Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 10 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 "Truly, truly, I tell you: whoever doesn't enter the sheepfold through the gate, but climbs in another way, is a thief and a robber. “Ddala ddala mbagamba nti atayita mu mulyango ng’ayingira mu kisibo ky’endiga, naye n’alinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi.
2 But the one who enters by the gate is the shepherd of the sheep. Naye ayingirira mu mulyango, ye musumba w’endiga.
3 The gatekeeper opens for him, and the sheep hear his voice. He calls his own sheep by name and leads them out. Era oyo omuggazi amuggulirawo, n’endiga ziwulira eddoboozi lye, aziyita amannya gaazo n’azifulumya ebweru.
4 After bringing all his own out, he goes ahead of them, and the sheep follow him because they know his voice. Azikulembera ne zimugoberera, kubanga zimanyi eddoboozi lye.
5 They will never follow a stranger—they'll run from him, since they don't know the voice of strangers." Omulala gwe zitamanyi, tezimugoberera, zimudduka buddusi kubanga tezimanyi ddoboozi lye.”
6 Jesus told them this figure of speech, but they didn't grasp what he meant. Yesu n’abagerera olugero olwo, kyokka bo, ebyo tebaabitegeera.
7 So Jesus said again, "Truly, truly, I tell you, I am the gate for the sheep. Awo Yesu kyeyava ayongera n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nze mulyango gw’endiga.
8 "All who came before me are thieves and robbers, but the sheep did not listen to them. Abalala bonna abansooka baali babbi era banyazi, n’endiga tezaabawuliriza.
9 I am the gate; whoever enters through me will be saved, going in and out, finding pasture. Nze mulyango; buli ayingirira mu Nze alirokoka. Aliyingira, n’afuluma n’aliisibwa mu ddundiro.
10 The thief comes only to steal, kill, and destroy. I came so they may have life, and have it in abundance. Omubbi ky’ajjirira kwe kubba n’okutta n’okuzikiriza. Nze najja, zibe n’obulamu, era zibe nabwo mu bujjuvu.
11 "I am the good shepherd. The good shepherd lays down his life for the sheep. “Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw’endiga.
12 The hired hand, not a shepherd, doesn't own the sheep. Seeing the wolf coming, he leaves the sheep and flees—the wolf snatches and scatters them. Omupakasi, atali musumba, endiga nga si zize, bw’alaba omusege nga gujja adduka n’aleka awo endiga, omusege ne guzirumba ne guzisaasaanya.
13 The man runs away because he is a hired hand and cares nothing for the sheep. Akola atyo kubanga mupakasi, so n’endiga tazifaako.
14 "I am the good shepherd. I know my own and my own know me, “Nze ndi musumba mulungi, n’endiga zange nzimanyi era nazo zimmanyi.
15 as the Father knows me and I know the Father, and I lay down my life for the sheep. Nga Kitange bw’ammanyi, era nga nange bwe mmumanyi, bwe ntyo bwe mpaayo obulamu bwange olw’endiga.
16 I have other sheep not of this fold; I must lead them too, and they will hear my voice. They will become one flock, one shepherd. Nnina n’endiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba n’omusumba omu.
17 This is why the Father loves me: I lay down my life only to take it up again. Kitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize.
18 No one takes it from me, but I lay it down on my own. I have authority to lay it down, and authority to take it up again. This charge I received from my Father." Tewali n’omu abunzigyako, wabula mbuwaayo lwa kwagala kwange. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddizza. Ekyo Kitange ye yakindagira.”
19 These words brought division among the Jews once again. Yesu bwe yayogera bw’atyo, empaka mu Bayudaaya, ne zisituka buto.
20 Many of them said, "He is demon-possessed and out of his mind. Why listen to him?" Bangi ku bo ne bagamba nti, “Aliko dayimooni oba si kyo alaluse. Lwaki mumuwuliriza?”
21 But others said, "These aren't a demon-possessed man's words. Can a demon open blind eyes?" Abalala ne bagamba nti, “Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni asobola okuzibula amaaso ga bamuzibe?”
22 Then came the Feast of Dedication at Jerusalem. It was winter, Mu Yerusaalemi mwalimu embaga ey’Okutukuza, era bwali budde bwa butiti.
23 and Jesus was walking in the temple, in Solomon's Colonnade. Yesu yali mu Yeekaalu ng’atambula mu kifo ekiyitibwa Ekisasi kya Sulemaani.
24 The Jews surrounded him and said, "How long will you hold us in suspense? If you are the Christ, tell us plainly." Awo Abayudaaya ne bamwetooloola ne bamugamba nti, “Olituusa ddi okutubuusisabuusisa? Obanga ggwe Kristo kale tubuulirire ddala.”
25 Jesus answered, "I told you, and you don't believe. The works I do in my Father's name testify about me, Yesu n’addamu nti, “Nababuulira dda naye temukkiriza. Ekikakasa ebyo gy’emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange.
26 but you do not believe, because you are not my sheep. Naye mmwe temunzikiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange.
27 My sheep listen to my voice; I know them, and they follow me. Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera.
28 I give them eternal life, and they will never perish, and no one will snatch them from my hand. Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezigenda kuzikirira. Tewali n’omu ayinza kuzisikula mu mikono gyange,
29 My Father, who gave them to me, is greater than all; no one can snatch them out of the Father's hand. kubanga Kitange yazimpa, era ye tewali amusinga maanyi, noolwekyo tewali asobola kuzisikula kuva mu mukono gwa kitange.
30 I and the Father are one." Nze ne Kitange tuli omu.”
31 Again the Jews picked up stones to stone him. Awo Abayudaaya ne bakwata amayinja okumukuba.
32 Jesus replied, "I have shown you many good works from the Father. For which of these are you going to stone me?" Yesu n’abagamba nti, “Mwalaba ebyamagero bingi Kitange bye yankozesa, kiruwa ku ebyo kye musinziirako okunkuba amayinja?”
33 "We're stoning you not for good work," they said, "but for blasphemy, because you, a mere man, claim to be God." Ne bamuddamu nti, “Tetukuvunaana lwa birungi by’okola wabula lwa kubanga ovvoola; ggwe oli muntu buntu naye weeyita Katonda.”
34 Jesus answered them, "Is it not written in your Law: 'I have said you are gods'? Yesu n’abaddamu nti, “Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti, Katonda yagamba nti, ‘Muli bakatonda’?
35 If he called them 'gods,' to whom the word of my Father came—and Scripture cannot be broken, Obanga abo abaweebwa ekigambo kya Katonda, yabayita bakatonda, ate ng’Ebyawandiikibwa tebidiba,
36 what about the one the Father set apart and sent into the world? Why accuse me of blasphemy for saying, 'I am the Son of our Father'? ate Nze, Kitange gwe yatukuza n’antuma mu nsi, lwaki mugamba nti avvoola kubanga ŋŋambye nti, Ndi Mwana wa Katonda?
37 "If I am not doing the works of my Father, then do not believe me. Obanga sikola ebyo Kitange by’ayagala nkole, kale temunzikiriza;
38 But if I do them, even if you won't believe me, believe the works, so you'll know and keep knowing the Father is in me, and I in the Father." naye obanga nkola by’ayagala, newaakubadde Nze temunzikiriza waakiri mukkirize ebyo bye nkola mulyoke mutegeere nti Kitange ali mu Nze, era nange ndi mu Kitange.”
39 Again they tried to seize him, but he escaped their grasp. Awo ne bagezaako nate okumukwata, kyokka ne yeemulula.
40 Jesus then went back across the Jordan, to the place where John had first been baptizing, and stayed there. N’addayo emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yasooka okubatiriza, n’abeera eyo.
41 Many came to him, saying, "John performed no sign, but all John said about this man was true." Abantu bangi ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Yokaana teyakola byamagero, naye buli kimu kye yayogera ku muntu ono kyali kya mazima.”
42 And in that place many believed in him. Bangi ne bamukkiririza eyo.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]