Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 11 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 A man named Lazarus was sick, from Bethany, the village of Mary and her sister Martha. Awo olwatuuka omuntu ayitibwa Laazaalo eyali e Besaniya n’alwala. Besaniya ky’ekibuga Maliyamu ne Maliza bannyina ba Laazaalo mwe baali.
2 Mary—whose brother Lazarus was sick—anointed the Lord with fragrant oil and dried his feet with her hair. Maliyamu oyo ye yasiiga Mukama waffe amafuta ag’akaloosa ku bigere n’abisiimuuza enviiri ze.
3 So the sisters sent word to him, saying, "Lord, the one you love is sick." Awo Maliyamu ne Maliza ne batumira Yesu ne bamutegeeza nti, “Mukama waffe, mukwano gwo gw’oyagala ennyo mulwadde nnyo.”
4 Hearing this, Jesus said, "This sickness won't end in death, but is for the glory of our Father, so the Son of our Father may be glorified through it." Naye Yesu bwe yakitegeera n’agamba nti, “Ekigendereddwa mu bulwadde buno si kufa, wabula kulaga kitiibwa kya Katonda, era n’okuweesa Omwana wa Katonda ekitiibwa.”
5 Now Jesus loved Martha and her sister and Lazarus. Yesu yali mukwano gwa Maliyamu ne Maliza ne Laazaalo, naye bwe yawulira nga Laazaalo alwadde n’ayongera n’asigala we yali
6 So when he heard Lazarus was sick, he stayed two more days where he was. n’amalawo ennaku endala bbiri nga tanagenda gye bali.
7 Then after this he said to the disciples, "Let us go back to Judea." Awo ennaku bbiri bwe zaayitawo n’agamba abayigirizwa be nti, “Tuddeyo e Buyudaaya.”
8 The disciples said to him, "Rabbi, the Jews just now tried to stone you, and you're going back there?" Kyokka abayigirizwa be, ne bamugamba nti, “Labbi, mu nnaku ntono ezaakayita Abayudaaya baagezaako okukutta. Ate gy’odda?”
9 Jesus answered, "Aren't there twelve hours in the day? Anyone who walks by day won't stumble - he sees the light of this world. Yesu n’abaddamu nti, “Essaawa ez’emisana ziwera kkumi na bbiri, era omuntu bw’atambula emisana teyeesittala kubanga aba alaba.
10 But if anyone walks at night, he stumbles, because the light is not in him." Wabula atambula ekiro ye yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye.”
11 After this, he told them, "Our friend Lazarus has fallen asleep, but I'm going to wake him." Bwe yamala okwogera ebyo n’abagamba nti, “Mukwano gwaffe Laazaalo yeebase, naye ŋŋenda kumuzuukusa.”
12 So the disciples said to him, "Lord, if he has fallen asleep, he will get better." Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe oba yeebase anaazuukuka.”
13 Now Jesus had been speaking about his death, but they thought he meant natural sleep. Naye Yesu yayogera ku kufa kwa Laazaalo, kyokka bo abayigirizwa be ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo.
14 So then Jesus told them plainly, "Lazarus has died, Awo n’alyoka abategeereza ddala nti, “Laazaalo afudde.
15 I'm glad for your sake I wasn't there, so you'll believe. But let's go to him." Naye ku lw’obulungi bwammwe, nsanyuse kubanga ssaaliyo, mulyoke mukkirize; kale mujje tugende gy’ali.”
16 So Thomas, called the Twin, told the other disciples, "Let's go too, and die with him." Awo Tomasi eyayitibwanga Didumo n’agamba banne nti, “Ka tugende tufiire wamu naye.”
17 So when Jesus arrived, he found that Lazarus had already been in the tomb four days. Bwe baatuuka e Besaniya Yesu n’asanga nga Laazaalo yaakamala ennaku nnya mu ntaana.
18 Bethany was near Jerusalem, about two miles away, Besaniya kyali kumpi ne Yerusaalemi, kilomita nga ssatu.
19 and many of the Jews had come to Martha and Mary to console them about their brother. Abayudaaya bangi baali bazze okukubagiza Maliza ne Maliyamu olw’okufiirwa mwannyinaabwe.
20 When Martha heard Jesus was coming, she went to meet him; Mary stayed sitting in the house. Maliza bwe yawulira nti Yesu ajja, n’agenda okumusisinkana, kyokka Maliyamu n’asigala mu nnyumba ng’atudde.
21 Martha said to Jesus, "Lord, if you had been here, my brother would not have died. Awo Maliza n’agamba Yesu nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.
22 But even now I know that whatever you ask of our Father, he will give you." Era kaakano mmanyi nti buli ky’onoosaba Katonda, ajja kukikuwa.”
23 Jesus said to her, "Your brother will rise again." Yesu n’agamba Maliza nti, “Mwannyoko ajja kuzuukira.”
24 Martha said to him, "I know he'll rise again in the resurrection on the last day." Maliza n’amuddamu nti, “Mmanyi nti alizuukira ku lunaku olw’enkomerero.”
25 Jesus told her, "I am the resurrection and the life. Whoever believes in me will live, even though he dies, Yesu n’amugamba nti, “Nze kuzuukira n’obulamu; akkiriza nze newaakubadde ng’afudde, aliba mulamu,
26 and everyone who lives and believes in me will never die. Do you believe this?" na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe. Ekyo okikkiriza?”
27 She said to him, "Yes, Lord; I believe you are the Christ, the Son of our Father, the one coming into the world." Maliza n’amugamba nti, “Mukama wange nzikiriza nti ggwe Kristo Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.”
28 After saying this, she went and called her sister Mary privately: "The Teacher is here—he's calling for you." Awo Maliza bwe yamala okwogera ebyo, n’ava eri Yesu n’agenda eri Maliyamu n’amuzza ku bbali mu kyama ng’agamba nti, “Omuyigiriza azze, akuyita.”
29 When Mary heard this, she rose quickly and went to him. Maliyamu olwawulira ekyo n’asitukiramu n’agenda eri Yesu.
30 Jesus had not yet entered the village; he was still where Martha met him. Yesu yali akyali mu kifo Maliza we yamusisinkana nga tannatuuka mu kibuga.
31 The Jews with her in the house, comforting her, saw Mary rise quickly and leave; they followed, thinking she was going to the tomb to weep there. Abayudaaya abaali bazze okukubagiza abaali mu nnyumba ne Maliyamu bwe baamulaba ng’ayimiridde mangu ng’afuluma ne bamugoberera ne balowooza nti agenda ku ntaana akaabire eyo.
32 Mary came to Jesus, saw him, fell at his feet, and said, "Lord, if you had been here, my brother would not have died." Maliyamu bwe yatuuka awali Yesu n’afukamira ku bigere bye, nga bw’agamba nti, “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.”
33 When Jesus saw her weeping, and the Jews who came with her also weeping, he groaned in spirit and was troubled. Yesu bwe yamulaba ng’akaaba era n’Abayudaaya abaali naye nga bakaaba n’anyolwa mu mutima, n’ajjula obuyinike.
34 And he said, "Where have you laid him?" They said to him, "Lord, come and see." N’abuuza nti, “Mwamuteeka wa?” Ne bamugamba nti, “Mukama waffe jjangu olabeyo.”
35 Jesus wept. Yesu n’akaaba amaziga.
36 So the Jews said, "See how he loved him!" Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Ng’abadde amwagala nnyo!”
37 But some of them said, "Could this man who opened the blind man's eyes not have kept him from dying?" Naye abamu ku bo ne bagamba nti, “Ono eyazibula amaaso ga muzibe, lwaki teyaziyiza musajja ono kufa?”
38 So Jesus, again deeply moved in himself, came to the tomb—a cave with a stone against it. Awo Yesu ne yeeyongera okujjula obuyinike. N’atuuka ku ntaana. Yali mpuku ng’eggaliddwawo n’ejjinja.
39 Jesus said, "Take away the stone." Martha, the dead man's sister, said to him, "Lord, he must smell by now—he's been dead four days." Yesu n’agamba nti, “Muggyeewo ejjinja.” Naye Maliza, mwannyina w’omufu, n’amugamba nti, “Kaakano awunya nnyo, kubanga yaakamala ennaku nnya mu ntaana.”
40 Jesus said to her, "Didn't I tell you: if you believe you'll see our Father's glory?" Yesu n’amuddamu nti, “Saakugambye nti bw’onokkiriza onoolaba ekitiibwa kya Katonda?”
41 So they removed the stone. Jesus looked up and said, "Father, I thank you that you heard me. Ne baggyawo ejjinja. Awo Yesu n’atunula waggulu n’agamba nti, “Kitange nkwebaza olw’okumpulira.
42 I knew you always hear me, but I said this for the crowd standing here, so they may believe you sent me." Mmanyi nti bulijjo ompulira, naye kino nkyogedde olw’abantu bano abayimiridde wano, balyoke bakkirize nti ggwe wantuma.”
43 When he had said this, he cried out with a loud voice, "Lazarus, come out!" Bwe yamala okwogera bw’atyo, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Laazaalo fuluma.”
44 The dead man came out, feet and hands bound with strips of linen, and his face wrapped in cloth. Jesus said to them, "Untie him; let him go." Awo Laazaalo n’ava mu ntaana, ng’amagulu ge n’emikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga n’ekiremba kisibiddwa ku maaso ge. Yesu n’abagamba nti, “Mumusumulule atambule.”
45 So many of the Jews who came to Mary and saw what Jesus did believed in him. Bangi ku Bayudaaya abajja ne Maliyamu bwe baalaba Yesu ky’akoze ne bamukkiriza.
46 But some of them went to the Pharisees and told them what Jesus had done. Naye abalala ne bagenda eri Abafalisaayo ne babategeeza Yesu kye yakola.
47 So the chief priests and Pharisees convened the council and said, "What are we doing? For this man performs many signs. Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuuza olukiiko ne bagamba nti, “Tukole ki? Kubanga omuntu ono akola ebyamagero bingi.
48 If we leave him alone, everyone will believe in him, and the Romans will come and take away both our place and our nation." Bwe tumuleka bw’atyo, abantu bonna bajja kumukkiriza bamugoberere, n’ekirivaamu Abaruumi bagenda kujja bazikirize ekifo ekitukuvu n’eggwanga lyaffe.”
49 But one of them, Caiaphas, high priest that year, told them, "You know nothing at all. Awo omu ku bo, Kayaafa eyali Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo, n’abagamba nti, “Mmwe temuliiko kye mumanyi.
50 Don't you see it's better for you that one man die for the people than the whole nation perish?" Temulaba nti kirungi omuntu omu afe, eggwanga lyonna lireme kuzikirira?”
51 He didn't say this on his own; as high priest that year, he prophesied Jesus would die for the nation, Ekyo Kayaafa teyakyogera ku bubwe, wabula ye nga Kabona Asinga Obukulu, yayogera eby’obunnabbi nti Yesu yali anaatera okufiirira eggwanga,
52 not only for the nation, but also to gather into one the scattered children of our Father. ate si ggwanga lyokka naye n’okukuŋŋaanya abaana ba Katonda abaasaasaana.
53 So from that day on they plotted to put him to death. Okuva ku lunaku olwo abakulembeze b’Abayudaaya ne basala amagezi okutta Yesu.
54 So Jesus no longer moved about openly among the Jews, but withdrew to a town called Ephraim near the wilderness, and stayed there with his disciples. Noolwekyo, Yesu n’alekayo okutambula mu Buyudaaya mu lwatu, wabula n’avaayo n’alaga mu kifo ekiriraanye eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu, n’abeera eyo n’abayigirizwa be.
55 The Jews' Passover was near, and many went up from the country to Jerusalem before it to purify themselves. Embaga y’Abayudaaya ejjuukirirwako Okuyitako yali eneetera okutuuka, abantu bangi ne bava mu byalo ne bambuka e Yerusaalemi okukola omukolo ogw’okwetukuza ng’embaga tennatuuka.
56 So they looked for Jesus, asking each other as they stood in the temple, "What do you think? Surely he won't come to the feast?" Bwe baali bakuŋŋaanidde mu Yeekaalu, ne banoonya Yesu, ne beebuuzaganya nti, “Mulowooza mutya? Yesu tajje ku mbaga?”
57 The chief priests and Pharisees had ordered that anyone who knew his whereabouts must report it, so they could arrest him. Bakabona abakulu n’Abafalisaayo baali balagidde nti, Omuntu yenna bw’amanya Yesu wali abategeeze, balyoke bamukwate.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]