Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 9 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 As Jesus passed by, he saw a man who had been blind from birth. Awo Yesu bwe yali ng’atambula, n’alaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe w’amaaso.
2 His disciples asked him, "Rabbi, who sinned, this man or his parents, that he was born blind?" Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Labbi, ani eyayonoona, ono oba bazadde be alyoke azaalibwe nga muzibe w’amaaso?”
3 "Neither this man nor his parents sinned,' Jesus answered, 'but this happened so the works of our Father might be revealed in him. Yesu n’addamu nti, “Ku bonna omusajja ono newaakubadde bazadde be tekuliiko yayonoona, wabula kino kyabaawo emirimu gya Katonda girabikire ku ye.
4 We must do the works of the one who sent me while it is day; night comes, when no one can work. Kale kitugwanidde okukola emirimu gy’oyo eyantuma, obudde nga bukyali misana. Ekiro kijja omuntu mw’atasobolera kukola.
5 As long as I am in the world, I am the light of the world.'" Kyokka Nze bwe mbeera mu nsi mba musana gwa nsi.”
6 Saying this, he spat on the ground, made mud from the saliva, and smeared it on the man's eyes. Yesu bwe yamala okwogera bw’atyo, n’awanda amalusu ku ttaka n’atabula, n’alisiiga ku maaso g’omusajja oyo.
7 He told him, "Go, wash in the pool of Siloam" (meaning Sent). So the man went, washed, and returned able to see. N’amugamba nti, “Genda onaabe mu kidiba kya Sirowamu,” amakulu nti, “Eyatumibwa”. Awo omusajja n’agenda, n’anaaba, n’adda ng’alaba.
8 Neighbors and those who'd seen him begging before said, "Isn't this the one who used to sit and beg?" Baliraanwa b’oyo eyawonyezebwa era n’abalala abaali bamumanyi nga muzibe w’amaaso, asabiriza, ne beebuuzaganya nti, “Ono si ye musajja oli eyatuulanga wali ng’asabiriza?”
9 Some said, "That's him." Others said, "No, he just looks like him." He kept saying, "I'm the one." Abamu ne bagamba nti, “Ye ye,” abalala ne bagamba nti, “Nedda, anaamufaanana bufaananyi.” Kyokka ye n’abagamba nti, “Ye nze ddala.”
10 So they asked him, "Then how were your eyes opened?" Bo kwe ku mubuuza nti, “Kale amaaso go gaazibuse gatya?”
11 He replied, "The man called Jesus made mud, smeared it on my eyes, and told me, 'Go to Siloam and wash.' So I went, washed, and could see." N’abategeeza nti, “Omuntu ayitibwa Yesu, yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, n’andagira nti, ‘Genda e Sirowamu onaabe.’ Ne ŋŋenda ne naaba, ne nsobola okulaba.”
12 They said to him, "Where is he?" He said, "I do not know." Ne bamubuuza nti, “Ali ludda wa?” N’addamu nti, “Simanyi.”
13 They brought the man who had been blind to the Pharisees. Awo ne batwala omusajja eyali omuzibe w’amaaso eri Abafalisaayo.
14 Now it was a Sabbath day when Jesus made the mud and opened his eyes. Olunaku olwo Yesu lwe yatabulirako ettaka n’azibula omusajja oyo amaaso, lwali lwa Ssabbiiti.
15 So the Pharisees also asked him again how he had gained sight. He told them, "He put mud on my eyes, and I washed, and I see." Abafalisaayo nabo ne babuuza omuntu oyo engeri gye yazibuka amaaso. Awo n’ababuulira ng’agamba nti, “Yesu yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, ne naaba, kaakano ndaba.”
16 Some Pharisees said, "This man isn't from God—he doesn't keep the Sabbath." Others said, "How can a sinful man do such signs?" So they were divided among them. Abamu ku bo ne bagamba nti, “Omusajja oyo Yesu teyava wa Katonda kubanga takwata Ssabbiiti.” Kyokka abalala ne bagamba nti, “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola eby’amagero ebifaanana bwe bityo?” Ne wabaawo okwawukana kunene mu bo.
17 Again they asked the blind man, "What do you say about him, since he opened your eyes?" He said, "He is a prophet." Awo Abafalisaayo ne bakyukira omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo eyakuzibula amaaso olowooza wa ngeri ki?” Omusajja n’addamu nti, “Ndowooza nnabbi.”
18 The Jews did not believe he had been blind and gained sight, until they summoned the parents of the man who had gained sight. Ne batakkiriza nti omusajja oyo yali muzibe, okutuusa lwe baayita abazadde be,
19 They asked them, "Is this your son you say was born blind? How then does he now see?" ne bababuuza nti, “Ono mutabani wammwe? Era yazaalibwa nga muzibe wa maaso? Kale obanga bwe kiri kaakano asobola atya okulaba?”
20 His parents answered, "We know that this is our son and that he was born blind. Bakadde be ne baddamu nti, “Tumanyi ng’oyo ye mutabani waffe era nga yazaalibwa muzibe wa maaso.
21 But how he now sees, we don't know; or who opened his eyes, we don't know. Ask him—he's an adult; he'll speak for himself." Naye engeri gye yazibukamu amaaso tetugimanyi, era n’eyamuzibula amaaso tetumumanyi. Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize ajja kweyogerera.”
22 His parents said this, fearing the Jews, since the Jews had already agreed that if anyone confessed Jesus as the Christ, he would be expelled from the synagogue. Ekyaboogeza batyo lwa kutya Bayudaaya. Kubanga Abayudaaya baali bamaze okuteesa nti buli ayatula nti Yesu ye Kristo agobebwe mu kuŋŋaaniro.
23 That was why his parents said, "He is of age; ask him." Ekyo kye kyaboogeza nti, “Wuuyo musajja mukulu mumwebuulize.”
24 So they called the once-blind man again and said, "Give God the glory. We know this man is a sinner." Awo ate ne bongera okuyita omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamugamba nti, “Gulumiza Katonda, kubanga tumanyi omusajja oyo mwonoonyi.”
25 He replied, "Whether he's a sinner, I don't know. I know one thing: I was blind, now I see." Omusajja n’addamu nti, “Oba mwonoonyi oba si mwonoonyi simanyi, wabula kye mmanyi kiri kimu nti nnali muzibe w’amaaso, naye kaakano ndaba.”
26 They said to him, "What did he do to you? How did he open your eyes?" Kyebaava bamubuuza nti, “Kiki kye yakola? Amaaso yagazibula atya?”
27 He answered them, "I already told you, and you didn't listen. Why do you want to hear it again? Do you also want to become his disciples?" Omusajja n’addamu nti, “Nabategeezezza dda ne mutawuliriza. Lwaki ate mwagala mbaddiremu? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?”
28 And they reviled him, saying, "You are his disciple, but we are disciples of Moses. Ne bamuvuma ne bamugamba nti, “Ggwe oli muyigirizwa we. Naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa.
29 We know God spoke to Moses, but we don't know where this man is from." Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa, naye oyo tetumanyi gy’ava.”
30 The man answered them, "Here's the amazing thing: you don't know where he's from, yet he opened my eyes. Ye n’addamu nti, “Kino kitalo, mmwe obutamanya gye yava ate nga nze yanzibula amaaso.
31 We know God doesn't listen to sinners, but if anyone reveres God and does his will, God listens to him. Tumanyi nti Katonda tawulira balina bibi, naye awulira abo abamutya era abakola by’ayagala.
32 Never since the world began has anyone heard of someone opening the eyes of a person born blind. Ensi kasookedde ebaawo tewalabikangawo yali azibudde maaso ga muntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso.
33 If this man were not from God, he could do nothing." Kale omuntu ono eyanzibula amaaso singa teyava wa Katonda ekyo teyandikisobodde.”
34 They answered him, "You were born entirely in sin, yet you teach us?" and threw him out. Awo ne bamuboggolera nga bagamba nti, “Ggwe eyazaalirwa mu bibi, ggw’oyigiriza ffe?” Ne bamusindika ebweru.
35 Jesus heard they had thrown him out, and finding him, said, "Do you believe in the Son of Man?" Yesu n’ategeera nga bamusindise ebweru. Bwe yamusanga n’amugamba nti, “Ggwe okkiriza Omwana w’Omuntu?”
36 He answered, "And who is he, sir, so I can believe in him?" Omusajja n’amubuuza nti, “Ssebo, y’aluwa mmukkirize?”
37 Jesus said to him, "You have seen him, and it is he who is speaking with you." Yesu n’amugamba nti, “Omulabye, ye wuuyo ayogera naawe.”
38 He said, "Lord, I believe," and he worshiped him. Omusajja n’agamba nti, “Mukama wange, nzikiriza!” N’amusinza.
39 Jesus said, "I came into this world for judgment, so those who don't see may see, and those who see may become blind." Awo Yesu n’agamba nti, “Najja mu nsi okusala omusango, abatalaba balabe, ate naabo abalaba babe bazibe ba maaso.”
40 Some Pharisees with him heard this and said, "Are we blind too?" Abamu ku Bafalisaayo abaali bayimiridde awo bwe baawulira ebigambo ebyo ne bamubuuza nti, “Ky’ogamba nti naffe tuli bazibe ba maaso?”
41 Jesus told them, "If you were blind, you would have no sin; but since you say, 'We see,' your sin remains." Yesu n’abaddamu nti, “Singa mubadde bazibe ba maaso, temwandibadde na kibi. Naye kubanga mugamba nti tulaba, ekibi kyammwe kyekiva kibasigalako.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]