne gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”
15 The woman said to him, "Sir, give me this water, so I won't get thirsty or come here to draw water." Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, mpa ku mazzi ago, ennyonta eremenga kunnuma era nneme kujjanga wano kukima mazzi.”
16 Jesus said to her, "Go, call your husband, and come back here." Yesu n’amugamba nti, “Genda oyite balo, okomewo.”
17 The woman answered, "I have no husband." Jesus told her, "You're right to say you have no husband. Omukazi n’amuddamu nti, “Sirina baze!” Yesu n’amugamba nti, “Oyogedde kituufu nti tolina balo.
18 For you've had five husbands, and the man you have now isn't your husband. You've spoken the truth." Kubanga walina babalo bataano, naye oyo gw’olina kaakano si balo. Ekyo oyogedde mazima.”
19 The woman said to him, "Sir, I see that you are a prophet. Omukazi n’agamba Yesu nti, “Ssebo, ndaba ng’oli nnabbi.
20 Our fathers worshiped on this mountain, but you say Jerusalem is where people must worship." Ku lusozi luno bajjajjaffe kwe baasinzizanga. Naye mmwe mugamba nti, Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.”
21 Jesus told her, "Woman, believe me: an hour is coming when you'll worship the Father neither on this mountain nor in Jerusalem. Yesu n’amugamba nti, “Mukazi wattu nzikiriza, kubanga ekiseera kijja kye mutalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno wadde mu Yerusaalemi.
22 You worship what you don't know; we worship what we know—salvation comes from the Jews. Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya.
23 But a time is coming, and now is, when true worshipers worship the Father in spirit and truth—for the Father seeks such worshipers. Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era n’abo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima.
24 The Father is spirit, and those who worship him must worship in spirit and truth." Kubanga Katonda Mwoyo n’abo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.”
25 The woman said to him, "I know Messiah—the one called Christ—is coming. When he comes, he will tell us everything." Omukazi n’amugamba nti, “Weewaawo, mmanyi nti Masiya, gwe bayita Kristo, ajja. Ye bw’alijja, alitutegeeza ebintu byonna.”
26 Jesus said to her, "I am he—the one speaking to you." Yesu n’amugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.”
27 Just then his disciples returned, amazed he was talking with a woman. Yet no one said, "What do you want?" or, "Why talk with her?" Awo mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bakomawo. Ne beewuunya okulaba ng’ayogera n’omukazi. Kyokka ne watabaawo amubuuza nsonga emwogezezza naye wadde bye babadde boogerako.
28 So the woman left her water jar and went back to town and said to the people, Awo omukazi n’aleka awo ensuwa ye n’agenda mu kibuga n’ategeeza abantu nti,
29 "Come, see a man who told me everything I ever did. Could this be the Christ?" “Mujje mulabe omuntu antegeezezza buli kye nnali nkoze. Ayinza okuba nga ye Kristo?”
30 They left the town and were coming to him. Ne bava mu kibuga ne bajja eri Yesu.
31 Meanwhile the disciples were urging him, "Rabbi, eat." Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali beegayirira Yesu alye ku mmere, nga bagamba nti, “Labbi lya ku mmere.”
32 But he said to them, "I have food to eat that you know nothing about." N’abaddamu nti, “Nze nnina ekyokulya mmwe kye mutamanyi.”
33 So the disciples said to one another, "Has anyone brought him something to eat?" Awo abayigirizwa ne beebuuzaganya nti, “Waliwo omuntu amuleetedde ekyokulya?”
34 Jesus said to them, "My food is doing the will of the one who sent me and finishing his work. Yesu n’abaddamu nti, “Ekyokulya kyange kwe kukola eyantuma by’ayagala, era n’okutuukiriza omulimu gwe.
35 Don't you say, 'Four months more, then harvest comes'? Look, I tell you: raise your eyes, see the fields—white for harvest. Mmwe temugamba nti, ‘Ekyasigaddeyo emyezi ena amakungula gatuuke?’ Kale muyimuse amaaso gammwe, mutunuulire ennimiro! Amakungula gatuuse.
36 Already the harvester earns wages, gathering fruit for eternal life, so that planter and harvester may rejoice together. Akungula asasulwa empeera ye era n’akuŋŋaanyiza ebibala mu bulamu obutaggwaawo, olwo asiga n’akungula balyoke basanyukire wamu.
37 For here the saying holds true: 'One plants and another harvests.' Bwe kityo ekigambo nti, ‘Omu asiga omulala n’akungula,’ kyekiva kiba eky’amazima.
38 I sent you to reap what you didn't work for. Others worked, and you have entered into their labor." Mbatumye mmwe okukungula kye mutaasiga. Abalala be baasiga naye mmwe mugobolodde.”
39 Many Samaritans from that town believed in him because of the woman's testimony: "He told me everything I ever did." Abasamaliya bangi ab’omu kibuga abaamukkiririzaamu olw’ebyo omukazi bye yabategeeza, ng’abagamba nti, “Antegeezezza buli kye nnali nkoze!”
40 When the Samaritans came to him, they asked him to stay with them; he stayed two days. Awo Abasamaliya bwe bajja eri Yesu ne bamwegayirira yeeyongere okubeera nabo, n’abeera nabo ennaku bbiri.
41 And many more believed because of his word. Bangi ne bakkiriza olw’ebyo bye yabategeeza.
42 They told the woman, "It is no longer because of what you said that we believe—we've heard for ourselves, and we know this man truly is the Savior of the world." Awo ne bagamba omukazi nti, “Tumukkiriza si lwa bigambo byo byokka, naye naffe twewuliridde ebigambo bye. Ddala tutegedde nga ye Mulokozi w’ensi.”
43 After the two days he departed from there for Galilee. Ennaku ezo ebbiri bwe zaggwaako, Yesu n’ava e Samaliya n’alaga e Ggaliraaya.
44 (For Jesus himself had testified that a prophet has no honor in his own hometown.). Ye yennyini yagamba nti, “Nnabbi taweebwa kitiibwa mu nsi gy’asibuka.”
45 When he arrived in Galilee, the Galileans welcomed him, having seen all he did in Jerusalem at the feast—they too had gone to the feast. Awo Abagaliraaya ne bamwaniriza n’essanyu lingi nnyo, kubanga baali bamaze okulaba eby’amagero bye yakolera mu Yerusaalemi bwe baali ku Mbaga ey’Okuyitako.
46 He went again to Cana in Galilee, where he had turned water to wine. A royal official's son was sick at Capernaum. Yesu n’akomawo mu Kaana eky’e Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi wayini. Waaliyo omukungu wa gavumenti ow’e Kaperunawumu eyalina mutabani we nga mulwadde.
47 Hearing that Jesus had come from Judea to Galilee, he went to him and begged him to come down and heal his son, who was about to die. Omukungu bwe yawulira nga Yesu avudde e Buyudaaya azze e Ggaliraaya, n’agenda gy’ali n’amusaba agende amuwonyeze mutabani we eyali okumpi n’okufa.
48 So Jesus said to him, "Unless you people see signs and wonders, you will never believe." Yesu n’amugamba nti, “Temusobola kunzikiriza nga temulabye ku bubonero na byamagero?”
49 The royal official said to him, "Sir, come down before my child dies." Omukungu n’amugamba nti, “Mukama wange, nkusaba oserengete ojje ng’omwana wange tannafa!”
50 Jesus said to him, "Go; your son will live." The man believed what Jesus told him and left. Awo Yesu n’amugamba nti, “Ggenda mutabani wo awonye!” Omusajja n’akkiriza Yesu ky’amugambye n’agenda.
51 As he was going down, his servants met him and told him that his boy was living. Naye bwe yali ng’akyali mu kkubo abaddu be ne bamusisinkana ne bamutegeeza nti mutabani we awonye.
52 So he asked them the hour he improved, and they said, "Yesterday at the seventh hour, the fever left him." N’ababuuza ekiseera omulenzi we yassuukidde. Ne bamuddamu nti, “Jjo olw’eggulo essaawa nga musanvu omusujja ne gumuwonako!”
53 So the father knew this was the hour when Jesus told him, "Your son will live." He and his whole household believed. Awo Kitaawe w’omulenzi n’ajjukira nga ky’ekiseera ekyo Yesu we yamugambira nti, “Mutabani wo awonye.” Awo omukungu oyo n’ab’enju ye bonna ne bakkiriza.
54 This was now the second sign that Jesus did when he had come from Judea to Galilee. Kino kye kyamagero ekyokubiri Yesu kye yakola ng’akomyewo e Ggaliraaya ng’avudde e Buyudaaya.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]