Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 13 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 Now, before the Passover festival, Jesus knew his hour had come to leave this world to his Father. Having loved his own in the world, he loved them to the end. Ku lunaku olukulembera Embaga ey’Okuyitako, Yesu yamanya ng’ekiseera kye kituuse ave mu nsi muno agende eri Kitaawe. Yesu bwe yayagala ababe mu nsi, yabalagira ddala okwagala kwe kwonna okutuusiza ddala ku kiseera ekisembayo.
2 During supper, the devil had already put into Judas son of Simon Iscariot's heart the plan to betray Jesus. Bwe baali balya ekyekiro, Setaani yali yamaze dda okuteeka mu mutima gwa Yuda Isukalyoti, omwana wa Simooni, ekirowoozo eky’okulya mu Yesu olukwe.
3 Jesus, knowing that the Father had given everything into his hands, and that he had come from him and was returning to him, Yesu bwe yamanya nti Kitaawe yateeka byonna mu mikono gye, era nga yava wa Katonda ate gy’adda,
4 rose from supper, took off his outer clothes, picked up a towel, and tied it around his waist. n’asituka ku mmere, ne yeggyako omunagiro gwe, ne yeesiba ettawulo mu kiwato,
5 Then he poured water into a basin and began washing the disciples' feet, drying them with the towel tied around him. n’ateeka amazzi mu bensani, n’atandika okunaaza abayigirizwa be ebigere nga bw’abasiimuuza ettawulo gye yali yeesibye.
6 He came to Simon Peter, who said to him, "Lord, are you going to wash my feet?" Bwe yatuuka ku Simooni Peetero, Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, ggwe onnaaze ebigere?”
7 Jesus answered him, "You do not realize now what I am doing, but later you will understand." Yesu n’amuddamu nti, “Ensonga enkozesa kino togimanyi kaakano, wabula ekiseera kirituuka n’ogitegeera.”
8 "You will never wash my feet," Peter said. Jesus answered, "Unless I wash you, you share nothing with me." Peetero n’amuddamu nti, “Nedda, tolinnaaza bigere emirembe gyonna.” Yesu n’amugamba nti, “Bwe siikunaaze bigere, nga tossa kimu nange.”
9 Simon Peter said to him, "Lord, not only my feet, but also my hands and head!" Simooni Peetero n’amugamba nti, “Mukama wange, tonnaaza bigere byokka, naye nnaaza n’emikono n’omutwe.”
10 Jesus told him, "One who has bathed needs only to wash his feet—he is fully clean. You are clean, but not all of you." Yesu n’amuddamu nti, “Anaabye omubiri, aba teyeetaaga kunaaba okuggyako ebigere byokka, alyoke abe omulongoofu. Kaakano muli balongoofu, naye si mwenna.”
11 He knew who would betray him; that's why he said, "Not all of you are clean." Kubanga Yesu yamanya anaamulyamu olukwe. Kyeyava agamba nti, “Si mwenna abalongoofu.”
12 After washing their feet and dressing, he reclined again and said to them, "Do you understand what I have done for you? Yesu bwe yamala okubanaaza ebigere n’ayambala omunagiro gwe, n’addayo n’atuula, n’abagamba nti, “Kye mbakoze mukitegedde?
13 You call me Teacher and Lord, and rightly so, for that is what I am. Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe, mukola bulungi okumpita bwe mutyo kubanga ddala bwe ntyo bwe ndi.
14 So if I, your Lord and Teacher, washed your feet, you too must wash each other's feet. Kale Nze Mukama wammwe era Omuyigiriza, nga bwe mbanaazizza ebigere, nammwe musaana okunaazagananga ebigere.
15 For I have given you an example, that you should do as I have done for you. Mbalaze ekyokulabirako, mukolenga nga Nze bwe mbakoze.
16 Truly, truly, I say to you, a servant isn't greater than his master, nor a messenger greater than his sender. Ddala ddala mbagamba nti, Omuddu tasinga mukama we. Era n’oyo atumibwa tasinga oli amutumye.
17 If you know these things, you are blessed if you do them. Bwe mumanya ebintu bino muba n’omukisa bwe mubikola.
18 "I don't mean all of you—I know those I've chosen. But Scripture must be fulfilled: 'The one eating my bread has raised his heel against me.' Ebintu bino byonna sibyogera nammwe mwenna, buli omu ku mmwe be nalonda mmumanyi; ekyawandiikibwa kituukirire ekigamba nti, ‘Oyo bwe tulya emmere anneefuukidde!’
19 I tell you now, before it happens, so you'll believe, once it happens, that I AM. Kino nkibategeeza okuva kaakano, nga tekinnabaawo, bwe kinaabaawo mulyoke munzikirize.
20 Truly, truly, I tell you, whoever welcomes someone I send welcomes me, and whoever welcomes me welcomes the one who sent me." Ddala ddala mbagamba nti buli asembeza gwe ntuma, ng’asembezezza Nze, era asembeza Nze ng’asembezezza oyo eyantuma.”
21 After saying this, Jesus, troubled in spirit, testified, "Truly, truly, I tell you, one of you will betray me." Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’alumwa nnyo mu mwoyo, n’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba, omu ku mmwe anandyamu olukwe.”
22 The disciples looked at one another, at a loss to know which of them he meant. Abayigirizwa ne batunulaganako, nga tebamanyidde ddala gw’ayogerako.
23 One of his disciples, the one Jesus loved, was reclining at his side. Omu ku bayigirizwa, Yesu gwe yayagalanga, yali agalamidde okumpi n’ekifuba kya Yesu,
24 So Simon Peter motioned to him to ask which one Jesus meant. Simooni Peetero n’amutemyako ng’amugamba nti, “Mutubuulize gw’ayogerako.”
25 Leaning back against Jesus, he asked him, "Lord, who is it?" Kale bwe yaddayo okugalamira ng’aliraanye ekifuba kya Yesu, n’amubuuza nti, “Mukama waffe, gw’oyogerako ye ani?”
26 Jesus answered, "It's the one I'll give this bread to, once I've dipped it." Then he dipped the bread and gave it to Judas, son of Simon Iscariot. Yesu n’addamu nti, “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa nga ye wuuyo.” Awo n’akwata ekitole, n’akikoza n’akiwa Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni.
27 After Judas took the bread, Satan entered into him. So Jesus told him, "Do quickly what you're doing." Yuda bwe yamala okuweebwa ekitole ekyo, Setaani n’amuyingiramu. Awo Yesu n’amugamba nti, “Ky’okola kikole mangu!”
28 But no one reclining at the table understood why he said this to him. Ku baali balya tewaali n’omu eyategeera kyeyava amugamba bw’atyo.
29 Since Judas held the money bag, some thought Jesus meant, 'Buy what we need for the feast,' or, 'Give something to the poor.' Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yali atereka ensimbi, Yesu amugambye agende agule bye beetaaga ku mbaga, oba nti abeeko by’agabira abaavu.
30 As soon as Judas had taken the bread, he went out. And it was night. Yuda olwafuna ekitole, amangwago n’afuluma ebweru; obudde bwali kiro.
31 After Judas left, Jesus said, "Now the Son of Man is glorified, and my Father is glorified in him. Yuda olwafuluma, Yesu n’agamba nti, “Kaakano Omwana w’Omuntu agulumizibbwa ne Katonda agulumizibbwa mu ye.
32 If my Father is glorified in him, my Father will also glorify the Son in himself and glorify him immediately. Era obanga Katonda agulumizibbwa mu ye, Katonda yeegulumiza ye yennyini, era amangwago ajja kumugulumiza.
33 Dear children, I'm with you a little longer. You'll look for me, and as I told the Jewish leaders, so I tell you now: where I'm going, you can't come. “Baana bange, akaseera katono ke nkyali nammwe. Mulinnoonya era nga bwe nagamba Abayudaaya nti, ‘Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano.
34 I give you a new command: love one another. As I have loved you, so you must love one another. “Mbawa ekiragiro ekiggya: Mwagalanenga nga nze bwe mbaagala.
35 By this everyone will know that you are my disciples, if you love one another." Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange.”
36 Simon Peter said to him, "Lord, where are you going?" Jesus answered, "Where I'm going you can't follow me now, but you'll follow later." Awo Simooni Peetero n’amubuuza nti, “Mukama waffe olaga wa?” Yesu n’amuddamu nti, “Tosobola kugenda nange kaakano, wabula olingoberera oluvannyuma.”
37 Peter asked, "Lord, why can't I follow you now? I'll lay down my life for you." Peetero n’amubuuza nti, “Mukama wange, lwaki siyinza kukugoberera kaakano? Nnaawaayo obulamu bwange ku lulwo.”
38 Jesus replied, "You will lay down your life for me? Truly, truly, I tell you: the rooster won't crow until you have denied me three times." Yesu n’amuddamu nti, “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti, Enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]