Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 15 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 "I am the true vine, and my Father is the gardener. “Nze muzabbibu ogw’amazima, ate Kitange ye mulimi.
2 Every branch in me not bearing fruit, he removes; and every one bearing fruit, he prunes, so it bears more fruit. Buli ttabi eriri ku Nze eritabala bibala aliggyako. Naye buli ttabi eribala ebibala, alirongoosa lyeyongerenga okubala.
3 You are already clean because of the word I have spoken to you. Mmwe kaakano muli balongoofu olw’ekigambo kye mbagambye;
4 Remain in me, and I in you. As a branch can't bear fruit alone, unless it remains in the vine, neither can you unless you remain in me. mubeere mu Nze era nange mbeere mu mmwe. Ng’ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe mutyo nammwe temuyinza kubala bibala bwe mutabeera mu Nze.
5 I am the vine, you the branches. Whoever remains in me, and I in them, bears much fruit, for apart from me you can do nothing. “Nze muzabbibu, mmwe matabi. Buli abeera mu Nze nange ne mbeera mu ye oyo abala ebibala bingi. Kubanga awatali Nze temuliiko kye muyinza kukola.
6 Anyone not remaining in me is thrown out like a branch and withers; branches are gathered, thrown into the fire, and burned. Omuntu bw’atabeera mu nze asuulibwa ebweru ng’ettabi erikaze. Amatabi ng’ago bagakuŋŋaanya ne bagasuula ku muliro ne gaggya.
7 If you remain in me and my words remain in you, ask whatever you want, and it will happen for you. Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga.
8 This is how my Father is glorified: that you bear much fruit and prove to be my disciples. Bwe mubala ebibala ebingi, muba bayigirizwa bange, ne Kitange, agulumizibwa.
9 "As the Father has loved me, so I have loved you. Remain in my love. “Mbaagadde nga Kitange bw’anjagala. Noolwekyo munywererenga mu kwagala kwange.
10 If you keep my commands, you will remain in my love, as I have kept my Father's commands and remain in his love. Bwe munaagonderanga ebiragiro byange olwo munaabanga munyweredde mu kwagala kwange, nga nange bwe ŋŋondera ebiragiro bya Kitange ne mbeera mu kwagala kwe.
11 I've told you this so my joy may be in you, and your joy be complete. Mbategeezezza ebyo mulyoke mujjule essanyu lyange. Era essanyu lyammwe liryoke lituukirire.
12 "This is my command: love one another as I have loved you. Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga nga Nze bwe mbaagala.
13 No one has greater love than this: to lay down one's life for one's friends. Tewali kwagala kusinga okw’omuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye.
14 You are my friends if you do what I command you. Muba mikwano gyange bwe mukola bye mbalagira.
15 I no longer call you servants—a servant doesn't know what his master does. I call you friends, since I've made known to you everything I heard from my Father. Olwo nga sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanya bifa ku mukama we. Kaakano mmwe muli mikwano gyange, kubanga mbategeezezza byonna Kitange bye yaŋŋamba.
16 You didn't choose me—I chose you and placed you to go, bear fruit that lasts, so whatever you ask the Father in my name, he'll give you. Si mmwe mwannonda! Wabula Nze nabalonda, mulyoke mubale ebibala ate ebibala eby’olubeerera. Olwo buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange anaakibawanga.
17 This is my command to you: love one another. Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga.
18 "If the world hates you, know that it hated me first. “Ensi bw’ebakyawanga mumanye nti yasooka kukyawa nze.
19 If you were of the world, the world would love you as its own. But you are not of the world; instead, I chose you out of the world, so the world hates you. Singa mubadde ba nsi, yandibaagadde, naye temuli ba nsi, kubanga nabalonda muve mu nsi, kyeva ebakyawa.
20 Remember what I told you: a servant isn't greater than his master. If they persecuted me, they'll persecute you too; if they kept my word, they'll keep yours too. Mujjukire kye nabagamba nti, ‘Omuddu tasinga mukama we.’ Kale obanga Nze banjigganya era nammwe bagenda kubayigganyanga. Era obanga baagondera ebigambo byange n’ebyammwe balibigondera.
21 But they'll do all this to you because of my name, since they don't know the one who sent me. Ebyo byonna balibibakola ku lw’erinnya lyange, kubanga eyantuma tebamumanyi.
22 Had I not come and spoken to them, they would have no sin; now they have no excuse for their sin. Singa sajja ne njogera nabo tebandibadde na musango. Naye kaakano tebalina kya kwewolereza olw’ekibi kyabwe.
23 Whoever hates me hates my Father as well. Buli ankyawa aba akyawa ne Kitange.
24 Had I not done among them the works no one else did, they would have no sin. But now they have seen and hated both me and my Father. Singa saakola mirimu egitaakolebwa muntu yenna mu bo tebandibaddeko musango. Naye kaakano balabye emirimu egyo, n’okutukyawa ne batukyawa, Nze ne Kitange.
25 But this happened to fulfill what is written in their Law: 'They hated me without cause.' Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, ‘Bankyayira bwereere.’
26 "When the Helper comes, whom I will send you from the Father—the Spirit of truth proceeding from the Father—he will testify about me. “Kyokka mmwe ndibatumira Omubeezi okuva eri Kitange, Omwoyo ow’amazima ava eri Kitange era alibategeeza buli ekinfaako.
27 "And you also must testify, because you have been with me from the beginning." Era nammwe mulinjulira, kubanga mubadde nange okuva ku lubereberye.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]