Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 6 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After this, Jesus crossed the Sea of Galilee, also called the Sea of Tiberias. Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu n’asomoka ennyanja ey’e Ggaliraaya, era eyitibwa ey’e Tiberiya.
2 A large crowd followed him, because they saw the signs he performed on the sick. Ekibiina ky’abantu kinene ne bamugoberera, kubanga baalaba ebyamagero bye yakola ng’awonya abalwadde.
3 Jesus went up on the mountainside and sat down there with his disciples. Awo Yesu n’alinnya ku lusozi n’atuula wansi n’abayigirizwa be.
4 Now the Passover, the feast of the Jews, was near. Embaga y’Abayudaaya eyitibwa Okuyitako yali eri kumpi okutuuka.
5 Looking up, Jesus saw a large crowd approaching and asked Philip, "Where can we buy bread for these people to eat?" Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba ekibiina ky’abantu ekinene, nga bajja gy’ali, n’agamba Firipo nti, “Tunaagula wa emmere okuliisa abantu abo bonna?”
6 He said this to test Philip, for he himself already knew what he was going to do. Yayogera atyo kugezesa Firipo, kubanga Yesu yali amanyi ky’agenda okukola.
7 Philip answered him, "200 days' wages of bread isn't enough for each of them to get a little." Firipo n’amuddamu nti, “Emmere egula eddinaali ebikumi ebibiri teesobole na kubabuna, buli omu okulyako akatono.”
8 One of his disciples, Andrew, Simon Peter's brother, said to him, Awo omu ku bayigirizwa be, Andereya muganda wa Simooni Peetero, n’amugamba nti,
9 "A boy here has five barley loaves and two fish—but what's that for so many?" “Wano waliwo omulenzi alina emigaati etaano egya sayiri, n’ebyennyanja bibiri. Naye bino binaagasa ki abantu abangi bwe bati?”
10 Jesus said, "Have the people sit down." Much grass grew there, so about 5,000 men sat down. Yesu n’abagamba nti, “Mutuuze abantu.” Waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abantu ne batuula, ne baba abasajja ng’enkumi ttaano.
11 Jesus then took the loaves, gave thanks, and distributed them to those seated; likewise with the fish, as much as they wanted. Awo Yesu n’atoola emigaati ne yeebaza Katonda, n’agabula abantu abatudde. N’ebyennyanja n’akola bw’atyo. Bonna ne balya ne bakkuta.
12 When they were full, he told his disciples, "Gather the leftover pieces, so nothing is lost." Oluvannyuma Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Kale mukuŋŋaanye obutundutundu obusigaddewo tuleme kufiirwa.”
13 So they gathered the fragments left over from the five barley loaves after the people ate, filling twelve baskets. Ne babukuŋŋaanya, ne bajjuza ebisero kkumi na bibiri eby’obutundutundu obwava mu migaati etaano egya sayiri, obwasigalawo nga bamaze okulya.
14 So when the people saw the sign he did, they said, "This really is the Prophet coming into the world!" Abantu bwe baalaba ekyamagero Yesu kye yakola ne bagamba nti, “Ddala ono ye Nnabbi oli alindirirwa okujja mu nsi!”
15 Knowing they meant to come and seize him to make him king, Jesus withdrew again to the mountain alone. Yesu bwe yategeera nti bategeka okumukwata bamufuule kabaka waabwe n’addayo yekka ku lusozi.
16 When evening came, his disciples went down to the sea, Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ba Yesu ne baserengeta ku nnyanja
17 got in a boat and headed across the sea to Capernaum. It was already dark, and Jesus had not yet reached them. ne basaabala mu lyato ne boolekera Kaperunawumu. N’obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gye bali.
18 A strong wind was blowing, and the sea grew rough. Awo omuyaga ne gukunta mungi, ennyanja n’esiikuuka.
19 After rowing three or four miles, they saw Jesus walking on the water, approaching the boat, and were afraid. Bwe baavugako kilomita nga ttaano oba mukaaga, ne balaba Yesu ng’atambulira ku mazzi, ng’asemberera eryato, ne batya.
20 But he said to them, "It is I; do not be afraid." Yesu n’abagamba nti, “Ye Nze, temutya!”
21 So they were glad to take him into the boat, and instantly it reached the shore they were heading toward. Ne baagala okumuyingiza mu lyato, amangwago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.
22 The next day, the crowd remaining on the far shore saw that only one boat had been there, that Jesus had not boarded it with his disciples, but that his disciples had gone off alone. Ku lunaku olwaddirira, ekibiina ky’abantu abaasigala emitala w’eri, ne balabawo eryato limu lyokka, ne bamanya ng’abayigirizwa be baawunguka bokka mu lyato.
23 Other boats came from Tiberias near the place where they ate bread after the Lord gave thanks. Kyokka amaato ne gava e Tiberiya ne gagoba awo kumpi n’ekifo abantu we baaliira emigaati Yesu gye yabawa ng’amaze okwebaza.
24 So when the crowd saw Jesus and his disciples weren't there, they got in boats and went to Capernaum to look for Jesus. Awo abantu bwe baalaba nga Yesu taliiwo wadde abayigirizwa be, ne bakwata amaato ne bawunguka ne batuuka e Kaperunawumu nga banoonya Yesu.
25 Finding him across the sea, they asked, "Rabbi, when did you get here?" Bwe baamulaba emitala w’ennyanja ne bamubuuza nti, “Labbi, watuuse ddi wano?”
26 Jesus answered them, "Truly, truly, I tell you: you seek me not because you saw signs, but because you ate the loaves and were filled. Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti munnoonya si lwa kubanga mwalaba obubonero, naye lwa kubanga mwalya emigaati ne mukkuta.
27 Don't work for food that spoils, but for food that lasts to eternal life, which the Son of Man will give you. For on him our Father has set his seal." Temukolerera mmere eggwaawo, wabula munoonye emmere ebeerera era etuusa mu bulamu obutaggwaawo, Omwana w’Omuntu gy’alibawa, kubanga Kitaawe w’Omwana amussizaako akabonero.”
28 Then they said to him, "What must we do to be doing the works of our Father?" Awo ne bamubuuza nti, “Tukole ki okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala?”
29 Jesus answered them, "This is our Father's work: that you believe in the one he sent." Yesu n’abaddamu nti, “Katonda ky’ayagala mukole kwe kukkiriza oyo gwe yatuma.”
30 So they asked him, "What sign will you give, so we may see and believe you? What work will you do? Ne bamugamba nti, “Kale kabonero ki ggwe k’okola, tulabe tukukkirize? Onookola kabonero ki?
31 Our ancestors ate manna in the wilderness, as it is written: 'He gave them bread from heaven to eat.'" Bajjajjaffe baalya emmaanu mu ddungu nga bwe kyawandiikibwa nti, ‘Yabawa emmere okuva mu ggulu balye.’ ”
32 Jesus told them, "Truly, truly, I tell you: Moses didn't give you the bread from heaven—my Father gives you the true bread from heaven. Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eva mu ggulu, wabula Kitange ye yabawa emmere ey’amazima eva mu ggulu.
33 For the bread of our Father is he who comes down from heaven and gives the world life." Emmere ya Katonda ye eva mu ggulu, era ye awa ensi obulamu.”
34 So they said to him, "Lord, give us this bread always." Ne bamugamba nti, “Mukama waffe, tuwenga emmere eyo buli lunaku.”
35 Jesus told them, "I am the bread of life. Whoever comes to me will never hunger; whoever believes in me will never thirst. Yesu n’abaddamu nti, “Nze mmere ey’obulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta.
36 But as I told you, you have seen me and still do not believe. Naye nabagamba nti mundabye naye era ne mutanzikiriza.
37 All the Father gives me will come to me, and the one who comes to me I will never drive away. Buli muntu Kitange gw’ampa alijja gye ndi, era buli ajja gye ndi sirimugobera bweru.
38 For I came down from heaven not to do my own will, but the will of him who sent me. Kubanga ekyanzigya mu ggulu kwe kukola ekyo Katonda eyantuma ky’ayagala, so si Nze bye njagala ku bwange.
39 This is the will of him who sent me: that I lose none of all he has given me, but raise them up on the last day. Eyantuma ky’ayagala kye kino: Ku abo be yampa nneme kubulwako n’omu wabula bonna mbazuukize ku lunaku olw’enkomerero.
40 For this is the will of my Father: that everyone who looks to the Son and believes in him should have eternal life, and I will raise them up on the last day." Kubanga Kitange ky’ayagala kye kino nti buli alaba Omwana we n’amukkiriza afuna obulamu obutaggwaawo ku lunaku olw’enkomerero.”
41 So the Jews grumbled about him because he said, "I am the bread that came down from heaven." Awo Abayudaaya ne batandika okwemulugunyiza Yesu, kubanga yabagamba nti, “Nze mmere eyava mu ggulu.”
42 They said, "Isn't this Jesus, Joseph's son, whose father and mother we know? How can he now say, 'I have come down from heaven'?" Ne bagamba nti, “Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu? Kitaawe ne nnyina tubamanyi. Kale ayinza atya okugamba nti, ‘Nava mu ggulu?’ ”
43 Jesus answered them, "Stop grumbling among yourselves. Yesu n’abagamba nti, “Temwemulugunya.
44 "No one can come to me unless the Father who sent me draws him, and I will raise him on the last day. Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma amuyise, era Nze ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero.
45 It is written in the Prophets: 'And they will all be taught by our Father.' Everyone who has heard and learned from the Father comes to me. Kubanga kyawandiikibwa mu bannabbi nti, ‘Bonna baliyigirizibwa Katonda.’ Era buli gw’ayigiriza n’ategeera amazima ajja gye ndi.
46 Not that anyone has seen the Father except the one from him; he has seen the Father. Si kuba nti waliwo eyali alabye ku Kitange, wabula oyo eyava eri Katonda, ye yalaba Kitaawe.
47 Truly, truly, I tell you, whoever believes has eternal life. Ddala ddala mbagamba nti, Akkiriza aba n’obulamu obutaggwaawo!
48 I am the bread of life. Nze mmere ey’obulamu.
49 Your ancestors ate the manna in the wilderness, yet they died. Bajjajjammwe baalya emaanu mu ddungu ne bafa.
50 This is the bread that comes down from heaven, so anyone may eat it and not die. Eno y’emmere eyava mu ggulu, buli agiryako aleme okufa.
51 I am the living bread come down from heaven. Whoever eats this bread will live forever. The bread I will give is my flesh, for the life of the world." Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange.”
52 Then the Jews argued sharply among themselves, "How can this man give us his flesh to eat?" Awo Abayudaaya ne batandika okuwakana bokka na bokka nga bagamba nti, “Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?”
53 Jesus told them, "Truly, truly, I tell you, unless you eat the flesh of the Son of Man and drink his blood, you have no life in yourselves. Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa Muntu, ne munywa n’omusaayi gwe, temuyinza kuba na bulamu mu mmwe.
54 Whoever feeds on my flesh and drinks my blood has eternal life, and I will raise him on the last day. Buli alya omubiri gwange n’anywa n’omusaayi gwange, ng’afunye obulamu obutaggwaawo era ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero.
55 For my flesh is true food, and my blood is true drink. Kubanga omubiri gwange kye kyokulya ddala n’omusaayi gwange kye kyokunywa ddala.
56 Whoever feeds on my flesh and drinks my blood remains in me, and I in him. Oyo alya ku mubiri gwange era n’anywa omusaayi gwange abeera mu nze, era nange mbeera mu ye.
57 As the living Father sent me and I live because of the Father, so whoever feeds on me will live because of me. Nga Kitange eyantuma bw’ali omulamu, nange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange, noolwekyo oyo alya ku nze naye aliba mulamu ku bwange.
58 This is the bread that came down from heaven. It is not like the bread your ancestors ate and still died. Whoever feeds on this bread will live forever." Eno ye mmere eva mu ggulu. Teri ng’eyo bajjajjammwe gye baalya ne bafa. Alya emmere eno anaabanga mulamu emirembe n’emirembe.”
59 He said these things while teaching in the synagogue at Capernaum. Ebyo Yesu yabyogera ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro e Kaperunawumu.
60 On hearing it, many of his disciples said, "This is a hard teaching. Who can accept it?" Abayigirizwa ba Yesu bangi bwe baabiwulira ne bagamba nti, “Ekigambo ekyo kizibu okutegeera. Ani asobola okutunnyonnyola ky’agamba?”
61 Aware that his disciples were grumbling about this, Jesus said to them, "Does this offend you? Awo Yesu bwe yategeera nga n’abayigirizwa be bakyemulugunyako, n’abagamba nti, “Ekyo kibeesittaza?
62 "Then what if you see the Son of Man ascending to where he was before? Kale mulirowooza ki bwe muliraba Omwana w’Omuntu ng’addayo gye yava?
63 The Spirit gives life; the flesh helps nothing. The words I have spoken to you are spirit and life. Mwoyo Mutukuvu y’awa obulamu. Omubiri teguliiko kye gugasa. Ebigambo bye njogedde gye muli gwe mwoyo era bwe bulamu.
64 But some of you don't believe." For Jesus knew from the start who didn't believe, and who would betray him. Naye era abamu ku mmwe temukkiriza.” Kubanga okuva ku lubereberye Yesu yategeera abatamukkiriza era n’oyo agenda okumulyamu olukwe.
65 And he said, "This is why I told you: no one can come to me unless the Father enables him." Awo n’agamba nti, “Kyennava ŋŋamba nti tewali ayinza kujja gye ndi bw’atakiweebwa Kitange.”
66 From this time many of his disciples turned back and no longer walked with him. Okuva olwo bangi ku bayigirizwa be ne bamuvaako ne bataddayo kuyita naye.
67 So Jesus asked the Twelve, "Do you want to leave too?" Awo Yesu n’akyukira abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’ababuuza nti, “Nammwe mwagala kugenda?”
68 Simon Peter answered him, "Lord, to whom should we go? You have the words of eternal life. Simooni Peetero n’amuddamu nti, “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe wekka gw’olina ebigambo by’obulamu obutaggwaawo.
69 We have believed and known you are the Holy One of our Father." Ffe tubikkiriza era tumanyi nti oli Mutukuvu wa Katonda.”
70 Jesus answered them, "Have I not chosen you, the Twelve? Yet one of you is a devil." Awo Yesu kwe kubagamba nti, “Mmwe ekkumi n’ababiri si nze nabalonda? Naye omu ku mmwe Setaani!”
71 He meant Judas, son of Simon Iscariot, one of the Twelve, who was about to betray him. Yesu yayogera ku Yuda, mutabani wa Simooni Isukalyoti, kubanga ye yali agenda okumulyamu olukwe.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]