Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 14 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 "Do not let your hearts be troubled. Believe in our Father; believe also in me. “Omutima gwammwe tegweraliikiriranga. Mukkiriza Katonda, era nange munzikirize.
2 In my Father's house are many rooms. If it were not so, would I have told you that I am going to prepare a place for you? Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi, era ŋŋenda okubateekerateekera ekifo. Singa tekiri bwe kityo nandibagambye.
3 And if I go and prepare a place for you, I'll come back and take you to myself, so you'll be where I am. Bwe ndimala okubateekerateekera ekifo ndikomawo, ne mbatwala gye ndi, Nze gye ndi nammwe gye muba mubeera.
4 And you know the way to where I am going." Era gye ŋŋenda ekkubo mulimanyi.”
5 Thomas said to him, "Lord, we don't know where you're going—how can we know the way?" Tomasi n’amugamba nti, “Mukama waffe, tetumanyi gy’olaga, kale tuyinza tutya okumanya ekkubo?”
6 Jesus told him, "I am the way, and the truth, and the life. No one comes to the Father except through me. Yesu n’addamu nti, “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu. Tewali n’omu ajja eri Kitange wabula ng’ayita mu Nze.
7 Had you known me, you would have known my Father too. Starting now, you know him and have seen him." Singa muntegedde ne Kitange mwandimutegedde. Era okuva kaakano mumulabye era mumutegedde.”
8 Philip said to him, "Lord, show us the Father, and that will be enough for us." Firipo n’amugamba nti, “Mukama waffe, tulage Kitaffe, kinaatumala.”
9 Jesus said, "Philip, I've been with you this long, and you don't know me? Whoever has seen me has seen the Father. How can you say, 'Show us the Father'? Yesu n’amugamba nti, “Firipo, kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna era tontegeeranga? Buli alaba Nze aba alabye Kitange! Kale lwaki ate oyogera nti, ‘Tulage Kitaffe?’
10 Don't you believe I'm in the Father, and the Father in me? The words I speak to you aren't my own—the Father living in me does his works. Tokkiriza nga Nze ndi mu Kitange era ne Kitange ali mu Nze? Ebigambo bye mbategeeza si byange ku bwange, wabula biva eri Kitange abeera mu Nze, era akola emirimu ng’ayita mu Nze.
11 Believe me: I'm in the Father, the Father in me—or else believe because of the works themselves. Kale munzikirize nti ndi mu Kitange era nga ne Kitange ali mu Nze. Oba si ekyo munzikirize olw’emirimu gyokka.
12 Truly, truly, I tell you, whoever believes in me will do the works I do, and will do even greater works, because I am going to the Father. “Ddala ddala mbagamba nti buli anzikiriza alikola emirimu egyo gye nkola, era alikola egisinga egyo, kubanga Nze ŋŋenda eri Kitange.
13 Whatever you ask in my name, I will do it, so the Father may be glorified in the Son. Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana.
14 If you ask me anything in my name, I will do it. Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga.”
15 "If you love me, you will keep my commandments. “Kale obanga munjagala mugonderenga ebiragiro byange,
16 And I will ask the Father, and he will give you another Helper, the Holy Spirit, to be with you forever, nange ndisaba Kitange n’abawa Omubeezi omulala anaabeeranga nammwe emirembe n’emirembe,
17 the Spirit of truth, whom the world cannot receive, since it neither sees him nor knows him. But you know him, since he remains with you and will be in you. Mwoyo ow’Amazima ensi gwe teyinza kufuna, kubanga temulaba era temumanyi. Naye mmwe mumumanyi kubanga abeera nammwe, era anaabeeranga mu mmwe.
18 I will not leave you as orphans; I will come to you. Siribaleka nga bamulekwa, ndikomawo gye muli.
19 Soon the world won't see me anymore, but you will see me. Because I live, you will live too. Mu bbanga ttono, ensi eneeba tekyandaba, naye mmwe nga mundaba. Kubanga Nze ndi mulamu, era nammwe muliba balamu.
20 On that day you'll know: I'm in my Father, you in me, and I in you. Ku lunaku olwo mulitegeera nga Nze ndi mu Kitange, era nga muli mu Nze, nga nange ndi mu mmwe.
21 Whoever has my commandments and keeps them loves me, and my Father will love whoever loves me. I will love him and show myself to him." Buli anjagala anaagonderanga ebiragiro byange; era kubanga anjagala, ne Kitange anaamwagalanga. Era nange nnaamwagalanga, era nnaamulabikiranga.”
22 Judas, not Iscariot, asked, "Lord, why show yourself to us and not to the world?" Yuda, atali Isukalyoti n’amugamba nti, “Mukama waffe, lwaki oyagala okweraga eri ffe so si eri ensi?”
23 Jesus replied, "Anyone who loves me will keep my word, and my Father will love that person, and we will come to them and make our home with them. Yesu n’amuddamu nti, “Omuntu yenna anjagala anaagonderanga ekigambo kyange, ne Kitange anaamwagalanga, era Nze ne Kitange tunajjanga ne tubeera mu ye era tunaatuulanga mu ye.
24 Whoever doesn't love me doesn't keep my words. And the word you hear isn't mine but the Father's who sent me. Oyo atanjagala tagondera bigambo byange. Ate ebigambo bye njogera si byange ku bwange wabula bya Kitange eyantuma.
25 I have spoken these things to you while I am still with you. Ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe.
26 But the Helper, the Holy Spirit, whom the Father will send in my name, will teach you everything and remind you of everything I said to you. Naye Omubeezi, Mwoyo Mutukuvu, Kitange gw’alituma mu linnya lyange, bw’alijja alibayigiriza ebintu byonna era alibajjukiza byonna bye nabagamba.
27 Peace I leave you; my own peace I give you. Not as the world gives, I give it. Don't let your hearts be troubled or afraid. Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egy’ensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.
28 You heard me say to you, 'I'm going away, and I'm coming to you.' If you loved me, you'd have rejoiced, because I'm going to the Father, for the Father is greater than I. “Mujjukire kye n’abagamba nti ŋŋenda era ndikomawo gye muli. Singa ddala mubadde munjagala mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange y’ansinga ekitiibwa.
29 And now I've told you before it happens, so that when it happens you'll believe. Kaakano mbabuulidde ebintu bino nga tebinnabaawo, bwe birituukirira mulyoke munzikirize.
30 I won't talk with you much longer—this world's ruler is coming. He has no hold on me, Sikyayogera bintu bingi nammwe, kubanga omufuzi omubi ow’ensi eno ajja. Naye Nze tanninaako buyinza.
31 but I do exactly as the Father commanded me, so the world may know I love the Father. Get up, let's leave this place." Kyokka ensi eryoke emanye nti njagala Kitange, nzija kukola Kitange ky’andagidde. “Musituke tuve wano.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]