Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 16 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 "I have told you all this so that you will not fall away. “Ebyo mbibategeezezza muleme kwesittala.
2 They will expel you from synagogues; but the hour is coming when whoever kills you will think he offers a service to God. Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro, era ekiseera kijja buli anaabattanga n’alowooza nti aweereza Katonda.
3 They will do this because they have not known the Father or me. Ebyo balibibakola kubanga Kitange tebaamumanya, era nange tebammanyi.
4 But I've told you this so that when their hour comes, you'll remember I told you. I didn't tell you this from the start, because I was with you. Kale bino mbibabuulidde nga tebinnabaawo, ekiseera bwe kirituuka ne bibaawo mulyoke mujjukire nti nabagamba. Ebyo saabibategeerezaawo ku lubereberye kubanga nnali nkyali nammwe.
5 "But now I'm going to him who sent me, and none of you asks me, 'Where are you going?' Kaakano ŋŋenda eri eyantuma. Naye tewali n’omu ku mmwe ambuuza nti, ‘Ogenda wa?’
6 Instead, because I have said these things to you, sorrow has filled your heart. Naye kubanga mbategeezezza ebyo emitima gyammwe gijjudde ennaku.
7 I tell you the truth: my going is for your good. If I don't go, the Helper, the Holy Spirit, won't come to you. But if I go, I will send him to you. Naye mbategeereza ddala nti ekisinga obulungi gye muli Nze kwe kugenda. Kubanga bwe sigenda Omubeezi tagenda kujja, kyokka bwe ŋŋenda, ndimutuma gye muli.
8 And when he comes, he will convict the world concerning sin and righteousness and judgment: Ye bw’alijja, alirumiriza ensi olw’ekibi, n’olw’obutuukirivu n’olw’omusango,
9 concerning sin, because they do not believe in me; kubanga tebanzikkiriza,
10 concerning righteousness, because I am going to my Father and you will see me no longer; olw’obutuukirivu kubanga ŋŋenda eri Kitange era temukyandaba,
11 concerning judgment, because the ruler of this world has been judged. n’olw’omusango, kubanga omufuzi w’ensi eno asaliddwa omusango.
12 "I still have many things to say to you, but you cannot bear them now. “Nkyalina bingi eby’okubategeeza naye kaakano temusobola kubitegeera.
13 But when he, the Spirit of truth, comes, he will guide you into all truth. He won't speak on his own, but will speak whatever he hears, and will tell you what is coming. Naye Omwoyo ow’amazima, bw’alijja alibaluŋŋamya mu mazima gonna, kubanga, taliyogera ku bubwe, wabula anaabategeezanga ebyo by’awulira. Anaababuuliranga ebigenda okubaawo.
14 He will glorify me, for he will take what is mine and tell it to you. Oyo agenda kungulumiza, kubanga agenda kubategeeza bye nnaamubuuliranga.
15 All my Father has is mine; that's why I said he takes from what is mine and will tell you. Byonna Kitange by’alina byange, kyenvudde ŋŋamba nti Mwoyo Mutukuvu anaabategeezanga bye nnaamubuuliranga.
16 "Soon you'll no longer see me; then soon again you'll see me." Mu bbanga ttono munaaba temukyandaba, ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba!”
17 So some of his disciples asked each other, "What does he mean: 'In a little while you will not see me, and then in a little while you will see me,' and, 'Because I am going to the Father'?" Abamu ku bayigirizwa be ne beebuzaganya nti, “Kiki ekyo ky’agamba nti, ‘Mu bbanga ttono temuliddayo kundaba, ate mu bbanga ttono munandaba,’ era nti, ‘Kubanga ŋŋenda eri Kitange?’ ”
18 So they kept saying, "What does he mean, 'a little while'? We don't know what he's talking about." Ne beeyongera okwebuuza nti, “Kiki ekyo ky’agamba nti, ‘Ebbanga ttono?’ Tetutegeera ky’agamba.”
19 Jesus knew they wanted to ask him, so he said to them, "Are you asking each other what I meant by saying, 'In a little while you will not see me, and then a little while you will see me'? Yesu bwe yamanya nga baagala okumubuuza n’abagamba nti, “Mwebuuzaganya ku kye ŋŋambye nti mu bbanga ttono munaaba temukyandaba ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba?
20 "Truly, truly, I tell you: you will weep and mourn, but the world rejoices. You'll grieve, but your grief will become joy. Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, naye ensi yo erisanyuka. Mmwe mulinakuwala naye okunakuwala kwammwe kulifuuka essanyu eritagambika bwe mulindabako nate.
21 A woman in labor has pain because her hour has come; but once she gives birth, she forgets the anguish, because she is joyful that a person has been born into the world. Omukazi ng’azaala aba mu bulumi buyitirivu, kubanga ekiseera kye kituuse. Naye omwana bw’amala okuzaalibwa olwo omukazi aba takyajjukira bulumi buli olw’essanyu ery’okuzaala omuntu mu nsi.
22 So you also have sorrow now, but I will see you again, and your heart will rejoice, and no one will take your joy from you. Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndiddamu okubalaba ne musanyuka, era essanyu lyammwe tewali n’omu aliribaggyako.
23 In that day you will ask me nothing. Truly, truly, I tell you: whatever you ask my Father in my name, he will give you. Mu kiseera ekyo nga temukyansaba kintu na kimu, mmwe bennyini munaasabanga Kitange mu linnya lyange.
24 Until now you've asked nothing in my name. Ask, and you will receive, so your joy may be complete. Kino mubadde temukikola, naye kaakano mukitandike. Musabe mu linnya lyange, mujja kuweebwa ekyo kye musaba, essanyu lyammwe liryoke lituukirire.
25 I've told you these things in figures. The hour is coming when I'll no longer speak in figures, but tell you plainly about my Father. Ebyo mbibabuulidde mu ngero. Naye ekiseera kijja kutuuka nneme kwogera nammwe mu ngero, wabula mbabuulire lwatu ebifa ku Kitange.
26 That day you'll ask in my name, and I'm not telling you I'll ask my Father on your behalf; Mu kiseera ekyo mulisaba mu linnya lyange, so si Nze okubasabira eri Kitange.
27 for the Father himself loves you, because you've loved me and believed I came from our Father. Kitange abaagala nnyo kubanga nammwe munjagala nnyo era mukkiriza nti nava eri Katonda.
28 I came from my Father and entered the world; again, I leave the world, going to my Father." Nava eri Kitange ne nzija mu nsi era nzija kuva mu nsi nzireyo eri Kitange.”
29 His disciples said, "Now you are speaking plainly and not using any figure of speech! Awo abayigirizwa be ne bamugamba nti, “Kaakano oyogera lwatu, so si mu ngero.
30 Now we know you know everything and need no one to ask you questions; so we believe you came from our Father." Kaakano tutegedde ng’omanyi byonna, era nga tewali kyetaagisa kukubuuza. Kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.”
31 Jesus replied, "Do you now believe? Yesu n’abaddamu nti, “Kaakano mukkirizza?
32 "See, the hour is coming—has come—when you'll be scattered, each to his own home, leaving me alone. Yet I'm not alone; my Father is with me. Laba, ekiseera kijja, era kituuse mwenna lwe munaasaasaana buli omu n’addayo ku bibye, ne mundeka nzekka. Kyokka sijja kuba nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange.
33 I've told you this so you may have peace in me. In the world you'll face trouble, but take heart—I've overcome the world." “Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube n’emirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]