Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 12 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Six days before Passover, Jesus came to Bethany, where Lazarus, whom Jesus raised from death, lived. Bwe waali wakyabulayo ennaku mukaaga emikolo gy’Embaga ejjuukirirwako Okuyitako gitandike, Yesu n’ajja e Besaniya ewa Laazaalo gwe yazuukiza.
2 There they gave him a dinner; Martha served, and Lazarus was one of those at the table with him. Ne bamufumbira ekyeggulo, Maliza n’aweereza, Laazaalo nga ye omu ku baali batudde ne Yesu okulya.
3 Mary took about a pint of pure nard perfume, expensive, and anointed Jesus' feet, then wiped his feet with her hair. The house filled with the fragrance of the perfume. Awo Maliyamu n’addira eccupa erimu amafuta amalungi ag’akaloosa ag’omugavu, ag’omuwendo omungi, n’agafuka ku bigere bya Yesu n’abisiimuuza enviiri ze. Ennyumba yonna n’ejjula akaloosa k’amafuta ago.
4 But Judas Iscariot, one of his disciples, the one who was about to betray him, said, Naye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu, eyali ow’okumulyamu olukwe, n’agamba nti,
5 "Why was this perfume not sold for about a year's wages and given to the poor?" “Lwaki amafuta ago tegatundiddwamu eddinaali ebikumi bisatu ne zigabirwa abaavu?”
6 He said this not because he cared about the poor, but because he was a thief who kept the money box, taking what was put in it. Yayogera bw’atyo si lwa kuba nti yali alumirwa nnyo abaavu, wabula Lwa kubanga yali mubbi. Yatwalanga ensimbi ezaaterekebwanga mu nsawo y’ensimbi.
7 So Jesus said, "Leave her alone. She has kept this for the day of my burial. Yesu n’alyoka abagamba nti, “Omukazi mumuleke, akoze ekyo lwa kunteekerateekera kuziikibwa kwange.
8 You will always have the poor among you, but you will not always have me." Abaavu muli nabo bulijjo, naye Nze sijja kuba nammwe bulijjo.”
9 A large crowd of Jews learned Jesus was there and came, not only for him but to see Lazarus, whom he had raised from the dead. Awo ekibiina kinene eky’Abayudaaya bwe bategeera nti Yesu ali Besaniya, ne bajja, si Lwa Yesu yekka, naye n’okulaba Laazaalo, Yesu gwe yazuukiza.
10 So the chief priests planned to kill Lazarus as well, Awo bakabona abakulu ne basala amagezi okutta Laazaalo,
11 because on account of him many of the Jews were going over and believing in Jesus. kubanga yaleetera Abayudaaya bangi okuva ku bakulembeze baabwe ne bakkiriza Yesu.
12 The next day, the large crowd that came for the feast heard Jesus was coming to Jerusalem. Ku lunaku olwaddirira, abantu bangi abaali bazze ku mbaga ey’Okuyitako bwe baawulira nti Yesu ajja e Yerusaalemi,
13 They took palm branches and went out to meet him, shouting, "Hosanna! Blessed is he who comes in the name of our Father—the King of Israel!" ne bakwata amatabi g’enkindu ne bagenda okumusisinkana nga baleekaana nti, “Ozaana.” “Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama.” “Ye Kabaka wa Isirayiri.”
14 Jesus found a young donkey and rode on it, just as it is written: Awo Yesu bwe yalaba endogoyi ento n’agyebagala. Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti,
15 "Do not be afraid, daughter of Zion; look, your king is coming, seated on a donkey's colt." “Ggwe muwala wa Sayuuni totya; laba Kabaka wo ajja, nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.”
16 His disciples didn't understand these things at first; but when Jesus was glorified, they remembered these things were written about him, and that they had done these things to him. Ebyo abayigirizwa tebaabitegeererawo, naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ebintu ebyo ebyali bimuwandiikiddwako, ne bye baamukola.
17 The crowd that was with him when he called Lazarus from the tomb and raised him from the dead kept testifying. Abo abaali mu kibiina, abaalaba Yesu ng’azuukiza Laazaalo ne baategeeza ebyaliwo ne bwe yazuukiza Laazaalo.
18 The crowd went to meet him because they heard he had done this sign. Abantu abangi bwe batyo kyebaava bagenda okusisinkana Yesu, kubanga baali bawulidde ekyamagero ekyo kye yakola.
19 So the Pharisees said to each other, "See, you're accomplishing nothing—the whole world has gone after him." Awo Abafalisaayo ne bagambagana nti: “Mulabye bwe tutalina kye tufunyeemu! Laba ensi yonna emugoberedde.”
20 Now there were some Greeks among those who went up to worship at the feast. Naye waaliwo Abayonaani abamu abaali bazze okusinza ku mbaga ey’Okuyitako
21 These came to Philip, from Bethsaida in Galilee, and asked him, "Sir, we want to see Jesus." ne bajja eri Firipo eyava e Besusayida eky’omu Ggaliraaya, ne bamugamba nti, “Ssebo, twagala kulaba Yesu.”
22 Philip went and told Andrew; then Andrew and Philip went and told Jesus. Firipo n’ategeeza Andereya, ne bagenda bombi okutegeeza Yesu.
23 Jesus replied to them, "The hour has come for the Son of Man to be glorified. Yesu n’abaddamu nti, “Ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu agulumizibwe.
24 Truly, truly, I tell you, unless a wheat grain falls to the ground and dies, it stays alone; but if it dies, it bears much fruit. Ddala ddala mbagamba nti empeke y’eŋŋaano bw’egwa mu ttaka efa, bwe tefa ebeera yokka, naye bw’efa ebala ebibala bingi.
25 Whoever loves his life loses it; whoever hates his life in this world keeps it for eternal life. Buli eyeemalira ku bulamu bwe alibufiirwa, naye oyo akyawa obulamu bwe mu nsi eno, alibusigaza mu bulamu obutaggwaawo.
26 Whoever serves me must follow me, so my servant will be where I am. Whoever serves me, my Father will honor him." Oyo ampeereza, angoberere. Nze w’endi n’omuweereza wange w’anaabeeranga era Kitange alimuwa ekitiibwa oyo ampeereza.”
27 "Now my soul is troubled. What should I say—'Father, save me from this hour'? But this is why I came to this hour. Father, glorify your name." “Kaakano omutima gwange gweraliikiridde. Kale ŋŋambe ntya? Nsabe nti Kitange mponya ekiseera kino? Naye ate ekyandeeta kwe kuyita mu kiseera kino.
28 Then a voice came from heaven: "I have glorified it, and I will glorify it again." Kitange gulumiza erinnya lyo.” Awo eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ndigulumizizza era ndyongera okuligulumiza.”
29 The crowd standing there heard it and said it thundered; others said an angel spoke to him. Ekibiina ky’abantu abaali bayimiridde awo bwe baawulira ne bagamba nti, “Laddu y’ebwatuse!” Abalala ne bagamba nti, “Malayika y’ayogedde naye.”
30 Jesus said, "This voice came for your sake, not mine. Yesu n’abagamba nti, “Eddoboozi lino lizze ku lwammwe, so si ku lwange.
31 Now is the judgment of this world; now the ruler of this world will be cast out. Ekiseera ky’ensi okusalirwa omusango kituuse, era omufuzi w’ensi eno anaagoberwa ebweru.
32 And I, when I am lifted up from the earth, will draw all people to myself." Bwe ndiwanikibwa okuva mu nsi, ndiwalulira bonna gye ndi.”
33 He said this to show by what kind of death he was going to die. Ekyo yakyogera ng’ategeeza enfa gye yali anaatera okufaamu.
34 The crowd replied, "We've heard from the Law that the Christ stays forever. How can you say the Son of Man must be lifted up? Who is this Son of Man?" Awo abantu mu kibiina ekyo ne bamugamba nti, “Ffe tumanyi okuva mu mateeka nti Kristo aba mulamu emirembe gyonna. Naye ggwe lwaki ogamba nti Omwana w’Omuntu kimugwanira okufa? Mwana wa Muntu ki oyo gw’oyogerako?”
35 So Jesus said, "The light is with you a little while longer. Walk while you have light, so darkness doesn't overtake you. Whoever walks in darkness doesn't know where he's going. Yesu n’abaddamu nti, “Omusana gujja kwongera okubaakira okumala akaseera. Kale mugutambuliremu mugende gye mwagala ng’ekizikiza tekinnatuuka. Atambulira mu kizikiza tamanya gy’alaga.
36 While you have light, believe in the light, so you become children of light." Having said this, Jesus left and hid from them. Kale Omusana nga bwe gukyayaka mugutambuliremu mulyoke mufuuke abaana b’omusana.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’agenda n’abeekweka.
37 Though he had performed so many signs in their presence, they still would not believe in him, Kyokka newaakubadde Yesu yakola ebyamagero bingi, tebaamukkiriza.
38 so that the word of Isaiah the prophet would be fulfilled, which he spoke: "Father, who has believed our message? And to whom has the arm of our Father been revealed?" Ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire ekigamba nti, “Mukama ani akkiriza bye tugamba? Ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?”
39 This is why they could not believe, for Isaiah said again: Kyebaava batakkiriza kubanga nnabbi Isaaya yayongera n’agamba nti,
40 "He has blinded their eyes and hardened their heart, so that they would not see with their eyes, nor understand with their heart, nor turn—and I would heal them." “Katonda yabaziba amaaso, era n’abakakanyaza emitima, amaaso gaabwe galeme okulaba, era n’emitima gyabwe gireme okutegeera, era gireme okukyuka, mbawonye.”
41 Isaiah said these things because he saw Jesus' glory and spoke about him. Ebyo nnabbi Isaaya yabyogera kubanga yalaba ekitiibwa kye, era n’amwogerako.
42 Still, many even of the rulers believed in him, but they didn't admit it because of the Pharisees, so they wouldn't be expelled from the synagogue, Era waaliwo bangi ne mu bakulembeze b’Abayudaaya abaamukkiriza. Naye olw’okutya Abafalisaayo, tebaamwatula, baleme kugobebwa mu kkuŋŋaaniro.
43 for they loved the glory that comes from people more than the glory that comes from our Father. Kubanga baayagala ekitiibwa ekibaweebwa abantu okusinga ekitiibwa kya Katonda.
44 Jesus cried out, "Whoever believes in me does not believe in me only, but in the one who sent me. Awo Yesu n’asitula ku ddoboozi n’agamba nti, “Buli anzikiriza aba takkiriza Nze nzekka, wabula aba akkirizza n’oyo eyantuma.
45 And whoever sees me sees the one who sent me. N’oyo alaba Nze aba alabye oli eyantuma.
46 I came into the world as light, so no one who believes in me stays in the darkness. Nze omusana nzize mu nsi buli anzikiriza aleme okusigala mu kizikiza.
47 If anyone hears my words and doesn't keep them, I don't judge him—I didn't come to judge the world, but to save the world. “Awulira ebigambo byange n’atabifaako, Nze simusalira musango, kubanga Nze najja kulokola nsi so si kugisalira musango.
48 Whoever rejects me and doesn't accept my words already has a judge: my spoken word will judge him on the last day. Kyokka buli agaana Nze era n’agaana n’ebigambo byange, alina amusalira omusango. Alisalirwa omusango ku lunaku olw’enkomerero okusinziira ku bigambo bye namutegeeza.
49 I have not spoken on my own; but the Father who sent me himself commanded me what to say and how to speak. Kubanga Nze bye njogera si byange, ku bwange, naye mbategeezezza ebya Kitange bye yandagira okubategeeza.
50 I know his commandment is eternal life, so I say only what the Father told me to say." Era mmanyi nti by’alagira bwe bulamu obutaggwaawo. Noolwekyo ky’aŋŋamba kye mbategeeza.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]