Skip to content
The Believer's Library

Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014

John 18 OLCB

Show OLCB only
Verse × ×
1 After saying these things, Jesus went out with his disciples across the Kidron Valley, where a garden stood; he and his disciples entered it. Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’afuluma n’abayigirizwa be, ne balaga emitala w’akagga Kidulooni. Mu kifo ekyo mwalimu ennimiro y’emizeeyituuni, Yesu n’abayigirizwa be ne bayingira omwo.
2 Judas the betrayer knew the place too, since Jesus often gathered there with his disciples. Yuda, eyamulyamu olukwe, ekifo ekyo yali akimanyi, kubanga Yesu yagendangayo emirundi mingi ng’ali n’abayigirizwa be.
3 So Judas came there with a detachment of soldiers and officers from the chief priests and Pharisees, carrying lanterns, torches, and weapons. Awo Yuda n’ajja mu kifo ekyo ng’ali n’ekibinja ky’abaserikale, n’abaweereza ba Bakabona abakulu n’ab’Abafalisaayo. Bajja nga balina ettaala n’emimuli n’ebyokulwanyisa.
4 So Jesus, knowing all that was coming on him, went out and said to them, "Who are you looking for?" Yesu bwe yamanya byonna ebyali bigenda okumubaako, n’avaayo n’ababuuza nti, “Munoonya ani?”
5 They answered him, "Jesus of Nazareth." Jesus said, "I AM." Judas, his betrayer, stood with them. Ne baddamu nti, “Tunoonya Yesu Omunnazaaleesi.” Yesu n’abaddamu nti, “Ye Nze,” Yuda, eyamulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo.
6 When Jesus said to them, "I AM," they drew back and fell to the ground. Yesu bwe yabagamba nti, “Ye Nze” ne badda emabega ne bagwa wansi.
7 So he asked them again, "Who are you looking for?" And they said, "Jesus of Nazareth." Yesu n’ababuuza omulundi ogwokubiri nti, “Munoonya ani?” Ne baddamu nti, “Yesu Omunnazaaleesi.”
8 Jesus answered, "I told you I AM. So if you're looking for me, let these men go." Yesu n’abaddamu nti, “Mbabuulidde nti, Ye Nze. Kale obanga munoonya Nze, bano mubaleke bagende.”
9 This fulfilled Jesus's own word: "I have not lost a single one of those you gave me." Yakola kino, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire ekigamba nti, “Abo be wampa saabuzaako n’omu.”
10 So Simon Peter drew his sword, struck the high priest's servant, and cut off his right ear—the servant named Malchus. Awo Simooni Peetero, eyalina ekitala, n’akisowolayo, n’atema omuddu wa Kabona Asinga Obukulu n’amusalako okutu okwa ddyo. Erinnya ly’omuddu oyo nga ye Maluko.
11 So Jesus told Peter, "Sheath your sword. Shouldn't I drink the cup my Father has given me?" Yesu n’alagira Peetero nti, “Zza ekitala mu kiraato kyakyo. Ekikompe Kitange ky’ampadde, siikinywe?”
12 Then the troops, their commander, and the Jewish officers seized Jesus and tied him up. Awo ekibinja ky’abaserikale n’omuduumizi waabwe n’abaweereza b’Abayudaaya, ne bakwata Yesu ne bamusiba.
13 They took him to Annas first, for he was father-in-law to Caiaphas, high priest that year. Ne bamutwala ewa Ana, eyali mukoddomi wa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu mu mwaka ogwo.
14 Caiaphas was the one who advised the Jews: better one man die for the people. Kayaafa oyo, y’oli eyawa Abayudaaya amagezi nti, “Kirungi omuntu omu afiirire bonna.”
15 Simon Peter and another disciple followed Jesus. That disciple was known to the high priest, so he entered with Jesus into the high priest's courtyard, Simooni Peetero n’omuyigirizwa omulala eyali amanyiddwa Kabona Asinga Obukulu, ne bagoberera Yesu. Omuyigirizwa oyo eyali amanyiddwa n’agoberera Yesu mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu,
16 but Peter stood outside at the door. So the other disciple, known to the high priest, went out, spoke to the servant girl who kept the door, and brought Peter in. nga Peetero ye ayimiridde wabweru ku mulyango; omuyigirizwa oyo omulala bwe yayogera n’omuggazi w’oluggi n’ayingiza Peetero.
17 The servant girl guarding the door said to Peter, "You also are not one of this man's disciples, are you?" He said, "I'm not." Omuwala omuggazi n’abuuza Peetero nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa b’omuntu oyo?” Peetero n’addamu nti, “Nedda.”
18 The servants and officers, feeling the cold, had lit a charcoal fire and stood warming themselves; Peter stood with them, warming himself. Obudde bwali bwa mpewo, abaddu n’abaweereza baali bakumye omuliro nga boota, ne Peetero naye ng’ayimiridde nabo ng’ayota omuliro.
19 The high priest then questioned Jesus about his disciples and his teaching. Awo Ana eyaliko Kabona Asinga Obukulu n’abuuza Yesu ebifa ku bayigirizwa be ne ku kuyigiriza kwe.
20 Jesus answered him, "I spoke openly to the world; I always taught in synagogues and in the temple, where all the Jews gather. I said nothing in secret. Yesu n’amuddamu nti, “Nayogeranga lwatu eri ensi, bulijjo n’ayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu Yeekaalu, Abayudaaya bonna mwe bakuŋŋaanira, soogeranga kintu na kimu mu kyama.
21 Why ask me? Ask those who heard what I said to them; they know what I said." Lwaki obuuza Nze? Buuza abo abaawuliranga bye njogera. Bamanyi bye nnaayogera.”
22 At this, one of the guards nearby slapped Jesus, saying, "Is that how you answer the high priest?" Yesu bwe yayogera ekyo omu ku baweereza eyali ayimiridde awo n’amukuba oluyi n’amugamba nti, “Oddamu otyo Kabona Asinga Obukulu?”
23 Jesus answered him, "If I spoke wrongly, testify about the wrong; but if rightly, why do you strike me?" Yesu n’amuddamu nti, “Obanga njogedde bubi kinnumirize ekibi, naye obanga kirungi, kale onkubira ki?”
24 Then Annas sent him, still bound, to Caiaphas the high priest. Awo Ana n’aweereza Yesu nga musibe eri Kayaafa Kabona Asinga Obukulu.
25 Simon Peter, meanwhile, stood warming himself. They said, "Aren't you also one of his disciples?" He denied it: "I'm not." Mu kiseera ekyo Simooni Peetero yali ayimiridde ng’ayota omuliro. Ne bamubuuza nti, “Naawe oli omu ku bayigirizwa ba Yesu?” N’abaddamu nti, “Nedda.”
26 One of the high priest's servants, a relative of the man whose ear Peter cut off, asked, "Didn't I see you with him in the garden?" Awo omu ku baddu ba Kabona Asinga Obukulu, muganda w’oyo Peetero gwe yasalako okutu, n’amubuuza nti, “Saakulabye naye mu nnimiro?”
27 Peter again denied it, and at once a rooster crowed. Peetero n’addamu okwegaana. Amangwago enkoko n’ekookolima.
28 Then they led Jesus from Caiaphas to the governor's headquarters. It was early morning. They themselves didn't enter, so they wouldn't be made unclean but could eat the Passover. Awo Abayudaaya ne baggya Yesu ewa Kayaafa ne bamutwala mu lubiri lwa gavana Omuruumi. Obudde bwali bwakakya, ne batayingira mu lubiri baleme okusobya omukolo ogw’okwetukuza, si kulwa nga basubwa okulya Embaga y’Okuyitako.
29 So Pilate went out to them and said, "What accusation do you bring against this man?" Awo Piraato n’afuluma ebweru gye baali n’ababuuza nti, “Musango ki gwe muvunaana omuntu ono?”
30 They answered him, "If this man weren't doing wrong, we wouldn't have handed him over to you." Ne bamuddamu nti, “Singa yali tazizza musango tetwandimuleese gy’oli.”
31 Pilate said, "Take him yourselves and judge him by your own law." The Jews said, "We're not permitted to execute anyone." Piraato kyeyava abagamba nti, “Kale mmwe mumutwale mumusalire omusango okusinziira mu mateeka gammwe.” Ne bamuddamu nti, “Ffe tetukkiriza kutta muntu yenna.”
32 This fulfilled the word Jesus had spoken, showing what kind of death he was about to die. Kino ne kituukiriza ebyo Yesu bye yayogera ku nfa gye yali agenda okufaamu.
33 So Pilate went back into the headquarters, summoned Jesus, and asked, "Are you the King of the Jews?" Awo Piraato n’addayo mu lubiri n’ayita Yesu. N’amubuuza nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?”
34 Jesus answered, "Are you saying this on your own, or did others tell you about me?" Yesu n’addamu nti, “Ekyo okyogedde ku bubwo oba balala be bakubuulidde ebinfaako?”
35 Pilate replied, "Am I a Jew? Your own nation and chief priests handed you over to me. What have you done?" Piraato n’amubuuza nti, “Nze ndi Muyudaaya? Abantu bo ne Kabona Asinga Obukulu be bakundeetedde. Okoze ki?”
36 Jesus answered, "My kingdom isn't from this world. If it were, my servants would fight against my being handed to the Jews. But my kingdom isn't from here." Yesu n’addamu nti, “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno. Singa bubadde bwa mu nsi eno abaweereza bange bandirwanye ne siweebwayo mu Bayudaaya. Naye obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.”
37 Then Pilate said to him, "So you are a king?" Jesus answered, "You say I'm a king. I was born for this, and I came into the world for this—to testify to the truth. Everyone who belongs to the truth hears my voice." Piraato n’amubuuza nti, “Kwe kugamba oli kabaka?” Yesu n’amuddamu nti, “Okyogedde nti ndi kabaka. Ekyo kye nnazaalirwa era kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Era abo bonna abaagala amazima bawulira eddoboozi lyange.”
38 Pilate asked, "What is truth?" Then he went out to the Jews again and said, "I find nothing wrong in him. Piraato n’amubuuza nti, “Amazima kye ki?” Piraato bwe yamala okwogera bw’atyo n’afuluma ebweru eri Abayudaaya n’abagamba nti, “Omuntu ono talina musango.
39 But you have a custom: I release one man to you at Passover. So do you want me to release the King of the Jews to you?" Naye ku buli mbaga ejjuukirirwako Okuyitako mulina empisa, onkusaba mbateere omusibe omu. Kale mwagala mbateere Kabaka w’Abayudaaya?”
40 They cried out again, "Not this man, but Barabbas!" Now Barabbas was a robber. Bonna kyebaava baleekaanira waggulu nga bagamba nti, “Nedda, si oyo, wabula tuteere Balaba.” Balaba oyo yali munyazi.
FHB

Scripture from Father’s Heart Bible™. © 2026 Spirit Media Publishing, the imprint of Spirit Media Inc. All rights reserved. In Divine Voice™ Color, the words spoken by our Father show in blue, the words of the Son in red, and the words of the Spirit in purple.

OLCB

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ Obwannannyini© 1984, 1986, 1993, 2014 bwa Biblica, Inc. Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™ Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc. “Biblica” Linnya ery’obwannannyini eryawandiisibwa Biblica mu Amerika era nga balina n’ekkakkalabozo, Inc. Bwaweebwa olukusa okulikozesa. “Biblica” is a trademark registered in the United States Patent and Trademark Office by Biblica, Inc. Used with permission.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible 2014 · Creative Commons - Attribution-ShareAlike [CC BY-SA]