Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 17 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After saying this, Jesus looked up to heaven and said: "Father, the hour has come. Glorify your Son, so the Son may glorify you, Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’ayimusa amaaso ge n’atunula eri eggulu, n’ayogera nti, “Kitange ekiseera kituuse. Gulumiza Omwana wo, n’omwana alyoke akugulumize,
2 since you gave him authority over all people, to give eternal life to all you gave him. nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, bonna be wamuwa alyoke abawe obulamu obutaggwaawo.
3 This is eternal life: that they know you, the only true Father, and Jesus Christ whom you sent. Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.
4 I glorified you on the earth, having finished the work you gave me to do. Nkugulumizizza ku nsi, omulimu gwe wantuma okukola, ngumalirizza.
5 Father, glorify me now with yourself, with the glory I had with you before the world existed. Kale kaakano, Kitange, ngulumiza wamu naawe mu kitiibwa ekyo kye nnali nakyo ng’ensi tennabeerawo.”
6 I revealed your name to those you gave me from the world. They were yours; you gave them to me, and they have kept your word. “Njolesezza erinnya lyo eri abantu be wampa okuva mu nsi. Baali ba nsi naye n’obampa. Baali babo n’obampa era bakkirizza ekigambo kyo.
7 Now they know that everything you have given me is from you, Bategedde nga buli kye nnina kiva gy’oli,
8 for I gave them the words you gave me; they received them, truly knew I came from you, and believed you sent me. kubanga buli kye wandagira nkibayigirizza ne bakitegeera era bategeeredde ddala nga nava gy’oli, era ne bakkiriza nga ggwe wantuma.
9 I pray for them, not for the world, but for those you gave me, since they are yours. Mbasabira. Sisabira nsi, naye nsabira abo be wampa kubanga babo.
10 Everything mine is yours, and yours is mine, and I am glorified in them. Ng’ebintu byonna bwe biri ebyange ate era nga bibyo, era ne bibyo nga byange, bampeesa ekitiibwa.
11 I'm no longer in the world, but they are in the world, and I'm coming to you. Holy Father, keep them in your name, the name you gave me, so they may be one as we are. Nze sikyali mu nsi, naye bo bali mu nsi, ate nga nzija gy’oli. Kitange Omutukuvu, be wampa bakuume mu linnya lyo, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu.
12 While with them, I kept them in your name you gave me. I guarded them—none was lost except the son of destruction, so Scripture would be fulfilled. Bwe mbadde nabo, abo be wampa mbakuumye mu linnya lyo, ne watabaawo azikirira, okuggyako omwana ow’okubula, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire.”
13 Now I come to you, and I say these things in the world so they may have my joy completed in themselves. “Nange kaakano nzija gy’oli, era mbabuulidde ebintu bino nabo babe n’essanyu lyange nga lituukiridde mu bo.
14 I've given them your word; the world hated them, since they're not of the world, just as I'm not of the world. Mbawadde ekigambo kyo, ensi n’ebakyawa kubanga si ba nsi nga Nze bwe siri wa nsi.
15 I don't ask you to remove them from the world, but to guard them from the evil one. Sikusaba kubaggya mu nsi, naye nkusaba obakuume eri omubi.
16 They are not of the world, just as I am not of the world. Si ba nsi nga nange bwe siri wa nsi.
17 Make them holy by truth; your word is truth. Obatukuze mu mazima; ekigambo kyo ge mazima.
18 As you sent me into the world, so I have sent them into the world. Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe ntyo mbatuma mu nsi.
19 For them I make myself holy, so they too may be made holy in truth. Era neetukuza ku lwabwe nabo balyoke batukuzibwe mu mazima.”
20 I pray not only for these, but also for those who will believe in me through their word. “Sisabira bano bokka naye nsabira n’abo abanzikiriza olw’ekigambo kyabwe,
21 Father, let them all be one, as you're in me and I in you, so they're in us too, and the world believes you sent me. bonna babeere bumu, nga ggwe Kitange bw’oli mu Nze, nange nga ndi mu ggwe, nabo babeerenga mu ffe, ensi eryoke ekkirize nga ggwe wantuma.
22 The glory you have given me, I have given them, so they may be one as we are one. Mbawadde ekitiibwa kye wampa, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu.
23 I in them and you in me, so they may be made completely one, so the world may know you sent me and loved them as you loved me. Nze nga ndi mu bo, era naawe ng’oli mu Nze balyoke bafuukire ddala omuntu omu. Ensi eryoke etegeere nga ggwe wantuma era nti obaagala nga bw’onjagala.”
24 Father, I want those you gave me to be with me where I am, to see my glory, which you gave me because you loved me before the world was made. “Kitange, bano be wampa njagala mbeere nabo we ndi balyoke bategeere ekitiibwa kyange kye wampa kubanga wanjagala, ng’ensi tennatondebwa.
25 Righteous Father—the world doesn't know you, but I know you, and these know you sent me. “Ayi Kitange Omutukuvu, ensi teyakumanya, kyokka Nze nkumanyi era n’abayigirizwa bano bamanyi nga ggwe wantuma.
26 I have made your name known to them, and will keep making it known, so the love you loved me with may be in them, and I in them." Era mbayigirizza ne bamanya erinnya lyo, era nzija kwongera okubamanyisa okwagala kwo kw’onjagala, kulyoke kubeerenga mu bo, era nange mbeere mu bo.”
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]