Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 8 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 But Jesus went to the Mount of Olives. Awo Yesu n’alaga ku lusozi olwa Zeyituuni.
2 At dawn he came again to the temple; all the people came to him, and he sat down and taught them. Ku makya ennyo n’akomawo mu Yeekaalu, abantu bonna ne bajja gy’ali, n’atuula n’abayigiriza.
3 The scribes and Pharisees brought a woman caught in adultery and stood her in the middle. Awo abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne baleeta omukazi gwe baakwata ng’ayenda, ne bamuteeka wakati mu maaso g’ekibiina.
4 They said to him, "Teacher, this woman was caught in the act of adultery. Ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, omukazi ono akwatibbwa ng’ayenda.
5 Now in the Law, Moses commanded us to stone such women. So what do you say? Amateeka Musa ge yatulagira gagamba kubakuba mayinja abali ng’ono. Noolwekyo ggwe ogamba otya ku nsonga eyo?”
6 They said this to test him, seeking grounds to accuse him. But Jesus bent down and wrote on the ground with his finger." Ekyo baakyogera nga bamugezesa, bafune kye banaasinziirako okumuwawaabira. Naye Yesu n’akutama n’awandiika ku ttaka n’olunwe.
7 When they kept questioning him, he stood up and said to them, "Whichever of you has no sin, cast the first stone at her." Bwe beeyongera okumubuuza, n’akutaamulukuka, n’agamba nti, “Mu mmwe atayonoonangako y’aba asooka okumukuba ejjinja.”
8 And once more he bent down and wrote on the ground. N’addamu okukutama, era n’awandiika ku ttaka n’olunwe.
9 Hearing this, they left one by one, starting with the oldest, until Jesus was left alone with the woman standing there. Bwe baawulira ebyo, ne baseebulukuka kinnoomu, abasinga obukulu nga be basoose, okutuusa Yesu n’omukazi bwe baasigalawo bokka mu maaso g’ekibiina.
10 Jesus stood up and said to her, "Woman, where are they? Has no one condemned you?" Awo Yesu n’akutaamulukuka ate, n’abuuza omukazi nti, “Abakuwawaabira baluwa?”
11 She said, "No one, Lord." Jesus said, "I don't condemn you either. Go, and from now on, don't sin anymore." Omukazi n’amuddamu nti, “Mukama wange, tewali n’omu.” Yesu n’amugamba nti, “Nange sikusalira musango kukusinga. Genda, naye toddangayo okwonoona.”
12 Jesus spoke to them again: "I am the world's light. Whoever follows me will never walk in darkness but will have the light of life." Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, “Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu.”
13 So the Pharisees said to him, "You are bearing witness about yourself; your testimony is not true." Abafalisaayo ne bamugamba nti, “Weeyogerako naye by’oyogera bya bulimba.”
14 Jesus replied, "Even if I testify about myself, my testimony is true, because I know where I came from and where I'm going; but you don't know where I come from or where I'm going. Yesu n’abaddamu nti, “Newaakubadde neeyogerako, bye njogera bituufu, kubanga mmanyi gye nava ne gye ndaga. Naye mmwe temumanyi gye nva wadde gye ndaga.
15 You judge according to the flesh; I judge no one. Mmwe musala omusango ng’abantu obuntu. Nze siriiko gwe nsalira musango.
16 Even if I judge, my judgment is true, since I do not judge alone, but I and the Father who sent me. Naye singa mbadde nsala omusango, ensala yange ya mazima, kubanga siri nzekka, naye ndi ne Kitange eyantuma.
17 In your Law it is written that the testimony of two people is true. Amateeka gammwe gagamba nti ssinga abajulirwa babiri bakkiriziganya ku kintu, obujulirwa bwabwe buba bwa mazima.
18 I testify about myself, and the Father who sent me testifies about me." Kale Nze nneyogerako era n’oyo eyantuma ategeeza ebyange.”
19 They asked, "Where is your Father?" Jesus answered, "You know neither me nor my Father. If you knew me, you would know my Father also." Awo ne bamubuuza nti, “Kitaawo ali ludda wa?” Yesu n’abaddamu nti, “Nze temuntegeera ne Kitange temumutegeera. Singa muntegeera ne Kitange mwandimutegedde.”
20 He said this while teaching in the temple, in the treasury; no one seized him—his hour had not yet come. Ebigambo ebyo Yesu yabyogerera mu kifo omuteekebwa ebirabo, bwe yali ng’ayigiriza mu Yeekaalu. Naye ne wataba amukwata, kubanga ekiseera kye kyali tekinnatuuka.
21 So he told them again, "I am going away. You will look for me and die in your sin. Where I am going, you cannot come." Awo Yesu ne yeeyongera, n’abagamba nate nti, “Nze ŋŋenda, mulinnoonya, naye mulifiira mu bibi byammwe. Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo.”
22 So the Jews said, "Will he kill himself, since he says, "You can't come where I'm going"?" Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Agenda kwetta kyava agamba nti, ‘Nze gye ndaga, mmwe temuyinza kujjayo?’ ”
23 He said to them, "You're from below; I'm from above. You're of this world; I'm not of this world. Yesu n’abagamba nti, “Mmwe muli ba ku nsi, naye Nze ndi wa mu ggulu. Mmwe muli ba ku nsi kuno, Nze siri wa ku nsi kuno.
24 I told you that you'll die in your sins; if you don't believe I AM, you'll die in your sins." Kyenvudde mbagamba nti mulifiira mu bibi byammwe, kubanga bwe mutakkiriza nti nze wuuyo, Omwana wa Katonda, mulifiira mu bibi byammwe.”
25 So they said to him, "Just who are you?" Jesus said to them, "Exactly what I've said from the start. Ne bamubuuza nti, “Ggwe ani?” Yesu n’abaddamu nti, “Lwaki mbategeeza?
26 I have much to say and judge about you, but the One who sent me is true; what I heard from him, I tell the world." Nnina bingi eby’okuboogerako n’okubasalira omusango okubasinga, kyokka eyantuma wa mazima, era ebyo bye nawulira okuva gy’ali bye ntegeeza ensi.”
27 They did not understand that he had been speaking to them about the Father. Kyokka tebaategeera Kitaawe gw’ayogerako.
28 So Jesus told them, "When you lift up the Son of Man, then you'll know that I AM, and that I do nothing on my own, but say these things as the Father taught me. Awo Yesu n’abagamba nti, “Bwe mulimala okuwanika Omwana w’Omuntu ne mulyoka mutegeera nti nze wuuyo, era siriiko kye nkola ku bwange, naye njogera ebyo Kitange bye yanjigiriza.
29 The one who sent me is with me; he hasn't left me alone, because I always do what pleases him." Era oyo eyantuma ali nange, tandekanga bw’omu, kubanga bulijjo nkola by’ayagala.”
30 As he was saying these things, many believed in him. Yesu bwe yayogera ebigambo ebyo bangi ne bamukkiriza.
31 Jesus then told the Jews who had believed him, "If you remain in my word, you are truly my disciples, Awo Yesu n’agamba Abayudaaya abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera ku kigambo kyange muba bayigirizwa bange ddala.
32 and you will know the truth, and the truth will set you free." Era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.”
33 They answered him, "We are Abraham's descendants, never enslaved to anyone. How can you say, 'You will become free'?" Ne bamuddamu nti, “Ffe tuli bazzukulu ba Ibulayimu, tetubangako baddu ba muntu n’omu. Oyinza otya okugamba nti, ‘Mulifuuka ba ddembe?’ ”
34 Jesus answered them, "Truly, truly, I tell you: everyone who keeps sinning is sin's slave. Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti buli akola ekibi aba muddu wa kibi.
35 The slave does not remain in the house forever; the son remains forever. Omuddu taba wa lubeerera mu maka, naye omwana ye, aba waamu ennaku zonna.
36 So if the Son sets you free, you will be free indeed. Kale, Omwana bw’alibafuula ab’eddembe, mulibeerera ddala ba ddembe.
37 I know you are Abraham's descendants; yet you seek to kill me because my word has no space in you. Weewaawo ntegeera nga muli bazzukulu ba Ibulayimu, naye ate abamu ku mmwe musala amagezi okunzita, kubanga ekigambo kyange temukikkiriza.
38 I speak what I've seen with my Father, and you do what you heard from your father." Nze mbategeeza ebyo Kitange bye yandaga, nammwe mukola ebyo kitammwe bye yababuulira.”
39 They answered, "Abraham is our father." Jesus said, "If you were Abraham's children, you'd do the works Abraham did, Ne bamuddamu nti, “Kitaffe ye Ibulayimu.” Yesu n’abaddamu nti, “Singa mubadde baana ba Ibulayimu mwandikoze ebyo Ibulayimu bye yakola.
40 but now you want to kill me—a man who told you the truth I heard from my Father. Abraham didn't do this. Naye kaakano, Nze ababuulidde ebyo byennyini bye nawulira okuva eri Katonda musala amagezi okunzita. Ekifaanana ng’ekyo Ibulayimu teyakikola.
41 You do your father's works." They said to him, "We weren't born of sexual sin. We have one Father—God himself." Mukola emirimu gya kitammwe.” Ne bamuddamu nti, “Ffe tetwazaalibwa mu bwenzi, Kitaffe gwe tulina ali omu, ye Katonda.”
42 Jesus said to them, "If God were your Father, you'd love me, for I came from God and am here. I didn't come on my own—he sent me. Yesu n’abagamba nti, “Singa Katonda ye Kitammwe mwandinjagadde, kubanga nava gy’ali okujja gye muli, sajja ku bwange wabula ye yantuma.
43 Why don't you understand my speech? Because you cannot bear to hear my word. Lwaki temutegeera bye njogera? Kubanga temwagala kuwulira bigambo byange.
44 You belong to your father, the devil, and want to carry out his desires. He was a murderer from the beginning, not standing in truth, since no truth is in him. When he lies, he speaks from his own nature, since he's a liar and the lie's father. Kubanga Setaani ye kitammwe era nammwe mwagala okukola ebyo kitammwe by’ayagala. Okuva ku lubereberye mutemu era tanywerera mu mazima, era mu ye temuli mazima. Bw’ayogera eby’obulimba ayogera ebiva mu bibye, kubanga mulimba era kitaawe w’abalimba.
45 But because I tell the truth, you do not believe me. Naye kubanga njogera mazima kyemuva mutanzikiriza.
46 Who among you convicts me of sin? If I speak truth, why don't you believe me? Ani mu mmwe annumiriza ekibi? Bwe njogera amazima, kiki ekibagaana okunzikiriza?
47 Whoever is from our Father hears his words; you don't hear because you're not from our Father." Buli muntu wa Katonda awulira ebigambo bya Katonda. Naye mmwe temuwulira kubanga temuli ba Katonda.”
48 The Jews replied, "Aren't we right in saying that you are a Samaritan and have a demon?" Awo Abayudaaya ne baddamu Yesu nti, “Tetuli batuufu okugamba nti oli Musamaliya, era oliko dayimooni?”
49 Jesus answered, "I do not have a demon, but I honor my Father, and you dishonor me. Yesu n’abaddamu nti, “Nze siriiko dayimooni, naye nzisaamu Kitange ekitiibwa naye mmwe temunzisaamu kitiibwa.
50 But I'm not seeking my own glory; our Father seeks it, and he judges. Naye Nze sinoonya kussibwamu kitiibwa, waliwo omu ye akisaanira era y’alamula.
51 Truly, truly, I say to you, if anyone keeps my word, he will never see death." Ddala ddala mbagamba nti, Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe n’emirembe.”
52 The Jews said to him, "Now we know you have a demon. Abraham died, as did the prophets, yet you say, 'Whoever keeps my word will never taste death.' Awo Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Kaakano tutegeeredde ddala nti oliko dayimooni. Ibulayimu yafa era ne bannabbi baafa, ate ggwe ogamba nti, ‘Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe n’emirembe.’
53 Are you greater than our father Abraham, who died? The prophets died too! Who do you claim to be?" Ggwe mukulu okukira jjajjaffe Ibulayimu eyafa? Bannabbi nabo baafa. Ggwe weeyita ani?”
54 Jesus answered, "If I glorify myself, my glory is nothing. It is my Father who glorifies me, of whom you say, 'He is our God.' Yesu n’addamu nti, “Singa Nze neegulumiza okwegulumiza kwange tekubaamu nsa, angulumiza ye Kitange mmwe gwe muyita Katonda wammwe,
55 You don't know him, but I know him. If I said I didn't know him, I'd be a liar like you. But I know him and keep his word. mmwe temumumanyi. Nze mmumanyi. Bwe ŋŋamba nti simumanyi mba mulimba nga mmwe bwe muli. Nze mmumanyi era n’ekigambo kye nkikuuma.
56 Your father Abraham rejoiced that he would see my day. He saw it and was glad." Kitammwe Ibulayimu yasanyuka okulaba olunaku lwange. Yamanya nti nzija era ne kimusanyusa.”
57 So the Jews said to him, "You're not yet fifty years old, and you've seen Abraham?" Abayudaaya ne bamugamba nti, “Tonnaweza na myaka amakumi ataano egy’obukulu n’ogamba nti walaba Ibulayimu?”
58 Jesus said to them, "Truly, truly, I say to you, before Abraham was, I AM." Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu yali tannabaawo, Nze nga wendi.”
59 So they grabbed stones to throw at him, but Jesus hid himself and slipped out of the temple. Awo ne bakwata amayinja okumukuba, kyokka Yesu ne yeekweka n’afuluma mu Yeekaalu.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]