Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 7 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After this, Jesus traveled around Galilee, not wanting to go into Judea because Jewish leaders there were looking for a chance to kill him. Oluvannyuma lw’ebyo, Yesu n’alaga e Ggaliraaya, kubanga teyayagala kubeera mu Buyudaaya, kubanga Abayudaaya baali bamunoonya okumutta.
2 But the Jewish Festival of Booths was near. Naye embaga y’Abayudaaya eyitibwa ey’Ensiisira yali eneetera okutuuka.
3 His brothers told him, "Leave here and go to Judea, so your disciples can also see the works you do. Baganda ba Yesu ne bamugamba nti, “Vva wano, olage mu Buyudaaya, abayigirizwa bo balabe ebyamagero by’okola.
4 No one seeking public attention hides what he does. If you're doing these things, show yourself to the world." Tosobola kwatiikirira nga weekwese. Kale obanga, okola ebintu ebyo, weerage eri ensi.”
5 For not even his brothers believed in him. Baganda be nabo tebaamukkiriza.
6 So Jesus told them, "My time has not yet come, but for you any time is right. Yesu n’abaddamu nti, “Ekiseera kyange eky’okugenda tekinnatuuka. Naye mmwe muyinza okugenda mu kiseera kyonna we mwagalira.
7 "The world cannot hate you, but it hates me, because I testify that its works are evil. Mmwe ensi teyinza kubakyawa, naye Nze enkyawa kubanga ngitegeeza ebikolwa byayo ebibi.
8 You yourselves go up to the festival; I'm not going up to this festival, since my time hasn't yet fully come." Mmwe mwambuke ku mbaga. Nze sijja kwambuka ku mbaga eno, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”
9 After saying this, he stayed in Galilee. Bwe yamala okubagamba ebyo n’asigala mu Ggaliraaya.
10 After his brothers went up to the festival, he too went up—not openly, but secretly. Baganda be bwe bamala okwambuka ku mbaga naye n’ayambuka, mu kyama so si mu lwatu.
11 So the Jewish leaders were looking for him at the festival and asking, "Where is he?" Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga nga beebuuza nti, “Omusajja oli, ali ludda wa?”
12 Much murmuring about him spread among the crowds: some said, "He's good," others, "No, he misleads the crowd." Ne wabaawo oluvuuvuumo lungi mu bantu. Abamu ne bagamba nti, “Mulungi.” Naye abalala nga bagamba nti, “Nedda, alimba abantu.”
13 Yet no one spoke about him openly, for fear of the Jewish leaders. Kyokka olw’okutya Abayudaaya, tewaaliwo amwogerako mu lwatu.
14 About the middle of the festival, Jesus went up into the temple and began to teach. Awo mu makkati g’embaga Yesu n’ayambuka mu Yeekaalu n’ayigiriza.
15 The Jewish leaders were amazed and asked, "How does this man know so much without training?" Abakulembeze b’Abayudaaya ne beewuunya nga bagamba nti, “Omuntu ono ayinza atya okumanya okusoma so nga tasomangako?”
16 Jesus answered them, "My teaching isn't mine—it's from the one who sent me. Awo Yesu kwe kubaddamu nti, “Nze sibayigiriza byange ku bwange, wabula eby’oyo eyantuma.
17 Whoever wants to do our Father's will knows if my teaching is from my Father or I speak on my own. Buli ayagala okukola Katonda by’ayagala, ategeera obanga bye njigiriza byange ku bwange oba bya Katonda.
18 Whoever speaks on his own seeks his own glory, but whoever seeks the sender's glory is true, with no falsehood in him. Ayogera ku bubwe anoonya kitiibwa kye, naye oyo anoonya ekitiibwa ky’oyo eyantuma wa mazima so n’obutali butuukirivu tebuba mu ye. Musa teyabawa amateeka?
19 Didn't Moses give you the law? Yet none of you obeys the law. Why are you trying to kill me?" Ku mmwe tekuliiko n’omu akwata mateeka. Kale lwaki musala amagezi okunzita?”
20 The crowd answered, "You have a demon! Who is trying to kill you?" Ekibiina ky’abantu ne baddamu nti, “Oliko dayimooni! Ani asala amagezi okukutta?”
21 Jesus replied, "I did one work, and you are all amazed. Yesu n’addamu nti, “Nakola ekikolwa kimu ku Ssabbiiti buli muntu ne yeewuunya.
22 "Moses gave you circumcision—not from Moses, but the patriarchs—and you circumcise a man on the Sabbath. Musa kyeyava abalagira okukomolebwa, okukomolebwa tekwatandikira ku Musa wabula kwatandikira ku bajjajjammwe; ne ku Ssabbiiti mukomola omuntu.
23 If a man is circumcised on the Sabbath so the law of Moses isn't broken, why are you angry at me for making a whole man well on the Sabbath? Obanga mukomola ku Ssabbiiti etteeka lya Musa lireme okumenyebwa, kale lwaki Nze munsunguwalira olw’okuwonya omuntu ku Ssabbiiti, n’aba mulamu ddala?
24 Stop judging by appearances, and judge with right judgment." Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw’ensonga.”
25 Then some Jerusalemites said, "Isn't this the man they want to kill? Awo abantu abamu ab’omu Yerusaalemi ne beebuuzaganya nga bagamba nti, “Ono si ye muntu gwe banoonya okutta?
26 Yet he speaks openly, and they say nothing to him. Can the rulers truly know this is the Christ? Kale wuuno ayigiriza lwatu, ate tebaliiko kye bamugambako. Osanga abakulembeze bategedde nti omuntu ono ye Kristo!
27 But we know this man's origin. When the Christ comes, no one will know his origin." Naye tumanyi omuntu ono gy’ava; so nga Kristo bw’alijja tewaliba n’omu amanya gy’ava.”
28 Then Jesus, teaching in the temple, cried out: "You know me, and know where I'm from. Yet I didn't come on my own—the one who sent me is true, and you don't know him. Awo Yesu bwe yali ng’akyayigiriza mu Yeekaalu n’akangula ku ddoboozi n’agamba nti, “Ddala mummanyi ne gye nva mumanyiiyo. Sajja ku bwange wabula ekituufu nti oyo eyantuma gwe mutamanyi.
29 I know him, because I am from him, and he sent me." Nze mmumanyi, kubanga nava gy’ali, era ye yantuma.”
30 So they tried to grab him, but no one touched him, because his hour had not yet come. Awo ne basala amagezi okumukwata, kyokka tewaali amukwatako, kubanga ekiseera kye kyali tekinnaba kutuuka.
31 But many in the crowd believed in him, asking, "When the Christ comes, will he do more signs than this man did?" Naye bangi mu bibiina by’abantu ne bamukkiriza, ne bagamba nti, “Kale Kristo bw’alijja, alikola eby’amagero ebisinga eby’ono byakoze?”
32 The Pharisees heard the crowd murmuring these things about him, so the chief priests and Pharisees sent temple guards to seize him. Awo Abafalisaayo ne bawulira abantu nga boogera ku Yesu mu bwama. Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuma abaweereza baabwe okumukwata.
33 So Jesus said, "I'm with you a little while longer, and then I go to the one who sent me. Awo Yesu n’agamba nti, “Nzija kumala nammwe ebbanga ttono, ndyoke nzireyo eri oyo eyantuma.
34 You will search for me and not find me; you cannot come where I am." Mulinnoonya, naye temugenda kundaba, nga gye ndi, mmwe temuyinza kutuukayo.”
35 So the Jewish leaders asked each other, "Where does he intend to go that we won't find him? Does he intend to go to our people dispersed among the Greeks and teach the Greeks? Awo Abayudaaya ne beebuuzaganya nti, “Omuntu ono alaga wa gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Buyonaani, ayigirize Abayonaani?
36 What does he mean: 'You will look for me, but you will not find me,' and 'Where I am, you cannot come'?" Ategeeza ki bw’agamba nti, ‘Mulinnoonya, naye temulindaba?’ Era nti, ‘Gye ndaga temuyinza kutuukayo?’ ”
37 On the last, great day of the festival, Jesus stood and called out, "Whoever is thirsty, let him come to me and drink. Awo ku lunaku olw’embaga olusembayo, olusingira ddala obukulu, Yesu n’ayimirira n’ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka n’agamba nti, “Buli alina ennyonta, ajje gye ndi anywe!
38 Whoever believes in me, as Scripture said, rivers of living water will flow from his heart." Ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti buli akkiriza Nze emigga egy’amazzi amalamu girikulukuta nga gifuluma mu mutima gwe!”
39 He said this about the Holy Spirit, whom believers in him were to receive; the Spirit had not yet been given, since Jesus had not yet been glorified. Yesu yali ayogera ku Mwoyo Mutukuvu, abamukkiriza gwe baali bagenda okufuna, kubanga Mwoyo oyo yali tannagabibwa, kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.
40 When they heard these words, some of the crowd said, "This really is the Prophet." Abantu abamu mu kibiina bwe baawulira ng’ayogera bw’atyo, ne bagamba nti, “Ddala omuntu ono ye Nnabbi.”
41 Others said, "This is the Christ." But others asked, "How can the Christ come from Galilee? Abalala ne bagamba nti, “Omuntu ono ye Kristo.” Naye abalala ne bagamba nti, “Nedda, Kristo tayinza kuba ng’ava mu Ggaliraaya.”
42 Doesn't Scripture say the Christ comes from David's line and from Bethlehem, David's village?" Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti: Kristo wa kuva mu zzadde lya Dawudi, era nga wa kuzaalibwa mu Besirekemu, ekibuga kya Dawudi mwe yali.
43 So the crowd was divided over him. Awo ekibiina ne kyesalamu olwa Yesu.
44 Some of them wanted to seize him, but no one laid a hand on him. Abamu ne baagala okumukwata, kyokka ne wabulawo amukwatako.
45 So the temple guards returned to the chief priests and Pharisees, who asked, "Why didn't you bring him?" Awo abaweereza b’abakabona abakulu n’Abafalisaayo ne baddayo eri bakabona abakulu n’Abafalisaayo. Abakulembeze Ne bababuuza nti, “Lwaki temumuleese?”
46 The guards answered, "No one ever spoke the way this man does." Abaweereza ne baddamu nti, “Ebigambo by’ayogera bya kitalo, tetubiwulirangako.”
47 "Have you also been deceived?" the Pharisees answered. Abafalisaayo ne babagamba nti, “Era nammwe abakyamizza?
48 "Has any of the rulers or of the Pharisees believed in him? Waliwo n’omu ku bakulembeze wadde ku Bafalisaayo eyali akkiririzza mu muntu oyo?
49 But this crowd, who knows nothing of the law—they are under a curse." Naye ekibiina ky’abantu bano abatamanyi mateeka, bakolimiddwa!”
50 Nicodemus, who had gone to Jesus earlier and was one of their own number, asked them, Awo Nikodemo, omu ku bo eddako eyagenda eri Yesu, n’abuuza nti,
51 "Does our law condemn a man without first hearing him and finding out what he does?" “Amateeka gaffe gakkiriza okusalira omuntu omusango nga tannaba kuwozesebwa okutegeera ky’akoze?”
52 They replied, "Are you from Galilee too? Search, and see: no prophet arises from Galilee." Ne bamuddamu nti, “Naawe wava Ggaliraaya? Nnoonyereza, ojja kulaba nti e Ggaliraaya teva nnabbi.”
53 Then they all went home. Awo ne baabuka, buli omu n’addayo eka.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]