Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 5 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After this there was a feast of the Jews, and Jesus went up to Jerusalem. Oluvannyuma Yesu n’addayo e Yerusaalemi abeewo ku emu ku mbaga z’Abayudaaya.
2 By the Sheep Gate in Jerusalem is a pool with five covered porches, called Bethesda in Aramaic. Munda mu Yerusaalemi, okumpi n’Omulyango gw’Endiga waliwo ekidiba ekiyitibwa Besusayida, mu Lwebbulaniya, ekyazimbibwako ebigango bitaano okukyetooloola.
3 In these lay a multitude of the sick—blind, lame, and paralyzed. Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde bangi nnyo: abalema, abazibe b’amaaso, n’abakoozimbye.
4 Not in this edition Kubanga bwe waayitangawo ekiseera malayika wa Mukama n’ajja n’atabula amazzi ago, era omuntu eyasookanga okukka mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa, ng’awonyezebwa.
5 One man was there who had been sick for thirty-eight years. Waaliwo omusajja eyali yaakalwalira emyaka amakumi asatu mu munaana.
6 Seeing him lying there and knowing he had already been there a long time, Jesus asked, "Do you want to be healed?" Yesu bwe yamulaba n’amanya nga bw’amaze ebbanga eddene nga mulwadde, n’amubuuza nti, “Oyagala okuwonyezebwa?”
7 The sick man answered him, "Sir, I have no one to put me in the pool once the water stirs—while I'm on my way, someone else gets in first." Omusajja omulwadde n’amuddamu nti, “Ssebo sirina muntu ayinza kunnyamba okunsuula mu kidiba ng’amazzi gaakatabulwa. Buli lwe ngezaako okukkamu we ntukirayo ng’omulala yansoose dda.”
8 Jesus said to him, "Get up, take up your mat, and walk." Yesu n’amugamba nti, “Situka ozingeko omukeeka gwo otambule.”
9 At once the man became well, picked up his mat, and walked. That day was the Sabbath. Amangwago omusajja n’awonyezebwa. N’azingako omukeeka gwe ne yeetambulira. Olunaku olwo lwali lwa Ssabbiiti.
10 So the Jews told the healed man, "It's the Sabbath—you're not allowed to carry your mat." Abayudaaya kyebaava bagamba omusajja awonyezebbwa nti, “Toteekwa kwetikka mukeeka gwo ku Ssabbiiti, oba omenye etteeka lya Ssabbiiti.”
11 He answered them, "The man who healed me told me, 'Take up your mat and walk.'" Ye n’addamu nti, “Omuntu amponyezza y’aŋŋambye nti, ‘Situlawo omukeeka gwo otambule.’ ”
12 They asked him, "Who is the man who told you, 'Take it up and walk'?" Ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo ye ani eyakugambye okusitula omukeeka gwo otambule?”
13 But the healed man didn't know who it was, since Jesus had slipped away into the crowd there. Kyokka omusajja eyawonyezebwa yali tamumanyi, kubanga Yesu yali abulidde mu bantu abangi abaali mu kifo ekyo.
14 Later Jesus found him in the temple and said, "You are healed now. Stop sinning, or something worse may happen to you." Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’amulaba mu Yeekaalu, n’amugamba nti, “Kaakano oli mulamu, naye toddangamu okwonoona, akabi akasingawo kaleme okukutuukako.”
15 The man went away and told the Jews that it was Jesus who had made him well. Omuntu oyo n’agenda n’ategeeza Abayudaaya nti Yesu ye yamuwonya.
16 And so the Jews began persecuting Jesus, because he was doing these things on the Sabbath. Okuva olwo Abayudaaya ne batandika okuyigganya Yesu, kubanga yakolanga ebintu ebifaanana ng’ekyo ku Ssabbiiti.
17 But Jesus answered them, "My Father is working until now, and I too am working." Yesu n’abaddamu nti, “Kitange bulijjo akola, nange nteekwa okukola.”
18 So the Jews sought even more to kill him: he not only broke the Sabbath but called our Father his own Father, making himself equal to him. Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta, kubanga teyakoma ku kya kumenya mateeka ga Ssabbiiti kyokka, naye yeeyita Omwana wa Katonda, ne yeefuula eyenkanaankana ne Katonda.
19 So Jesus said to them, "Truly, truly, I tell you: the Son can do nothing on his own, but only what he sees the Father doing. Whatever the Father does, the Son does the same. Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Omwana taliiko ky’akola ku bubwe, wabula ekyo ky’alaba Kitaawe ng’akola. Kubanga ye by’akola n’Omwana by’akola.
20 "For the Father loves the Son and shows him everything he does; he will show him greater works than these, so you will be amazed. Kubanga Kitaawe w’Omwana ayagala Omwana we era amulaga ky’akola, era Omwana ajja kukola ebyamagero bingi ebyewuunyisa okusinga na bino.
21 For as the Father raises the dead and gives life, so the Son too gives life to anyone he wants. Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’azuukiza abafu, bw’atyo n’Omwana awa obulamu abo baayagala.
22 For the Father judges no one, but has entrusted all judgment to the Son, Era Kitaawe w’Omwana talina n’omu gw’asalira musango, naye obuyinza obw’okusala emisango gyonna yabuwa Omwana we,
23 so everyone honors the Son as they honor the Father; whoever doesn't honor the Son doesn't honor the Father who sent him. abantu bonna balyoke bassengamu Omwana ekitiibwa nga bwe bassa mu Kitaawe ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, ne Kitaawe eyamutuma tamussaamu kitiibwa.
24 Truly, truly, I tell you: whoever hears my word and believes the one who sent me has eternal life and won't face judgment—they have passed from death to life. “Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, n’akkiriza eyantuma, aba n’obulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ng’atuuse mu bulamu.
25 Truly, truly, I tell you, an hour comes, and is now here, when the dead will hear the voice of the Son of our Father, and those hearing will live. Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda, era n’abaliwulira baliba balamu.
26 For as the Father has life in himself, he gave the Son to also have life in himself. Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’alina obulamu mu ye, bw’atyo bwe yawa Omwana okuba n’obulamu mu ye,
27 And he has given him authority to execute judgment, because he is the Son of Man. era yamuwa obuyinza okusalira abantu emisango, kubanga ye Mwana w’Omuntu.
28 Don't be astonished at this—an hour is coming when everyone in the tombs will hear his voice, “Ekyo tekibeewuunyisa, kubanga ekiseera kijja abafu abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye
29 and come out—those who did good, to the resurrection of life; those who did evil, to the resurrection of judgment. ne bavaamu kubanga be baakola ebintu ebirungi, era balifuna obulamu obutaggwaawo, naye abo abaakolanga ebibi balizuukira ne babonerezebwa.
30 By myself I can do nothing. I judge as I hear; my judgment is fair, because I seek not my own will but the will of the One who sent me. Kyokka Nze siyinza kukola kintu kyonna ku bwange. Kitange nga bw’aŋŋamba bwe nkola, era n’omusango gwe nsala gwa nsonga kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by’ayagala.
31 "If I testify about myself, my testimony is not valid. Singa nneeyogerako nzekka, bye nneyogerako tebiba bya mazima.
32 There is another who testifies about me, and I know his testimony about me is true. Waliwo ategeeza gwe ndi, era mmanyi nga bya njogerako bya mazima.
33 You sent messengers to John, and he has testified to the truth. “Mmwe mwatuma ababaka eri Yokaana, era ayogedde eby’amazima.
34 Not that I accept human testimony, but I say these things so that you may be saved. Ebigambo ebinkakasa tebiva mu muntu, naye ebyo mbyogera mulyoke mulokolebwe.
35 John was a burning, shining lamp, and you were willing to rejoice briefly in his light. Oyo ye yali ettaala eyayaka okubaleetera ekitangaala, ne musalawo mubeere mu kitangaala ekyo akaseera katono.
36 But I have testimony greater than John's: the works my Father gave me to finish—the very works I'm doing—testify that my Father sent me. “Naye nnina ebinkakasa okukira ebyo ebya Yokaana, bye byamagero bye nkola, Kitange bye yampa, era bikakasa nti Kitange ye yantuma
37 And my Father who sent me has himself testified about me. You've never heard his voice or seen his form, ne Kitange yennyini eyantuma akakasa ebinkwatako. Temuwuliranga ku ddoboozi lye wadde okulaba ekifaananyi kye.
38 and you don't have his word remaining in you, since you don't believe the one he sent. N’ekigambo kye tekiri mu mmwe, kubanga temukkiriza oyo gwe yatuma.
39 You search the Scriptures, thinking they hold eternal life—yet they themselves testify about me, Munoonya mu Byawandiikibwa kubanga mulowooza nti muyinza okubifuniramu obulamu obutaggwaawo. Kyokka Ebyawandiikibwa ebyo bye binjulira.
40 yet you refuse to come to me so that you may have life. Naye temwagala kujja gye ndi mulyoke mufune obulamu obutaggwaawo.
41 I do not accept glory from people, “Sinoonya kusiimibwa bantu.
42 but I know you—that you do not have the love of our Father within you. Naye mmwe mbamanyi temuliimu kwagala kwa Katonda.
43 I have come in my Father's name, and you don't receive me; if another comes in his own name, you'll receive him. Nzize mu linnya lya Kitange ne mutannyaniriza. Omulala bw’anajja ku bubwe oyo mujja kumwaniriza.
44 How can you believe, when you accept glory from one another and don't seek the glory from the only God? Kale muyinza mutya okukkiriza nga munoonya kusiimibwa bantu bannammwe, so nga temunoonya kusiimibwa Katonda oyo Omu yekka?
45 Don't think I will accuse you before my Father. Moses, in whom you've hoped, accuses you. “Naye temulowooza nti ndibawawaabira eri Kitange. Abawawaabira ye Musa, mmwe gwe mulinamu essuubi.
46 For if you believed Moses, you would believe me, because he wrote about me. Singa Musa mumukkiriza, nange mwandinzikirizza, kubanga yampandiikako.
47 But if you do not believe his writings, how will you believe my words?" Kale obanga temukkiriza bye yawandiika, munakkiriza mutya ebigambo byange?”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]